Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mugende Mufuule Abantu b’Omu Mawanga Gonna Abayigirizwa”

“Mugende Mufuule Abantu b’Omu Mawanga Gonna Abayigirizwa”

“Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza . . . , nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.”​—MAT. 28:19, 20.

ENNYIMBA: 141, 97

1, 2. Bwe tulowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:14, bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?

KA KIBE nti abantu bakkiriza obubaka bwaffe oba nga batuyigganya, bangi bakikkiriza nti Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. Oyinza okuba ng’olina n’abantu b’omanyi mu kitundu kyammwe abatakkiriza bubaka bwaffe naye ate nga batussaamu ekitiibwa olw’omulimu gwe tukola. Yesu yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Naye tumanya tutya nti omulimu gwe tukola gutuukiriza obunnabbi obwo Yesu bwe yayogera? Ddala kiba kituufu okugamba nti ffe abakola omulimu ogwo?

2 Amadiini mangi gagamba nti gabuulira Enjiri, oba amawulire amalungi. Kyokka emirundi mingi amadiini ago gakoma ku kuleeta bantu kuwa bujulizi, oba ku kubuulira ku katuuti, oba ku kuweereza programu ku mikutu gy’empuliziganya. Ate amalala geemalidde ku kugaba buyambi oba okutumbula eby’obujjanjabi n’eby’enjigiriza. Naye mu kukola ebintu ebyo baba batuukiriza omulimu Yesu gwe yalagira abayigirizwa be okukola?

3. Okusinziira ku Matayo 28:19, 20 bintu ki ebina abagoberezi ba Yesu bye balina okukola?

3 Abayigirizwa ba Yesu baalina kubeera bubeezi awo nga balindirira abantu okujja gye bali? Nedda! Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yayogera n’abayigirizwa be abawerako n’abagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza . . . , nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, waliwo ebintu bina abagoberezi ba Yesu bye balina okukola. Balina okufuula abantu abayigirizwa, balina okubabatiza, era balina okubayigiriza. Naye kintu ki kye balina okusooka okukola? Yesu yagamba nti: “Mugende”! Ng’ayogera ku kiragiro ekyo, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: ‘Buli mugoberezi wa Yesu alina okukolera ku kiragiro ekyo, ka kibe nga kitegeeza kugenda mu bitundu eby’okumpi oba eby’ewala.’​—Mat. 10:7; Luk. 10:3.

4. Yesu okugamba nti abayigirizwa be bandibadde ‘bavubi b’abantu’ kiraga ki?

4 Yesu yali alaga nti omulimu ogwo buli omu ku bagoberezi be yandibadde agukola ku lulwe oba yali alaga nti bandibadde bagukolera wamu mu ngeri entegeke obulungi? Okuva bwe kiri nti omuntu omu tasobola kugenda mu “mawanga gonna,” Yesu yali alaga nti omulimu gw’okubuulira gwandikoleddwa abantu bangi abategekeddwa obulungi. Yesu era yagamba nti abayigirizwa be bandibadde ‘bavubi b’abantu.’ (Soma Matayo 4:18-22.) Okuvuba Yesu kwe yali ayogerako si kwekwo okukolebwa omuntu omu asuula eddobo mu nnyanja n’atuula butuuzi awo ng’alindirira eddobo eryo likwase ekyennyanja. Mu kifo ky’ekyo, yali ayogera ku kuvuba okw’okukozesa akatimba, omulimu ogutali mwangu era ogwetaagisa abantu abawerako okukolera awamu.​—Luk. 5:1-11.

5. Bibuuzo ki ebina ebyetaaga okuddibwamu, era lwaki?

5 Okusobola okumanya baani ababuulira amawulire amalungi leero nga Yesu bwe yagamba, twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebina:

  • Bubaka ki obulina okubuulirwa?

  • Kigendererwa ki kye tulina okuba nakyo nga tukola omulimu gw’okubuulira?

  • Nkola ki ze tulina okukozesa?

  • Omulimu gw’okubuulira gulina kukolebwa ku kigero ki era kumala bbanga ki?

Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okumanya baani abakola omulimu gw’okubuulira nga Yesu bwe yagamba era kijja kutuyamba okuba abamalirivu okweyongera okugukola.​—1 Tim. 4:16.

BUBAKA KI OBULINA OKUBUULIRWA?

6. Kiki ekikukakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa be babuulira obubaka obusaanidde okubuulirwa?

6 Soma Lukka 4:43. Yesu yabuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka,” era ayagala abayigirizwa be bakole kye kimu. Baani ababuulira amawulire ago mu “mawanga gonna”? Ekyo kyeraga bwerazi nti be Bajulirwa ba Yakuwa. Ekyo n’abantu abataagala Bajulirwa ba Yakuwa bakikkiriza. Ng’ekyokulabirako, lumu omukulembeze w’eddiini omu omuminsani yagamba Omujulirwa wa Yakuwa omu nti yali abaddeko mu nsi ezitali zimu era nti yabuuza Abajulirwa ba Yakuwa abatali bamu mu nsi ezo zonna nti: ‘Bubaka ki bwe mubuulira?’ Kiki kye baamuddamu? Omukulembeze w’eddiini oyo yagamba nti: “Bonna baali basiru nnyo, kubanga banzirangamu ekintu kye kimu nti: ‘Amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’” Naye ekituufu kiri nti, Abajulirwa ba Yakuwa abo tebaali basiru, wabula ekyo kye baamuddamu kyalaga nti bali bumu, ng’Abakristaayo ab’amazima bwe balina okubeera. (1 Kol. 1:10) Ekyo kye baamuddamu kituukana bulungi n’obubaka obukulu obuli mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Magazini eno kati efulumira mu nnimi 254 era kopi za magazini eyo ng’obukadde 59 ze zikubibwa buli lukuba. Eno ye magazini esinga okukubibwa n’okusaasaanyizibwa mu nsi yonna.

7. Kiki ekiraga nti abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu tebabuulira bubaka bulina kubuulirwa?

7 Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu, tebabuulira bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Abamu ku bo ababwogerako bagamba nti Obwakabaka bwa Katonda buli mu mitima gy’abantu. (Luk. 17:21) Tebayamba bantu kumanya nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ey’omu ggulu, nti Yesu Kristo ye Kabaka waabwo, nti bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu abantu bye balina, era nti mangu ddala bujja kumalawo ebintu byonna ebibi ebiri mu nsi. (Kub. 19:11-21) Mu kifo ky’ekyo, Yesu bamujjukira ku Ssekukkulu ne ku Ppaasika. Kirabika tebamanyidde ddala ebyo Yesu by’ajja okukola ng’afuga ensi nga Kabaka. Okuva bwe kiri nti abakulembeze b’amadiini abo tebabuulira bubaka busaanidde kubuulirwa, tekitwewuunyisa nti tebamanyi na kigendererwa abagoberezi ba Yesu kye bandibadde nakyo nga bakola omulimu gw’okubuulira.

KIGENDERERWA KI KYE TULINA OKUBA NAKYO?

8. Kigendererwa ki ekikyamu kye tutasaanidde kuba nakyo nga tukola omulimu gw’okubuulira?

8 Kigendererwa ki kye tulina okuba nakyo nga tukola omulimu gw’okubuulira? Tetusaanidde kuba na kigendererwa kya kufuna ssente tusobole okuzimba ebizimbe gaggadde. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Mat. 10:8) Ekigambo kya Katonda tekirina kutundibwa. (2 Kol. 2:17) Abo ababuulira tebalina kukola mulimu ogwo lwa kwagala kubaako kye beefunira. (Soma Ebikolwa 20:33-35.) Wadde ng’obulagirizi obwo butegeerekeka bulungi, amakanisa agasinga obungi geemalidde ku kusolooza ssente mu bantu oba okukola ebintu ebisobola okugayimirizaawo mu by’ensimbi. Balina okusasula abakulembeze baago awamu n’abantu abalala abakola ebintu ebitali bimu mu makanisa ago. Abakulembeze b’eddiini za Kristendomu abasinga obungi bafunye eby’obugagga bingi.​—Kub. 17:4, 5.

9. Abajulirwa ba Yakuwa bakiraze batya nti balina ekigendererwa ekirungi nga bakola omulimu gw’okubuulira?

9 Kiki ekimanyiddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe kituuka ku kukuŋŋaanya ssente? Ssente ze bakozesa mu mulimu gwabwe ziweebwayo kyeyagalire. (2 Kol. 9:7) Tebasolooza ssente mu Bizimbe byabwe eby’Obwakabaka oba ku nkuŋŋaana zaabwe ennene. Wadde kiri kityo, omwaka ogwayita, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa ng’obuwumbi bubiri nga bakola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, era okutwalira awamu buli mwezi baayigiriza Bayibuli abantu abasukka mu bukadde mwenda ku bwereere. Ng’oggyeko okuba nti tebasasulwa olw’omulimu gwe bakola, ssente zonna ze bakozesa nga bakola omulimu ogwo be bazeesasulira. Ng’ayogera ku mulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola, omusajja omu yagamba nti: “Ekigendererwa kyabwe ekikulu kya kubuulira na kuyigiriza. . . . Tebalina bakulembeze basasulwa, era ekyo kibayamba obutasaasaanya ssente nnyingi.” Kati olwo lwaki tukola omulimu gw’okubuulira? Omulimu guno tugukola kyeyagalire olw’okuba twagala Yakuwa ne bantu bannaffe. Okuba nti tukola omulimu gw’okubuulira awatali kuwalirizibwa, kituukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 110:3. (Soma.)

NKOLA KI EZIRINA OKUKOZESEBWA?

Tubuulira buli wamu we tusobola okusanga abantu (Laba akatundu 10)

10. Yesu n’abayigirizwa be baakola batya omulimu gw’okubuulira?

10 Yesu n’abayigirizwa be baakola batya omulimu gw’okubuulira? Baagendanga eri abantu yonna gye baali basobola okubasanga, mu bifo ebya lukale ne mu maka gaabwe. Ate era baabuuliranga nnyumba ku nnyumba nga banoonya abantu abaagala okuyiga amazima. (Mat. 10:11; Luk. 8:1; Bik. 5:42; 20:20) Enkola ey’okubuulira nnyumba ku nnyumba yabasobozesa okutuuka ku bantu aba buli ngeri.

11, 12. Kiki kye tuyinza okwogera ku ngeri amadiini ga Kristendomu n’Abajulirwa ba Yakuwa gye bakozeemu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?

11 Amadiini ga Kristendomu gagoberedde enkola Yesu n’abayigirizwa be gye baakozesa? Abagoberezi b’amadiini ago omulimu gw’okubuulira bagulekera bakulembeze baabwe bokka abasasulwa ssente. Kyokka mu kifo ky’abakulembeze b’amadiini ago okubeera “abavubi b’abantu,” kye basinga okufaako kwe kukuuma “ebyennyanja” ebiri mu makanisa gaabwe. Kyo kituufu nti oluusi abakulembeze b’amadiini abamu bagezaako okukubiriza abantu baabwe okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka gwa 2001, Ppaapa Yowaana Pawulo II yagamba bw’ati mu bbaluwa emu gye yawandiika: “Emyaka bwe gizze giyitawo, nzize nkubiriza abantu okwenyigira mu nkola empya ey’okubuulira enjiri. Kati nziramu okubakubiriza . . . Tulina okukulaakulanya omwoyo omutume Pawulo gwe yayoleka, bwe yagamba nti: ‘Zinsanze bwe sibuulira bantu Njiri.’” Ppaapa yagattako nti omulimu ogwo “tegusaanidde kulekerwa bakulembeze bokka, naye abantu ba Katonda bonna balina okugukola.” Naye ddala abantu bameka abaanukudde omulanga ogwo?

12 Ate bo Abajulirwa ba Yakuwa? Be bokka ababuulira abantu nti Yesu yatandika okufuga nga Kabaka mu 1914. Nga Yesu bwe yalagira, omulimu gw’okubuulira bagutwala nga mukulu nnyo. (Mak. 13:10) Ekitabo ekiyitibwa Pillars of Faith—American Congregations and Their Partners kigamba nti: “Ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bw’Abajulirwa ba Yakuwa, gwe mulimu gw’okubuulira.” Ng’ayogera ku ebyo Omujulirwa wa Yakuwa omu bye yayogera, omuwandiisi w’ekitabo ekyo era yagamba nti: “Bwe basanga abantu abalumwa enjala, abali mu kiwuubaalo, oba abalwadde, bafuba okubayamba, . . . naye tebeerabira nti omulimu gwabwe omukulu kwe kubuulira abantu nti enkomerero eneetera okutuuka era n’okubategeeza kye basaanidde okukola okusobola okulokolebwa.” Abajulirwa ba Yakuwa babuulira obubaka obwo nga bagoberera enkola y’emu Yesu n’abayigirizwa be gye baakozesanga nga babuulira.

OMULIMU GW’OKUBUULIRA GULINA KUKOLEBWA KU KIGERO KI ERA KUMALA BBANGA KI?

13. Omulimu gw’okubuulira gulina kukolebwa ku kigero ki?

13 Yesu yalaga ekigero omulimu gw’okubuulira kye gwandituuseeko bwe yagamba nti amawulire amalungi gandibadde gabuulirwa “mu nsi yonna.” (Mat. 24:14) Abantu abandifuuse abayigirizwa ba Yesu bandibadde bava mu “mawanga gonna.” (Mat. 28:19, 20) Ekyo kitegeeza nti omulimu gw’okubuulira gwandibadde gukolebwa mu nsi yonna.

14, 15. Kiki ekikakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa batuukirizza obunnabbi bwa Yesu obukwata ku kubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna? (Laba ebifaananyi ku lupapula 8.)

14 Okusobola okutegeera engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye batuukirizzaamu obunnabbi bwa Yesu obukwata ku kubuulira amawulire amalungi ku kiragiro eky’ensi yonna, ka tulowooze ku bino. Mu Amerika mulimu abakulembeze b’amadiini agatali gamu nga 600,000 ate ng’Abajulirwa ba Yakuwa abali mu nsi eyo bali nga 1,200,000. Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatoliki mu nsi yonna bali nga 400,000. Omuwendo ogwo gugeraageranye n’omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Abajulirwa ba Yakuwa ng’obukadde munaana babuulira amawulire amalungi mu nsi 240. Mu butuufu, omulimu gwe bakola munene nnyo era guweesa Yakuwa ettendo n’ekitiibwa!​—Zab. 34:1; 51:15.

15 Abajulirwa ba Yakuwa tukola kyonna ekisoboka okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka ng’enkomerero tennajja. Eyo ye nsonga lwaki tuvvuunula era tukuba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ku kigero ekitageraageranyizika. Ebitabo, magazini, tulakiti, n’obupapula obuyita abantu ku nkuŋŋaana ennene ne ku Kijjukizo bukadde na bukadde bikubibwa ne biweebwa abantu ku bwereere. Tukubye ebitabo ebitali bimu mu nnimi ezisukka mu 700. Kopi ezisukka mu bukadde 200 eza Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya zikubiddwa mu nnimi ezisukka mu 130. Mu mwaka ogwayita gwokka, twakuba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ng’obuwumbi buna n’ekitundu. Kati omukutu gwaffe ogwa Intaneeti guliko ennimi ezisukka mu 750. Ddiini ki endala gy’omanyi ekola omulimu gw’okubuulira ku kigero ekyo?

16. Kiki ekiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa balina omwoyo gwa Katonda?

16 Omulimu gw’okubuulira gulina kukolebwa kumala bbanga ki? Yesu yagamba nti omulimu guno gwandibadde gukolebwa ne mu kiseera kyonna eky’ennaku ez’enkomerero okutuusa ‘enkomerero lwe yandizze.’ Ng’oggyeeko Abajulirwa ba Yakuwa, ddiini ki endala eyeeyongedde okubuulira amawulire amalungi mu nnaku zino ez’enkomerero? Abamu ku bantu be tusanga nga tubuulira bayinza okutugamba: “Ffe tulina omwoyo omutukuvu, naye mmwe mukola omulimu gw’okubuulira.” Naye eky’okuba nti tukola omulimu guno awatali kuddirira si bukakafu obulaga nti tulina omwoyo gwa Katonda? (Bik. 1:8; 1 Peet. 4:14) Oluusi n’oluusi abantu b’omu madiini amalala nabo bagezaako okukola ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bakola, naye babuulirako katono ne babivaako. Abalala bakola omulimu gwe bayita ogw’obuminsani, naye bagumalamu ebbanga ttono ne baddayo mu byabwe. Abalala bagezaako okubuulira nnyumba ku nnyumba, naye bubaka ki bwe babuulira? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kiraga nti tebakola mulimu Yesu gwe yatandika.

DDALA BAANI ABABUULIRA AMAWULIRE AMALUNGI LEERO?

17, 18. (a) Lwaki tuli bakakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa be babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka leero? (b) Lwaki tusobodde okweyongera okubuulira?

17 Kati olwo baani ababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Tewali kubuusabuusa nti be Bajulirwa ba Yakuwa! Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga ffe tubuulira obubaka obulina okubuulirwa, kwe kugamba, amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Ate era olw’okuba tugenda eri abantu, kiraga nti ffe abakozesa enkola entuufu ey’okubuulira. Omulimu gw’okubuulira tugukola nga tulina ekigendererwa ekirungi. Tubuulira, si lwa kwenoonyeza ssente, wabula olw’okuba twagala Katonda n’abantu. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira tugukola ku kigero ekikyasingiddeyo ddala, kubanga tubuulira abantu mu mawanga gonna aboogera ennimi zonna. Era tujja kweyongera okukola omulimu gw’okubuulira awatali kuddirira okutuusa enkomerero lw’enejja.

18 Kituleetera essanyu lingi bwe tulowooza ku ngeri abantu ba Katonda gye bakolamu omulimu gw’okubuulira mu nnaku zino ez’enkomerero. Naye kiki ekisobozesezza abantu ba Katonda okukola omulimu ogwo? Eky’okuddamu kisangibwa mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abafiripi. Yagamba nti: “Katonda y’abawa amaanyi okukola ebimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” (Baf. 2:13) Ka ffenna tweyongere okusaba Yakuwa atuwe amaanyi tweyongera okubuulira n’obunyiikivu tusobole okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe.​—2 Tim. 4:5.