Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10

Lwaki Osaanidde Okubatizibwa?

Lwaki Osaanidde Okubatizibwa?

“Buli omu ku mmwe abatizibwe.”​—BIK. 2:38.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

OMULAMWA a

1-2. Biki ebitera okubaawo ku kubatizibwa, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

 WALI olabyeko abagenda okubatizibwa? Boogera n’ebbugumu nga baddamu ebibuuzo ebibabuuzibwa nga tebannabatizibwa. Ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe baba basanyufu. Ababatiziddwa bwe bava mu mazzi, baba basanyufu nnyo era abalala ababaawo babakubira mu ngalo. Okutwalira awamu, buli wiiki abantu nkumi na nkumi beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa.

2 Ate ggwe? Bw’oba ng’olowooza ku ky’okubatizibwa, oli wa njawulo nnyo mu nsi eno embi, kubanga oli omu ku bantu abatono ‘abanoonya Yakuwa.’ (Zab. 14:1, 2) K’obe muto oba mukulu, ekitundu kino kitegekeddwa okukuyamba. Naffe abaamala okubatizibwa twagala okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa emirembe gyonna. Tulina ensonga nnyingi lwaki twagala nnyo okuweereza Yakuwa, naye ka tulabeyo ssatu ku zo.

OKWAGALA AMAZIMA N’OBUTUUKIRIVU

Sitaani amaze emyaka nkumi na nkumi ng’ayogera eby’obulimba ku Yakuwa, era akyeyongera okumwogerako eby’obulimba (Laba akatundu 3-4)

3. Lwaki abaweereza ba Yakuwa baagala nnyo amazima n’eby’obutuukirivu? (Zabbuli 119:128, 163)

3 Yakuwa yakubiriza abantu be ‘okwagalanga amazima.’ (Zek. 8:19) Ate Yesu yakubiriza abagoberezi be okwagalanga eby’obutuukirivu. (Mat. 5:6) Ekyo kitegeeza nti omuntu alina okuba ng’ayagala nnyo okukola ekituufu, ekirungi, era eky’obutuukirivu mu maaso ga Katonda. Tuli bakakafu nti oyagala amazima era nti oyagala okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa. Okyawa obulimba n’ebintu byonna ebibi. (Soma Zabbuli 119:128, 163.) Omuntu omulimba aba akoppa Sitaani omufuzi w’ensi. (Yok. 8:44; 12:31) Ekimu ku biruubirirwa bya Sitaani kwe kusiiga erinnya lya Yakuwa Katonda enziro. Sitaani abaddenga ayogera eby’obulimba ku Katonda, okuviira ddala ku bujeemu obwaliwo mu lusuku Edeni. Yagezaako okuleetera abantu okulowooza nti Yakuwa Mufuzi mubi, era nti alina ebirungi bye yakweka abantu. (Lub. 3:1, 4, 5) Obulimba bwa Sitaani buleetedde abantu bangi okukyawa Katonda. Abantu bwe basalawo obutayagala mazima, Sitaani asobola okubaleetera okukola buli kintu kyonna ekibi.​—Bar. 1:25-31.

4. Yakuwa akiraze atya nti ye “Katonda ow’amazima”? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Yakuwa ye “Katonda ow’amazima,” era abo abamwagala abayamba okutegeera amazima. (Zab. 31:5, obugambo obuli wansi) Mu ngeri eyo, abayamba obutabuzaabuzibwa bulimba bwa Sitaani. Ate era Yakuwa ayigiriza abaweeereza be okuba abeesigwa n’okukola ebintu eby’obutuukirivu. Ekyo kibayamba okweyisa mu ngeri ebaweesa ekitiibwa era n’okufuna emirembe mu mutima. (Nge. 13:5, 6) Naawe bw’otyo bw’oganyuddwa mu kusoma Bayibuli? Oteekwa okuba ng’okirabye nti ebyo Yakuwa by’atuyigiriza biganyula abantu bonna era naawe bikuganyula. (Zab. 77:13) Ekyo kikuleetera okwagala okukola eby’obutuukirivu mu maaso ga Yakuwa. (Mat. 6:33) Ate era kikuleetera okwagala okuyamba abalala okumanya amazima, n’okukitegeera nti ebyo Sitaani bye yayogera ku Yakuwa Katonda bya bulimba. Naye ekyo oyinza kukikola otya?

5. Oyinza otya okukiraga nti oyagala amazima n’eby’obutuukirivu?

5 Osobola okusalawo mu ngeri eraga nti okyawa obulimba bwa Sitaani era nti onywerera ku mazima. Ate era osobola okukiraga nti Yakuwa ye Mufuzi wo, ng’okola ebyo by’ayagala. Ekyo okikola otya? Okikola nga weewaayo eri Yakuwa okuyitira mu kusaba, era oluvannyuma n’obatizibwa okusobola okukiraga mu lujjudde nti weewaayo gy’ali. Okusingira ddala, okwagala amazima n’okwagala okukola ekituufu kye kijja okukuleetera okusalawo okubatizibwa.

OKWAGALA YESU KRISTO

6. Nsonga ki eziri mu Zabbuli 45:4 ezikuleetera okwagala Yesu Kristo?

6 Lwaki oyagala Yesu Kristo? Weetegereze ensonga ezituleetera okwagala Yesu Kristo eziri mu Zabbuli 45:4. (Soma.) Yesu ayagala nnyo amazima, obwetoowaze, n’eby’obutuukirivu. Bw’oba oyagala amazima n’eby’obutuukirivu, ekyo kiraga nti ne Yesu Kristo omwagala. Lowooza ku ngeri Yesu gye yayolekamu obuvumu n’alwanirira amazima n’ekituufu. (Yok. 18:37) Naye Yesu atuyigiriza atya okuba abeetoowaze?

7. Okwatibwako otya bw’olowooza ku bwetoowaze bwa Yesu?

7 Yesu atuyigiriza okuba abeetoowaze ng’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ng’ekyokulabirako, Yesu teyeegulumiza wabula ettendo lyonna alizza eri Kitaawe. (Mak. 10:17, 18; Yok. 5:19) Okwatibwako otya bw’olowooza ku bwetoowaze Yesu bwe yayoleka? Awatali kubuusabuusa, kikuleetera okwagala Omwana wa Katonda n’okumugoberera. Naye lwaki Yesu mwetoowaze? Kubanga ayagala nnyo Kitaawe era amukoppa. (Zab. 18:35; Beb. 1:3) Ekyo tekikuleetera kwagala Yesu, akoppera ddala engeri za Yakuwa?

8. Lwaki kirungi okuba nti Yesu ye Kabaka waffe?

8 Twagala nnyo Kabaka waffe Yesu, kubanga ye Mufuzi asingayo obulungi. Yakuwa kennyini ye yatendeka Omwana we era n’amuwa obuyinza okufuga. (Is. 50:4, 5) Ate era lowooza ku kwagala okungi ennyo Yesu kwe yatulaga n’engeri gye yeefiirizaamu ku lwaffe. (Yok. 13:1) Olw’okuba Yesu ye Kabaka waffe, tusaanidde okumwagala ennyo. Yesu yagamba nti abo abamwagala baba mikwano gye, era nti basobola okulaga okwagala okwo nga bagondera ebiragiro bye. (Yok. 14:15; 15:14, 15) Nga nkizo ya maanyi nnyo okuba mikwano gy’Omwana wa Yakuwa!

9. Okubatizibwa kwa Yesu kufaanagana kutya n’okw’abagoberezi be?

9 Ekimu ku ebyo Yesu bye yalagira abagoberezi be okukola kwe kubatizibwa. (Mat. 28:19, 20) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ku nsonga eyo. Mu ngeri emu, okubatizibwa kwe kwawukana ku kubatizibwa kw’abagoberezi be. (Laba akasanduuko, “ Engeri Okubatizibwa kwa Yesu Gye Kwawukanamu n’okw’Abagoberezi Be.”) Naye mu ngeri endala, okubatizibwa kwa Yesu kufaanaganamu n’okw’abagoberezi be. Yesu bwe yabatizibwa, yeeyanjula eri Kitaawe okukola by’ayagala. (Beb. 10:7) Mu ngeri y’emu, abagoberezi ba Yesu bwe babatizibwa, kaba kabonero akalaga nti bawaddeyo obulamu bwabwe eri Yakuwa. Baba beewaddeyo okukola Yakuwa by’ayagala so si kukola bo bye baagala. Bwe kityo, baba bakoppa ekyokulabirako kya Mukama waabwe.

10. Lwaki oyagala Yesu, era okwagala okwo kusaanidde kukuleetera kukola ki?

10 Okkiriza nti Yesu ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka era nti Katonda gwe yalonda okuba Omufuzi waffe. Okimanyi nti Yesu mwetoowaze, era akoppera ddala Kitaawe. Oyize nti yaliisa abantu abaali balumwa enjala, yazzaamu amaanyi abo abaali baweddemu amaanyi, era yawonya n’abalwadde. (Mat. 14:14-21) Olabye engeri gy’akulemberamu ekibiina kye leero. (Mat. 23:10) Ate era okimanyi nti ajja kukola ebintu bingi nnyo mu biseera eby’omu maaso bw’anaaba atandise okufuga ensi mu bujjuvu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Kati olwo oyinza otya okulaga nti oyagala Yesu? Ng’okoppa ekyokulabirako kye. (Yok. 14:21) Ekyo osobola okutandika okukikola nga weewaayo eri Yakuwa era ng’obatizibwa.

OKWAGALA YAKUWA KATONDA

11. Nsonga ki esinga obukulu eyandireetedde omuntu okubatizibwa, era lwaki?

11 Nsonga ki esinga obukulu eyandikuleetedde okubatizibwa? Ensonga eyo Yesu yagiraga bulungi bwe yali alaga etteeka lya Katonda erisinga obukulu. Yagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Mak. 12:30) Naawe muli owulira nti bw’otyo bw’oyagala Yakuwa?

Yakuwa ye Nsibuko y’ebintu byonna ebirungi bye wali ofunye era ne by’ojja okufuna mu biseera eby’omu maaso (Laba akatundu 12-13)

12. Lwaki oyagala nnyo Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Waliwo ensonga nnyingi nnyo ezandikuleetedde okwagala Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, oyize nti Yakuwa ye “nsibuko y’obulamu” era nti “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva gy’ali. (Zab. 36:9; Yak. 1:17) Buli kintu kyonna ekirungi kye tulina kiva eri Katonda waffe omugabi era atwagala ennyo.

13. Lwaki ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo?

13 Ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku nkolagana ey’oku lusegere eriwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we Yesu. Yesu yagamba nti: “Kitange anjagala” era nti “njagala Kitange.” (Yok. 10:17; 14:31) Emyaka buwumbi na buwumbi gye baamala nga bali bombi, enkolagana yaabwe yeeyongera okunywera. (Nge. 8:22, 23, 30) Kati lowooza ku bulumi Katonda bwe yawulira ng’Omwana we abonaabona era ng’afa. Okuba nti Yakuwa yawaayo Omwana we ng’ekinunulo okusobozesa abantu bonna okufuna obulamu obutaggwaawo, nga naawe mw’oli, kiraga nti akwagala nnyo. (Yok. 3:16; Bag. 2:20) Eyo ye nsonga esingayo obukulu etuleetera okwagala Katonda.

14. Kintu ki ekisingayo obulungi ky’osobola okukola?

14 Bwe weeyongedde okumanya ebikwata ku Yakuwa, n’okwagala kw’olina gy’ali nakwo kweyongedde. Awatali kubuusabuusa, oyagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye kati era n’emirembe gyonna. Ekyo kisoboka. Yakuwa akukubiriza okukola ebyo ebisanyusa omutima gwe. (Nge. 23:15, 16) Ekyo osobola okukikola, si mu bigambo byokka, naye ne mu bikolwa. Engeri gye weeyisaamu ejja kulaga obanga ddala oyagala Yakuwa. (1 Yok. 5:3) Ekyo kye kintu ekisingayo obulungi ky’osobola okukola mu bulamu bwo.

15. Oyinza otya okukiraga nti oyagala Yakuwa?

15 Oyinza otya okukiraga nti oyagala Yakuwa? Okusookera ddala, omutuukirira mu kusaba n’omutegeeza nti weewaddeyo okumuweereza obulamu bwo bwonna. (Zab. 40:8) Oluvannyuma, obatizibwa n’okyoleka mu lujjudde nti weewaayo eri Yakuwa. Nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino, olunaku lw’obatizibwa luba lwa ssanyu era lukulu nnyo gy’oli. Oba otandise obulamu obupya, ng’ogenda kukulembeza kukola Yakuwa by’ayagala so si ggwe by’oyagala. (Bar. 14:8; 1 Peet. 4:1, 2) Okwo kuba kusalawo kukulu nnyo. Naye kukusobozesa okuba mu bulamu obusingayo obulungi. Mu ngeri ki?

16. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 41:12, mpeera ki Yakuwa gy’awa abo abeewaayo okumuweereza?

16 Yakuwa y’asingayo okuba omugabi. Ka kibe ki ky’oba weefiirizza okusobola okumuweereza, beera mukakafu nti ajja kukuwa ebisingawo. (Mak. 10:29, 30) Ne mu kiseera kino ajja kukusobozesa okuba n’obulamu obusingayo okuba obulungi era obw’essanyu. Ate eyo ejja kuba ntandikwa butandikwa. Olugendo lw’otandika okutambula ku lunaku lw’obatizibwa terukoma. Osobola okweyongera okuweereza Yakuwa emirembe gyonna. Enkolagana gy’olina ne Kitaawo ow’omu ggulu ejja kweyongera okunywera, era ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—Soma Zabbuli 41:12.

17. Kiki ky’osobola okuwa Yakuwa?

17 Bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, ofuna enkizo ey’okuwa Kitaawo ow’omu ggulu ekintu eky’omuwendo ennyo. Kijjukire nti ebintu byonna ebirungi by’olina ye yabikuwa. Naawe olina ky’osobola okuwa Omutonzi w’eggulu n’ensi, nga kwe kumuweereza n’omutima gwo gwonna era n’okuba omwesigwa gy’ali. (Yob. 1:8; 41:11; Nge. 27:11) Eyo ye ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo. Awatali kubuusabuusa, okwagala kw’olina eri Yakuwa ye nsonga esingayo obukulu eyandikuleetedde okubatizibwa.

KIKI EKIKUGAANA OKUBATIZIBWA?

18. Bibuuzo ki by’osobola okwebuuza?

18 Oli mwetegefu okubatizibwa? Ggwe wekka asobola okuddamu ekibuuzo ekyo. Naye ekisobola okukuyamba okufuna eky’okuddamu kwe kwebuuza nti, “Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” (Bik. 8:36) Jjukira ensonga essatu ze tulabye mu kitundu kino. Ensonga esooka, okwagala amazima n’obutuukirivu. Weebuuze, ‘Nneesunga ekiseera buli muntu lw’aliba ng’ayagala amazima n’okukola ekituufu?’ Ey’okubiri, okwagala Yesu Kristo. Weebuuze, ‘Njagala Omwana wa Katonda abe Kabaka wange, era njagala okumukoppa.’ Ey’okusatu era esinga obukulu, okwagala Yakuwa. Weebuuze, ‘Njagala okuweereza Yakuwa nsobole okusanyusa omutima gwe.’ Eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo byonna bwe kiba nti yee, kiki ekiba kikugaana okubatizibwa?​—Bik. 16:33.

19. Lwaki tosaanidde kulonzalonza kubatizibwa? Waayo ekyokulabirako. (Yokaana 4:34)

19 Bw’oba ng’okyalonzalonza okubatizibwa, lowooza ku kyokulabirako Yesu kye yakozesa. (Soma Yokaana 4:34.) Weetegereze nti Yesu yageraageranya okukola Kitaawe by’ayagala ku kulya emmere. Lwaki? Kubanga emmere ya mugaso gye tuli. Yesu yali akimanyi nti buli kimu Yakuwa ky’atugamba okukola kirungi gye tuli. Yakuwa tayagala tukole kintu kyonna ekiyinza okutulumya. Yakuwa ayagala tubatizibwe? Yee. (Bik. 2:38) N’olwekyo beera mukakafu nti bw’onoobatizibwa, ojja kuganyulwa. Bw’oba nga tolonzalonza kulya mmere ekuwoomera ennyo, lwaki olonzalonza okubatizibwa?

20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Lwaki abamu balwawo okubatizibwa? Bayinza okugamba nti, “Sinnaba kweteekateeka.” Kyo kituufu nti okusalawo okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa, kwe kusalawo okusinga obukulu kw’oyinza okukola. N’olwekyo, osaaniddde okusooka okukirowoozaako nga tonnasalawo era kijja kukwetaagisa ebiseera n’okufuba ennyo okusobola okutuukiriza ebisaanyizo. Naye bw’oba nga ddala oyagala okubatizibwa, kiki ky’oyinza okukola kati okusobola okweteekateeka? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

a Omuyizi wa Bayibuli bw’abatizibwa, aba atuuse ku ddaala ekkulu ennyo. Kiki ekireetera omuyizi wa Bayibuli okubatizibwa? Kuba kwagala. Naye kiki ky’alina okwagala era baani b’alina okwagala? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino, era tujja kulaba engeri Omukristaayo gy’alina okutambuzaamu obulamu bwe oluvannyuma lw’okubatizibwa.