Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

Weeyongere ‘Okugoberera’ Yesu Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

Weeyongere ‘Okugoberera’ Yesu Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

“Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka asitule omuti gwe ogw’okubonaabona buli lunaku, angobererenga.”LUK. 9:23.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino ffenna kigenda kutuyamba okufumiitiriza ku makulu g’obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa. Naye okusingira ddala kigenda kuyamba nnyo abo abaakabatizibwa basobole okusigala nga beesigwa eri Yakuwa.

1-2. Birungi ki omuntu by’afuna ng’abatiziddwa?

 TUFUNA essanyu lingi bwe tubatizibwa ne twegatta ku bantu ba Yakuwa. Tuba tufunye enkizo ey’amaanyi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Mu butuufu, tukkiriziganya n’ebigambo bino omuwandiisi wa zabbuli Dawudi bye yagamba Yakuwa: “Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembeza okubeera mu mpya zo.”—Zab. 65:4.

2 Yakuwa tamala gasembeza buli muntu mu mpya ze. Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, asalawo okusembeza abo ababa bakyolese nti baagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Yak. 4:8) Bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, omusemberera mu ngeri ey’enjawulo. Era oba osobola okuba omukakafu nti ajja ‘kukuyiira emikisa mingi nnyo gibulwe ne we gigya.’—Mal. 3:10; Yer. 17:​7, 8.

3. Buvunaanyizibwa ki obw’amaanyi abo abeewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa bwe baba nabwo? (Omubuulizi 5:​4, 5)

3 Kya lwatu nti okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Oluvannyuma lw’okubatizibwa oba olina okufuba ennyo okutuukiriza obweyamo bwe wakola nga weewaayo eri Yakuwa, k’obe ng’okemeddwa oba ng’oyolekagana n’ebizibu. (Soma Omubuulizi 5:​4, 5.) Olw’okuba oli mugoberezi wa Yesu, oba olina okufuba ennyo okukoppa ekyokulabirako kye yassaawo era n’okugondera ebiragiro bye. (Mat. 28:​19, 20; 1 Peet. 2:21) Ekitundu kino kigenda kukuyamba mu nsonga eyo.

WEEYONGERE ‘OKUGOBERERA’ YESU K’OBE NG’OKEMEDDWA OBA NG’OLINA EBIZIBU

4. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti abayigirizwa be bandyetisse ‘omuti ogw’okubonaabona’? (Lukka 9:23)

4 Oluvannyuma lw’okubatizibwa, ojja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Mu butuufu, Yesu yakyoleka bulungi nti abayigirizwa be bandibadde balina okwetikka ‘omuti ogw’okubonaabona.’ Era bandibadde bagwetikka “buli lunaku.” (Soma Lukka 9:23.) Yesu yali ategeeza nti abagoberezi be bandibadde babonaabona buli kiseera? Nedda. Yali ategeeza nti ng’oggyeeko emikisa gye bandifunye, era bandibadde boolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Era ebimu ku bizibu ebyo byandibadde bya maanyi nnyo.—2 Tim. 3:12.

5. Mikisa ki Yesu gye yasuubiza abo ababaako bye beefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa?

5 Oboolyawo watandika dda okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zo, oba olina ebintu bye weefiiriza okusobola okukulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti Yakuwa alaba era amanyi byonna by’omukoledde. (Beb. 6:10) Oyinza okuba ng’olabye okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Yesu bino: “Tewali muntu eyaleka ennyumba, baganda be, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana, oba ebibanja ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi ataliweebwa emirundi 100 mu kiseera kino—amayumba, baganda be, bannyina, bamaama, abaana, ebibanja, awamu n’okuyigganyizibwa—era n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.” (Mak. 10:​29, 30) Mu butuufu, emikisa gy’ofunye gisingira wala ekintu kyonna kye weefiiriza.—Zab. 37:4.

6. Lwaki kijja kukwetaagisa okweyongera okulwanyisa “okwegomba kw’omubiri” n’oluvannyuma lw’okubatizibwa?

6 N’oluvannyuma lw’okubatizibwa, kijja kukwetaagisa okweyongera okulwanyisa “okwegomba kw’omubiri.” (1 Yok. 2:16) Ekyo kiri kityo kubanga wasikira ekibi okuva ku Adamu. Ebiseera ebimu oyinza okuwulira ng’omutume Pawulo bwe yawulira. Yagamba nti: “Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange, naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula muddu wa tteeka lya kibi eriri mu mubiri gwange.” (Bar. 7:​22, 23) Oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba olina okulwanyisa okwegomba okubi. Naye okulowooza ku bweyamo bwe wakola nga weewaayo eri Yakuwa kijja kukuyamba okuba omumalirivu obutatwalirizibwa bikemo. Mu butuufu, obweyamo obwo bujja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ng’okemeddwa. Mu ngeri ki?

7. Okwewaayo eri Yakuwa kinaakuyamba kitya okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali?

7 Bwe weewaayo eri Yakuwa, olekera awo okwetwala wekka. Ekyo kitegeeza nti osalawo okwewala ebintu bye weegomba ebitasanyusa Yakuwa. (Mat. 16:24) N’olwekyo, bw’oyolekagana n’ebikemo oba tojja kudda awo kumala biseera nga weebuuza ky’osaanidde okukola. Ojja kuba wasalawo dda eky’okukola, kwe kugamba, okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. Ojja kuba oli mumalirivu okusanyusa Yakuwa. Mu ngeri eyo ojja kuba nga Yobu. Ne bwe yali ng’ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo, yagamba nti: “Siryeggyako bugolokofu bwange!”—Yob. 27:5.

8. Okufumiitiriza ku ssaala gye wasaba nga weewaayo eri Yakuwa kinaakuyamba kitya okusigala ng’oli mwesigwa ng’okemeddwa?

8 Okufumiitiriza ku ssaala gye wasaba nga weewaayo eri Yakuwa, kijja kukuyamba okuba omumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa ng’okemeddwa. Ng’ekyokulabirako, tojja kutandika kuzannyirira n’omuntu gw’omanyi nti mufumbo. Ojja kuba wasalawo dda obutakola kintu ng’ekyo. Ekyo kijja kukuyamba okuwona obulumi bwe wandifunye olw’okuleka okwegomba okwo okubi okukula mu mutima gwo. Mazima ddala, ojja kuba ‘weewaze’ ‘ekkubo ly’ababi.’—Nge. 4:​14, 15.

9. Okufumiitiriza ku ssaala gye wasaba nga weewaayo eri Yakuwa kiyinza kitya okukuyamba okukulembeza ebintu eby’omwoyo?

9 Watya singa oweebwa omulimu ogujja okukulemesa okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Ojja kuba omanyi bulungi eky’okukola. Dda nnyo nga tonnaweebwa na mulimu ogwo, ojja kuba wasalawo dda nti tosobola kukola mirimu ng’egyo. Tojja kusendebwasendebwa kukkiriza kukola mulimu ogwo, oluvannyuma olyoke ogezeeko okulaba engeri gy’okulembezaamu okukola Yakuwa by’ayagala. Okufumiitiriza ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo kisobola okukuyamba. Yesu yali mumalirivu okusanyusa Kitaawe. Okufaananako Yesu, ba mumalirivu okwewala mu bwangu ekintu kyonna ky’omanyi nti tekisanyusa Katonda wo gwe weewaayo okuweereza.—Mat. 4:10; Yok. 8:29.

10. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, Yakuwa anaakuyamba atya okweyongera ‘okugoberera’ Yesu?

10 Ekituufu kiri nti ebigezo n’ebikembo by’oyolekagana nabyo bikuwa akakisa okukiraga nti oli mumalirivu okweyongera ‘okugoberera’ Yesu. Bw’okola bw’otyo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba. Bayibuli egamba nti: “Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.”—1 Kol. 10:13.

ENGERI GY’OYINZA OKWEYONGERA OKUGOBERERA YESU

11. Emu ku ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okugobereramu Yesu y’eruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Yesu yali munyiikivu nnyo mu buweereza bwe era bulijjo yasabanga Yakuwa ne kimuyamba okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere naye. (Luk. 6:12) Mu butuufu, emu ku ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okweyongera okugoberera Yesu oluvannyuma lw’okubatizibwa, kwe kweyongera okukola ebintu ebinaakuyamba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.” (Baf. 3:16) Oluusi ojja kuwulira ebikwata ku bakkiriza banno abaasalawo okugaziya ku buweereza bwabwe. Oboolyawo baagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka oba baagenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingawo. Bw’oba ng’osobola okweteerawo ebiruubirirwa ng’ebyo, tolonzalonza kubyeteerawo. Abantu ba Yakuwa baagala nnyo okugaziya ku buweereza bwabwe. (Bik. 16:9) Naye watya singa mu kiseera kino tosobola kugaziya ku buweereza bwo? Tokitwala nti oli wa wansi ku abo abasobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Ekikulu kwe kweyongera okudduka embiro z’obulamu n’obugumiikiriza. (Mat. 10:22) Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa asanyuka nnyo bw’okola kyonna ky’osobola okumuweereza okusinziira ku busobozi bwo n’embeera zo. Ekyo kye kimu ku bintu ebinaakuyamba okweyongera okugoberera Yesu oluvannyuma lw’okubatizibwa.—Zab. 26:1.

Oluvannyuma lw’okubatizibwa, ssaawo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa (Laba akatundu 11)


12-13. Kiki ky’osaanidde okukola singa owulira nti otandise okuddirira mu bintu ebitali bimu? (1 Abakkolinso 9:​16, 17) (Laba n’akasanduuko “ Sigala mu Mbiro.”)

12 Kiki ky’osaanidde okukola singa okiraba nti tokyasaba Yakuwa okuviira ddala ku mutima gwo oba nga tokyanyumirwa buweereza bwo nga bwe wabunyumirwanga edda? Oba watya singa tokyanyumirwa kusoma Bayibuli nga bwe waginyumirwanga edda? Bw’ofuna enneewulira ng’ezo oluvannyuma lw’okubatizibwa, tokitwala nti tokyalina mwoyo gwa Yakuwa. Olw’okuba totuukiridde enneewulira yo esobola okukyukakyuka. Bw’owulira ng’otandise okuddirira mu ngeri emu oba endala, fumiitiriza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Wadde nga yafuba nnyo okukoppa Yesu, yali akimanyi nti ebiseera ebimu yandibadde tawulira nti ayagala nnyo okukola ekyo kye yalina okukola. (Soma 1 Abakkolinso 9:​16, 17.) Yagamba nti: “Ne bwe sikikola kyeyagalire, nnina obuwanika obwankwasibwa.” Ekyo kiraga nti Pawulo yali mumalirivu okutuukiriza obuweereza bwe k’ebe ngeri ki gye yalinga awuliramu.

13 Okufaananako Pawulo, weewale okusalawo ng’osinziira ku nneewulira yo yokka. Ba mumalirivu okukola ekituufu k’obe ng’owulira nti tewandyagadde kukikola. Bwe weeyongera okukola ekituufu, oluvannyuma lw’ekiseera enneewulira yo eyinza okukyuka. Okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kijja kukuyamba okugoberera Yesu oluvannyuma lw’okubatizibwa. Bw’oneeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, bakkiriza banno nabo bajja kuzzibwamu amaanyi.—1 Bas. 5:11.

‘MWEKEBERENGA, MWEGEZESENGA’

14. Biki by’osaanidde okwekebera buli luvannyuma lwa kiseera, era lwaki? (2 Abakkolinso 13:5)

14 Ate era okwekebera buli luvannyuma lwa kiseera kijja kukuganyula nnyo oluvannyuma lw’okubatizibwa. (Soma 2 Abakkolinso 13:5.) N’olwekyo, buli luvannyuma lwa kiseera weekeberenga olabe obanga osaba obutayosa, weesomesa Bayibuli obutayosa, obaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era obanga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Gezaako okulaba engeri gy’oyinza okweyongera okunyumirwa ebintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Nsobola okunnyonnyola abalala enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako? Waliwo kye nnyinza okukola okwongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira? Essaala zange ziviira ddala ku mutima era ziraga nti nneesigira ddala Yakuwa? Mbaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Nnyinza ntya okweyongera okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu?’

15-16. Bwe kituuka ku kukuziyiza ebikemo, kiki ky’oyigidde ku Robert?

15 Ate era kikulu okwekebera n’omanya obunafu bwo. Ow’oluganda ayitibwa Robert yalaba obukulu bw’ensonga eyo. Agamba nti: “Bwe nnali wa myaka nga 20, nnina omulimu gwe nnali nkola ogutaali gwa kiseera kyonna. Lumu oluvannyuma lw’okukola, omu ku bawala be nnali nkola nabo yampita ŋŋende ewuwe. Yaŋŋamba nti twali tugenda kubaayo ffekka era nti twali tugenda ‘kunyumirwa nnyo.’ Mu kusooka, nnina obusongasonga bwe nneekwasa, naye oluvannyuma nnamunnyonnyola ensonga lwaki nnali siyinza kugenda wuwe.” Kirungi nti Robert yeewala okugwa mu kikemo ekyo. Naye oluvannyuma bwe yafumiitiriza ku ekyo ekyaliwo yakiraba nti ensonga eyo yandibadde agikwata mu ngeri ndala. Agamba nti: “Omuwala oyo bwe yali ansendasenda, saagaanirawo buteerevu nga Yusufu bwe yakola nga muka Potifaali amusendasenda. (Lub. 39:​7-9) Mu butuufu, nneewuunya nnyo okuba nti tekyannyanguyira kugaana kugenda wuwe. Ekyo kyannyamba okukiraba nti nnali nneetaaga okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa.”

16 Okufaananako Robert naawe oyinza okuganyulwa ennyo singa weekebera. Ne bw’oba ng’osobodde okwewala okugwa mu kikemo ekimu, weebuuze, ‘Kintwalidde bbanga ki okwewala ekikemo ekyo?’ Bw’olaba nti weetaaga okulongoosaamu, teweesalira musango. Ba musanyufu nti kati otegedde obunafu bwo. Saba Yakuwa omutegeeze ku bunafu obwo era okole ebintu ebinaakuyamba okuba omumalirivu okumugondera.—Zab. 139:​23, 24.

17. Robert okusigala nga mwesigwa, kyakwata kitya ku linnya lya Yakuwa?

17 Waliwo ekirala kye tuyinza okuyigira ku Robert. Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okugaana okugenda ew’omuwala nga bwe yali ansabye, yaŋŋamba nti, ‘Oyise ekigezo!’ Bwe nnamubuuza kye yali ategeeza yaŋŋamba nti omu ku mikwano gye edda eyali Omujulirwa wa Yakuwa yamugamba nti abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa bonna batambulira mu bulamu bwa mirundi ebiri. Era nti bwe bafuna akakisa bekkiriranya ne bakola ebintu ebibi mu nkukutu. N’olwekyo, yali agambye mukwano gwe oyo nti yali agenda kungezesa alabe oba ng’ekyo kye yamugamba kyali kituufu. Ekyo bwe yakiŋŋamba nnawulira essanyu lingi nnyo okuba nti nnali mpeesezza erinnya lya Yakuwa ekitiibwa.”

18. Kiki ky’omaliridde okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa? (Laba n’akasanduuko “ Ebitundu Bibiri by’Ojja Okunyumirwa.”)

18 Bwe weewaayo eri Yakuwa n’obatizibwa okiraga nti oyagala okutukuza erinnya lye ka kibe ki ekibaawo. Era osobola okuba omukakafu nti Yakuwa amanyi bulungi ebigezo by’oyolekagana nabyo n’ebikemo by’ofuba okuziyiza. Yakuwa ajja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali. Ba mukakafu nti ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali. (Luk. 11:​11-13) Yakuwa ajja kukuyamba okusigala ng’ogoberera Yesu oluvannyuma lw’okubatizibwa.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Mu ngeri ki Abakristaayo gye beetikka ‘omuti ogw’okubonaabona buli lunaku’?

  • Kiki ky’oyinza okukola okusobola okweyongera ‘okugoberera’ Yesu oluvannyuma lw’okubatizibwa?

  • Okufumiitiriza ku ssaala gy’osaba nga weewaayo eri Yakuwa kikuyamba kitya okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali?

OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa