AMAKULU G’EBIMU KU EBYO EBYOGERWAKO MU BAYIBULI
Okusonyiwa Ebibi ng’Ekinunulo Tekinnaweebwayo
Abantu basonyiyibwa ebibi okuyitira mu ssaddaaka Yesu gye yasasula n’omusaayi gwe yokka. (Bef. 1:7) Kyokka Bayibuli egamba nti: “Katonda . . . yayoleka obugumiikiriza n’asonyiwa ebibi abantu bye baakola mu biseera eby’emabega,” kwe kugamba, nga Yesu tannawaayo kinunulo. (Bar. 3:25) Ekyo Yakuwa yali ayinza atya okukikola ate n’asigala ng’anyweredde ku mutindo gwe ogw’obwenkanya?
Yakuwa yasuubiza “ezzadde” eryandibadde lirokola abo abamukkiririzaamu era abakkiririza mu bisuubizo bye. (Lub. 3:15; 22:18) Bwe yasuubiza abantu “ezzadde” eryo, yalinga amaze okuwaayo ekinunulo. Yali mukakafu nti mu kiseera ekituufu, Omwana we eyazaalibwa omu yekka kyeyagalire yandiwaddeyo ekinunulo. (Bag. 4:4; Beb. 10:7-10) Yesu bwe yali ku nsi, Yakuwa yamuwa obuyinza okusonyiwa abantu ebibi nga n’ekinunulo tekinnaweebwayo. Yasonyiwa abantu abaalina okukkiriza ng’asinziira ku ssaddaaka gye yali agenda okuwaayo.—Mat. 9:2-6.