OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maayi 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjulaayi 6–Agusito 2, 2020.

“Kabaka ow’Ebukiikakkono” mu Kiseera eky’Enkomerero

Ekitundu eky’okusoma 19: Jjulaayi 6-12, 2020. Tulaba obukakafu obulaga nti obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” bweyongera okutuukirira. Ekyo tukimanya tutya? Era lwaki twetaaga okumanya ebikwata ku bunnabbi buno?

Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero

Obunnabbi obukwata ku “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” butuukirizibwa mu kiseera kye kimu n’obunnabbi obulala. Obunnabbi obwo bulaga butya nti enteekateeka y’ebintu eno eneetera okuzikirizibwa?

“Kabaka ow’Ebukiikakkono” y’Ani Leero?

Ekitundu eky’okusoma 20: Jjulaayi 13-19, 2020. “Kabaka ow’ebukiikakkono” y’ani leero, era anaatuuka atya ku nkomerero ye? Okumanya eky’okuddamu kijja kunyweza okukkiriza kwaffe n’okutuyamba okweteekerateekera ebigezo bye tugenda okwolekagana nabyo mu maaso awo.

Osiima Ebintu Ebirungi Katonda Bye Yakuwa?

Ekitundu eky’okusoma 21: Jjulaayi 20-26, 2020. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwongera okusiima Yakuwa n’ebimu ku bintu ebirungi by’atuwa. Era kijja kutuyamba okulaba engeri y’okunnyonnyolamu abo ababuusabuusa nti eriyo Katonda.

Laga nti Osiima Ebintu eby’Omuwendo Ebitalabika

Ekitundu eky’okusoma 22: Jjulaayi 27–Agusito 2, 2020. Mu kitundu ekyayita, twalaba ebintu eby’omuwendo Katonda bye yatuwa bye tulaba n’amaaso gaffe. Ekitundu kino kigenda kwogera ku bintu eby’omuwendo bye tutasobola kulaba n’engeri gye tuyinza okukiragamu nti tusiima ebintu ebyo. Ate era kigenda kutuyamba okwongera okusiima Yakuwa Katonda Ensibuko y’ebintu ebyo.