Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 11

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

Weeyongere Okuweereza Yakuwa Wadde nga Waliwo Ebikumalamu Amaanyi

Weeyongere Okuweereza Yakuwa Wadde nga Waliwo Ebikumalamu Amaanyi

“Ogumidde ebintu bingi ku lw’erinnya lyange era tokooye.”KUB. 2:3.

EKIGENDERERWA

Tusobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga twolekagana n’ebintu ebimalamu amaanyi.

1. Egimu ku mikisa gye tufuna olw’okuba tuli mu kibiina kya Yakuwa gye giruwa?

 TWESIIMYE okuba nti tuli mu kibiina kya Yakuwa mu nnaku zino enzibu ennyo. Wadde ng’embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka, Yakuwa atuwadde baganda baffe ne bannyinaffe abasobola okutuyamba. (Zab. 133:1) Atuyamba okufuna essanyu mu maka. (Bef. 5:33–6:1) Ate era atuwa amagezi ge twetaaga okusobola okuba n’emirembe egya nnamaddala.

2. Kiki kye tusaanidde okukola, era lwaki?

2 Naye kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Lwaki? Kubanga oluusi bakkiriza bannaffe bakola oba boogera ebintu ebitulumya. Ate era tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’ensobi ze tukola naddala singa ensobi ezo tuzikola enfunda n’enfunda. Kitwetaagisa okufuba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa (1) singa mukkiriza munnaffe akola oba ayogera ekintu ekitunyiiza, (2) singa munnaffe mu bufumbo akola ekintu ekitumalamu amaanyi, (3) era singa tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’ensobi zaffe. Mu kitundu kino, tugenda kulaba buli emu ku mbeera ezo. Ate era tugenda kulaba ekyo kye tuyinza okuyigira ku bamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli.

WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA NGA MUKKIRIZA MUNNO AKOZE EBIKUNYIIZA

3. Kusoomooza ki abantu ba Yakuwa kwe boolekagana nakwo?

3 Okusoomooza. Abamu ku bakkiriza bannaffe balina engeri ezitunyiiza. Abalala bayinza okukola ekintu ekitumalamu amaanyi oba bayinza okutuyisa mu ngeri etali ya kisa. Abo abatwala obukulembeze mu kibiina bayinza okukola ensobi. Ekyo kiyinza okuleetera abamu okutandika okubuusabuusa obanga ddala kino kibiina kya Katonda. Mu kifo ky’okweyongera okuweereza Katonda ‘nga bali bumu’ ne bakkiriza bannaabwe, bayinza okulekera awo okukolagana n’abo ababa babanyiizizza oba okugenda mu nkuŋŋaana. (Zef. 3:9) Naye ekyo kiba kya magezi? Ka tulabe ekyo kye tuyinza okuyigira ku muntu omu ayogerwako mu Bayibuli eyayolekagana n’okusoomooza ng’okwo.

4. Kusoomooza ki omutume Pawulo kwe yayolekagana nakwo?

4 Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli. Omutume Pawulo yali akimanyi nti bakkiriza banne baali tebatuukiridde. Ng’ekyokulabirako, bwe yali yaakafuuka Omukristaayo, bakkiriza banne baali bamwekengera. (Bik. 9:26) Ate oluvannyuma, abamu baamwogerako bubi okwonoona erinnya lye. (2 Kol. 10:10) Ate era yalaba omu ku b’oluganda abaalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ng’asalawo mu ngeri etaali ya magezi eyali eyinza okuviirako abalala okwesittala. (Bag. 2:​11, 12) Ate era Makko, omu ku abo be yakolanga nabo, yakola ekintu ekitaamusanyusa. (Bik. 15:​37, 38) Pawulo yali asobola okwekwasa emu ku mbeera ezo n’alekera awo okukolagana n’abo abaakola ebintu ebimulumya. Kyokka yasigala alina endowooza ennungi ku bakkiriza banne era yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kiki ekyayamba Pawulo okweyongera okuweereza n’obwesigwa?

5. Kiki ekyayamba Pawulo okusigala ng’akolagana ne bakkiriza banne? (Abakkolosaayi 3:​13, 14) (Laba n’ekifaananyi.)

5 Pawulo yali ayagala nnyo bakkiriza banne. Okwagala kwe yalina gye bali, kwamuyamba okussa ebirowoozo bye ku ngeri zaabwe ennungi, mu kifo ky’okubissa ku butali butuukirivu bwabwe. Okwagala era kwamuyamba okukola ekyo kye yawandiika mu Abakkolosaayi 3:​13, 14. (Soma.) Weetegereze engeri gye yayisaamu Makko. Pawulo bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka, Makko yamuleka ku lugendo olwo n’addayo ewaabwe. Wadde kyali kityo, Pawulo teyamusibira kiruyi. Oluvannyuma Pawulo bwe yawandiikira ab’omu kibiina ky’e Kkolosaayi ebbaluwa, yayogera bulungi ku Makko era n’agamba nti y’omu ku baali ‘bamuzzizzaamu ennyo amaanyi.’ (Bak. 4:​10, 11) Pawulo bwe yali mu kkomera e Rooma, yatumya Makko agende gy’ali amuyambeko. (2 Tim. 4:11) Kyeyoleka lwatu nti Pawulo yasonyiwanga bakkiriza banne era yasigala akolagana nabo bulungi. Kiki kye tuyinza okumuyigirako?

Pawulo ne Balunabba baafuna obutakkaanya nga buva ku Makko. Naye Pawulo teyasiba kiruyi era oluvannyuma yakolera wamu ne Makko (Laba akatundu 5)


6-7. Tuyinza tutya okweyongera okulaga bakkiriza bannaffe okwagala wadde nga tebatuukiridde? (1 Yokaana 4:7)

6 Kye tuyiga. Yakuwa ayagala tweyongere okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. (Soma 1 Yokaana 4:7.) Singa abamu bakola ekintu ekitunyiiza, tusaanidde okukitwala nti baagala okukolera ku misingi gya Bayibuli era nti ekyo kye bakoze tebakigenderedde. (Nge. 12:18) Katonda ayagala nnyo abaweereza be abeesigwa wadde ng’oluusi bakola ensobi. Tatwabulira nga tukoze ensobi era tatusibira kiruyi. (Zab. 103:9) Tusiima nnyo okuba nti Yakuwa atusonyiwa era naffe tusaanidde okumukoppa nga tusonyiwa abalala!—Bef. 4:32–5:1.

7 Ate era tusaanidde okukijjukira nti ng’enkomerero egenda esembera, kikulu okuba nga tukolagana bulungi ne bakkiriza bannaffe. Tusuubira okweyongera okuyigganyizibwa. Tuyinza n’okwesanga nga tusibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwaffe. Ekyo bwe kinaabaawo, tujja kuba twetaaga nnyo obuyambi bwa bakkiriza bannaffe. (Nge. 17:17) Lowooza ku w’Oluganda Josep, a aweereza ng’omukadde mu Sipeyini. Ye awamu n’ab’oluganda abalala baasibibwa wamu olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Agamba nti: “Olw’okuba mu kkomera twali tubeera wamu, kyalinga kyangu bulimu okukola ebintu ebinyiiza munne. Twalina okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga. Ekyo kyatuyamba okusigala nga tuli bumu era nga tulina obukuumi. Twali twetooloddwa basibe bannaffe abaali bataweereza Yakuwa. Lumu nnamenyeka omukono ne mba nga sisobola kwekolera bintu ebimu. Naye omu ku bakkiriza bannange yayozanga engoye zange era yannyambanga ne mu bintu ebirala. Nnalagibwa okwagala okwa nnamaddala we nnali nkwetaagira ennyo.” Mazima ddala kikulu nnyo okuba nga tugonjoola obutakkaanya bwonna bwe tuba tulina ne bakkiriza bannaffe kati!

WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA NGA MUNNO MU BUFUMBO AKOZE EBIKUMALAMU AMAANYI

8. Kusoomooza ki abafumbo kwe boolekagana nakwo?

8 Okusoomooza. Obufumbo bwonna bubaamu ebizibu. Bayibuli ekyoleka kaati nti abafumbo baba ‘n’okubonaabona mu mibiri gyabwe.’ (1 Kol. 7:28) Lwaki? Kubanga abafumbo bombi baba tebatuukiridde, baba n’engeri za njawulo, era bye baagala ne bye bataagala biba byawukana. Bayinza okuba nga baakulira mu mbeera za njawulo oba obuwangwa bwa njawulo. Ate era oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, bannaabwe bayinza okwoleka engeri ezitali nnungi ze bataalaba nga tebannafumbiriganwa. Ekimu ku ebyo kiyinza okuleetawo obuzibu mu bufumbo. Mu kifo kya buli omu okukkiriza ensobi ye era n’afuba okulaba ng’agigonjoola, ayinza okutandika okunenya munne. Abafumbo bayinza n’okutandika okulowooza nti okwawukana oba okugattululwa kye kinaagonjoola ebizibu. Naye ekyo kye kiyinza okugonjoola ebizibu? b Ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku muntu omu ayogerwako mu Bayibuli eyeeyongera okuweereza Yakuwa wadde nga munne mu bufumbo yali muzibu nnyo.

9. Kusoomooza ki Abbigayiri kwe yayolekagana nakwo?

9 Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli. Abbigayiri yali yafumbirwa Nabbali, Bayibuli gw’egamba nti yali musajja mukambwe nnyo era nga yeeyisa bubi nnyo. (1 Sam. 25:3) Abbigayiri kiteekwa okuba nga tekyamubeerera kyangu kubeera na musajja ng’oyo. Abbigayiri yafuna akakisa okuwona obufumbo ng’obwo? Yakafuna Dawudi eyali agenda okufuga Isirayiri mu biseera eby’omu maaso bwe yajja okutta bbaawe olw’okumuvuma awamu n’abasajja be. (1 Sam. 25:​9-13) Abbigayiri yandibadde adduka n’aleka Dawudi okutuukiriza ekyo kye yali ateeseteese okukola. Mu kifo ky’ekyo, Abbigayiri yabaako ky’akolawo n’awooyawooya Dawudi obutatta Nabbali. (1 Sam. 25:​23-27) Kiki ekiyinza okuba nga kye kyamuleetera okukola ekyo?

10. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Abbigayiri okunywerera mu bufumbo obwalimu ebizibu?

10 Abbigayiri yali ayagala nnyo Yakuwa era yali assa ekitiibwa mu mitindo gye egikwata ku bufumbo. Kya lwatu nti ateekwa okuba yali amanyi ekyo Yakuwa kye yagamba Adamu ne Kaawa bwe yatandikawo obufumbo obwasooka. (Lub. 2:24) Abbigayiri yali akimanyi nti Yakuwa obufumbo abutwala nga butukuvu. Yali ayagala okusanyusa Yakuwa era ekyo kiteekwa okuba nga kye kyamuleetera okubaako ky’akolawo mu bwangu okutaasa ab’omu nnyumba ye, nga mwe mwali n’omwami we. Yawooyawooya Dawudi n’atatta Nabbali. Ate era yali mwetegefu okwetonda olw’ensobi gy’ataakola. Kya lwatu, Yakuwa yali ayagala nnyo omukyala ono eyali omuvumu era ateefaako yekka. Kiki abafumbo kye bayinza okuyigira ku Abbigayiri?

11. (a) Kiki Yakuwa ky’asuubira mu bafumbo? (Abeefeso 5:33) (b) Kiki ky’oyigidde ku ekyo Carmen kye yakola okunywerera mu bufumbo bwe? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Kye tuyiga. Yakuwa ayagala abafumbo banywerere mu bufumbo bwabwe wadde nga munnaabwe mu bufumbo si muntu mwangu wa kubeera naye. Era asanyuka nnyo bw’alaba abafumbo nga bakolera wamu okugonjoola ebizibu era nga buli omu alaga munne okwagala era ng’amussaamu ekitiibwa. (Soma Abeefeso 5:33.) Lowooza ku mwannyinaffe Carmen. Nga wayise emyaka mukaaga ng’amaze okufumbirwa, Carmen yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era oluvannyuma n’abatizibwa. Agamba nti: “Ekyo omwami wange tekyamusanyusa. Yawulira bubi nnyo olw’okuba nnali nfuuse omuweereza wa Yakuwa. Yanvumanga era yaŋŋambanga nti agenda kundekawo.” Wadde kyali kityo, Carmen yanywerera mu bufumbo bwe. Okumala emyaka 50, yafuba nnyo okulaga omwami we okwagala era n’okumussaamu ekitiibwa. Agamba nti: “Emyaka bwe gyagenda giyitawo, nneeyongera okuba omwegendereza era n’okwogera n’omwami wange mu ngeri ey’amagezi. Olw’okuba nkimanyi nti obufumbo butukuvu mu maaso ga Yakuwa, nnakola kyonna kye nsobola okubunywereramu. Olw’okuba njagala nnyo Yakuwa, saagezaako kubuddukamu.” c Bw’ofuna ebizibu mu bufumbo bwo, osobola okwesiga Yakuwa nti ajja kukuyamba okugumiikiriza.

Olina ky’oyigira ku Abbigayiri eyakola kyonna kye yali asobola okutaasa ab’omu nnyumba ye? (Laba akatundu 11)


WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA NG’OYOLEKAGANYE N’EBINTU EBIKUMALAMU AMAANYI

12. Kusoomooza ki kwe tuyinza okwolekagana nakwo nga tukoze ekibi eky’amaanyi?

12 Okusoomooza. Bwe tukola ekibi eky’amaanyi tuyinza okuwulira nga tuweddemu nnyo amaanyi. Bayibuli ekiraga nti ebibi bye tukola biyinza okutuleetera ‘okumenyeka omutima.’ (Zab. 51:17) Ow’oluganda ayitibwa Robert yali amaze emyaka mingi ng’afuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okufuuka omuweereza mu kibiina. Kyokka lumu yakola ekibi eky’amaanyi ennyo ekyamuleetera okukiraba nti yali anyiizizza Yakuwa. Agamba nti: “Bwe nnalowooza ku kye nnali nkoze, omuntu wange ow’omunda yannumiriza nnyo era nnawulira bubi nnyo. Nnakaaba nnyo era ne nsaba Yakuwa. Nnalowoozanga nti Yakuwa yali tajja kuddamu kumpuliriza olw’okuba nnali nkoze ekintu ekibi ennyo.” Bwe tukola ekibi eky’amaanyi tuyinza okuwulira nga twagala okulekayo okuweereza Yakuwa olw’okuba omutima gwaffe gutuleetera okulowooza nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa. (Zab. 38:4) Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, lowooza ku muntu omu ayogerwako mu Bayibuli eyeeyongera okuweereza Yakuwa wadde nga yakola ekibi eky’amaanyi.

13. Kibi ki eky’amaanyi omutume Peetero kye yakola, era biki ebyamuviirako okukola ekibi ekyo?

13 Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli. Mu kiro ekyasembayo nga Yesu agenda okuttibwa, omutume Peetero yakola ensobi ezitali zimu ezaamuviirako okukola ekibi eky’amaanyi. Mu kusooka, yeekakasa ekisukkiridde, bwe yeewaana nti ye yali agenda kusigala nga mwesigwa banne ne bwe bandyabulidde Yesu. (Mak. 14:​27-29) Ate bwe baali mu nnimiro y’e Gesusemane, enfunda n’enfunda Peetero yalemererwa okusigala ng’atunula. (Mak. 14:​32, 37-41) Ate era yayabulira Yesu ng’ekibinja ky’abantu kimulumbye. (Mak. 14:50) Oluvannyuma, yeegaana Yesu emirundi esatu era n’alayira n’okulayira. (Mak. 14:​66-71) Peetero yawulira atya bwe yakitegeera nti yali akoze ekibi eky’amaanyi? Yakaaba nnyo, oboolyawo olw’omuntu we ow’omunda okumulumiriza. (Mak. 14:72) Lowooza ku bulumi Peetero bwe yawulira nga mukwano gwe Yesu asaliddwa ogw’okufa. Ateekwa okuba yawulira nti talina mugaso!

14. Kiki ekyayamba Peetero okweyongera okuweereza Yakuwa? (Laba ku ddiba.)

14 Waliwo ensonga eziwerako ezaaviirako Peetero okweyongera okuweereza Yakuwa. Mu kifo ky’okweyawula ku balala, yagenda eri baganda be ab’eby’omwoyo era bateekwa okuba nga baamubudaabuda. (Luk. 24:33) Ate era, Yesu bwe yazuukira yamulabikira, kirabika okumuzzaamu amaanyi. (Luk. 24:34; 1 Kol. 15:5) Ate era, mu kifo kya Yesu okumunenya olw’ensobi ze yali akoze, yamwongera obuvunaanyizibwa obulala. (Yok. 21:​15-17) Peetero yali akimanyi nti yali akoze ekibi eky’amaanyi naye yeeyongera okufuba okukola ekituufu. Lwaki? Kubanga yali mukakafu nti Mukama we, Yesu, yali akyamwagala. Ate ne bakkiriza banne beeyongera okumuwagira. Kiki kye tumuyigirako?

Yokaana 21:​15-17 walaga nti Yesu yeeyongera okwagala Peetero era ekyo kyayamba Peetero okweyongera okuweereza Yakuwa (Laba akatundu 14)


15. Yakuwa ayagala tube bakakafu ku ki? (Zabbuli 86:5; Abaruumi 8:​38, 39) (Laba n’ekifaananyi.)

15 Kye tuyiga. Yakuwa ayagala tube bakakafu nti atwagala nnyo era nti mwetegefu okutusonyiwa. (Soma Zabbuli 86:5; Abaruumi 8:​38, 39.) Bwe tukola ekibi eky’amaanyi omutima gutulumiriza. Ekyo kya bulijjo era si kikyamu. Naye tetusaanidde kulowooza nti tetusobola kwagalibwa oba okusonyiyibwa. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okusaba mangu obuyambi. Robert, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnakola ekibi eky’amaanyi olw’okuba nneesigama ku busobozi bwange okuziyiza ebikemo.” Yakiraba nti yalina okwogerako n’abakadde. Agamba nti: “Bwe nnayogerako nabo, bannyamba okukiraba nti Yakuwa akyanjagala. Ate era nnakiraba nti nabo banjagala. Bannyamba okuba omukakafu nti Yakuwa yali tanjabulidde.” Naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo, era nti mwetegefu okutusonyiwa singa twenenya ebibi bye tuba tukoze ne tunoonya obuyambi era ne tutaddamu kukola bibi ebyo. (1 Yok. 1:​8, 9) Bwe tukola bwe tutyo, tetujja kulekera awo kuweereza Yakuwa nga tukoze ekibi eky’amaanyi.

Owulira otya ng’abakadde bagezaako okukuyamba? (Laba akatundu 15)


16. Lwaki omaliridde okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa?

16 Yakuwa asiima nnyo bw’alaba nga tufuba okumuweereza mu nnaku zino ez’enkomerero enzibu ennyo. Olw’okuba atuyamba, tusobola okweyongera okumuweereza wadde nga twolekagana n’ebintu ebimalamu amaanyi. Tusobola okweyongera okwagala bakkiriza bannaffe era n’okubasonyiwa bwe baba nga bakoze ebintu ebitunyiiza. Tusobola okukiraga nti twagala nnyo Katonda era nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo nga tukola kyonna kye tusobola okugonjoola ebizibu ebiba bizzeewo. Bwe tukola ekibi, tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba, n’okuba abakakafu nti atwagala era nti mwetegefu okutusonyiwa era ne tweyongera okumuweereza n’obwesigwa. Tusobola okuba abakakafu nti tujja kufuna emikisa mingi ‘bwe tutalekera awo kukola birungi.’—Bag. 6:9.

TUYINZA TUTYA OKWEYONGERA OKUWEEREZA YAKUWA . . .

  • nga bakkiriza bannaffe bakoze ebintu ebitunyiiza?

  • nga munnaffe mu bufumbo akoze ebintu ebitumalamu amaanyi?

  • nga tukoze ekintu ekitumalamu amaanyi?

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Ekigambo kya Katonda tekisemba bafumbo kwawukana era kiraga nti bwe baawukana tebaba na ddembe kuwasa oba kufumbirwa muntu mulala. Naye, waliwo embeera ezimu ezijjawo ezireetera Abakristaayo abamu okwawukana ne bannaabwe mu bufumbo. Laba Ebyongerezeddwako 4 “Abafumbo Okwawukana” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!