Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14

“Ku Kino Bonna Kwe Banaategeereranga nti Muli Bayigirizwa Bange”

“Ku Kino Bonna Kwe Banaategeereranga nti Muli Bayigirizwa Bange”

“Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange​—bwe munaayagalananga.”​—YOK. 13:35.

OLUYIMBA 106 Okukulaakulanya Okwagala

OMULAMWA a

Abantu bangi abatali Bajulirwa ba Yakuwa bakwatiddwako batya, bwe balabye engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye balagaŋŋanamu okwagala? (Laba akatundu 1)

1. Kiki ekikwata ennyo ku bantu bangi abatali Bajulirwa ba Yakuwa abajja mu nkuŋŋaana zaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

 LOWOOZA ku mwami omu ne mukyala we abazze mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa omulundi gwabwe ogusoose. Bakwatiddwako nnyo olw’okwanirizibwa n’essanyu, n’olw’okwagala abo abali mu kibiina kwe balagaŋŋana. Bwe baba baddayo eka, omukyala agamba omwami we nti, ‘Waliwo ekintu eky’enjawulo kye ndabye mu Bajulirwa ba Yakuwa. Nnyumiddwa nnyo okubeerako awamu nabo.’

2. Lwaki abamu beesittala?

2 Okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe balagaŋŋana kwa njawulo nnyo. Kyo kituufu nti nabo tebatuukiridde. (1 Yok. 1:8) N’olwekyo gye tukoma okumanya bakkiriza bannaffe mu kibiina, gye tukoma okulaba obutali butuukirivu bwabwe. (Bar. 3:23) Eky’ennaku, abamu beesittala olw’obutali butuukirivu bw’abalala.

3. Kiki ekyawulawo abagoberezi ba Yesu ab’amazima? (Yokaana 13:34, 35)

3 Ddamu weetegereze ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino. (Soma Yokaana 13:34, 35.) Kiki ekyawulawo abagoberezi ba Kristo ab’amazima? Kwe kwagala, so si kuba nti batuukiridde. Ate era weetegereze nti Yesu teyagamba nti: ‘Ku kino kwe munaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.’ Wabula yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.” Bwe kityo Yesu yakiraga nti n’abantu abatali mu kibiina Ekikristaayo bandisobodde okwawulawo abagoberezi be ab’amazima, olw’okwagala okw’okwefiiriza abagoberezi be kwe balagaŋŋana.

4. Biki abantu abamu bye baagala okumanya ku Bakristaayo ab’amazima?

4 Abantu abamu abatali Bajulirwa ba Yakuwa bayinza okwebuuza nti: ‘Okwagala kwawulawo kutya abagoberezi ba Yesu ab’amazima? Yesu yalaga atya abatume be okwagala? Leero kisoboka kitya okukoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo?’ Tusaanidde okufumiitiriza ku by’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Ekyo kijja kutuyamba okulaga abalala okwagala mu bujjuvu, naddala nga bakoze ensobi.​—Bef. 5:2.

LWAKI OKWAGALA KWE KWAWULAWO ABAGOBEREZI BA KRISTO AB’AMAZIMA?

5. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 15:12, 13 bitegeeza ki?

5 Yesu yakiraga bulungi nti abagoberezi be ab’amazima bandibadde balagaŋŋana okwagala mu ngeri ey’enjawulo. (Soma Yokaana 15:12, 13.) Yabagamba nti: “Mwagalanenga nga nange bwe mbaagadde.” Ekyo kitegeeza ki? Nga Yesu bwe yakiraga, Abakristaayo kyandibadde kibeetaagisa okulaga abalala okwagala, era ng’okwagala okwo kwandibadde kubaleetera okufiirira bannaabwe bwe kyandibadde kyetaagisa. b

6. Ekigambo kya Katonda kiraga kitya nti okwagala kukulu nnyo?

6 Ekigambo kya Katonda kiraga nti okwagala kukulu nnyo. Bino bye bimu ku Byawandiikibwa abantu bangi bye basinga okwagala: “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Mat. 22:39) “Okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Peet. 4:8) “Okwagala tekulemererwa.” (1 Kol. 13:8) Ebyawandiikibwa ebyo awamu n’ebirala, biraga nti kikulu nnyo okukulaakulanya okwagala n’okukwoleka.

7. Lwaki Sitaani tasobola kuleetera bantu kulagaŋŋana kwagala okwa nnamaddala?

7 Abantu bangi beebuuza nti: ‘Kisoboka kitya okwawulawo eddiini ey’amazima? Eddiini zonna zigamba nti ziyigiriza amazima, naye buli emu ku ddiini ezo erina ekintu eky’enjawulo ky’eyigiriza ku Katonda.’ Sitaani yatandikawo amadiini mangi ag’obulimba era ekyo kiviiriddeko abantu bangi okuzibuwalirwa okwawulawo eddiini ey’amazima. Kyokka Sitaani tasobola kutandikawo ddiini ng’abantu bonna abagirimu balagaŋŋana okwagala mu nsi yonna. Yakuwa yekka y’asobola okukola ekyo. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Yakuwa ye nsibuko y’okwagala okwa nnamaddala. Abo bokka abalina omwoyo gwa Yakuwa era b’awa emikisa gye, be basobola okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. (1 Yok. 4:7) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti okwagala okwa nnamaddala kwe kwandibadde kwawulawo abagoberezi be ab’amazima.

8-9. Okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe balagaŋŋana kukutte kutya ku bantu bangi?

8 Nga Yesu bwe yagamba, abantu bangi basobodde okwawulawo abagoberezi be ab’amazima, olw’okwagala okwa nnamaddala kwe balagaŋŋana. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda ayitibwa Ian ajjukira olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa lwe yasooka okugendako olwali mu kisaawe ky’emizannyo okumpi ne we yali abeera. Yali abaddeko mu kisaawe ekyo ng’azze okulaba emizannyo emyezi mitono emabega. Agamba nti: “Embeera eyaliwo mu kisaawe ku lukuŋŋaana luno yali ya njawulo nnyo ku mbeera eyaliwo emyezi mitono emabega nga nzize okulaba emizannyo. Abajulirwa ba Yakuwa baali bakkakkamu, baali bambadde bulungi, era abaana baabwe baali beeyisa bulungi. N’ekisingira ddala, abantu bano baali balabika nga bamativu era nga balina emirembe. Ekyo kyennyini kye nnali njagala. Sijjukira mboozi n’emu eyaweebwa ku lunaku olwo, naye nnasigala nzijukira enneeyisa y’Abajulirwa ba Yakuwa.” c Kya lwatu nti okwagala okwa nnamaddala kwe kutuleetera okweyisa bwe tutyo. Olw’okuba twagala nnyo baganda baffe ne bannyinaffe, tubalaga ekisa era tubassaamu ekitiibwa.

9 Ow’Oluganda ayitibwa John naye yakwatibwako mu ngeri y’emu bwe yatandika okubaawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe balagaŋŋana . . . ne kiba nti nnatuuka n’okulowooza nti batuukiridde. Okwagala kwe balagaŋŋana kwandeetera okukiraba nti nnali nzudde eddiini ey’amazima.” d Ebyokulabirako ebyo awamu n’ebirala bingi biraga nti Abajulirwa ba Yakuwa be Bakristaayo ab’amazima.

10. Okusingira ddala ddi lwe tufuna akakisa okulaga abalala okwagala okw’Ekikristaayo? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

10 Nga bwe kyogeddwako ku ntandikwa, bakkiriza bannaffe tebatuukiridde. Oluusi boogera oba bakola ebintu ebitulumya. e (Yak. 3:2) Ekyo bwe kibaawo, tuba tufunye akakisa okubalaga okwagala okw’Ekikristaayo okuyitira mu ebyo bye twogera ne bye tukola. Ku nsonga eyo waliwo kye tusobola okuyigira ku Yesu.​—Yok. 13:15.

YESU YALAGA ATYA ABATUME BE OKWAGALA?

Yesu yalaga abatume be okwagala wadde nga baakola ensobi nnyingi (Laba akatundu 11-13)

11. Ngeri ki embi Yakobo ne Yokaana ze baayoleka? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Yesu yali tasuubira bagoberezi be kuba nti batuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, yabalaga okwagala era yabayamba okukola enkyukakyuka basobole okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Lumu Yakobo ne Yokaana baagamba maama waabwe agambe Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka. (Mat. 20:20, 21) Mu kukola bwe batyo, baayoleka amalala era baakiraga nti baali beeyagaliza ebitiibwa.​—Nge. 16:18.

12. Yakobo ne Yokaana be bokka abaayoleka engeri embi? Nnyonnyola.

12 Yakobo ne Yokaana si be bokka abaayoleka engeri embi ku olwo. Bayibuli egamba nti: “Abalala ekkumi bwe baakiwulira ne banyiigira ab’oluganda ababiri.” (Mat. 20:24) Kirabika waaliwo okuwaanyisiganya ebigambo wakati w’abatume abalala ne Yakobo ne Yokaana. Abatume abalala bayinza okuba nga baagamba nti: ‘Mweyita ki okutuuka okusaba ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka? Si mmwe mmwekka abafubye okukola awamu ne Yesu. Naffe tusaanidde okufuna ebifo eby’oku mwanjo nga mmwe.’ Ka kibe ki ekyaliwo, abatume bakkiriza embeera eyo okubalemesa okulagaŋŋana okwagala.

13. Yesu yakwata atya embeera ng’abatume be boolese engeri embi? (Matayo 20:25-28)

13 Embeera eyo Yesu yagikwata atya? Teyanyiiga. Teyagamba nti yali agenda kunoonyaayo abatume abasingako obulungi abandyolese obwetoowaze mu ngeri esingawo, era abandiragaŋŋanye okwagala ekiseera kyonna. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yabagumiikiriza era yayogera nabo mu ngeri ennungi ng’akimanyi nti baali baagala okukola ekituufu. (Soma Matayo 20:25-28.) Yeeyongera okubalaga okwagala wadde ng’ogwo si gwe gwali omulundi ogusoose era nga si gwe gwali gugenda okusembayo abatume abo okukaayana ku ani ku bo asinga obukulu.​—Mak. 9:34; Luk. 22:24.

14. Mbeera ki abatume ba Yesu gye baakuliramu?

14 Kya lwatu Yesu yali akimanyi nti embeera abatume abo gye baakuliramu yalina kinene kye yali ebakozeeko. (Yok. 2:24, 25) Abawandiisi n’Abafalisaayo baali bayigiriza abantu nti omuntu okusobola okutwalibwa ng’ow’ekitiibwa, alina okuba ng’ali mu kifo ekya waggulu. (Mat. 23:6) Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya era baali beetwala nti ba waggulu ku balala. f (Luk. 18:9-12) Yesu yali akimanyi nti embeera eyo yalina kinene kye yali ekoze ku batume be awamu n’abantu abalala. (Nge. 19:11) Yali akimanyi nti olumu n’olumu abatume be bandibadde bakola ensobi, era bwe baakolanga ensobi yabagumiikirizanga. Yali akimanyi nti baalina emitima emirungi. Bwe kityo yabagumiikiriza n’abayamba okukulaakulanya obwetoowaze n’okulaga abalala okwagala, mu kifo ky’okuba nti buli kiseera baagala kuba nga be basinga abalala.

TUYINZA TUTYA OKUKOPPA YESU?

15. Biki bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ebikwata ku Yakobo ne Yokaana?

15 Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku ebyo ebyaliwo ebikwata ku Yakobo ne Yokaana. Tebaali batuufu kusaba bifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka. Kyokka n’abatume abalala tebaali batuufu okukkiriza embeera eyo okumalawo obumu bwe baalina. Wadde kyali kityo, abatume abo bonna ekkumi n’ababiri Yesu yabayamba mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Ekyo kituyigiriza ki? Engeri abalala gye beeyisaamu si kye kyokka ekikulu, naye n’engeri naffe gye tweyisaamu ng’abalala bakoze ensobi. Kiki ekiyinza okutuyamba? Mukkiriza munnaffe bw’akola ekintu ekitunyiiza, tusaanidde okwebuuza, ‘Lwaki ky’akoze kimmazeeko nnyo emirembe? Waliwo engeri embi mu nze gye kyanise gye nneetaaga okukolako? Kyandiba nti oyo annyiizizza alina ebizibu by’ayitamu? Ne bwe kiba nga mpulira nti ndi mutuufu okunyiiga, nsobola okulaga okwagala okwa nnamaddala nga mbuusa amaaso ekyo ky’ankoze?’ Bwe tulagaŋŋana okwagala, tuba tukiraga nti tuli bagoberezi ba Yesu ab’amazima.

16. Kiki ekirala kye tuyigira ku Yesu?

16 Ekintu ekirala kye tuyigira ku Yesu kwe kufuba okutegeera bakkiriza bannaffe. (Nge. 20:5) Kyo kituufu nti Yesu yali asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu, naye ffe tetusobola. Kyokka bakkiriza bannaffe bwe bakola ebintu ebitunyiiza, tusobola okubagumiikiriza. (Bef. 4:1, 2; 1 Peet. 3:8) Ekyo kyangu okukikola bwe tweyongera okubamanya. Ka tulabeyo ekyokulabirako.

17. Omulabirizi omu akyalira ebibiina yaganyulwa atya mu kweyongera okumanya ow’oluganda omu?

17 Omulabirizi omu eyali akyalira ebibiina mu nsi emu mu Afirika, ajjukira ow’oluganda omu gwe yali atwala nti si wa kisa. Kiki omulabirizi oyo kye yakola? Agamba nti: “Mu kifo ky’okwewala ow’oluganda oyo, nnasalawo okweyongera okumumanya obulungi.” Ekyo kyayamba omulabirizi oyo okukimanya nti embeera ow’oluganda oyo mwe yali akulidde ye yali emuleetedde okweyisa nga bwe yali yeeyisa. Agattako nti: “Bwe nnategeera engeri gye kyali ekizibu ennyo eri ow’oluganda oyo okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa asobole okuba ng’akwatagana bulungi n’abalala, era n’enkyukakyuka ezitali zimu ze yali amaze okukola, nnawulira nga mmwagadde era twafuuka ba mukwano.” Mazima ddala, bwe tumanya ebikwata ku bakkiriza bannaffe, kitubeerera kyangu okubaagala.

18. Bwe kiba nti waliwo mukkiriza munnaffe atunyiizizza, bibuuzo ki bye tusobola okwebuuza? (Engero 26:20)

18 Oluusi tuyinza okuwulira nga kitwetaagisa okwogerako ne mukkiriza munnaffe aba akoze ekintu ekitunyiizizza. Naye nga tetunnayogerako naye, tusaanidde okusooka okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Mmanyi byonna ebizingirwamu?’ (Nge. 18:13) ‘Kyandiba nti teyagenderedde kunnyiiza?’ (Mub. 7:20) ‘Nnali nkozeeko ensobi ng’eyo?’ (Mub. 7:21, 22) ‘Okwogerako ne mukkiriza munnange kyandiba nti kiyinza okusajjula obusajjuzi embeera?’ (Soma Engero 26:20.) Bwe tufumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo, tuyinza okukiraba nti okwagala kusobola okutuleetera okubuusa amaaso ekyo mukkiriza munnaffe ky’aba atukoze.

19. Kiki ky’omaliridde okukola?

19 Ng’ekibiina, Abajulirwa ba Yakuwa bakyoleka nti bagoberezi ba Yesu ab’amazima. Kinnoomu tusobola okukyoleka nti tuli bagoberezi ba Yesu ab’amazima bwe tulaga bakkiriza bannaffe okwagala okwa nnamaddala, wadde ng’oluusi bakola ebitunyiiza. Bwe tukola bwe tutyo, kiyinza okuyamba abalala okukiraba nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa ye y’amazima, ne batwegattako mu kusinza Yakuwa Katonda ow’okwagala. Ka tube bamalirivu okweyongera okulaga okwagala okwawulawo Abakristaayo ab’amazima.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

a Abantu bangi batandika okuyiga amazima olw’okwagala okwa nnamaddala kwe balaba mu Bajulirwa ba Yakuwa. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, oluusi kituzibuwalira okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Ka tulabe ensonga lwaki kikulu nnyo okulagaŋŋana okwagala, era n’engeri gye tuyinza okukoppamu Yesu nga bakkiriza bannaffe bakoze ensobi.

c Laba ekitundu ekirina omutwe, “Kyaddaaki Nnafuna Essanyu mu Bulamu,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 2012, lup. 13-14.

d Laba ekitundu ekirina omutwe, “Obulamu bwe Nnalimu Bwali Bulabika ng’Obulungi,” mu Watchtower eya Maayi 1, 2012, lup. 18-19.

e Wano tetutegeeza bibi eby’amaanyi abakadde bye balina okukolako, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu 1 Abakkolinso 6:9, 10.

f Kigambibwa nti labbi omu yagamba nti: “Mu nsi temuweramu bantu makumi asatu abatuukirivu nga Ibulayimu. Bwe kiba nti mulimu abawera amakumi asatu, nze ne mutabani wange ffe bamu ku bo; bwe kiba nti balimu kkumi, nze ne mutabani wange ffe bamu ku bo. Bwe kiba nti balimu bataano, nze ne mutabani wange ffe bamu ku bo; bwe kiba nti balimu babiri, ye nze ne mutabani wange; bwe kiba nti alimu omu yekka, ye nze.”