Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

Tobuzaabuzibwa ‘Magezi ga Nsi Eno’

Tobuzaabuzibwa ‘Magezi ga Nsi Eno’

“Amagezi g’ensi eno bwe busirusiru eri Katonda.”​—1 KOL. 3:19.

OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

OMULAMWA *

1. Kiki ekiri mu Kigambo kya Katonda?

TUSOBOLA okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuba tufunye kubanga Yakuwa ye Muyigiriza waffe Asingiridde. (Is. 30:20, 21) Ekigambo kye kirimu buli kimu kye twetaaga okusobola “okukola buli mulimu omulungi.” (2 Tim. 3:17) Bwe tukolera ku magezi agali mu Bayibuli, tuba b’amagezi okusinga abo abatumbula “amagezi g’ensi eno.”​—1 Kol. 3:19; Zab. 119:97-100.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Nga bwe tugenda okulaba, emirundu mingi amagezi g’ensi gasikiriza okwegomba kwaffe okw’omubiri. N’olwekyo, kiyinza okutubeerera ekizibu okwewala okulowooza n’okweyisa ng’abantu b’ensi. Kituukirawo okuba nti Bayibuli etugamba nti: “Mwegendereze waleme kubaawo abafuula abaddu ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu.” (Bak. 2:8) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri abantu gye baatandikamu okukkiriza obulimba bwa mirundi ebiri Sitaani bw’abunyisa. Tugenda kulaba n’ensonga lwaki amagezi g’ensi ga busirusiru era n’engeri amagezi agali mu Kigambo kya Katonda gye gasingira ewala amagezi g’ensi.

ENKYUKAKYUKA MU NDOWOOZA ABANTU GYE BALINA KU MPISA

3-4. Endowooza abantu b’omu Amerika gye baalina ku by’okwegatta yakyuka etya ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20?

3 Ku ntandikwa ey’ekyasa ekya 20, wajjawo enkyukakyuka ya maanyi mu ngeri abantu mu Amerika gye baali batunuuliramu ebikolwa eby’okwegatta. Emabega abantu baali bakitwala nti ebikolwa eby’okwegatta birina kubaawo wakati w’abafumbo bokka era nti tebirina kwogerwako mu lujjudde. Naye endowooza abantu gye baalina yakyuka.

4 Mu myaka gya 1920, abantu baatandika okwettanira ennyo eby’amasanyu n’essente, era endowooza gye baalina ku by’okwegatta yakyuka nnyo. Omunoonyereza omu yagamba nti: “Ebintu ebirina akakwate n’okwegatta byatandika okulabikira ennyo mu firimu, mu mizannyo gya bannakatemba, mu bitabo, ne mu bulango.” Mu myaka egyo, abantu baatandika okuzina mu ngeri ereetera omuntu okulowooza ku by’okwegatta era baatandika n’okwambala obubi. Nga Bayibuli bwe yagamba, mu nnaku ez’enkomerero abantu bandibadde “baagala eby’amasanyu.”​—2 Tim. 3:4.

Abantu ba Yakuwa tebatwalirizibwa mitindo gya nsi egikwata ku mpisa (Laba akatundu 5) *

5. Endowooza abantu gye balina ku mitindo gy’empisa yakyuka etya okuva mu myaka gya 1960?

5 Mu myaka gya 1960, ebintu, gamba ng’abantu okubeera awamu nga si bafumbo, okulya ebisiyiga, abantu okugattululwa nga basinziira ku busonga obutaliimu byeyongera obungi. Firimu n’ebirala ebiri ng’ebyo byeyongera okulaga kyere ebikolwa eby’okwegatta. Biki ebivuddemu? Omuwandiisi omu yagamba nti emitindo gy’empisa bwe gisereba muvaamu ebizibu eby’amaanyi gamba nga, obufumbo okusattulukuka, abaana okukuzibwa omuzadde omu, obulumi ku mutima, emize gy’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, n’ebizibu ebirala bingi. Okuba nti endwadde ez’obukaba, gamba nga siriimu, zeeyongedde nnyo kye kimu ku biraga nti amagezi g’ensi busirusiru.​—2 Peet. 2:19.

6. Endowooza ensi gy’erina ku by’okwegatta etuukiriza etya ekigendererwa kya Sitaani?

6 Endowooza ensi gy’erina ku by’okwegatta etuukiriza ekigendererwa kya Sitaani. Sitaani asanyuka nnyo bw’alaba ng’abantu bakozesa bubi ekirabo eky’okwegatta n’ekirabo eky’obufumbo Katonda bye yabawa. (Bef. 2:2) Abantu bwe baba abagwenyufu baba bajolonga ekirabo eky’okuzaala Katonda kye yabawa era abantu abo baba boolekedde okufiirwa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.​—1 Kol. 6:9, 10.

ENDOWOOZA YA BAYIBULI KU BY’OKWEGATTA

7-8. Ndowooza ki entuufu ekwata ku by’okwegatta eragibwa mu Bayibuli?

7 Abantu abakolera ku magezi g’ensi banyooma emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa nga bagamba nti tegikola. Abantu ng’abo bayinza okubuuza nti, ‘Lwaki Katonda yanditutonze nga twagala okwegatta ate n’atuteerawo amateeka agatukugira ku nsonga eyo?’ Babuuza ekibuuzo ekyo kubanga balina endowooza enkyamu egamba nti abantu balina okukolera ku buli nneewulira gye bafuna. Naye Bayibuli si bw’egamba. Bayibuli egamba nti tusobola okulwanyisa okwegomba okubi. (Bak. 3:5) Ate era Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obufumbo omusajja n’omukazi mwe basobolera okukkusa okwegomba okw’okwegatta mu ngeri entuufu era ey’ekitiibwa. (1 Kol. 7:8, 9) Omusajja n’omukazi abafumbo baba basobola okwegatta awatali kwejjusa oba okweraliikirira ebizibu ebiva mu bikolwa eby’obugwenyufu.

8 Okwawukana ku magezi g’ensi, Bayibuli etuyamba okuba n’endowooza entuufu ku kwegatta. Bayibuli eraga nti okwegatta kusobola okuleetera abantu essanyu. (Nge. 5:18, 19) Naye era egamba nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okumanya engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa, nga temululunkanira bikolwa bya kwegatta ng’amawanga agatamanyi Katonda bwe gakola.”​—1 Bas. 4:4, 5.

9. (a) Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20 baayambibwa batya okukolera ku magezi agasingayo obulungi agali mu Kigambo kya Katonda? (b) Magezi ki amalungi agali mu 1 Yokaana 2:15, 16? (c) Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 1:24-27, bikolwa ki eby’obugwenyufu bye tulina okwewala?

9 Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, tebaatwalirizibwa ndowooza nkyamu ‘ey’abantu abatakyalina nsonyi.’ (Bef. 4:19) Baafuba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Watch Tower eya Maayi 15, 1926 yagamba nti: “Omusajja oba omukazi alina okuba omulongoofu mu birowoozo ne mu bikolwa, naddala ku ngeri gy’akolaganamu n’omuntu gw’atafaananya naye kikula.” Wadde ng’ensi yali eyonoonese, abantu ba Yakuwa baasigala banyweredde ku magezi agasingayo obulungi agali mu Kigambo kya Katonda. (Soma 1 Yokaana 2:15, 16.) Mazima ddala tusiima nnyo Katonda olw’okutuwa Ekigambo kye! Ate era twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwanga emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu etuyamba okwewala okutwalirizibwa endowooza enkyamu ensi gy’erina ku by’okwegatta. *​—Soma Abaruumi 1:24-27.

ENKYUKAKYUKA MU NDOWOOZA ABANTU GYE BALINA KU KWEYAGALA

10-11. Kiki Bayibuli kye yalaga nti kyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero?

10 Bayibuli yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero abantu bandibadde “beeyagala bokka.” (2 Tim. 3:1, 2) Tekyewuunyisa nti ensi etumbula endowooza ey’abantu okwefaako bokka. Ekitabo ekimu kigamba nti mu myaka gya 1970, ebitabo ebiwa amagezi ku ngeri y’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu byeyongera nnyo. Ebitabo ebimu ‘byakubiriza abantu okwemanya n’okwetwala nti ba kitalo.’ Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bino ebyali mu kimu ku bitabo ebyo: “Weeyagale kubanga ggwe muntu akyasinzeeyo okulabika obulungi, okusanyusa, n’okuba ow’omugaso.” Ekitabo ekyo era kyagamba nti ‘omuntu y’alina okwesalirawo ku ngeri gy’alina okweyisaamu era alina okukola ekyo ye ky’awulira nti kye kituufu era nti kye kimwanguyira.’

11 Endowooza ng’eyo wali ogiwuliddeko? Sitaani yakubiriza Kaawa okuba n’endowooza ng’eyo. Yagamba Kaawa nti yandibadde ‘nga Katonda, ng’amanyi ekirungi n’ekibi.’ (Lub. 3:5) Leero abantu bangi beetwala okuba ab’ekitalo era mu ndaba yaabwe tewali n’omu nga mw’otwalidde ne Katonda alina kubagamba kituufu na kikyamu. Endowooza ng’eyo yeeyolekedde ne mu ngeri abantu gye batwalamu obufumbo.

Omukristaayo akulembeza ebyetaago by’abalala, naddala ebya munne mu bufumbo (Laba akatundu 12) *

12. Ndowooza ki ensi gy’erina ku bufumbo?

12 Bayibuli ekubiriza omwami n’omukyala okuwaŋŋana ekitiibwa n’okussa ekitiibwa mu birayiro bye baakuba nga bayingira obufumbo. Ekubiriza omwami n’omukyala abafumbo buli omu okuba omumalirivu okunywerera ku munne. Egamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.” (Lub. 2:24) Naye abo abagoberera amagezi g’ensi bo bagamba nti buli omu ku bafumbo asaanidde kwefaako yekka. Ekitabo ekimu ekyogera ku kugattululwa kigamba nti: “Ku mikolo gy’okugatta egimu, ebigambo ‘ekiseera kyonna kye tunaamala nga tuli balamu’ babikyusa ne bagamba nti ‘ekiseera kyonna kye tunaamala nga twagalana.’” Endowooza ng’eyo enkyamu ku bufumbo eviiriddeko obufumbo bungi okusasika n’abantu bangi okuba n’obulumi bungi ku mutima. Tewali kubuusabuusa nti endowooza ensi gy’erina ku bufumbo ya busirusiru.

13. Emu ku nsonga lwaki Yakuwa akyawa abantu ab’amalala y’eruwa?

13 Bayibuli egamba nti: “Yakuwa akyayira ddala omuntu ow’omutima ogw’amalala.” (Nge. 16:5) Lwaki Yakuwa akyawa abantu abeetwala okuba ab’ekitalo? Emu ku nsonga eri nti abantu abo baba ba malala nga Sitaani. Kiteeberezeemu, Sitaani yali alowooza nti Yesu, Katonda gwe yakozesa mu kutonda ebintu byonna, yandivunnamye n’amusinza! (Mat. 4:8, 9; Bak. 1:15, 16) Abo abeetwala okuba ab’ekitalo bakyoleka nti amagezi g’ensi busirusiru eri Katonda.

BAYIBULI KY’EGAMBA KU NGERI GYE TULINA OKWETWALAMU

14. Abaruumi 12:3 watuyamba watya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ngeri gye twetwalamu?

14 Bayibuli etuyamba okwetunuulira mu ngeri entuufu. Bayibuli eraga nti si kibi okweyagala ku kigero ekisaana. Yesu yagamba nti: “Olina okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” Ekyo kiraga nti tulina okufaayo ku byetaago byaffe ku kigero ekisaana. (Mat. 19:19) Kyokka Bayibuli eraga nti tetusaanidde kwetwala nti tuli ba waggulu ku balala. Mu kifo ky’ekyo, egamba nti: “Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula nga mukola ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga.”​—Baf. 2:3; soma Abaruumi 12:3.

15. Okusinziira ku by’olabye, lwaki ogamba nti ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri omuntu gy’asaanidde okwetwalamu kye kituufu?

15 Leero abantu abatwalibwa okuba abagezi banyooma ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri omuntu gy’asaanidde okwetwalamu. Bagamba nti okwetwala nti abalala bakusinga kiyinza okuviirako abalala okukujooga n’okukunyigiriza. Naye biki ebivudde mu bantu okwefaako bokka? Kiki kye weetegerezza? Abantu abeefaako bokka basanyufu? Balina amaka amasanyufu? Balina emikwano egya nnamaddala? Balina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? Okusinziira ku ekyo ky’olabye, kiki ekisinga okuvaamu emiganyulo? Okukolera ku magezi g’ensi oba okukolera ku magezi egali mu Kigambo kya Katonda?

16-17. Lwaki tusaanidde okwebaza ennyo Yakuwa?

16 Abantu abakolera ku magezi g’abo ensi b’etwala ng’ab’amagezi bafaananako omulambuzi abuuza mulambuzi munne amulagirire ekkubo ery’okukwata kyokka nga bombi babuze. Bwe yali ayogera ku basajja abaali batwalibwa okuba abagezi mu kiseera we yabeerera ku nsi, Yesu yagamba nti: “Bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.” (Mat. 15:14) Mazima ddala, amagezi g’ensi, busirusiru eri Katonda.

Abaweereza ba Yakuwa nga basanyufu olw’emiganyulo gye bafunye mu kukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda (Laba akatundu 17) *

17 Amagezi agali mu Bayibuli ‘gagasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu.’ (2 Tim. 3:16) Twebaza nnyo Yakuwa okuba nti okuyitira mu kibiina kye atuyambye obutatwalirizibwa magezi ga nsi eno! (Bef. 4:14) Emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa etuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okunywerera ku mitindo egirimu mu Kigambo kye. Nga nkizo ya maanyi okuba nti tukolera ku magezi ageesigika agali mu Bayibuli!

OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”

^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwongera okuba abakakafu nti Yakuwa yekka y’asobola okutuwa obulagirizi obwesigika. Ate era kigenda kutuyamba okukiraba nti okukolera ku magezi g’ensi kivaamu emitawaana, ate okukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda kirimu emiganyulo mingi.

^ lup. 9 Ng’ekyokulabirako, laba akatabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 1, sul. 24-26, ne Omuzingo 2, sul. 4-5.

^ lup. 50 EBIFAANANYI: Obulamu bw’ow’oluganda ne mukyala we emyaka bwe gizze giyitawo. Ow’oluganda ne mukyala we nga babuulira mu myaka gya 1960.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Mu myaka gya 1980, ow’oluganda ng’alabirira mukyala we omulwadde nga ne kawala kaabwe weekali katunula.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Leero, ow’oluganda oyo ne mukyala we bafuna essanyu bwe bajjukira ebintu ebirungi ebitali bimu bye bakoze nga baweereza Yakuwa. Muwala waabwe kati akuze awamu n’omwami we n’omwana waabwe basanyukira wamu nabo.