Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero

Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero

Obumu ku bunnabbi obulagiddwa ku kipande kino bwogera ku bintu ebyaliwo mu kiseera kye kimu. Bwonna bulaga nti tuli “mu kiseera eky’enkomerero.”​—Dan. 12:4.

  • Ebyawandiikibwa Kub. 11:7; 12:13, 17; 13:1-8, 12

    Obunnabbi “Ensolo” efuga abantu ku nsi okumala ebyasa bingi. Mu kiseera eky’enkomerero omutwe ogw’omusanvu gufuna ekiwundu. Oluvannyuma ekiwundu ekyo kiwona era “ensi yonna” egoberera ensolo eyo. Sitaani akozesa ensolo eyo “okulwanyisa ab’ezzadde ly’omukazi abaasigalawo.”

    Okutuukirizibwa Oluvannyuma lw’Amataba, gavumenti z’abantu zaatandikibwawo era nga ziwakanya obufuzi bwa Yakuwa. Nga wayise ebyasa bingi, mu kiseera kya Ssematalo I, obufuzi bwa Bungereza bwanafuwa nnyo. Bwaddamu okuba obw’amaanyi bwe bwegattibwako Amerika. Nnaddala mu kiseera eky’enkomerero, Sitaani akozesa enteekateeka ye yonna ey’eby’obufuzi okuyigganya abantu ba Katonda.

  • Ekyawandiikibwa Dan. 11:25-45

    Obunnabbi Akanyoolagano wakati wa kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo mu kiseera eky’enkomerero.

    Okutuukirizibwa Bugirimaani n’Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika zaavuganya. Mu 1945, Soviet Union n’ensi ezaali zigiwagira zaafuuka kabaka ow’ebukiikakkono. Mu 1991, Soviet Union yasattulukuka, era nga wayise ekiseera, Russia n’ensi ezigiwagira zaafuuka kabaka ow’ebukiikakkono.

  • Ebyawandiikibwa Is. 61:1; Mal. 3:1; Luk. 4:18

    Obunnabbi Yakuwa atuma “omubaka” we ‘okwerula’ ekkubo ng’Obwakabaka bwa Masiya bugenda okussibwawo. Omubaka oyo atandika “okubuulira abawombeefu amawulire amalungi.”

    Okutuukirizibwa Okuva mu myaka gya 1870 n’okweyongerayo, C. T. Russell ne banne baafuba nnyo okunnyonnyola amazima agali mu Bayibuli. Mu myaka gya 1880, baatandika okukikkaatiriza nti abaweereza ba Katonda balina okubuulira. Baawandiika ebitundu ebyalina emitwe gamba nga “Ababuulizi 1,000 Beetaagibwa” ne “Bafukiddwako Amafuta Okubuulira.”

  • Ebyawandiikibwa Mat. 13:24-30, 36-43

    Obunnabbi Omulabe asiga omuddo mu nnimiro y’eŋŋaano era omuddo gulekebwa okukulira awamu n’eŋŋaano ne gugibuutikira. Ekiseera ky’amakungula bwe kituuka omuddo gwawulwa ku ŋŋaano.

    Okutuukirizibwa Okuva ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwaako, enjawulo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’ab’obulimba yatandika okulabika. Mu kiseera eky’enkomerero, Abakristaayo ab’amazima bakuŋŋaanyizibwa ne baawulwa ku Bakristaayo ab’obulimba.

  • Ebyawandiikibwa Dan. 2:31-33, 41-43

    Obunnabbi Ebigere eby’ekyuma n’ebbumba eby’ekibumbe ekyakolebwa mu bintu eby’enjawulo.

    Okutuukirizibwa Ebbumba likiikirira abantu aba bulijjo abafugibwa Bungereza n’Amerika naye nga bawakanya gavumenti ezo. Olw’okuba abantu abo bawakanya gavumenti ezo, tezisobola kukozesa maanyi gaazo mu bujjuvu.

  • Ebyawandiikibwa Mat. 13:30; 24:14, 45; 28:19, 20

    Obunnabbi “Eŋŋaano” ekuŋŋaanyizibwa mu “tterekero” era “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” alondebwa okulabirira “ab’omu nju.” ‘Amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ gatandika okubuulirwa “mu nsi yonna.”

    Okutuukirizibwa Mu 1919 omuddu omwesigwa yalondebwa okulabirira abantu ba Katonda. Okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo Abayizi ba Bayibuli baayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nnimi ezisukka mu 200 era bafulumya ebitabo mu nnimi ezisukka mu 1,000.

  • Ebyawandiikibwa Dan. 12:11; Kub. 13:11, 14, 15

    Obunnabbi Ensolo ey’amayembe abiri ewoma omutwe mu kussaawo “ekifaananyi ky’ensolo,” era ewa “ekifaananyi ky’ensolo omukka.”

    Okutuukirizibwa Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika bwe bwawoma omutwe mu kussaawo Ekinywi ky’Amawanga. Amawanga amalala geegatta ku kibiina ekyo. Oluvannyuma, kabaka ow’ebukiikakkono naye yeegatta ku Kinywi ky’Amawanga, naye okumala ekiseera kitono, okuva mu 1926 okutuuka mu 1933. Okufaananako Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekyadda mu kifo kyakyo, Ekinywi ky’Amawanga abantu baakisuubira okukola ekintu ekisobola okukolebwa Obwakabaka bwa Katonda bwokka.

  • Ekyawandiikibwa Dan. 8:23, 24

    Obunnabbi Kabaka atunuza obukambwe ‘azikiriza mu ngeri ey’ekitalo.’

    Okutuukirizibwa Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika busse abantu bangi era bwonoonye ebintu bingi. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II, Amerika yaleeta okuzikiriza okw’amaanyi bwe yasuula bbomu bbiri ez’amaani ga nukiriya ku mulabe wa Bungereza ne Amerika.

  • Ebyawandiikibwa Dan. 11:31; Kub. 17:3, 7-11

    Obunnabbi ‘Ensolo emmyufu’ erina amayembe ekkumi eva mu bunnya era ye kabaka ow’omunaana. Mu kitabo kya Danyeri, kabaka oyo ayitibwa “eky’omuzizo ekizikiriza.”

    Okutuukirizibwa Mu kiseera kya Ssematalo II, Ekinywi ky’Amawanga kyalekera awo okukola. Oluvannyuma lw’olutalo olwo, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ‘kyassibwawo.’ Okufaananako Ekinywi ky’Amawanga, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte abantu bakisuubira okukola ekintu ekisobola okukolebwa Obwakabaka bwa Katonda bwokka. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kijja kulumba amadiini.

  • Ebyawandiikibwa 1 Bas. 5:3; Kub. 17:16

    Obunnabbi Amawanga galangirira ‘emirembe n’obutebenkevu,’ era “amayembe ekkumi” “n’ensolo” birumba “malaaya” ne bimuzikiriza. Oluvannyuma amawanga gazikirizibwa.

    Okutuukirizibwa Amawanga gayinza okulangirira nti galeeseewo emirembe n’obutebenkevu mu nsi. Amawanga agawagira Ekibiina ky’Amawanga amagatte gajja kusaanyaawo amadiini ag’obulimba. Eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ekibonyoobonyo ekyo kijja kukoma Yesu bw’anaazikiriza ekitundu ekinaaba kikyasigaddewo eky’ensi ya Sitaani ku Amagedoni.

  • Ebyawandiikibwa Ezk. 38:11, 14-17; Mat. 24:31

    Obunnabbi Googi alumba ensi y’abantu ba Katonda. Oluvannyuma bamalayika bakuŋŋaanya “abalonde.”

    Okutuukirizibwa Kabaka ow’ebukiikakkono awamu ne gavumenti endala ez’ensi bajja kulumba abantu ba Katonda. Nga wayise akaseera ng’obulumbaganyi obwo butandise, abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo ku nsi bajja kutwalibwa mu ggulu.

  • Ebyawandiikibwa Ezk. 38:18-23; Dan. 2:34, 35, 44, 45; Kub. 6:2; 16:14, 16; 17:14; 19:20

    Obunnabbi Oyo ‘atudde ku mbalaasi enjeru’ ‘amaliriza okuwangula kwe,’ ng’azikiriza Googi n’eggye lye. “Ensolo” ‘esuulibwa mu nnyanja eyaka omuliro,’ era ejjinja libetenta ekibumbe ekinene.

    Okutuukirizibwa Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, anunula abantu ba Katonda. Ng’ali wamu ne 144,000 awamu ne bamalayika, ajja kuzikiriza amawanga gonna aganaalumba abantu ba Katonda. Eyo y’ejja okuba enkomerero y’ensi ya Sitaani.