Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Etterekero Lyaffe

“Abo Abakwasiddwa Omulimu”

“Abo Abakwasiddwa Omulimu”

OLUVANNYUMA lw’embuyaga okukunta n’enkuba okutonnya okumala ennaku eziwerako, olunaku lwa Bbalaza Ssebutemba 1, 1919, lwali lwa kasana. Ku olwo mu ttuntu abantu nga 1,000 baakuŋŋaanira mu kizimbe ekituuza abantu nga 2,500 nga bazze ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point, Ohio, Amerika. We bwatuukira olweggulo abantu abalala nga 2,000 baali batuuse nga bajjidde mu maato, mu mmotoka, ne mu ggaali z’omukka. Enkeera ku Lwokubiri abantu baali beeyongedde nnyo ne kiba nti ennaku ez’olukuŋŋaana olwo ezaali zisigaddeyo, olukuŋŋaana olwo baalufunira wabweru mu miti.

Ekitangaala ekyali kiyita mu miti kyaleetera ekkooti z’ab’oluganda okulabika ng’ezaalimu ebibomboola. Empewo eyali ekunta okuva ku Nnyanja Erie yali ewujja ebyoya bannyinaffe bye baali batadde ku nkofiira zaabwe okuzirabisa obulungi. Ow’oluganda omu agamba nti: “Ekifo ekyo mwe twatula kyali walako okuva mu kibuga nga kisirifu era nga kirabika bulungi nnyo.”

Bonna abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baali basanyufu nnyo. Olupapula lw’amawulire olumu lwaboogerako bwe luti: “Bonna balabika nga beemalidde ku Katonda kyokka ate nga basanyufu nnyo.” Okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe kyaleetera Abayizi ba Bayibuli essanyu lingi nnyo, kubanga baali baakayita mu kiseera eky’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo, omwali: entalo, enjawukana mu kibiina, okuggalwawo kwa Beseri y’omu Brooklyn, okusibibwa kw’ab’oluganda abatali bamu nga muno mwe mwali n’abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina abaali basaliddwa ekibonerezo eky’okusibibwa emyaka 20. *

Mu myaka egyo egyali emizibu ennyo, ab’oluganda abamu baasoberwa nnyo era ne baggwaamu amaanyi ne batuuka n’okulekera awo okubuulira. Naye abasinga obungi, wadde nga baali bayigganyizibwa, beeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Omukungu wa gavumenti omu yagamba nti Abayizi ba Bayibuli bonna be yalagira okulekera awo okubuulira baamuddamu nti bajja “kweyongera okubuulira ekigambo kya Katonda okutuukira ddala ku nkomerero.”

Mu kiseera ekyo kyonna eky’okugezesebwa, Abayizi ba Bayibuli baafuba ‘okunoonya obulagirizi bwa Mukama waabwe era ne banyiikirira okusaba Kitaabwe abawe obulagirizi.’ Kati bonna baali bazzeemu okubeerako awamu ku lukuŋŋaana luno olunene olwali mu Cedar Point. Okufaananako ab’oluganda abalala bangi, mwannyinaffe omu yali yeebuuza engeri gye bandisobodde “okuddamu okubuulira n’obunyiikivu era mu ngeri entegeke obulungi.” Abayizi ba Bayibuli baali baagala nnyo okukola omulimu gw’okubuulira.

“GA”—EKY’OKUKOZESA EKIPYA!

Okuviira ddala ku ntandikwa y’olukuŋŋaana, bonna abaali bazze baali beebuuza amakulu g’ennukuta “GA” ezaali ku bupapula bwa programu, ku bupapula obuyita abantu, ne ku bipande ebyali bitimbiddwa wonna okwetooloola ekifo awaali olukuŋŋaana. Ku Lwokutaano, Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yayamba abantu 6,000 abaaliwo okutegeera amakulu g’ennukuta ezo. Ennukuta “GA” zaali zikiikirira magazini empya eyali eyitibwa The Golden Age, eyali egenda okukozesebwa mu mulimu gw’okubuulira. *

Ng’ayogera ku Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta, Ow’oluganda Rutherford yagamba nti: “Wadde ng’ebiseera bye tulimu bizibu, bakozesa amaaso gaabwe ag’okukkiriza ne balaba ebiseera ebirungi ennyo era eby’essanyu (Golden Age) eby’obufuzi bwa Masiya. . . . Bakitwala nti buvunaanyizibwa bwabwe era nti nkizo ya maanyi okutegeeza abantu mu nsi yonna nti ebiseera ebirungi (Golden Age) bijja. Ekyo kye kimu ku bizingirwa mu mulimu Katonda gwe yabakwasa.”

Magazini ya Golden Age, “eyogera ebintu eby’amazima, ebiwa abantu essuubi, era ebikakafu,” yali ya kukozesebwa mu nkola empya ey’okubunyisa amazima, kwe kugamba, ababuulizi okugenda nnyumba ku nnyumba nga banoonya abantu abaagala okufuna magazini eyo buli mwezi. Bwe baabuuzibwa baani abaagala okwenyigira mu mulimu ogwo, bonna abaaliwo baasituka ne bayimirira. Ow’oluganda J. M. Norris yagamba nti: ‘N’ebbugumu eringi ennyo baayimba oluyimba olugamba nti, “Sindika ekitangaala kyo n’amazima go Ai Mukama.”’ Agattako nti: “Baayimbira waggulu nnyo n’emiti ne giba ng’egyeenyeenya.”

Oluvannyuma lw’ekitundu ekyo, abaaliwo ku lukuŋŋaana baasimba ennyiriri okumala essaawa eziwerako nga beewandiisa okuba abamu ku abo abandibadde bafuna magazini ezo buli mwezi. Bangi ku bo baali bawulira nga Mabel Philbrick, eyagamba nti: “Kyatusanyusa nnyo okulaba nti twali tuzzeemu okufuna omulimu ogw’okukola!”

“ABO ABAKWASIDDWA OMULIMU”

Abayizi ba Bayibuli nga 7,000 baali beetegefu okutandika okukola omulimu ogwo. Akapapula Organization Method n’akatabo To Whom the Work Is Entrusted (Abo Abakwasiddwa Omulimu) bwalimu obulagirizi obukwata ku ngeri y’okukolamu omulimu ogwo: Ekitongole ekipya eky’Obuweereza kyateekebwawo ku kitebe kyaffe ekikulu okulabirira omulimu gw’okubuulira. Akakiiko k’Obuweereza kaalina okuteekebwawo mu buli kibiina era dayirekita yalina okulondebwa okutuusa obulagirizi ku banne. Ebitundu ebibuulirwamu byalina okugabanyizibwamu ebitundu ebirala, nga buli kitundu kirimu ennyumba eziri wakati wa 150 ne 200. Buli Lwakuna akawungeezi waalina okubaawo Olukuŋŋaana lw’Obuweereza, era mu lukuŋŋaana olwo ab’oluganda baali ba kwogera ku birungi ebyali bivudde mu mulimu gw’okubuulira era n’okuwaayo lipoota.

Herman Philbrick yagamba nti: “Bwe twaddayo eka, ffenna twatandikirawo okukola omulimu ogwo n’obunyiikivu.” Kumpi buli wamu abantu baali bawuliriza. Beulah Covey yagamba nti: “Kirabika oluvannyuma lw’okuyita mu lutalo era n’ennaku ennyingi gye baalaba, abantu baali baagala okuwulira ebikwata ku biseera ebirungi ebijja mu maaso.” Arthur Claus yagamba nti: “Ababuulizi bonna beewuunya nnyo olw’abantu abangi ennyo abaasaba okuweebwanga magazini eyo.” Nga waakayita emyezi ebiri gyokka bukya magazini ya The Golden Age etandika okufulumizibwa, kopi nga 500,000 ze zaali zimaze okugabibwa era abantu 50,000 baali basabye okuweebwanga magazini eyo.

Ng’ayogera ku kitundu ekyalina omutwe “Enjiri y’Obwakabaka,” ekyafulumira mu Watch Tower eya Jjulaayi 1, 1920, Ow’oluganda A. H. Macmillan yagamba nti: “Kino kye kitundu ekibiina kye kyasooka okuwandiika nga kikubiriza ab’oluganda ne bannyinaffe mu nsi yonna okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda.” Ekitundu ekyo kyakubiriza Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna “okutegeeza ensi nti Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” Leero baganda ba Kristo abaakwasibwa omulimu ogwo beegatiddwako bannaabwe ababuulira ekigambo n’obunyiikivu nga bwe balindirira Obwakabaka bwa Masiya obujja okuleeta embeera ennungi ku nsi.

^ lup. 5 Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, sul. 6, “Ekiseera eky’Okugezesebwa (1914-1918).”

^ lup. 9 Mu 1937, magazini ya The Golden Age yatuumibwa Consolation, ate mu 1946 n’etuumibwa Awake!