Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9

OLUYIMBA 75 “Nzuuno! Ntuma!”

Otuuse Okwewaayo eri Yakuwa?

Otuuse Okwewaayo eri Yakuwa?

“Yakuwa nnaamusasula ki olw’ebirungi byonna by’ankoledde?”ZAB. 116:12.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kisobola okukuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’oba ng’oyagala okwewaayo gy’ali era n’obatizibwa.

1-2. Kiki omuntu ky’alina okusooka okukola nga tannabatizibwa?

 EMYAKA etaano egiyise, abantu abasukka mu kakadde kamu beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Okufaananako omuyigirizwa Timoseewo eyaliwo mu kyasa ekyasooka, bangi ku abo abaabatizibwa baayigirizibwa amazima “okuva mu buwere.” (2 Tim. 3:​14, 15) Abalala baayiga ebikwata ku Yakuwa nga bakuze, era abamu nga bakaddiye. Omukyala omu eyayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa yabatizibwa ng’alina emyaka 97!

2 Bw’oba ng’oli muyizi wa Bayibuli oba nga bazadde bo Bajulirwa ba Yakuwa, olowooza ku ky’okubatizibwa? Ekyo kiruubirirwa kirungi nnyo! Naye nga tonnabatizibwa kijja kukwetaagisa okusooka okwewaayo eri Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okwewaayo eri Yakuwa. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki tosaanidde kulonzalonza kwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa bw’oba ng’otuukiriza ebisaanyizo.

KITEGEEZA KI OKWEWAAYO?

3. Waayo ebyokulabirako by’abantu abeewaayo eri Yakuwa.

3 Mu Bayibuli, okwewaayo kulina amakulu ag’okwawulibwawo olw’ekigendererwa eky’enjawulo. Abayisirayiri baali ggwanga eryewaayo eri Yakuwa. Naye abamu ku bantu kinnoomu mu ggwanga eryo baali beewaayo eri Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, Alooni yabangako ‘akabonero akatukuvu ak’okwewaayo eri Katonda,’ nga kano kaali kabaati aka zzaabu akamasamasa akaabanga ku kitambaala kye eky’oku mutwe. Akabaati ako kaali kalaga nti Alooni yali ayawuliddwawo okuweereza Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo, kwe kugamba, okuweereza nga kabona wa Isirayiri asinga obukulu. (Leev. 8:9) Abanaziri nabo baali beewaddeyo eri Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. Ekigambo “Omunaziri,” ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya nazir, kitegeeza “Oyo Ayawuliddwawo,” oba “Oyo Eyeewaayo.” Abanaziri baalina okugondera ebiragiro ebyabaweebwa, ebyali birambikiddwa obulungi mu Mateeka ga Musa.—Kubal. 6:​2-8.

4. (a) Bwe weewaayo eri Yakuwa, kigendererwa ki eky’enjawulo ky’oba nakyo? (b) Kitegeeza ki ‘okulekera awo akwetwala wekka’? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Bwe weewaayo eri Yakuwa, osalawo okubeera omuyigirizwa wa Yesu Kristo, era okukola Katonda by’ayagala okitwala nga kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwo. Ekyo kizingiramu ki? Yesu yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka.” (Mat. 16:24) Ebigambo by’Oluyonaani ebyavvuunulwa “alekere awo okwetwala yekka” era biyinza okuvvuunulwa nga “alekere awo okuba omulamu ku lulwe.” Bw’omala okwewaayo eri Yakuwa, oba olina kwewala ekintu kyonna ekikontana n’ebyo by’ayagala. (2 Kol. 5:​14, 15) Ekyo kizingiramu okwewala “ebikolwa eby’omubiri,” gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Bag. 5:​19-21; 1 Kol. 6:18) Okwewala ebikolwa ng’ebyo kinaaba kizibu nnyo gy’oli? Tekijja kuba kizibu singa oyagala Yakuwa, era ng’oli mukakafu nti amateeka ge gakuganyula. (Zab. 119:97; Is. 48:​17, 18) Ow’oluganda ayitibwa Nicholas agamba nti, “Emitindo gya Yakuwa osobola okugitwala ng’emitayimbwa gy’ekkomera egikulemesa okwetaaya, oba oyinza okugitwala ng’emitayimbwa gy’ekikomera ekirimu empologoma egiremesa empologoma okukutuusaako akabi.”

Emitindo gya Yakuwa ogitwala ng’emitayimbwa gy’ekkomera egikulemesa okwetaaya, oba ogitwala ng’emitayimbwa gy’ekikomera ekirimu empologoma egiremesa empologoma okukutuusaako akabi? (Laba akatundu 4)


5. (a) Weewaayo otya eri Yakuwa? (b) Njawulo ki eriwo wakati w’okwewaayo n’okubatizibwa? (Laba n’ekifaananyi.)

5 Weewaayo otya eri Yakuwa? Omutuukirira mu kusaba n’omusuubiza nti ojja kusinza ye yekka era nti by’ayagala by’ojja okukulembezanga mu bulamu bwo. Mu butuufu, bwe weewaayo eri Yakuwa, omusuubiza nti ojja kweyongera okumwagala “n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Mak. 12:30) Bwe weewaayo eri Yakuwa oba wekka, era ekyo kibaawo wakati wo ne Yakuwa. Kyokka okubatizibwa kwo kuba kwa mu lujjudde, era kuba kulaga abaliwo nti wamala okwewaayo eri Yakuwa. Obweyamo bw’okola nga weewaayo eri Yakuwa butukuvu era akusuubira okubutuukiriza.—Mub. 5:​4, 5.

Okwewaayo eri Yakuwa kizingiramu okumutuukirira mu kusaba n’omusuubiza nti ojja kusinza ye yekka era nti ojja kukulembeza by’ayaga mu bulamu bwo (Laba akatundu 5)


LWAKI OSAANIDDE OKWEWAAYO ERI YAKUWA?

6. Kiki ekireetera omuntu okwewaayo eri Yakuwa?

6 Ensonga esingira ddala okukuleetera okwewaayo eri Yakuwa eri nti omwagala. Okwagala okwo tekusinziira ku nneewulira yokka gy’oba nayo. Okusingira ddala kusinziira ku ‘kumanya okutuufu’ kw’oba ofunye okukwata ku Yakuwa ne ku kigendererwa kye. (Bak. 1:9) Okwesomesa Ebyawandiikibwa kikuleetedde okuba omukakafu (1) nti Yakuwa wa ddala, (2) nti Bayibuli Kigambo kye kye yaluŋŋamya, (3) era nti akozesa kibiina kye okutuukiriza ekigendererwa kye.

7. Biki bye tulina okuba nga tukola nga tetunneewaayo eri Katonda?

7 Abo abeewaayo eri Yakuwa basaanidde okuba nga bamanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era nga batambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Katonda. Babuulirako abalala ku ebyo bye bayize mu Kigambo kya Katonda ng’embeera bw’eba ebasobozesa. (Mat. 28:​19, 20) Okwagala kwe balina eri Katonda kweyongera era baba bamalirivu okusinza ye yekka. Bwe kityo bwe kiri gy’oli? Bwe kiba kityo, tojja kwewaayo eri Yakuwa era tojja kubatizibwa olw’okuba oyagala kusanyusa oyo akuyigiriza Bayibuli oba bazadde bo, oba olw’okuba mikwano gyo gyonna gyabatizibwa.

8. Okusiima kukuyamba kutya okwewaayo eri Yakuwa? (Zabbuli 116:​12-14)

8 Bw’onoofumiitiriza ku bintu byonna Yakuwa by’akukoledde, kijja kukuleetera okumusiima n’okwagala okwewaayo gy’ali. (Soma Zabbuli 116:​12-14.) Bayibuli egamba nti “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Ekirabo ekisinga byonna by’akuwadde ye ssaddaaka y’Omwana we, Yesu. Kirowoozeeko! Olw’okuba ssaddaaka eyo yaweebwayo, kati osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ate era olina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. (1 Yok. 4:​9, 10, 19) Okwewaayo eri Yakuwa ye ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okukiragamu nti osiima ekirabo ekyo eky’omuwendo kye yawaayo ku lulwo awamu n’ebintu ebirala ebirungi by’akuwadde. (Ma. 16:17; 2 Kol. 5:15) Okusiima okwo kwogerwako mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna, essomo 46 akatundu 4, okuli ne Vidiyo ey’eddakiika essatu erina omutwe, Ekirabo ky’Owa Katonda.

OTUUSE OKWEWAAYO N’OKUBATIZIBWA?

9. Lwaki omuntu tasaanidde kwegeraageranya ku balala n’alyoka yeewaayo eri Yakuwa?

9 Oyinza okuba ng’owulira nti tonnatuuka kwewaayo na kubatizibwa. Oboolyawo wakyaliwo enkyukakyuka ze weetaaga okukola okusobola okutuukana n’emitindo gya Yakuwa. Oba oyinza okuba ng’okyetaaga ekiseera okwongera okunyweza okukkiriza kwo. (Bak. 2:​6, 7) Abayizi ba Bayibuli tebakulaakulanira ku kigero kye kimu, era n’abaana tebabatirizibwa ku myaka gye gimu. Gezaako okumanya enkyukakyuka ze weetaaga okukola era ozikole, ate era teweegeraageranya na balala.—Bag. 6:​4, 5.

10. Kiki ky’osaanidde okukola singa okiraba nti tonnatuuka kwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa? (Laba n’akasanduuko, “ Eri Abaana Abakuzibwa mu Mazima.”)

10 Ne bw’okiraba nti tonnatuuka kwewaayo eri Yakuwa, sigala ng’olina ekiruubirirwa ekyo. Saba Yakuwa akuyambe ng’ofuba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Baf. 2:13; 3:16) Mazima ddala Yakuwa awulira essaala eyo era agiddamu.—1 Yok. 5:14.

ENSONGA LWAKI ABAMU BALONZALONZA OKWEWAAYO ERI YAKUWA

11. Yakuwa atuyamba atya okusigala nga tuli beesigwa gy’ali?

11 Wadde ng’abamu batuukiriza ebisaanyizo, balonzalonza okwewaayo n’okubatizibwa. Bayinza okuba nga muli bagamba nti, ‘Watya singa nkola ekibi eky’amaanyi ne ngobebwa mu kibiina?’ Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri gy’oli, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa buli kimu kye weetaaga okusobola “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso [ge] okusobola okumusanyusiza ddala.” (Bak. 1:10) Ate era ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okukola ekituufu. Yakuwa ayambye bangi okukola ekituufu. (1 Kol. 10:13) Eyo y’emu ku nsonga lwaki abantu batono nnyo abagobebwa mu kibiina. Yakuwa ayamba abantu be okusigala nga beesigwa gy’ali.

12. Tuyinza tutya okwewala okukola ekibi eky’amaanyi?

12 Abantu bonna bakemebwa okukola ebintu ebibi. (Yak. 1:14) Naye kiri gy’oli okusalawo obanga onootwalirizibwa ng’okemeddwa. Ekituufu kiri nti, kiri mu buyinza bwo okusalawo engeri gy’onootambuzaamu obulamu bwo. Osobola okufuga okwegomba okubi wadde ng’abantu abamu bagamba nti ekyo tekisoboka. Era ne bw’okemebwa osobola okusalawo obutakola kintu kikyamu. N’olwekyo, buli lunaku sabanga Yakuwa akuyambe. Beera n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa. Beerangawo mu nkuŋŋaana. Buulirangako abalala ku ebyo by’oyize. Okwemanyiiza okukola ebintu ebyo kijja kukuyamba okutuukiriza obweyamo bwo eri Yakuwa. Era bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa ajja kukuyamba okutuukiriza obweyamo obwo.—Bag. 5:16.

13. Kyakulabirako ki ekirungi Yusufu kye yatuteerawo?

13 Kijja kukubeerera kyangu okutuukiriza obweyamo bwo singa osalawo nga bukyali ekyo ky’onookola ng’okemeddwa. Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abaakola ekyo wadde nga baali tebatuukiridde. Ng’ekyokulabirako, mukyala wa Potifaali yagezaako enfunda n’enfunda okusendasenda Yusufu yeegatte naye. Naye Yusufu yali amanyi bulungi kye yali asaanidde okukola. Bayibuli egamba nti ‘yagaana.’ Era yagamba omukazi oyo nti: “Nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?” (Lub. 39:​8-10) Kya lwatu nti Yusufu yali amanyi kye yali asaanidde okukola nga n’omukazi oyo tannaba kumusendasenda yeegatte naye. Ekyo kyakifuula kyangu gy’ali okwewala okukola ekibi ng’akemeddwa.

14. Tuyinza tutya okuyiga okwewala okukola ebintu ebibi?

14 Osobola otya okuba omumalirivu okunywerera ku kituufu nga Yusufu bwe yakola? Osobola okusalawo kati ekyo ky’onookola ng’okemeddwa. Yiga okugaana mu bwangu ebintu Yakuwa by’akyawa era weewale n’okubirowoozaako. (Zab. 97:10; 119:165) Bw’onookola bw’otyo, tojja kutwalirizibwa bikemo. Ojja kuba omanyi ky’osaanidde okukola ng’okemeddwa.

15. Omuntu akiraga atya nti ‘afuba okunoonya Yakuwa’? (Abebbulaniya 11:6)

15 Oyinza okuba ng’okimanyi nti wazuula amazima era ng’oyagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna, naye nga waliwo ekikulemesa okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa. Bwe kiba kityo, osobola okukola ekyo Kabaka Dawudi kye yakola. Osobola okusaba Yakuwa nti: “Nkebera, Ai Katonda, omanye omutima gwange. Ngezesa omanye ebinneeraliikiriza. Laba obanga mu nze mulimu ekkubo ery’omutawaana, onnuŋŋamye mu kkubo ery’emirembe n’emirembe.” (Zab. 139:​23, 24) Yakuwa awa emikisa “abo abafuba okumunoonya.” Bw’ofuba okubaako ky’okolawo okutuuka ku kiruubirirwa eky’okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa, oba okiraga nti ofuba okumunoonya.—Soma Abebbulaniya 11:6.

WEEYONGERE OKUSEMBERERA YAKUWA

16-17. Yakuwa asembeza atya gy’ali abaana abakuzibwa mu mazima? (Yokaana 6:44)

16 Yesu yagamba nti abayigirizwa be Yakuwa abasembeza gy’ali. (Soma Yokaana 6:44.) Lowooza ku nkizo eyo ey’ekitalo n’engeri gy’ekukwatako. Yakuwa alina ekintu ekirungi ky’alaba mu buli muntu gw’asembeza gy’ali. Omuntu oyo amutwala ‘ng’ekintu kye ekiganzi,’ oba “ekintu kye eky’omuwendo.” (Ma. 7:6; obugambo obuli wansi) Bw’atyo naawe bw’akutwala.

17 Naye oyinza okuba ng’okyali mwana era nga bazadde bo Bajulirwa ba Yakuwa. Oyinza okuwulira nti oweereza Yakuwa olw’okuba bazadde bo nabo bamuweereza, so nti yakusembeza gy’ali. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8; 1 Byom. 28:9) Bw’obaako ky’okolawo okusemberera Yakuwa, naye akusemberera. Yakuwa akutunuulira ng’omuntu kinnoomu. Asembeza gy’ali buli muntu kinnoomu, nga mw’otwalidde abaana abakuzibwa abazadde Abajulirwa ba Yakuwa. Omuntu oyo bw’abaako ky’akolawo okusemberera Yakuwa, Yakuwa naye amusemberera nga bwe kiragiddwa mu Yakobo 4:8.—Geraageranya 2 Abassessalonika 2:13.

18. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako? (Zabbuli 40:8)

18 Bwe weewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa, oba oyoleka endowooza ng’eya Yesu. Yakkiriza kyeyagalire okukola kyonna Kitaawe kye yali amwetaagisa okukola. (Soma Zabbuli 40:8; Beb. 10:7) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ekinaakuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa oluvannyuma lw’okubatizibwa.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kitegeeza ki okwewaayo eri Yakuwa?

  • Okusiima kukuyamba kutya okwewaayo eri Yakuwa?

  • Kiki ekinaakuyamba okwewala okukola ekibi eky’amaanyi?

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi