Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19

Okwagala n’Obwenkanya mu Nsi Ennyonoonefu

Okwagala n’Obwenkanya mu Nsi Ennyonoonefu

“Oli Katonda atasanyukira bintu bibi; tewali mubi n’omu ayinza kusigala w’oli.”​—ZAB. 5:4.

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

OMULAMWA *

1-3. (a) Okusinziira ku Zabbuli 5:4-6, Yakuwa atwala atya ebikolwa ebibi? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti okukabasanya abaana kikontana ‘n’etteeka lya Kristo’?

YAKUWA KATONDA akyawa ebibi ebya buli ngeri. (Soma Zabbuli 5:4-6.) Tewali kubuusabuusa nti akyayira ddala ekikolwa eky’okukabasanya abaana, kubanga kibi nnyo era kya bugwagwa! Okufaananako Yakuwa, naffe abaweereza be tukyayira ddala ekikolwa eky’okukabasanya abaana era tetusobola kukigumiikiriza mu kibiina Ekikristaayo.​—Bar. 12:9; Beb. 12:15, 16.

2 Ekikolwa kyonna eky’okukabasanya abaana kikontana ‘n’etteeka lya Kristo’! (Bag. 6:2) Lwaki tugamba bwe tutyo? Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, etteeka lya Kristo, kwe kugamba, ebyo byonna Yesu bye yayigiriza okuyitira mu bigambo ne mu kyokulabirako kye yassaawo, lyesigamiziddwa ku kwagala era likubiriza obwenkanya. Nga bakolera ku tteeka eryo, Abakristaayo ab’amazima bayisa abaana mu ngeri ebaleetera okuwulira nti balina obukuumi era nti baagalibwa. Naye abantu abakabasanya abaana baba beefaako bokka era ekyo kye bakola kibi nnyo. Kireetera abaana okuwulira nti tebalina bukuumi era nti tebaagalibwa.

3 Eky’ennaku, ebikolwa eby’okukabasanya abaana bibunye nnyo mu nsi, era kino kikosezza n’abamu ku Bakristaayo ab’amazima. Lwaki? “Abantu ababi n’abalimba” beeyongedde nnyo, era abamu ku bantu ng’abo bayinza okuyingira mu kibiina. (2 Tim. 3:13) Ate era abamu abeetwala okuba Abakristaayo batwaliriziddwa okwegomba kwabwe okubi ne bakabasanya abaana. Ka tulabe lwaki ekikolwa eky’okukabasanya abaana kibi nnyo era kya kivve. Era tugenda kulaba ekyo abakadde kye balina okukola nga waliwo mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi, gamba ng’okukabasanya omwana. Ate era tugenda kulaba engeri abazadde gye bayinza okukuumamu abaana baabwe. *

KIBI KYA MAANYI NNYO

4-5. Lwaki okukabasanya omwana kikolwa kibi nnyo ekiba kimukoleddwako?

4 Okukabasanya abaana kikosa abantu okumala ebbanga ddene. Kikosa omwana aba akabasanyiziddwa awamu n’abo abamulabirira, kwe kugamba, ab’omu maka mw’abeera awamu n’ab’oluganda mu kibiina Ekikristaayo. Okukabasanya abaana kibi kya maanyi nnyo.

5 Kibi ekikosa ennyo oyo gwe kiba kikoleddwako. Okukabasanya omwana kibi ekireetera abalala obulumi n’okubonaabona. Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, omuntu akabasanya omwana amukosa nnyo mu ngeri nnyingi. Aleetera omwana okulekera awo okwesiga abalala, bw’atyo n’aba ng’awulira nga talina bukuumi. Abaana balina okukuumibwa baleme kukolwako kikolwa ng’ekyo ekibi ennyo, era abo ababa bakabasanyiziddwa beetaaga okubudaabudibwa n’okuyambibwa.​—1 Bas. 5:14.

6-7. Lwaki okukabasanya omwana kibi ekikosa ekibiina, era lwaki oyo akikola aba ajeemedde ab’obuyinza?

6 Kibi ekikosa ekibiina. Omuntu ali mu kibiina bw’akabasanya omwana kireeta ekivume ku kibiina. (Mat. 5:16; 1 Peet. 2:12) Ekyo tekiba kya bwenkanya eri Abakristaayo abeesigwa okwetooloola ensi yonna abafuba ‘ennyo okulwanirira okukkiriza’! (Yud. 3) Abantu abakola ebintu ebibi era abateenenya tetusobola kubakkiriza kusigala mu kibiina. Abantu ng’abo baleeta ekivume ku linnya ly’ekibiina eddungi.

7 Akola ekibi ekyo aba ajeemedde ab’obuyinza. Abakristaayo balina ‘okugonderanga ab’obuyinza.’ (Bar. 13:1) Tukiraga nti tugondera ab’obuyinza nga tukwata amateeka ge bassaawo. Singa omuntu yenna mu kibiina akola ekintu ekimenya amateeka agassibwawo ab’obuyinza, gamba ng’okukabasanya omwana, aba ajeemedde ab’obuyinza. (Geraageranya Ebikolwa 25:8.) Wadde ng’abakadde tebalina buyinza kukwasisa bakkiriza bannaabwe mateeka agassibwawo ab’obuyinza, tebagezaako kubikkirira muntu aba akabasanyizza omwana aleme kuvunaanibwa mu mateeka. (Bar. 13:4) Omuntu akola ekibi ng’ekyo, aba alina okukungula ebyo ebiva mu kibi kye.​—Bag. 6:7.

8. Yakuwa atwala atya ebibi abantu bye bakola ku bannaabwe?

8 N’ekisinga byonna, akola ekibi ekyo aba ajeemedde Katonda. (Zab. 51:4) Omuntu bw’akola ekibi ku muntu munne, aba akoze ekibi ne ku Yakuwa. Lowooza ku tteeka erimu eryali mu Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri. Etteeka eryo lyali liraga nti omuntu eyabbanga oba eyakumpanyanga munne, ‘teyabanga mwesigwa eri Yakuwa.’ (Leev. 6:2-4) N’olwekyo, omuntu mu kibiina akabasanya omwana taba mwesigwa eri Yakuwa. Ate era omuntu oyo aleeta ekivume eky’amaanyi ku linnya lya Yakuwa. Mazima ddala ffenna tulina okukimanya nti ekikolwa eky’okukabasanya abaana kibi kya maanyi era kivve mu maaso ga Katonda.

9. Bulagirizi ki okuva mu Byawandiikibwa ekibiina kya Yakuwa bwe kizze kiwa, era lwaki?

9 Okumala emyaka mingi, ekibiina kya Yakuwa kizze kiwa obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa obukwata ku nsonga ey’okukabasanya abaana. Ng’ekyokulabirako, waliwo ebitundu ebitali bimu ebizze bifulumira mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Zuukuka! ebiraga engeri abo abaakabasanyizibwa gye bayinza okwaŋŋangamu embeera eyo, engeri abalala gye basobola okubayambamu n’okubabudaabuda, n’engeri abazadde gye basobola okukuumamu abaana baabwe. Ekibiina kya Yakuwa kiwadde abakadde mu kibiina obulagirizi bungi okuva mu Byawandiikibwa obulaga kye balina okukola nga waliwo akabasanyizza omwana. Era buli lukya ekibiina kyeyongera okwekenneenya engeri ebibiina gye birina okukwatamu embeera nga waliwo omwana akabasanyiziddwa. Lwaki? Twagala okukakasa nti engeri gye tukwatamu ensonga eyo etuukana n’etteeka lya Kristo.

ABAKADDE KYE BAKOLA NGA WALIWO AKOZE EKIBI EKY’AMAANYI

10-12. (a) Abakadde bwe bakimanyaako nti waliwo omuntu akoze ekibi eky’amaanyi kiki kye basaanidde okujjukira, era baba na biruubirirwa ki? (b) Okusinziira ku Yakobo 5:14, 15, kiki abakadde kye bafuba okukola?

10 Abakadde bwe baba bakola ku nsonga ezingiramu ekibi eky’amaanyi, bakijjukira nti etteeka lya Kristo libeetaagisa okuyisa ekibiina mu ngeri ey’okwagala n’okukola ekituufu era eky’obwenkanya mu maaso ga Katonda. Bwe kityo, balina bingi bye balina okulowoozaako nga bafunye amawulire nti waliwo akoze ekibi eky’amaanyi. Ekigendererwa ky’abakadde ekikulu kwe kukakasa nti erinnya lya Katonda ettukuvu terisiigibwa nziro. (Leev. 22:31, 32; Mat. 6:9) Ate era bafaayo nnyo ku mbeera ya bakkiriza bannaabwe ey’eby’omwoyo era bafuba okuyamba omuntu yenna aba akoleddwako ekikolwa ekibi.

11 Ate era oyo akoze ekibi bw’aba nga wa mu kibiina, abakadde bafuba okumuyamba okuddamu okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa bwe kiba nga kisoboka. (Soma Yakobo 5:14, 15.) Omukristaayo atwalirizibwa okwegomba okubi n’akola ekibi eky’amaanyi aba mulwadde mu by’omwoyo. Aba takyalina nkolagana nnungi ne Yakuwa. * Abakadde tuyinza okubageraageranya ku basawo. Bafuba ‘okuwonya omulwadde,’ kwe kugamba, oyo aba akoze ekibi. Okubuulirira okuva mu Byawandiikibwa kwe bamuwa kusobola okumuyamba okuzzaawo enkolagana ye ne Katonda, era nga kino okusobola okubaawo, aba alina okuba nga yeenenyezza mu bwesimbu.​—Bik. 3:19; 2 Kol. 2:5-10.

12 Kya lwatu nti abakadde balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Bafaayo nnyo ku kisibo Katonda kye yabakwasa. (1 Peet. 5:1-3) Baagala bakkiriza bannaabwe bawulire nti balina obukuumi mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki basitukiramu ne babaako kye bakolawo nga bawulidde nti waliwo akoze ekibi eky’amaanyi, gamba ng’okukabasanya omwana. Kiki kye bakolawo? Lowooza ku bibuuzo ebiri ku ntandikwa  y’akatundu 13,  15, ne  17.

13-14. Abakadde bagondera amateeka agassibwawo ab’obuyinza agakwata ku kuloopa omuntu agambibwa okuba nti akabasanyizza omwana? Nnyonnyola.

 13 Abakadde bagondera amateeka agassibwawo ab’obuyinza agakwata ku kuloopa omuntu agambibwa okuba nti akabasanyizza omwana? Yee. Ensi ezimu zirina amateeka ageetaagisa abantu okutegeeza ab’obuyinza singa baba bakiwuliddeko nti waliwo ayinza okuba nga yakabasanya omwana. Abakadde mu nsi ezo bagondera etteeka eryo. (Bar. 13:1) Amateeka ng’ago tegakontana na mateeka ga Katonda. (Bik. 5:28, 29) N’olwekyo, abakadde bwe bategeezebwa nti waliwo omwana ayinza okuba nga yakabasanyiziddwa, amangu ddala beebuuza ku ofiisi y’ettabi okumanya engeri gye bayinza okukolera ku tteeka erikwata ku kutegeeza ab’obuyinza ku nsonga eyo.

14 Abakadde bategeeza omwana aba yakabasanyiziddwa, awamu ne bazadde be, era n’abalala ababa baategedde ku ekyo ekyabaddewo, nti ba ddembe okugenda mu b’obuyinza okuloopayo ensonga eyo. Naye watya singa oyo agambibwa okukabasanya omwana aba wa mu kibiina era oluvannyuma ensonga eyo n’emanyibwa abantu bangi mu kitundu? Omukristaayo eyaba yagenda mu b’obuyinza okuloopayo ensonga eyo yandikitutte nti aleese ekivume ku linnya lya Katonda? Nedda. Omuntu eyakabasanya omwana y’aba aleese ekivume ku linnya lya Katonda.

15-16. (a) Okusinziira ku 1 Timoseewo 5:19, lwaki walina okubaawo waakiri abajulizi babiri, abakadde okusobola okussaawo akakiiko akalamuzi? (b) Kiki abakadde kye bakola bwe bakitegeerako nti omu ku b’omu kibiina agambibwa okuba nti yakabasanya omwana?

 15 Abakadde nga tebannassaawo kakiiko kalamuzi, lwaki kyetaagisa okubaawo waakiri abajulizi babiri abalumiriza omuntu nti yakola ekibi eky’amaanyi? Kiri kityo kubanga Bayibuli egamba nti ekyo kye kyetaagisa okusobola okusalawo mu ngeri ey’obwenkanya. Bwe kiba nti omuntu takkiriza nti yakola ekibi eky’amaanyi, walina okubaawo waakiri abajulizi babiri abamulumiriza abakadde okusobola okussaawo akakiiko akalamuzi. (Ma. 19:15; Mat. 18:16; soma 1 Timoseewo 5:19.) Kino kitegeeza nti okusobola okuloopa mu b’obuyinza omuntu agambibwa okuba nti yakabasanya omwana walina okusooka okubaawo abajulizi babiri? Nedda. Ekyo tekyetaagisa abakadde oba omuntu omulala yenna okuloopa omuntu agambibwa okuba nti yakola ekintu ekimenya amateeka.

16 Abakadde bwe bakimanyaako nti omu ku b’omu kibiina waliwo abamulumiriza nti yakabasanya omwana, bafuba okugondera amateeka agassibwawo ab’obuyinza agakwata ku kuloopa omuntu ng’oyo, olwo ne balyoka batandika okunoonyereza ku ekyo kyennyini ekyaliwo balabe obanga kyetaagisa okuteekawo akakiiko akalamuzi. Oyo agambibwa okukola ekintu ekyo bw’aba ng’akyegaana, abakadde basalawo okubuuza ku bantu abalala abalina kye bamanyi ku kintu ekyo. Singa wabaawo abantu babiri, kwe kugamba, oyo alumiriza omuntu nti yakabasanya omwana n’omulala ayinza okukakasa nti ekintu ekyo omuntu oyo yakikola, oba nti waliwo omwana omulala gw’amanyi nti yamukabasanya, akakiiko akalamuzi kaba kalina okussibwawo. * Okuba nti tewaliiwo mujulizi wa kubiri, tekitegeeza nti oyo alumiriza omuntu okukabasanya omwana by’ayogera si bituufu. Ne bwe kiba nti tewaliiwo bajulizi babiri kukakasa nti ekibi kyakolebwa, abakadde baba bakimanyi nti omuntu alumirizibwa ayinza okuba nga yakola ekintu ekyo ekyalumya ennyo abalala. Abakadde beeyongera okubudaabuda abayinza okuba nga baakosebwa olw’ekibi ekyo. Ate era abakadde balina okukuumira eriiso ku muntu oyo okusobola okukuuma ekibiina.​—Bik. 20:28.

17-18. Akakiiko akalamuzi kalina buvunaanyizibwa ki?

 17 Akakiiko akalamuzi kalina buvunaanyizibwa ki? Okuba nti akakiiko ako kayitibwa “akakiiko akalamuzi” tekitegeeza nti abakadde be balina okusalawo obanga oyo eyakabasanya omwana alina okubonerezebwa ab’obuyinza olw’okumenya amateeka. Abakadde tebayingirira nsonga za kukwasisa bantu mateeka; ensonga ezo bazirekera ba buyinza. (Bar. 13:2-4; Tit. 3:1) Obuvunaanyizibwa bw’abakadde bwa kusalawo obanga omuntu oyo asobola okusigala mu kibiina oba nedda.

18 Abakadde abatuula ku kakiiko akalamuzi obuvunaanyizibwa bwabwe bukwata ku nsonga za bya mwoyo. Bakozesa Ebyawandiikibwa okumanya obanga omuntu eyakabasanya omwana yeenenyezza oba nedda. Bwe bakizuula nti omuntu oyo aba teyeenenyezza, bamugoba mu kibiina era ekirango ne kiyisibwa mu kibiina. (1 Kol. 5:11-13) Omuntu oyo bw’aba yeenenyezza, asobola okusigala mu kibiina. Naye abakadde bamutegeeza nti taliweebwa nkizo yonna oba ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu kibiina. Olw’okuba abakadde bafaayo nnyo ku baana, bayinza okutuukirira abazadde mu kibiina ne babategeeza nti balina okukuumira eriiso ku muntu oyo ng’ali kumpi n’abaana baabwe. Abakadde bwe baba balabula abazadde, tebalina kwatuukiriza manya g’oyo eyakabasanyizibwa oba ag’abo abaakosebwa.

ENGERI ABAZADDE GYE BAYINZA OKUKUUMAMU ABAANA BAABWE

Abazadde nga bayigiriza abaana baabwe ebintu ebisobola okubayamba obutakabasanyizibwa. Ekyo bakikola nga babayigiriza ebintu bye beetaaga okumanya ebikwata ku by’okwegatta. Babayigiriza nga bakozesa ebintu ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde. (Laba ekitundu eky’okusoma 19, akatundu 19-22)

19-22. Biki abazadde bye bayinza okukola okusobola okukuuma abaana baabwe? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

19 Ani alina obuvunaanyizibwa okukuuma abaana baleme kutuusibwako kabi? Abazadde be balina obuvunaanyizibwa obwo. * Abaana bo kirabo ekyakukwasibwa era “busika okuva eri Yakuwa.” (Zab. 127:3) N’olwekyo buvunaanyizibwa bwo okukuuma ekirabo ekyo. Kiki ky’oyinza okukola okukuuma abaana bo baleme kukabasanyizibwa?

20 Ekisooka, manya ebikwata ku kukabasanya abaana. Manya ekika ky’abantu abatera okukabasanya abaana n’obukodyo bwe bakozesa okubalimba. Lowooza ku mbeera abaana mwe batera okukabasanyizibwa. (Nge. 22:3; 24:3) Kijjukire nti emirundi egisinga, omuntu akabasanya omwana aba oyo omwana gw’amanyi obulungi era gwe yeesiga.

21 Eky’okubiri, beera n’empuliziganya ennungi n’abaana bo. (Ma. 6:6, 7) Kino kizingiramu okubawuliriza obulungi. (Yak. 1:19) Kijjukire nti emirundi mingi abaana batya okuloopa oyo aba abakabasanyizza. Bayinza okutya nti abalala bayinza obutakkiriza nti ekyo kye boogera kituufu, oba oyo eyabakabasanya ayinza okuba nga yabatiisatiisa baleme kumuloopa. Singa okiraba nti wayinza okuba nga waliwo ekikyamu ekituuse ku mwana wo, baako by’omubuuza mu ngeri ey’ekisa era wuliriza n’obugumiikiriza ng’aliko by’akutegeeza.

22 Eky’okusatu, yigiriza abaana bo. Baako by’obategeeza ebikwata ku by’okwegatta naye by’obagamba birina okuba nga bituukana n’emyaka gyabwe. Babuulire kye basaanidde okwogera oba okukola singa wabaawo omuntu agezaako okubakwatirira mu ngeri etasaana. Kozesa obulagirizi obutuweereddwa ekibiina kya Yakuwa obukwata ku ngeri y’okukuumamu abaana.​—Laba akasanduuko “ Weeyigirize era Yigiriza Abaana Bo.”

23. Tutwala tutya ekikolwa eky’okukabasanya abaana, era kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

23 Abajulirwa ba Yakuwa, ekikolwa eky’okukabasanya abaana tukitwala nga kibi nnyo era kya bugwagwa. Olw’okuba tukolera ku tteeka lya Kristo, tetugezaako kubikkirira abo ababa bakabasanyizza abaana baleme kwolekagana n’ebyo ebiva mu kikolwa kyabwe ekyo ekibi. Naye kiki kye tuyinza okukola okuyamba abo ababa baakabasanyizibwa? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

^ lup. 5 Ekitundu kino kiraga engeri abaana gye bayinza okukuumibwamu ne batakabasanyizibwa. Era kiraga engeri abakadde gye bayinza okukuumamu ekibiina n’engeri abazadde gye basobola okukuumamu abaana baabwe.

^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okukabasanya omwana ye mbeera ebaawo omuntu omukulu bw’akozesa omwana omuto okukussa okwegomba kwe okw’okwegatta. Kisobola okuzingiramu okwegatta n’omwana omuto, okukomberera ebitundu bye eby’ekyama, oba okwegatta naye ng’akozesa ekitundu omwana w’afulumira, era kisobola okuzingiramu okutigaatiga ebitundu by’omwana eby’ekyama, amabeere, oba akabina, oba okumukolako ebikolwa ebirala eby’obugwagwa. Kikulu okukijjukira nti omwana aba akabasanyiziddwa aba akoseddwa nnyo era taba na musango. Wadde ng’abaana abasinga okukabasanyizibwa baba bawala, n’abalenzi bangi nabo bakabasanyizibwa. Wadde ng’abasinga okukabasanya abaana baba basajja, n’abakazi abamu nabo bakabasanya abaana.

^ lup. 11 Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi olw’okuba mulwadde mu by’omwoyo, tekitegeeza nti tavunaanyizibwa olw’ekyo ky’aba akoze. Avunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa.​—Bar. 14:12.

^ lup. 16 Tekyetaagisa bakadde kuleeta mwana abeerewo nga baliko bye babuuza oyo agambibwa okuba nti yamukabasanya. Omuzadde oba omuntu omulala omukulu omwana gw’asobola okweyabiza ayinza okubuulira abakadde ekyaliwo, ekyo ne kiyamba omwana obuteeyongera kulumizibwa mu nneewulira.

^ lup. 19 Ebigambibwa abazadde mu kitundu kino bikwata ne ku abo abalina abaana be balabirira abatali baabwe.