Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka—Muziyize Omulyolyomi

Abavubuka—Muziyize Omulyolyomi

“Mwambale eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda musobole okuba abanywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi.”​—BEF. 6:11.

ENNYIMBA: 79, 140

1, 2. (a) Lwaki abavubuka Abakristaayo basobodde okulwanyisa ebitonde eby’omwoyo ebibi ne babiwangula? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okwetegereza?

OMUTUME Pawulo yageraageranya Abakristaayo ku basirikale. Tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo, era abalabe baffe ba ddala. Tulwanyisa Sitaani ne badayimooni, abalwanyi abalina obumanyirivu. Mu ndaba ey’obuntu, tetusobola kuwangula balabe abo. Okusingira ddala abavubuka balabika ng’abatasobola kuwangula balabe abo. Ddala abavubuka basobola okulwanyisa ebitonde ebyo eby’omwoyo eby’amaanyi ne babiwangula? Yee, basobola okubiwangula era babiwangula! Lwaki kiri kityo? Kubanga ‘beeyongera okufuna amaanyi mu Mukama waffe.’ Ate era beetegekedde olutalo. Okufaananako omusirikale omutendeke, bambadde “eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda.”​—Soma Abeefeso 6:10-12.

2 Ng’ayogera ku by’okulwanyisa Abakristaayo bye balina okwambala, Pawulo ayinza okuba nga yalowooza ku by’okulwanyisa omusirikale Omuruumi bye yayambalanga. (Bik. 28:16) Tugenda kulaba ensonga lwaki ekyokulabirako ekyo kituukirawo. Nga twekenneenya ekyokulabirako ekyo, weetegereze ebyo abavubuka abamu bye boogera ku kusoomooza n’emiganyulo egiri mu kwambala buli kimu ku by’okulwanyisa ebyo eby’omwoyo.

Oyambadde Eby’Okulwanyisa Byonna?

“OLUKOBA OLW’AMAZIMA”

3, 4. Amazima agali mu Bayibuli gafaananako gatya olukoba lw’omusirikale Omuruumi?

3 Soma Abeefeso 6:14. Olukoba omusirikale Omuruumi lwe yeesibanga lwabangako obubaati obwakuumanga ekiwato kye. Ate era lwawaniriranga ekyambalo eky’omu kifuba ekyabanga kizitowa. Enkoba ezimu zaabangako obuuma obugumu omusirikale kwe yateekanga ekitala kye n’ekyambe. Omusirikale bwe yeesibanga olukoba lwe n’alunyweza bulungi, yayingiranga mu lutalo nga mugumu.

4 Mu ngeri y’emu, amazima ge tuyiga mu Kigambo kya Katonda gatukuuma mu by’omwoyo ne tutakosebwa njigiriza za bulimba. (Yok. 8:31, 32; 1 Yok. 4:1) Era gye tukoma okwagala amazima agava eri Katonda gye kikoma okutubeerera ekyangu okusitula “eky’omu kifuba,” kwe kugamba, okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Zab. 111:7, 8; 1 Yok. 5:3) Ate era bwe tuba nga tutegeera bulungi amazima agali mu Kigambo kya Katonda, tuba tusobola bulungi okugalwanirira nga waliwo abagawakanya.​—1 Peet. 3:15.

5. Lwaki tulina okwogera amazima?

5 Bwe twesiba amazima ga Bayibuli ne tuganyweza ng’olukoba, tujja kukolera ku mazima ago era tujja kwogera amazima ekiseera kyonna. Lwaki twewala okulimba? Kubanga okulimba kye kimu ku by’okulwanyisa Sitaani by’asinga okukozesa okukwasa abantu. Obulimba bukosa oyo abwogera n’abo ababukkiriza. (Yok. 8:44) N’olwekyo, wadde nga tetutuukiridde, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okwewala okulimba. (Bef. 4:25) Naye ekyo oluusi tekiba kyangu. Abigail, alina emyaka 18, agamba nti: “Oluusi kiyinza okulabika ng’ekitali kya magezi okwogera amazima, naddala singa okulimba kusobola okukuggya mu buzibu.” Wadde kiri kityo, lwaki bulijjo Abigail afuba okwogera amazima? Agamba nti: “Bwe njogera amazima, mba n’omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Yakuwa. Ate era kireetera bazadde bange ne mikwano gyange okunneesiga.” Victoria, alina emyaka 23, agamba nti: “Bw’oyogera amazima era n’onywerera ku nzikiriza zo, abalala bayinza okukujerega. Naye ebivaamu biba birungi nnyo: Oggwamu okutya, weeyongera okusemberera Yakuwa, era abalala bakussaamu ekitiibwa.” Kya lwatu nti ‘okwesiba mu kiwato olukoba olw’amazima’ ekiseera kyonna kivaamu ebirungi.

Olukoba olw’amazima (Laba akatundu 3-5)

“EKY’OMU KIFUBA EKY’OBUTUUKIRIVU”

6, 7. Lwaki obutuukirivu bugeraageranyizibwa ku kyambalo eky’omu kifuba?

6 Ekika ekimu eky’ekyambalo eky’omu kifuba omusirikale Omuruumi kye yayambalanga kyabanga kikoleddwa mu bubaati obw’ekyuma. Obubaati obwo bwabanga buweteddwamu nga butuuka bulungi ekifuba kye n’olubuto lwe era bwabangako obuuma n’amalobo mwe baayisanga obuguwa bwe baasibanga ne babunyweza. Ebibegaabega bye nabyo byabanga bibikiddwa obubaati obwabanga busibiddwa ku ddiba. Omusirikale bwe yayambalanga ekyambalo ekyo teyeetaayanga bulungi, ate era yalinanga okukikebera buli luvannyuma lwa kiseera okukakasa nti obubaati obukiriko bukyali bunywevu. Naye ekyambalo ekyo kyalemesanga ekitala oba akasaale okufumita omutima gw’omusirikale oba okufumita ekitundu ky’omubiri ekirala eky’omugaso ennyo.

7 Ekyambalo ekyo kikiikirira bulungi emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu egikuuma omutima gwaffe ogw’akabonero! (Nge. 4:23) Ng’omusirikale bwe yalinga tasobola kusalawo kukozesa kyambalo eky’omu kifuba ekitali kya kyuma, naffe tetwagala kusalawo kutambulira ku mitindo egyaffe ku bwaffe mu kifo ky’okutambulira ku mitindo gya Yakuwa. Amagezi gaffe matono nnyo bw’ogageraageranya ku ga Yakuwa era tegasobola kutuwa bukuumi bwe twetaaga. (Nge. 3:5, 6) Mu kifo ky’ekyo, buli luvannyuma lwa kiseera, tusaanidde okwekebera okulaba nti ‘obubaati’ obuli ku kyambalo kyaffe eky’omu kifuba Yakuwa ky’atuwadde bunywevu.

8. Lwaki kya magezi okunywerera ku mitindo gya Yakuwa?

8 Oluusi owulira nti emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu mizibu oba nti gikukugira nnyo? Daniel, alina emyaka 21, agamba nti: “Abasomesa ne bayizi bannange bansekereranga olw’okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gya Bayibuli. Okumala ekiseera nnawulira nga nneetya era nga nnennyamidde.” Yavvuunuka atya embeera eyo? Agamba nti: “Ekiseera bwe kyangenda kiyitawo, nnalaba emiganyulo egiri mu kutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Yakuwa. Abamu ku bayizi bannange baatandika okukozesa ebiragalalagala ate abalala baava mu ssomero. Baafuna ebizibu bingi mu bulamu. Mazima ddala Yakuwa atukuuma.” Madison, alina emyaka 15, agamba nti: “Oluusi tekimbeerera kyangu kunywerera ku mitindo gya Yakuwa n’okwewala okukola ebintu ebibi bayizi bannange bye batwala ng’ebirungi.” Asobodde atya okwaŋŋanga embeera eyo? Agamba nti: “Bulijjo nkijjukira nti mpitibwa erinnya lya Yakuwa era nti ebikemo bye nfuna bye bimu ku busaale Sitaani bw’alasa gye ndi. Bwe nziyiza ekikemo, mpulira bulungi nnyo.”

Eky’omu kifuba eky’obutuukirivu (Laba akatundu 6-8)

“ENGATTO MU BIGERE BYAMMWE NGA MULI BEETEGEFU OKUBUULIRA”

9-11. (a) Ngatto ki ez’akabonero Abakristaayo ze bambala? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwanguyirwa okubuulira amawulire amalungi?

9 Soma Abeefeso 6:15. Omusirikale Omuruumi eyabanga tayambadde ngatto teyabanga mwetegefu kugenda mu lutalo. Engatto omusirikale Omuruumi ze yayambalanga zaabanga za maliba asatu agaabanga gasibiddwa awamu ne ganywezebwa. Omusirikale yawuliranga bulungi ng’azambadde era zaabanga ŋŋumu nnyo.

10 Wadde ng’omusirikale Omuruumi yayambalanga engatto ezo okugenda mu lutalo, engatto ez’akabonero Abakristaayo ze bambala bazambala kutwala eri abantu obubaka obw’emirembe. (Is. 52:7; Bar. 10:15) Wadde kiri kityo, kyetaagisa obuvumu okusobola okubuulira abalala nga wazzeewo akakisa. Bo, alina emyaka 20, agamba nti: “Nnatyanga nnyo okubuulira bayizi bannange. Nnalina ensonyi. Bwe ndowooza ku kiseera ekyo, muli nneebuuza ekyantiisanga. Naye kati njagala nnyo okubuulira bayizi bannange.”

11 Abavubuka bangi bakirabye nti bwe beeteekateeka obulungi kibayamba obutatya kubuulira. Biki by’oyinza okukola okweteekateeka? Julia, alina emyaka 16, agamba nti: “Buli kiseera mba n’ebitabo eby’okugaba mu nsawo yange ey’essomero, era nfuba okumanya ebyo bayizi bannange bye balowooza ne bye bakkiriza. Ekyo kinnyamba okumanya ki ekisobola okubayamba. Bwe mba nneetegese bulungi kinnyanguyira okubabuulira ebintu ebisobola okubayamba.” Makenzie, alina emyaka 23, agamba nti: “Bw’ofaayo ku bayizi banno era n’oba ng’obawuliriza bulungi osobola okumanya biki bye bayitamu. Nfuba okusoma ebitabo byonna ekibiina bye kiwandiika okuyamba abavubuka. Bwe kityo mba nsobola okulaga bayizi bannange ebyawandiikibwa ebisobola okubayamba oba okubalagirira ekitundu ekiri ku jw.org ekisobola okubayamba.” Ng’ebigambo by’abavubuka abo bwe biraga, bwe weeteekateeka obulungi okubuulira, obanga ayambadde “engatto” ezikutuuka obulungi.

Engatto mu bigere (Laba akatundu 9-11)

“ENGABO ENNENE EY’OKUKKIRIZA”

12, 13. Obumu ku busaale bwa Sitaani obw’omuliro bwe buliwa?

12 Soma Abeefeso 6:16. “Engabo ennene” omusirikale Omuruumi gye yakwatanga yabanga ya nsonda nnya era ng’emubikka okuva ku bibegaabega okutuuka ku maviivi. Yamukuumanga n’atafumitibwa bitala, mafumu, na busaale.

13 Obumu ku ‘busaale obw’omuliro’ Sitaani bw’ayinza okukwolekeza bye by’obulimba by’ayogera ku Yakuwa. Sitaani ayinza okwagala okukuleetera okulowooza nti Yakuwa takufaako era nti toyagalibwa. Ida, alina emyaka 19, agamba nti: “Emirundi mingi nnawuliranga nti Yakuwa andi wala era nti tayagala mbeere mukwano gwe.” Asobodde atya okwaŋŋanga embeera eyo? Agamba nti: “Enkuŋŋaana zinyweza nnyo okukkiriza kwange. Edda nnatuulanga butuuzi mu nkuŋŋaana nga sibaako kye nziramu, nga ndowooza nti tewali n’omu ayagala kuwulira bye njogera. Naye kati nneeteekerateekera enkuŋŋaana era nfuba okubaako bye nziramu, waakiri emirundi ebiri oba esatu. Si kyangu gye ndi, naye bwe mbaako bye nziramu mpulira bulungi. Ate era ne baganda bange ne bannyinaze banzizaamu nnyo amaanyi. Buli lwe ŋŋenda mu nkuŋŋaana, nvaayo nga mpulira nti Yakuwa anjagala.”

14. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Ida?

14 Engabo y’omusirikale Omuruumi yali tesobola kweyongerako bunene oba kukendeera. Naye ng’ekyokulabirako kya Ida bwe kiraga, engabo yaffe ey’okukkiriza esobola okweyongera obunene oba okukendeera. Kiri gye tuli okulaba nti yeeyongera obunene oba ekendeera. (Mat. 14:31; 2 Bas. 1:3) N’olwekyo kikulu nnyo okufuba okuzimba okukkiriza kwaffe!

Engabo ennene ey’okukkiriza (Laba akatundu 12-14)

“ENKOFIIRA EY’OBULOKOZI”

15, 16. Lwaki essuubi ligeraageranyizibwa ku nkofiira?

15 Soma Abeefeso 6:17. Enkofiira omusirikale Omuruumi gye yayambalanga yakuumanga omutwe gwe, ensingo ye, n’obwenyi bwe ne bitatuusibwako kabi. Enkofiira ezimu zaabangako omukonda ne kiba nti abasirikale baabanga basobola okuzikwatira mu ngalo.

16 Ng’enkofiira bwe yakuumanga obwongo bw’omusirikale, “essuubi ery’obulokozi” likuuma ebirowoozo byaffe. (1 Bas. 5:8; Nge. 3:21) Essuubi lituyamba okussa ebirowoozo byaffe ku bisuubizo bya Yakuwa n’obutaggwaamu maanyi nga tufunye ebizibu. (Zab. 27:1, 14; Bik. 24:15) Naye “enkofiira” yaffe bw’eba ya kutuyamba, tulina okugyambala ku mutwe, so si kugikwatira mu ngalo.

17, 18. (a) Sitaani agezaako atya okutuleetera okuggya ku mutwe enkofiira yaffe? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tetutwaliriziddwa bulimba bwa Sitaani?

17 Sitaani agezaako atya okutuleetera okuggya ku mutwe enkofiira yaffe? Lowooza ku ngeri gye yakemamu Yesu. Sitaani yali akimanyi nti Yesu yalina essuubi ery’okufuga abantu. Naye Yesu yalina okulinda okutuusa ng’ekiseera kya Yakuwa ekigereke kituuse. Era nga tannaba kutandika kufuga, Yesu yalina okubonaabona n’okuttibwa. N’olwekyo Sitaani yawa Yesu akakisa okufuna mu bwangu ekyo kye yali alindirira. Sitaani yagamba Yesu nti singa avvunnama n’amusinza, ekyo kye yali asuubira yali agenda kukimuweerawo. (Luk. 4:5-7) Mu ngeri y’emu, Sitaani akimanyi nti Yakuwa atusuubizza okutuwa ebintu ebirungi mu nsi empya. Naye tulina okusooka okulindirira okumala ekiseera n’okwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. N’olwekyo, Sitaani atugamba nti bwe tukola by’ayagala asobola okutuweerawo ebintu ebyo kati. Ayagala tukulembeze kunoonya bintu, buli kimu kye twagala tusobole okukifuna kati. Sitaani ayagala tuteeke Obwakabaka mu kifo eky’okubiri.​—Mat. 6:31-33.

18 Okufaananako abavubuka Abakristaayo abalala, Kiana ow’emyaka 20, takkirizza kugwa mu katego ka Sitaani ako. Agamba nti: “Nkimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bujja okugonjoola ebizibu byaffe byonna.” Essuubi eryo likwata litya ku ngeri gy’alowoozaamu ne ku ebyo by’akola? Limuyamba okukijjukira nti ebintu by’ensi eno bya kaseera buseera. Mu kifo ky’okwemalira ku kunoonya ebintu mu nsi eno, Kiana akozesa amaanyi ge n’ebiseera bye okuweereza Yakuwa.

Enkofiira ey’obulokozi (Laba akatundu 15-18)

“EKITALA EKY’OMWOYO,” EKIGAMBO KYA KATONDA

19, 20. Tuyinza tutya okwongera okukuguka mu kukozesa Ekigambo kya Katonda?

19 Ekitala omusirikale Omuruumi kye yakwatanga kyabanga kya inci nga 20 obuwanvu. Emu ku nsonga lwaki abasirikale Abaruumi baali bakugu mu kukozesa ebitala ebyo eri nti buli lunaku beegezangamu engeri gye baali bayinza okubikozesaamu nga balwana.

20 Pawulo yageraageranya Ekigambo kya Katonda ku kitala Yakuwa kye yatuwa. Naye tulina okuyiga okukikozesa obulungi mu kulwanirira enzikiriza zaffe oba okutereeza endowooza zaffe. (2 Kol. 10:4, 5; 2 Tim. 2:15) Oyinza otya okukuguka mu kukozesa Ekigambo kya Katonda? Sebastian, ow’emyaka 21, agamba nti: “Mu buli ssuula gye nsoma mu Bayibuli mbaako olunyiriri olusinga okunnyumira lwe mpandiika. Nnina ekiruubirirwa eky’okukola olukalala lw’ebyawandiikibwa ebisinga okunnyumira. Ekyo kinnyambye okwongera okutegeera endowooza ya Yakuwa.” Daniel, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bwe mba nsoma Bayibuli nfunamu ennyiriri ze ndaba nti zijja kuyamba abantu be nja okusanga nga mbuulira. Nkirabye nti abantu bakwatibwako nnyo bwe bakiraba nti oyagala nnyo Bayibuli era nti okola kyonna ekisoboka okubayamba.”

Ekitala eky’omwoyo (Laba akatundu 19-20)

21. Lwaki tetusaanidde kutya Sitaani ne badayimooni be?

21 Ng’ebigambo by’abavubuka aboogeddwako mu kitundu kino bwe biraga, tetusaanidde kutya Sitaani ne badayimooni. Kyo kituufu nti balina amaanyi mangi naye tusobola okubawangula. Ate era tebajja kubaawo mirembe gyonna. Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, bajja kusibibwa babe nga tebalina kye basobola kukola, era oluvannyuma bajja kuzikirizibwa. (Kub. 20:1-3, 7-10) Omulabe waffe tumumanyi, tumanyi enkwe ze, era tumanyi n’ebigendererwa bye. Yakuwa asobola okutuyamba okulwanyisa omulabe oyo ne tumuwangula!