EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13
Kozesa Ebitonde Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Yakuwa
“Ani yatonda ebintu ebyo?”—IS. 40:26.
OLUYIMBA 11 Obutonde Butendereza Katonda
OMULAMWA a
1. Kiki abazadde kye baagaliza abaana baabwe?
ABAZADDE, tukimanyi nti mwagala nnyo okuyamba abaana bammwe okumanya Yakuwa n’okumwagala. Kyokka Yakuwa talabika. Muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okukiraba nti Yakuwa Katonda wa ddala, era n’okumusemberera?—Yak. 4:8.
2. Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe engeri za Yakuwa?
2 Engeri enkulu ey’okuyambamu abaana okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kwe kubayigiriza Bayibuli. (2 Tim. 3:14-17) Kyokka Bayibuli eraga engeri endala abaana gye basobola okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Mu kitabo ky’Engero, taata agamba mutabani we okujjukiranga engeri za Yakuwa ezeeyolekera mu butonde. (Nge. 3:19-21) Tugenda kulaba engeri abazadde gye bayinza okukozesaamu obutonde okuyamba abaana baabwe okumanya engeri za Yakuwa.
OYINZA OTYA OKUKOZESA OBUTONDE OKUYIGIRIZA ABAANA BO?
3. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga ebikwata ku Yakuwa?
3 Bayibuli egamba nti “engeri [za Katonda] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.” (Bar. 1:20) Abazadde muyinza okuba nga munyumirwa okutambulako n’abaana bammwe mu bifo ebitali bimu. Ekiseera ekyo mukikozese okuyamba abaana bammwe okulaba akakwate akaliwo wakati ‘w’ebintu ebyatondebwa’ n’engeri za Yakuwa ez’ekitalo. Ka tulabe ekyo abazadde kye bayinza okuyigira ku Yesu.
4. Yesu yakozesa atya ebitonde okuyigiriza abayigirizwa be? (Lukka 12:24, 27-30)
4 Weetegereze engeri Yesu gye yakozesaamu ebitonde ng’ayigiriza. Lumu yagamba abaali bamuwuliriza okutunuulira nnamuŋŋoona n’amalanga. (Soma Lukka 12:24, 27-30.) Yesu yali asobola okwogera ku nsolo yonna oba ku kimera kyonna, naye yasalawo okwogera ku kinyonyi ne ku bimuli by’amalanga, ebintu abayigirizwa be bye baali bamanyi obulungi. Abayigirizwa be bayinza okuba nga baali balaba nnamuŋŋoona nga zibuuka mu bbanga, oba ebimuli by’amalanga ebyali ku ttale we baali. Kuba akafaananyi nga Yesu ayogera ku bintu ebyo nga bw’abisongako. Kiki Yesu kye yakola oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ebyo? Yabikozesa okuyamba abayigirizwa be okukiraba nti Yakuwa mugabi era wa kisa. Ayamba abaweereza be abeesigwa okufuna eby’okulya n’eby’okwambala, nga bw’alabirira nnamuŋŋoona n’ebimuli by’oku ttale.
5. Bintu ki mu butonde abazadde bye bayinza okukozesa okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa?
5 Abazadde, muyinza mutya okukoppa Yesu nga muyigiriza abaana bammwe? Oyinza okubuulira omwana wo ekintu ekimu mu butonde ky’osinga okwagala, gamba ng’ensolo oba ekimera. Ng’omubuulira ebikwata ku kintu ekyo, munnyonnyole kye bituyigiriza ku Yakuwa. Oluvannyuma oyinza okugamba omwana wo akubuulire ensolo gy’asinga okwagala oba ekimera ky’asinga okwagala. Bw’onooyogera ku kintu ekyo ky’asinga okwagala ayinza okussaayo ennyo omwoyo ng’omuyigiriza ebikwata ku Yakuwa.
6. Kiki kye tuyigira ku maama wa Christopher?
6 Abazadde kibeetaagisa okusooka okunoonyereza ennyo ebikwata ku nsolo emu oba ekimera ekimu kye baagala okukozesa okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Yakuwa? Nedda. Yesu teyayogera kalonda akwata ku nkula y’amalanga oba ku ngeri nnamuŋŋoona gye ziryamu emmere. Kyo kituufu nti olumu n’olumu omwana wo ayinza okwagala okumanya kalonda akwata ku bintu ebimu mu bitonde. Kyokka ebiseera ebimu ekintu kimu oba bibiri ky’oyogera ku butonde kiyinza okumala okuggyayo ensonga. Ng’ajjukira ebyo ebyaliwo nga muto, ow’oluganda Christopher agamba nti: “Maama yabangako ebigambo bitono by’ayogera ku bitonde okutuyamba okusiima ebintu Yakuwa bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, bwe twabanga mu bifo ebirimu ensozi yagambanga nti: ‘Ensozi zino nga mpanvu nnyo era nga zirabika bulungi nnyo! Ekyo tekiraga nti Yakuwa wa kitalo nnyo?’ Oba bwe twabanga okumpi n’ennyanja yagambanga nti: ‘Amayengo nga galina amaanyi mangi! Ekyo tekiraga nti Yakuwa wa maanyi nnyo?’” Christopher agattako nti: “Ebigambo ng’ebyo byatuleeteranga okulowooza.”
7. Oyinza otya okutendeka abaana bo okufumiitiriza ku bitonde?
7 Abaana bo bwe bagenda bakula, oyinza okubayigiriza okufumiitiriza ku bitonde n’okulaba ekyo kye bibayigiriza ku Yakuwa. Oyinza okwogera ku kimu ku bintu Yakuwa bye yatonda era n’obuuza abaana bo nti, “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” Ebyo abaana bo bye baddamu biyinza okukwewuunyisa.—Mat. 21:16.
DDI LW’OYINZA OKUKOZESA EBITONDE OKUYIGIRIZA ABAANA BO?
8. Kakisa ki Abazadde Abayisirayiri ke baakozesanga nga batambula “mu kkubo”?
8 Abazadde Abayisirayiri baalagirwa okuyigiriza abaana baabwe amateeka ga Yakuwa nga batambula “mu kkubo.” (Ma. 11:19) Amakubo ago gaayitanga mu bitundu eby’ekyalo. Omuntu eyabanga atambula mu makubo ago yalinga asobola okulaba ensolo ezitali zimu, ebinyonyi, n’ebimuli. Abazadde Abayisirayiri bwe baabanga bayita mu makubo ago n’abaana baabwe, baalinanga akakisa okuyamba abaana baabwe okusiima ebitonde bya Yakuwa. Abazadde, nammwe muyinza okuba nga mufuna akakisa ng’ako okukozesa ebitonde okuyigiriza abaana bammwe ebikwata ku Yakuwa. Lowooza engeri ekyo abazadde abamu gye bakikozeemu.
9. Kiki ky’oyigidde ku Punitha ne Katya?
9 Maama omu ayitibwa Punitha, abeera mu kibuga ekimu ekinene mu Buyindi agamba nti: “Bwe tugenda okukyalira ab’eŋŋanda zaffe mu kyalo, ako tukalaba ng’akakisa okuyamba abaana baffe okuyiga ebikwata ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yatonda. Nkiraba nti abaana bange bayiga bulungi ebikwata ku bitonde nga tebali mu kibuga omuli omujjuzo gw’abantu n’ogw’emmotoka.” Abazadde, abaana bammwe bayinza obuteerabira kiseera kye mumala nabo nga muli mu kifo ekirabika obulungi. Mwannyinaffe ayitibwa Katya ow’omu Moldova, agamba nti: “Ebintu bye nsinga okujjukira mu buto bwange by’ebyo ebyaliwo nga ntambuddeko ne bazadde bange mu bitundu eby’ekyalo. Mbasiima nnyo olw’okunjigiriza okuviira ddala mu buto okwetegereza ebitonde n’okulaba ekyo kye binjigiriza ku Yakuwa.”
10. Kiki abazadde kye bayinza okukola bwe kiba nga kibazibuwalira okugenda mu bitundu ebiri ebweru w’ekibuga? (Laba akasanduuko, “ Abazadde Bye Basobola Okukozesa.”)
10 Watya singa oba tosobola kugendako mu bitundu eby’ekyalo? Muganda waffe ayitibwa Amol, naye abeera mu Buyindi, agamba nti: “Mu kitundu gye mbeera abazadde bakola okumala essaawa nnyingi era omuntu okutambulako okugenda mu kyalo kiba kya buseere. Naye osobola okulaba ebintu Yakuwa bye yatonda era n’obaako ky’obiyigirako ng’oli ku lubalaza lw’ennyumba yo, oba ng’oli mu kifo ekitono ekiwummulirwamu.” Bw’oba nga weetegereza oyinza okulaba nti okumpi ne w’obeera waliwo ebitonde bingi by’osobola okwogerako ng’oli n’abaana bo. (Zab. 104:24) Oyinza okulaba ebinyonyi, ebiwuka, ebimera, n’ebirala. Karina, abeera mu Bugirimaani, agamba nti: “Maama ayagala nnyo ebimuli. Era bwe nnabanga ntambula naye nga nkyali muto, yayogeranga ku bimuli ebitali bimu bye twasanganga.” Abazadde, musobola n’okuyigiriza abaana bammwe nga mukozesa vidiyo n’ebitabo bingi ebikwata ku butonde ebifulumiziddwa ekibiina kyaffe. K’obe ng’obeera wa, osobola okuyamba abaana bo okwetegereza ebintu Yakuwa bye yatonda. Kati ka tulabe ezimu ku ngeri za Yakuwa z’osobola okwogerako ng’oli n’abaana bo.
‘ENGERI ZA YAKUWA EZITALABIKA ZIRABIKIRA DDALA BULUNGI’
11. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukitegeera nti Yakuwa alina okwagala?
11 Okusobola okuyamba abaana bo okukitegeera nti Yakuwa alina okwagala, oyinza okwogera ku ngeri ensolo nnyingi gye zirabiriramu obulungi abaana baazo. (Mat. 23:37) Oyinza n’okwogera ku bintu ebingi ennyo eby’enjawulo Yakuwa bye yatonda. Karina, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bwe twabanga tutambula, maama yankubirizanga okufumiitiriza ku ngeri buli kimuli gye kyawukana ku kirala, era n’engeri obulungi bw’ebimuli ebyo gye bwoleka okwagala kwa Yakuwa. Wadde nga wayise emyaka, nkyetegereza ebimuli era ndaba engeri ez’enjawulo gye byakulamu, ne langi zaabyo ennungi. Ne leero ebimuli ebyo binnyamba okukiraba nti Yakuwa atwagala nnyo.”
12. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi? (Zabbuli 139:14) (Laba n’ekifaananyi.)
12 Yamba abaana bo okukiraba nti Katonda alina amagezi mangi. Yakuwa atusingira wala amagezi. (Bar. 11:33) Ng’ekyokulabirako, oyinza okwogera ku ngeri ebire by’enkuba gye biseeyeeya ku ggulu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. (Yob. 38:36, 37) Oyinza n’okwogera ku ngeri ey’ekitalo omubiri gw’omuntu gye gwatondebwamu. (Soma Zabbuli 139:14.) Weetegereze engeri ekyo taata ayitibwa Vladimir gye yakikolamu. Agamba nti: “Lumu mutabani waffe yali avuga akagaali ke n’agwa n’anuubuka. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, ekiwundu kye yali afunye kyawona. Nze ne mukyala wange twannyonnyola mutabani waffe nti Yakuwa yatonda obutoffaali bw’omubiri nga busobola okweddaabiriza. Twamugamba nti ebintu abantu bye bakola tebikola kintu ng’ekyo. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’emmotoka okwonooneka olw’akabenje, eba tesobola kweddaabiriza. Ekyo kyayamba mutabani waffe okukiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi.”
13. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukimanya nti Yakuwa alina amaanyi mangi? (Isaaya 40:26)
13 Yakuwa atukubiriza okutunula ku ggulu tufumiitirize ku ngeri amaanyi ge amangi gye gakuumira ebintu ebiri mu bwengula mu bifo byabyo. (Soma Isaaya 40:26.) Oyinza okukubiriza abaana bo okutunula ku ggulu era bafumiitirize ku ebyo bye balaba. Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo mu buto bwe, mwannyinaffe ayitibwa Tingting, ow’omu Taiwan, agamba nti: “Lumu nze ne maama wange twagenda okuwummulirako mu kitundu ekimu ekyali kyesudde ekibuga. Ekiro twalaba emmunyeenye nnyingi nnyo ku ggulu olw’okuba twali wala n’ekibuga omuba amataala amangi. Ekyo kyaliwo mu kiseera bwe nnali nga nneeraliikirira olw’okupikirizibwa kwe nnali nfuna okuva eri bayizi bannange, era nga nneebuuza oba nga nnandisobodde okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Maama wange yankubiriza okufumiitiriza ku maanyi Yakuwa ge yakozesa okutonda emmunyeenye ezo zonna, era n’okukijjukira nti asobola okukozesa amaanyi ago okunnyamba okwaŋŋanga ekigezo kyonna. Okwetegereza obutonde kyannyamba okweyongera okumanya Yakuwa n’okuba omumalirivu okweyongera okumuweereza.”
14. Abazadde bayinza batya okukozesa ebitonde okuyamba abaana baabwe okukitegeera nti Yakuwa Katonda musanyufu?
14 Ebintu Yakuwa bye yatonda biraga nti Katonda musanyufu era nti ayagala tubeere basanyufu. Bannassaayansi bakyetegerezza nti ebisolo ebisinga obungi bizannya, nga mw’otwalidde ebinyonyi n’eby’ennyanja. (Yob. 40:20) Wali olabyeeko abaana bo nga baseka nga balaba ensolo ezannya? Oboolyawo baalaba kakkapa akato nga kazannyisa akapiira, oba baalaba obubwa obuto nga buzannya. Omulundi gw’onoddako okulaba abaana bo nga banyumirwa okulaba ensolo ezizannya, kozesa akakisa ako okubayamba okukiraba nti Yakuwa Katonda musanyufu.—1 Tim. 1:11.
MUNYUMIRWE EBITONDE BYA YAKUWA NGA MULI WAMU NG’AMAKA
15. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde okumanya ebyo abaana baabwe bye balowooza? (Engero 20:5) (Laba n’ekifaananyi.)
15 Oluusi abazadde kiyinza obutababeerera kyangu kumanya bizibu abaana baabwe bye boolekagana nabyo. Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri gy’oli, kikwetaagisa okubaako ky’okolawo okuyamba omwana wo akubuulire ebyo ebimuli ku mutima. (Soma Engero 20:5.) Ekyo abazadde abamu bakirabye nga kyangu okukikola nga batambuddeko n’abaana baabwe mu bifo ebitali bimu nga banyumirwa okutunuulira obutonde. Lwaki? Kubanga tewabaawo bingi biwugula baana abo, oba abazadde. Taata omu ayitibwa Masahiko, abeera mu Taiwan, alaga ensonga endala lwaki kikulu okwogerako n’abaana mu mbeera ng’eyo. Agamba nti: “Bwe tuba nga tutambuddeko n’abaana baffe mu nsozi oba nga tugenzeeko ku nnyanja, kitubeerera kyangu okwogerako nabo ku bintu bye bayitamu n’okumanya ebibali ku mutima, kubanga baba banyumirwa era nga tebali ku bunkenke.” Katya, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bwe nnakomangawo okuva ku ssomero, maama yantwalanga mu kifo ekimu ekirungi ekiwummulirwamu. Nga tuli eyo, kyannyanguyiranga okumubuulira ebyo ebyabanga bibaddewo ku ssomero, n’ebyabanga binneeraliikiriza.”
16. Ab’omu maka bayinza batya okwewummuzaamu n’okwesanyusaamu okuyitira mu bintu Yakuwa bye yatonda?
16 Ate era ab’omu maka bwe bagenda okulambula ebintu Yakuwa bye yatonda, kibasobozesa okwewummuzaamu n’okunyumirwa nga bali wamu ng’amaka, era ekyo kibayamba okweyongera okwagalana. Bayibuli egamba nti waliwo “ekiseera eky’okuseka,” n’ekiseera “eky’okubuukabuuka.” (Mub. 3:1, 4, obugambo obuli wansi) Yakuwa yatonda ebifo ebirabika obulungi ennyo ku nsi bye tuyinza okukoleramu ebintu ebitunyumira. Ab’omu maka bangi banyumirwa okugendako mu bifo gamba ng’ensozi, embalama z’ennyanja, oba ebifo ebirala ebiri ebweru w’ekibuga ne banyumirwa obutonde. Abaana abamu banyumirwa okutunuulira ebisolo, okuwugira mu migga oba mu nnyanja, oba okuzannyira mu bifo ebirabika obulungi ebiwummulirwamu. Tuyinza okwesanyusaamu mu ngeri nnyingi nga tunyumirwa ebintu Yakuwa bye yatonda!
17. Lwaki abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okunyumirwa ebintu Yakuwa bye yatonda?
17 Mu nsi ya Katonda empya, abazadde n’abaana bajja kunyumirwa nnyo ebintu Yakuwa bye yatonda. Obutafaananako nga bwe kiri leero, tujja kuba tetutya nsolo z’omu nsiko era nazo zijja kuba tezitutya. (Is. 11:6-9) Emirembe n’emirembe tujja kunyumirwa ebintu Yakuwa bye yatonda. (Zab. 22:26) Naye abazadde, temulinda nsi mpya kusooka kutuuka mulyoke muyambe abaana bammwe okunyumirwa obutonde. Bw’okozesa ebitonde okuyigiriza abaana bo ebikwata ku Yakuwa, bayinza okukwatibwako ennyo, era okufaananako Kabaka Dawudi nabo ne bagamba nti: “Ai Yakuwa . . . teriiyo bikolwa biringa bibyo.”—Zab. 86:8.
OLUYIMBA 134 Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva eri Katonda
a Baganda baffe ne bannyinaffe bangi bajjukira ebiseera bye baaberanga ne bazadde baabwe nga banyumirwa okutunuulira obutonde. Tebeerabiranga ngeri bazadde baabwe gye baakozesanga ebitonde okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa. Bw’oba olina abaana, oyinza otya okukozesa ebitonde okubayigiriza engeri za Yakuwa? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino.