Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

Laga nti Osiima Ebintu eby’Omuwendo Ebitalabika

Laga nti Osiima Ebintu eby’Omuwendo Ebitalabika

‘Teeka amaaso go ku bintu ebitalabika. Kubanga ebintu ebirabika bya kaseera buseera, naye ebitalabika bya lubeerera.’​—2 KOL. 4:18.

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

OMULAMWA *

1. Kiki Yesu kye yayogera ku by’obugagga eby’omu ggulu?

EBINTU ebimu eby’omuwendo tebirabibwa na maaso. Mu butuufu, ebintu ebisinga okuba eby’omuwendo tetusobola kubiraba na maaso gaffe. Bwe yali abuulira ku Lusozi, Yesu yayogera ku by’obugagga eby’omu ggulu ebisingira ewala eby’obugagga eby’oku nsi. Oluvannyuma yagattako nti: “Eby’obugagga byo gye biba n’omutima gwo gye gubeera.” (Mat. 6:19-21) Omutima gwaffe gutuleetera okuluubirira ebintu bye tutwala nti bya muwendo. Tweterekera “eby’obugagga mu ggulu” nga tukola erinnya eddungi oba nga tuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda. Yesu yagamba nti eby’obugagga ng’ebyo tebisobola kwonoonebwa oba kubbibwa.

2. (a) Okusinziira ku 2 Abakkolinso 4:17, kiki Pawulo kye yatukubiriza okussaako amaaso gaffe? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Omutume Pawulo yatukubiriza ‘okuteeka amaaso gaffe ku bintu ebitalabika.’ (Soma 2 Abakkolinso 4:17, 18.) Ebintu ebyo ebitalabika bizingiramu ebintu byonna ebirungi bye tujja okufuna mu nsi empya. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bina eby’omuwendo ebitalabika bye tusobola okuganyulwamu ne mu kiseera kino. Ebintu ebyo bye bino: omukwano gwe tulina ne Katonda, ekirabo eky’okusaba, obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, n’obuyambi bwe tufuna okuva mu ggulu nga tubuulira. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulagamu nti tusiima eby’obugagga ebyo ebitalabika.

OMUKWANO GWE TULINA NE KATONDA

3. Eky’obugagga ekitalabika ekisingayo okuba eky’omuwendo kye kiruwa, era kiki ekitusobozesa okukifuna?

3 Eky’obugagga ekitalabika ekisingayo okuba eky’omuwendo kwe kuba mukwano gwa Yakuwa Katonda. (Zab. 25:14) Kisoboka kitya Katonda omutukuvu okuba mukwano gw’abantu aboonoonyi? Ekyo kisoboka kubanga ssaddaaka ya Yesu ‘eggyawo ebibi by’ensi.’ (Yok. 1:29) Yesu ne bwe yali tannafa, Yakuwa yali akimanyi nti ekigendererwa kye eky’okuwa abantu Omulokozi kyandituukiridde. Eyo ye nsonga lwaki Katonda yali asobola kuba mukwano gw’abantu abaaliwo nga Kristo tannaba kufa.​—Bar. 3:25.

4. Waayo ebyokulabirako by’abantu abaaliwo nga Kristo tannajja abaali mikwano gya Katonda.

4 Lowooza ku bantu abamu abaaliwo nga Kristo tannajja abaali mikwano gya Katonda. Ibulayimu yayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Nga wayise emyaka egisukka mu 1,000 nga Ibulayimu amaze okufa, Yakuwa yamuyita ‘mukwano gwe.’ (Is. 41:8) N’olwekyo, n’okufa tekusobola kwawula Yakuwa ku mikwano gye. Yakuwa akyajjukira mukwano gwe Ibulayimu. (Luk. 20:37, 38) Omuntu omulala eyali mukwano gwa Yakuwa ye Yobu. Bamalayika bwe baali bakuŋŋaanye wamu mu ggulu, Yakuwa yayogera ku Yobu n’akiraga nti yamulinamu obwesige. Yakuwa yagamba nti Yobu yali ‘musajja mwesigwa era mugolokofu, atya Katonda, era eyeewala ebibi.’ (Yob. 1:6-8) Ate Yakuwa yali atwala atya Danyeri, eyamuweereza n’obwesigwa okumala emyaka nga 80 mu nsi y’abantu abaali batamusinza? Emirundi esatu bamalayika baakakasa Danyeri, omusajja eyali akaddiye, nti ‘yali wa muwendo nnyo’ eri Katonda. (Dan. 9:23; 10:11, 19) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yeesunga ekiseera lw’anaazuukiza mikwano gye abaafa.​—Yob. 14:15.

Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti tusiima eby’obugagga ebitalabika bye biruwa? (Laba akatundu 5) *

5. Kiki ekyetaagisa okusobola okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa?

5 Leero bantu bameka abatatuukiridde abalina omukwano ne Yakuwa? Bali mu bukadde. Ekyo tukimanyi kubanga abasajja bangi, abakazi, awamu n’abaana okwetooloola ensi bakiraga mu nneeyisa yaabwe nti baagala okuba mikwano gya Katonda. Yakuwa “abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Nge. 3:32) Abantu abo basobola okuba mikwano gya Yakuwa olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Olwa ssaddaaka eyo, Yakuwa atukkiriza okwewaayo gy’ali era ne tubatizibwa. Bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, twegatta ku Bakristaayo abalala bangi abalina ‘omukwano ogw’oku lusegere’ n’Omufuzi w’Obutonde Bwonna!

6. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima omukwano gwe tulina ne Katonda?

6 Tuyinza tutya okulaga nti omukwano gwe tulina ne Katonda tugutwala nga gwa muwendo? Okufaananako Ibulayimu ne Yobu abaasigala nga beesigwa eri Katonda okumala emyaka egisukka mu kikumi, tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa mu nteekateeka y’ebintu eno. Okufaananako Danyeri, omukwano gwe tulina ne Katonda tusaanidde okugutwala nga gwa muwendo nnyo n’okusinga obulamu bwaffe. (Dan. 6:7, 10, 16, 22) Yakuwa asobola okutuyamba okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo ne tusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye.​—Baf. 4:13.

EKIRABO EKY’OKUSABA

7. (a) Okusinziira ku Engero 15:8, Yakuwa atwala atya essaala zaffe? (b) Yakuwa addamu atya essaala zaffe?

7 Eky’obugagga ekirala ekitalabibwa na maaso kwe kusaba. Ab’omukwano ab’oku lusegere batera buli omu okubuulira munne by’alowooza n’engeri gye yeewuliramu. Bwe kityo bwe kiri ne ku mukwano gwaffe ne Yakuwa. Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu Kigambo kye, era mu Kigambo kye atubuulira endowooza ye n’enneewulira ye. Naffe twogera naye okuyitira mu kusaba, ne tumubuulira ebituli ku mutima n’engeri gye twewuliramu. Yakuwa ayagala nnyo okuwuliriza essaala zaffe. (Soma Engero 15:8.) Mukwano gwaffe Yakuwa takoma ku kuwuliriza ssaala zaffe naye era aziddamu. Oluusi aziddamu mangu. Ate emirundi egimu kiyinza okutwetaagisa okusaba enfunda n’enfunda ku kintu ekimu. Wadde kiri kityo, tuba bakakafu nti ajja kuddamu essaala zaffe mu kiseera ekituufu era mu ngeri esingayo obulungi. Kya lwatu nti engeri Katonda gy’addamu essaala zaffe eyinza okuba nga si gye tubadde tusuubira. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okuggyawo ekizibu kye tuba twolekagana nakyo, ayinza okutuwa amagezi n’amaanyi okukigumira.​—1 Kol. 10:13.

(Laba akatundu 8) *

8. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekirabo eky’okusaba?

8 Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekirabo eky’okusaba? Engeri emu ekyo gye tukiragamu kwe ‘kusabanga obutayosa’ nga Bayibuli bw’etukubiriza. (1 Bas. 5:17) Yakuwa tatuwaliriza kusaba. Mu kifo ky’ekyo, atuleka tukozese eddembe lyaffe ery’okwesalirawo era atukubiriza ‘okunyiikiranga okusaba.’ (Bar. 12:12) Tuyinza okulaga nti tusiima ekirabo ekyo nga tusaba emirundi egiwerako mu lunaku. Kya lwatu nti bwe tuba tusaba, tetusaanidde kwerabira kwebaza na kutendereza Yakuwa.​—Zab. 145:2, 3.

9. Ow’oluganda omu atwala atya okusaba, ate ggwe okutwala otya?

9 Gye tukoma okumala ekiseera ekiwanvu nga tuweereza Yakuwa era ne tulaba engeri gy’addamu essaala zaffe, gye tukoma okukiraga nti tusiima ekirabo eky’okusaba. Lowooza ku w’oluganda Chris amaze emyaka 47 mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Agamba nti: “Kinsanyusa nnyo okuzuukuka buli ku makya ne mmala ekiseera ekiwerako nga nsaba Yakuwa. Kintu kirungi nnyo okwogera ne Yakuwa ku makya ennyo ng’enjuba evaayo era nga buli kimu kirabika bulungi! Ekyo kindeetera okumwebaza olw’ebirungi byonna by’atuwa omuli n’enkizo ey’okusaba. Ate era ekiro bwe mba ŋŋenda okwebaka nsaba Yakuwa era nneebaka nga nnina omuntu ow’omunda omulungi.”

EKIRABO KY’OMWOYO OMUTUKUVU

10. Lwaki ekirabo ky’omwoyo omutukuvu tusaanidde okukitwala nga kya muwendo?

10 Ekirabo ekirala ekitalabika gwe mwoyo gwa Katonda omutukuvu. Yesu yatugamba tusabenga Katonda atuwe omwoyo omutukuvu. (Luk. 11:9, 13) Okuyitira mu mwoyo omutukuvu, Yakuwa atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7; Bik. 1:8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna.

(Laba akatundu 11) *

11. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya?

11 Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe. Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okukozesa mu bujjuvu ebitone byaffe. Tukimanyi bulungi nti ebintu ebirungi ebiva mu buweereza bwaffe bisoboka olw’obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda, so si lwa busobozi bwaffe.

12. Okusinziira ku Zabbuli 139:23, 24, omwoyo omutukuvu gusobola kutuyamba kukola ki?

12 Engeri endala gye tukiragamu nti tusiima ekirabo ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe gutuyambe okumanya obanga tulina endowooza embi oba okwegomba okubi mu mitima gyaffe. (Soma Zabbuli 139:23, 24.) Bwe tusaba Yakuwa ku nsonga eyo, akozesa omwoyo gwe okutuyamba okumanya endowooza embi n’okwegomba okubi bye tuba nabyo. Bwe tumanya nti tulina endowooza embi oba okwegomba okubi, tusaanidde okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe gutuwe amaanyi okubirwanyisa. Bwe tukola tutyo, Yakuwa akiraba nti tetwagala kukola kintu kyonna kiyinza kumuleetera kulekera awo kutuwa mwoyo gwe.​—Bef. 4:30.

13. Tuyinza tutya okweyongera okusiima omwoyo omutukuvu?

13 Tusobola okwongera okusiima ekirabo ky’omwoyo omutukuvu nga tufumiitiriza ku bintu bye gukoze mu kiseera kyaffe. Yesu bwe yali tannaba kuddayo mu ggulu yagamba abagoberezi be nti: “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8) Ebigambo ebyo bituukirizibwa leero. Olw’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, abantu ng’obukadde munaana n’ekitundu bakuŋŋaanyiziddwa okusinza Yakuwa okuva mu bitundu byonna eby’ensi. Ate era tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo kubanga omwoyo omutukuvu gutusobozesezza okukulaakulanya engeri gamba ng’okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga. Engeri ezo ze ziri mu “kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:22, 23) Mazima ddala omwoyo omutukuvu kirabo kya muwendo nnyo!

ABALI MU GGULU BATUYAMBA NGA TUBUULIRA

14. Baani abatalabika abatuyamba nga tubuulira?

14 Eky’obugagga ekirala kye tulina ekitalabibwa na maaso kwe ‘kukolera awamu’ ne Yakuwa n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye. (2 Kol. 6:1) Tukolera wamu Yakuwa, ne Yesu, awamu ne bamalayika buli lwe twenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Pawulo yagamba nti ye awamu n’abalala abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira ‘bakolera wamu ne Katonda.’ (1 Kol. 3:9) Era bwe tuba tubuulira tuba tukolera wamu ne Yesu. Kijjukire nti oluvannyuma lw’okugamba abayigirizwa be ‘okufuula abantu abayigirizwa’ yagattako nti: “Ndi wamu nammwe.” (Mat. 28:19, 20) Ate bamalayika? Bamalayika batuwa obulagirizi bwe tuba tulangirira “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe . . . eri abo ababeera ku nsi”!​—Kub. 14:6.

15. Waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli ekiraga nti Yakuwa atuyamba nga tubuulira.

15 Obuyambi bwe tufuna okuva mu ggulu butusobozesa kutuukiriza ki? Bwe tuba tusiga ensigo z’Obwakabaka, ezimu ku zo zigwa ku ttaka eddungi ne zikula. (Mat. 13:18, 23) Ani aleetera ensigo ezo okukula ne zibala? Yesu yagamba nti tewali muntu ayinza kufuuka mugoberezi we okuggyako nga ‘Kitaawe y’amusise.’ (Yok. 6:44) Waliwo n’ebyokulabirako okuva mu Bayibuli ku nsonga eyo. Lowooza ku ekyo ekyaliwo Pawulo bwe yabuulira abakazi abaali wabweru w’ekibuga ky’e Firipi. Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku omu ku bakazi abo eyali ayitibwa Liidiya: “Yakuwa yaggula omutima gwe n’akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera.” (Bik. 16:13-15) Okufaananako Liidiya, wabaddewo abantu abalala bangi Yakuwa b’asembezza gy’ali.

16. Ani asaanidde okutenderezebwa olw’ebirungi bye tufuna mu mulimu gw’okubuulira?

16 Ani asaanidde okutenderezebwa olw’ebirungi bye tufuna mu mulimu gw’okubuulira? Ekibuuzo ekyo Pawulo yakiddamu bwe yayogera bw’ati ku kibiina ky’e Kkolinso: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira, naye Katonda ye yakuza. N’olwekyo, atenderezebwa si y’oyo asiga oba afukirira, wabula Katonda akuza.” (1 Kol. 3:6, 7) Okufaananako Pawulo, naffe tusaanidde okutendereza Yakuwa olw’ebirungi byonna bye tufuna mu mulimu gw’okubuulira.

17. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima enkizo ‘ey’okukolera awamu’ ne Katonda, ne Kristo, ne bamalayika?

17 Tuyinza tutya okulaga nti tusiima enkizo ‘ey’okukolera awamu’ ne Katonda, ne Kristo, ne bamalayika? Ekyo tukiraga nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala amawulire amalungi, gamba nga tubuulira “mu lujjudde era ne nnyumba ku nnyumba.” (Bik. 20:20) Ate era bangi babuulira embagirawo. Bwe basisinkana omuntu, bamulamusa mu ngeri y’ekisa era ne bagezaako okutandika emboozi naye. Omuntu oyo bw’aba ayagala okunyumya, mu ngeri ey’amagezi bamubuulira obubaka bw’Obwakabaka.

(Laba akatundu 18) *

18-19. (a) Tufukirira tutya ensigo ez’amazima? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gye yayambamu omuyizi wa Bayibuli omu.

18 Nga “tukolera wamu” ne Katonda, tetusaanidde kukoma ku kusiga nsigo ez’amazima naye era tulina okuzifukirira. Omuntu bw’akiraga nti ayagala okumanya ebisingawo, tuddayo gy’ali oba tukola enteekateeka omuntu omulala n’addayo gy’ali nga tulina ekigendererwa eky’okumuyigiriza Bayibuli. Bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli kitusanyusa nnyo bwe tulaba engeri Yakuwa gy’amuyambamu okukyusa endowooza ye.

19 Lowooza ku Raphalalani abeera mu South Africa eyali omusamize. Yayagala bye yayiga mu Bayibuli. Naye yasanga akaseera akazibu bwe yamanya ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kwogera n’abafu. (Ma. 18:10-12) Mpolampola yakkiriza Katonda okukyusa endowooza ye. Oluvannyuma yalekera awo okukola eby’obusamize, naye ekyo kyali kitegeeza nti yali afiiriddwa omulimu gwe ogwali gumuyimirizaawo. Raphalalani, kati alina emyaka 60, agamba nti: “Nneebaza nnyo Abajulirwa ba Yakuwa olw’okunnyamba mu ngeri ezitali zimu, gamba ng’okunnyamba okufuna omulimu omulala. Naye okusingira ddala nneebaza Yakuwa olw’okunnyamba okutereeza obulamu bwange ne kiba nti kati nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era nneenyigira mu mulimu gw’okubuulira.”

20. Kiki ky’omaliridde okukola?

20 Mu kitundu kino, tulabye ebintu eby’omuwendo bina ebitalabika. Ekisinga mu byonna ye nkizo ey’okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa. Ekyo kitusobozesa okuganyulwa mu by’obugagga ebirala ebitalabika, omuli enkizo ey’okusaba, obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, n’okuyambibwako abo abali mu ggulu nga tubuulira. Ka tube bamalirivu okwongera okusiima eby’obugagga ebyo ebitalabika. Ate era ka bulijjo twebazenga Yakuwa olw’okuba Mukwano gwaffe omulungi ennyo.

OLUYIMBA 145 Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda

^ lup. 5 Mu kitundu ekyayita, twalaba ebintu eby’omuwendo Katonda bye yatuwa bye tulaba n’amaaso gaffe. Ekitundu kino kigenda kwogera ku bintu eby’omuwendo bye tutasobola kulaba n’engeri gye tuyinza okukiragamu nti tusiima ebintu ebyo. Ate era kigenda kutuyamba okwongera okusiima Yakuwa Katonda Ensibuko y’ebintu ebyo.

^ lup. 58 EKIFAANANYI: (1) Bw’aba atunuulira obutonde, mwannyinaffe omu afumiitiriza ku mukwano gw’alina ne Yakuwa.

^ lup. 60 EKIFAANANYI: (2) Mwannyinaffe oyo y’omu asaba Yakuwa amuwe obuvumu okubuulira.

^ lup. 62 EKIFAANANYI: (3) Omwoyo omutukuvu gumuyamba okufuna obuvumu n’abuulira embagirawo.

^ lup. 64 EKIFAANANYI: (4) Mwannyinaffe atandise okuyigiriza Bayibuli omuntu gwe yabuulira embagirawo. Bamalayika bamuyamba ng’abuulira.