Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?

Yakuwa Akusiima?

Yakuwa Akusiima?

“Nkusanyukira.”LUK. 3:22.

EKIGENDERERWA

Okumanya engeri gye tuyinza okuba abakakafu nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.

1. Kiki abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa kye bayinza okwebuuza?

 KIZZAAMU nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima abantu be ng’ekibiina! Bayibuli egamba nti: “Yakuwa asanyukira abantu be.” (Zab. 149:4) Kyokka ebiseera ebimu abamu baggwaamu nnyo amaanyi ne batuuka n’okwebuuza nti, ‘Ddala nsiimibwa mu maaso ga Yakuwa?’ Bayibuli eyogera ku baweereza ba Yakuwa bangi ebiseera ebimu abaakisanga nga kizibu okukkiriza nti baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa.—1 Sam. 1:​6-10; Yob. 29:​2, 4; Zab. 51:11.

2. Baani abasiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

2 Bayibuli ekyoleka bulungi nti wadde ng’abantu tebatuukiridde, basobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu ngeri ki? Tulina okukkiririza mu Yesu Kristo era ne tubatizibwa. (Yok. 3:16) Bwe tukola bwe tutyo tuba tukyoleka mu lujjudde nti twenenya ebibi byaffe era nti twasuubiza Katonda nti tujja kukolanga by’ayagala. (Bik. 2:38; 3:19) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola ebintu ebyo okusobola okuba mikwano gye. Bwe tufuba okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, Yakuwa atusiima era atutwala nga mikwano gye.—Zab. 25:14.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Naye lwaki abamu ebiseera ebimu balowooza nti tebasiimibwa mu maaso ga Katonda? Yakuwa akyoleka atya nti asiima abaweereza be? Era Omukristaayo ayinza atya okweyongera okuba omukakafu nti asiimibwa mu maaso ga Katonda?

ENSONGA LWAKI ABAMU BAYINZA OKULOWOOZA NTI TEBASIIMIBWA MU MAASO GA YAKUWA

4-5. Wadde ng’oluusi tuwulira nti tetuli ba mugaso, tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

4 Okuviira ddala mu buto, bangi ku ffe tubadde n’ekizibu eky’okuwulira nti tetuli ba mugaso. (Zab. 88:15) Ow’oluganda ayitibwa Adrián agamba nti: “Bulijjo mbaddenga mpulira nti siri wa mugaso. Nzijukira bwe nnali omuto, nnasabiranga ab’awaka Yakuwa abayambe basobole okutuuka mu nsi empya, wadde nga nze nnali mpulira nti sisobola kubeerayo.” Tony, ataakulira mu mazima, agamba nti: “Bazadde bange tebaŋŋambangako nti banjagala oba nti banneenyumiririzaamu. Ekyo kyandeetera okuwulira nti nnali sirina kye nnyinza kukola kubasanyusa.”

5 Oluusi bwe tuwulira nti tetuli ba mugaso, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yatusembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Alina ebirungi by’atulabamu ffe bye tuyinza okuba nga tetwerabamu, era amanyi ekiri mu mitima gyaffe. (1 Sam. 16:7; 2 Byom. 6:30) N’olwekyo, bw’agamba nti tuli ba muwendo gy’ali tusaanidde okumwesiga.—1 Yok. 3:​19, 20.

6. Omutume Pawulo yawuliranga atya olw’ebibi bye yakola mu biseera eby’emabega?

6 Abamu ku ffe bwe twali tetunnayiga mazima, twakolanga ebintu ebiyinza okuba nga kati bituleetera okulumirizibwa omutima. (1 Peet. 4:3) Abakristaayo abeesigwa nabo baba n’obunafu bwe balwanyisa. Omutima gwo gukulumiriza? Bwe kiba kityo, kijjukire nti toli wekka. Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa abaayolekagana n’enneewulira eyo. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yawuliranga bubi nnyo bwe yafumiitirizanga ku butali butuukirivu bwe. (Bar. 7:24) Kya lwatu nti Pawulo yali yeenenya ebibi bye era nga yabatizibwa. Wadde kiri kityo, bwe yali yeeyogerako yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume.” Ate era yagamba nti “Mu boonoonyi . . . nze nsingayo.”—1 Kol. 15:9; 1 Tim. 1:15.

7. Bwe kituuka ku bibi bye twakola emabega, kiki kye tusaanidde okujjukira?

7 Kitaffe ow’omu ggulu atusuubiza nti bwe twenenya mu bwesimbu, mwetegefu okutusonyiwa. (Zab. 86:5) N’olwekyo, bwe tuba nga twenenya mu bwesimbu ebibi bye twakola, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa yatusonyiwa.—Bak. 2:13.

8-9. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ky’okulowooza nti ebyo bye tukola tebisanyusa Yakuwa?

8 Ffenna twagala okukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa. Kyokka abamu abalowooza nti tebasobola kukola kimala okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Mwannyinaffe Amanda agamba nti: “Ntera okulowooza nti okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi kitegeeza nti buli kiseera nnina okukola ekisingawo. N’olwekyo, emirundi mingi ngezaako okukola ekisukka ku ekyo kye nsobola. Bwe nnemererwa mba ndowooza nti Yakuwa tasiima bye nkola.”

9 Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ky’okulowooza nti bye tukola tebisobola kusanyusa Yakuwa? Kijjukire nti Yakuwa si mukakanyavu. Tatusuubira kukola kye tutasobola. Asiima nnyo byonna bye tukola okumuweereza kasita tuba nga tubikola n’omutima gwaffe gwonna. Ate era tusaanidde okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Lowooza ku mutume Pawulo. Yaweereza n’obunyiikivu okumala emyaka mingi ng’atambula mayiro nkumi na nkumi era yatandikawo ebibiina bingi. Naye embeera bwe yali temusobozesa kubuulira nga bwe yabuuliranga edda, Yakuwa yali takyamusiima? Nedda. Pawulo yeeyongera okukola kyonna kye yali asobola mu buweereza bwe era Yakuwa yamuwa emikisa mingi. (Bik. 28:​30, 31) Mu ngeri y’emu, ebyo bye tusobola okukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa oluusi bikyuka. Naye Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu ye nsonga lwaki tuba tukola ebintu ebyo. Kati ka tulabe engeri Yakuwa gy’akyolekamu nti atusiima.

YAKUWA AKYOLEKA ATYA NTI ATUSIIMA?

10. Tuyinza tutya “okuwulira” Yakuwa ng’atugamba nti atusiima? (Yokaana 16:27)

10 Okuyitira mu Bayibuli. Yakuwa ayagala nnyo okukiraga nti asiima abo b’ayagala. Bayibuli eyogera ku mirundi ebiri Yakuwa lwe yagamba Yesu nti yali amwagala nnyo era nti yali amusiima. (Mat. 3:17; 17:5) Wandyagadde okuwulira Yakuwa ng’akugamba nti akusiima? Yakuwa tayogera naffe butereevu, wabula ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Bwe tusoma ebigambo ebyoleka okwagala Yesu bye yagamba abayigirizwa be, tuba ng’abawulira Yakuwa ng’atugamba ebigambo ebyo. (Soma Yokaana 16:27.) Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Bwe tusoma ku bigambo Yesu bye yayogera ng’asiima abagoberezi be abaali batatuukiridde, tusobola okukuba akafaananyi nga Yakuwa y’alinga atugamba ebigambo ebyo.—Yok. 15:​9, 15.

Waliwo engeri nnyingi Yakuwa gy’akyolekamu nti atusiima (Laba akatundu 10)


11. Lwaki bwe twolekagana n’ebizibu tekitegeeza nti Yakuwa takyatusiima? (Yakobo 1:12)

11 Okuyitira mu by’akola. Yakuwa ayagala nnyo okutuyamba, gamba ng’atuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri. Kyokka oluusi Yakuwa ayinza okutuleka okwolekagana n’ebizibu nga bwe kyali eri Yobu, omusajja eyali omutuukirivu. (Yob. 1:​8-11) Bwe tufuna ebizibu kiba tekitegeeza nti Yakuwa takyatusiima. Mu kifo ky’ekyo, ebizibu bituwa akakisa okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa era nti tumwesiga. (Soma Yakobo 1:12.) Era bwe tuba twolekagana n’ebizibu, tukiraba nti Yakuwa atwagala nnyo era atuyamba okugumiikiriza.

12. Kiki kye tuyigira ku Dmitrii?

12 Lowooza ku w’Oluganda Dmitrii abeera mu Asiya. Yafiirwa omulimu gwe era n’amala ekiseera kiwanvu nga takola. Bwe kityo yasalawo okwongera okugaziya ku buweereza bwe n’akyoleka nti yali yeesiga Yakuwa. Waayitawo emyezi egiwera naye ng’omulimu gukyamubuze. Oluvannyuma yalwala n’atuuka okuba nga takyasobola kuva wansi. Yatandika okulowooza nti yali takyali taata mulungi oba omwami omulungi, ate era yatandika n’okwebuuza obanga ddala Yakuwa yali akyamusiima. Naye lumu akawungeezi muwala we yamuleetera olupapula olwaliko ebigambo ebiri mu Isaaya 30:15 awagamba nti: “Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.” Omuwala oyo yamugamba nti, “Taata, bw’owulira nga wennyamidde, jjukira ekyawandiikibwa kino.” Ekyo kyayamba Dmitrii okukiraba nti Yakuwa yali ayamba ab’omu maka ge, kubanga baalina emmere emala, eby’okwambala, n’aw’okubeera. Agamba nti, “Ekintu kyokka kye nnali nneetaaga okukola kwe kusigala nga ndi mukkakkamu n’okweyongera okwesiga Katonda wange.” Bw’oba ng’oyolekagana n’ekizibu ng’ekyo osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako era nti ajja kukuyamba okugumiikiriza.

Waliwo engeri nnyingi Yakuwa gy’akyolekamu nti atusiima (Laba akatundu 12) a


13. Baani Yakuwa b’ayinza okukozesa okukyoleka nti atusiima, era ekyo akikola atya?

13 Okuyitira mu bakkiriza bannaffe. Yakuwa akozesa bakkiriza bannaffe okukyoleka nti atusiima. Ng’ekyokulabirako, ayinza okukozesa abalala okwogera ebigambo ebizzaamu amaanyi mu kiseera ekituufu. Ekyo mwannyinaffe omu abeera mu Asiya yakiraba bwe yali ng’ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Yafiirwa omulimu gwe ate era n’alwala nnyo. Ate era omwami we yakola ekibi eky’amaanyi n’aggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omukadde. Agamba nti: “Nnali sitegeera nsonga lwaki bino byonna byali bintuuseeko. Nnalowooza nti oboolyawo waliwo ekibi kye nnakola era nga sikyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa.” Mwannyinaffe oyo yasaba Yakuwa amuyambe okuba omukakafu nti yali akyasiimibwa mu maaso ge. Yakuwa yaddamu atya essaala eyo? Agamba nti, “Abakadde mu kibiina baayogerako nange era ne bankakasa nti Yakuwa yali akyanjagala.” Mwannyinaffe oyo era yeeyongera okusaba Yakuwa okumuyamba. Agamba nti: “Ku lunaku olwo lwe lumu nnafuna ebbaluwa okuba eri bakkiriza bannange mu kibiina. Bwe nnali nsoma ebigambo bye baawandiika ebyali bibudaabuda, muli nnawulira nti Yakuwa yali azzeemu essaala yange.” Mu butuufu, emirundi mingi Yakuwa akyoleka nti atusiima okuyitira mu bigambo eby’ekisa bakkiriza bannaffe bye batugamba.—Zab. 10:17.

Waliwo engeri nnyingi Yakuwa gy’akyolekamu nti atusiima (Laba akatundu 13) b


14. Mu ngeri ki endala Yakuwa gy’akyolekamu nti atusiima?

14 Yakuwa era akyoleka nti atusiima ng’akozesa bakkiriza bannaffe okutuwabula mu kiseera ekituufu. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yakozesa omutume Pawulo okuwandiikira bakkiriza banne ebbaluwa 14. Mu bbaluwa ezo, Pawulo yawabula bakkiriza banne, naye ng’ekyo akikola mu ngeri ey’okwagala. Lwaki Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwabula bakkiriza banne? Yakuwa Taata mulungi era akangavvula abaana be ‘abamusanyusa.’ (Nge. 3:​11, 12) N’olwekyo, abalala bwe batuwabula nga bakozesa ebyawandiikibwa, tusaanidde okukitwala ng’obukakafu obulaga nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Beb. 12:6) Biki ebirala ebiraga nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

EBIRALA EBIRAGA NTI YAKUWA ATUSIIMA

15. Baani Yakuwa b’awa omwoyo gwe omutukuvu, era ekyo kituyamba kuba bakakafu ku ki?

15 Yakuwa awa omwoyo gwe omutukuvu abo b’asiima. (Mat. 12:18) Tusobola okwebuuza, ‘Nsobodde okwoleka ezimu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo mu bulamu bwange?’ Okirabye nti weeyongedde okugumiikiriza abalala okusinga bwe kyali nga tonnatandika kumanya ebikwata ku Yakuwa? Mu butuufu, gy’okoma okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda, gy’okoma okuba omukakafu nti osiimibwa mu maaso ge!—Laba akasanduuko “ Ebiri mu Kibala Eky’Omwoyo Omutukuvu . . .

Oyinza otya okulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa akusiima? (Laba akatundu 15)


16. Baani Yakuwa b’akozesa okubuulira amawulire amalungi, era ekyo kikuleetera kuwulira otya? (1 Abassessalonika 2:4)

16 Abo Yakuwa b’asiima abawa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. (Soma 1 Abassessalonika 2:4.) Weetegereze engeri mwannyinaffe Jocelyn gye yaganyulwa mu kubuulira abalala amawulire amalungi. Lumu yazuukuka nga mwennyamivu. Agamba nti: “Saalina maanyi era nnawulira nga sirina mugaso. Naye nnali mpeereza nga payoniya era ku olwo nnalina okugenda okubuulira. Bwe kityo, nnasaba Yakuwa ne ŋŋenda okubuulira.” Ku olwo ku makya Jocelyn yasisinkana omukyala ow’ekisa eyali ayitibwa Mary, era yakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. Nga wayise emyezi Mary yagamba nti Jocelyn we yakonkonera ku luggi lwe yali yaakamala okusaba Yakuwa amuyambe. Ekyo Jocelyn yakiyigirako ki? Agamba nti: “Nnawulira nga Yakuwa eyali aŋŋamba nti, ‘Nkusiima.’” Kya lwatu nti abamu ku bantu be tubuulira tebawuliriza bubaka bwaffe. Naye tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola kyonna kye tusobola okubuulira abalala amawulire amalungi.

Oyinza otya okulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa akusiima? (Laba akatundu 16) c


17. Kiki ky’oyigidde ku ebyo mwannyinaffe vicky bye yayogera ku kinunulo? (Zabbuli 5:12)

17 Abo Yakuwa b’asiima baganyulwa mu ssaddaaka y’Omwana we. (1 Tim. 2:​5, 6) Naye watya singa omutima gwaffe gukyatulumiriza nti Yakuwa tatusiima, wadde nga tukkiririza mu ssaddaaka y’Omwana we era nga twabatizibwa? Tusaanidde okukijjukira nti oluusi omutima gwaffe gusobola okutulimba, naye Yakuwa tasobola kutulimba. Abo abakkiririza mu ssaddaaka y’Omwana we abatwala okuba abatuukirivu mu maaso ge era asuubiza okubawa emikisa. (Soma Zabbuli 5:12; Bar. 3:26) Okufumiitiriza ku kinunulo kyayamba mwannyinaffe Vicky. Lumu, oluvannyuma lw’okufumiitiriza ennyo ku kinunulo yagamba nti: “Yakuwa aŋŋuumiikirizza nnyo okumala ekiseera kiwanvu. . . . Naye nze mbadde ng’amugamba nti: ‘Okwagala kwo si kwa maanyi kimala era tekusobola kuntuukako. Ssaddaaka y’Omwana wo tesobola kubikka ku bibi byange.’” Bwe yafumiitiriza ku kinunulo yatandika okukiraba nti Yakuwa amwagala nnyo. Naffe bwe tufumiitiriza ku ssaddaaka ya Yesu kijja kutuyamba okukiraba nti Yakuwa atwagala nnyo era nti atusiima.

Oyinza otya okulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa akusiima? (Laba akatundu 17)


18. Bwe tweyongera okwagala kitaffe ow’omu ggulu tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

18 Wadde nga tuyinza okufuba okukolera ku bintu ebyogeddwako mu kitundu kino, oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi era ne twebuuza obanga ddala tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Ekyo bwe kibaawo, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa asiima “abo abeeyongera okumwagala.” (Yak. 1:12) N’olwekyo, weeyongere okusemberera Yakuwa n’okwetegereza ebintu ebiraga nti akusiima. Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa “tali wala wa buli omu ku ffe.”—Bik. 17:27.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki abamu bayinza okuwulira nti tebasiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

  • Yakuwa akyoleka atya nti atusiima?

  • Lwaki tusobola okuba abakakafu nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa?

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

a b EKIFAANANYI: Ebifaananyi ebimu ebintu bye byogerako byazannyibwa buzannyibwa

c EKIFAANANYI: Ebifaananyi ebimu ebintu bye byogerako byazannyibwa buzannyibwa

EKIFAANANYI: Ebifaananyi ebimu ebintu bye byogerako byazannyibwa buzannyibwa