Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

Osiima Ebintu Ebirungi Katonda Bye Yakuwa?

Osiima Ebintu Ebirungi Katonda Bye Yakuwa?

“Ai Yakuwa Katonda wange, bye wakola nga bingi, ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebyo bye watutegekera.”​—ZAB. 40:5.

OLUYIMBA 5 Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo

OMULAMWA *

1-2. Okusinziira ku Zabbuli 40:5, birabo ki Yakuwa bye yatuwa, era lwaki tugenda kubyekenneenya?

YAKUWA Katonda mugabi. Lowooza ku bimu ku bintu bino ebirungi bye yatuwa: ensi erabika obulungi; obwongo bwaffe obwakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa; n’Ekigambo kye Bayibuli eky’omuwendo. Okuyitira mu birabo ebyo ebisatu, Yakuwa yatuwa ekifo eky’okubeeramu, obusobozi bw’okulowooza n’okuwuliziganya n’abalala, era azzeemu ebibuuzo ebisinga obukulu bye twebuuza.​—Soma Zabbuli 40:5.

2 Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ebirabo ebyo ebisatu. Gye tukoma okubifumiitirizaako, gye tukoma okwongera okubisiima era gye tukoma okwongera okwagala okusanyusa Omutonzi waffe, Yakuwa. (Kub. 4:11) Era kituyamba okumanya engeri gye tusobola okuyambamu abo ababuzaabuziddwa enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa, wabula byajjawo byokka.

ENSI YAFFE ENNUNGI

3. Lwaki ensi yaffe ya njawulo nnyo?

3 Amagezi ga Katonda geeyolekera mu ngeri gye yakolamu ensi yaffe. (Bar. 1:20; Beb. 3:4) Ensi yaffe si ye sseŋŋendo yokka eyeetooloola enjuba, naye ya njawulo ku zisseŋŋendo endala kubanga erimu ebintu ebisobola okubesaawo obulamu.

4. Lwaki ensi esingira wala amaato abantu ge bakola?

4 Ensi yaffe mu bwengula tuyinza okugigeraageranya ku lyato eriseeyeeya ku liyanja. Naye waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’eryato erijjudde abantu n’ensi yaffe. Ng’ekyokulabirako, abantu abali mu lyato eryo bayinza kumala bbanga ki nga balamu singa baba balina okwekolera omukka gwe bassa, emmere gye balya, amazzi ge banywa, era nga tebalina kusuula kasasiro wabweru wa lyato? Mu kiseera kitono, abantu abo baba bafudde. Kyokka yo ensi esobozesa abantu okugibeerako nga balamu awamu n’ebiramu ebirala buwumbi na buwumbi. Ekola omukka gwe tussa, emmere, amazzi ge twetaaga, era ebintu ebyo ebikulu tebiggwaawo. Kasasiro n’ebintu ebirala bye tuteetaaga tebisuulibwa bweru wa nsi, kyokka esigala ng’erabika bulungi era ng’esobola okubeerwamu. Ekyo kisoboka kitya? Yakuwa yatonda ensi ng’erina obusobozi obw’okuzza obuggya ebintu. Tugenda kulabayo ebintu bibiri ebiri ku nsi ebizzibwa obuggya: omukka gwe tussa oguyitibwa oxygen n’amazzi.

5. Omukka gwa oxygen gukolebwa gutya, era engeri gye gukolebwamu ekakasa ki?

5 Oxygen gwe mukka ogubeesaawo ebiramu bingi ku nsi nga mw’otwalidde naffe abantu. Kigambibwa nti ebintu ebiramu bikozesa kiro za oxygen obuwumbi emitwalo kkumi buli mwaka. Era ebiramu ebyo bifulumya omukka gwe biteetaaga oguyitibwa carbon dioxide. Wadde kiri kityo, ebiramu ebyo tebimalaawo mukka gwa oxygen, era n’ebbanga terijjula mukka gwa carbon dioxide. Lwaki? Kubanga Yakuwa yatonda ebiramu ebirala ku nsi, gamba ng’ebimera, okuviira ddala ku miti eminene okutuukira ddala ku bumera obusirikitu, okuba nga biyingiza omukka gwa carbon dioxide ate ne bifulumya omukka gwa oxygen. Engeri omukka gwe tussa gye gukolebwamu ekakasa ebigambo ebiri mu Ebikolwa 17:24, 25 awagamba nti: ‘Katonda y’awa abantu bonna obulamu n’omukka gwe bassa.’

6. Amazzi gatambula gatya, era ekyo kiraga ki? (Laba n’akasanduuko “ Entambula y’Amazzi Kirabo Okuva eri Yakuwa.”)

6 Amazzi gasobola okubeerawo ku nsi nga tegafuumuuka oba nga tegakutte bbalaafu olw’okuba ensi eri mu kifo kituufu okuva ku njuba. Singa ensi yasemberako katono okwolekera enjuba, amazzi gonna ku nsi gandikalidde ensi n’ensigala ng’eyokya nnyo, nga nkalu, era nga teriiko bulamu. Ate singa ensi yali walako katono okuva ku njuba, amazzi gonna gandibadde gakutte bbalaafu ensi yonna n’eba ng’ebikiddwa bbalaafu. Olw’okuba Yakuwa yassa ensi mu kifo ekituufu, amazzi agagiriko gasobola okubeesaawo obulamu. Enjuba ebugumya amazzi agali mu gayanja ne ku lukalu, amazzi ago ne gambuka waggulu okukola ebire. Buli mwaka enjuba esitula mu bbanga obuwumbi bwa liita z’amazzi obusukka mu bukadde 500. Amazzi ago gasigala mu bbanga okumala ennaku nga kkumi oluvannyuma ne gatonnya ku nsi ng’enkuba oba omuzira. Amazzi ago gamala ne gaddayo mu gayanja, mu nnyanja, ne mu migga, enjuba n’eddamu n’egasitula. Yakuwa yassaawo entambula eyo ey’amazzi esobozesa ensi okuba nga buli kiseera eba n’amazzi. Mazima ddala Yakuwa alina amagezi mangi n’amaanyi mangi.​—Yob. 36:27, 28; Mub. 1:7.

7. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekirabo ekyogerwako mu Zabbuli 115:16?

7 Tuyinza tutya okwongera okusiima ensi yaffe ennungi n’ebintu byonna ebirungi ebigiriko? (Soma Zabbuli 115:16.) Ekimu ku biyinza okutuyamba kwe kufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda. Ekyo kijja kutuleetera okwebaza Yakuwa buli lunaku olw’ebintu ebirungi bye yatuwa. Era tulaga nti tusiima ensi nga tufuba okukuuma ekifo kye tubeeramu nga kiyonjo.

OBWONGO BWAFFE OBWEWUUNYISA

8. Lwaki tugamba nti obwongo bwaffe bwakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa?

8 Obwongo bw’omuntu bwakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa. Bwe wali okyali mu lubuto lwa maama wo, obwongo bwo bwagenda bukula okusinziira ku pulaani eri mu ndagabutonde, era buli ddakiika obutoffaali bw’obwongo nkumi na nkumi obupya bwalinga bukolebwa! Bannassaayansi bagamba nti obwongo bw’omuntu omukulu bulimu obutoffaali obuyitibwa neurons (obusimu) obuwumbi nga 100. Obutoffaali obwo bwonna awamu bwe bukola obwongo bwaffe obuzitowa kiro ng’emu n’ekitundu. Lowooza ku bimu ku bintu ebyewuunyisa obwongo bye bukola.

9. Kiki ekikukakasa nti obusobozi bwe tulina obw’okwogera kirabo okuva eri Katonda?

9 Obusobozi bwaffe obw’okwogera kyamagero. Lowooza ku ekyo ekibaawo nga twogera. Buli kigambo ky’oyogera, obwongo bwo bulina okukwatagana entambula y’ebinywa nga 100 mu lulimi lwo, emimiro, emimwa, emba, n’ekifuba. Okusobola okwogera ekigambo ne kivaayo bulungi, ebinywa ebyo byonna birina okutambula mu ngeri entuufu mu kiseera ekituufu. Okunoonyereza okumu okwakolebwa mu 2019 ku busobozi bw’omuntu obw’okwogera kwalaga nti omwana eyaakazaalibwa aba asobola okwawula ebigambo kinnakimu ebyogerwa. Okunoonyereza okwo kwongera okukakasa ekyo bannassaayansi bangi kye bagamba nti abantu bazaalibwa n’obusobozi obw’okutegeera n’okuyiga ennimi. Mazima ddala, obusobozi bw’okwogera bwe tulina kirabo okuva eri Katonda.​—Kuv. 4:11.

10. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekirabo eky’okwogera Katonda kye yatuwa?

10 Engeri emu gye tulagamu nti tusiima ekirabo eky’okwogera kwe kunnyonnyola abo abagamba nti ebintu byajjawo byokka ensonga lwaki tukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. (Zab. 9:1; 1 Peet. 3:15) Abo abakkiririza mu njigiriza eyo baagala tukkirize nti ensi n’ebiramu byonna ebigiriko byajjawo mu butanwa. Bwe tukozesa Bayibuli n’ebimu ku bintu bye tulabye mu kitundu kino tusobola okunnyonnyola abo abaagala okuwuliriza ensonga lwaki tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa ye yatonda eggulu n’ensi.​—Zab. 102:25; Is. 40:25, 26.

11. Emu ku nsonga lwaki obwongo bwaffe bwewuunyisa nnyo y’eruwa?

11 Obusobozi bwaffe obw’okujjukira bwewuunyisa nnyo. Omunoonyereza omu edda yateebereza nti obwongo bw’omuntu busobola okujjukira ebintu ebija mu bitabo obukadde 20. Naye kati kigambibwa nti obwongo busobola okujjukira ebintu bingi nnyo n’okusingawo. Obusobozi obw’okujjukira abantu bwe balina bubasobozesa kukola ki?

12. Twawukana tutya ku nsolo bwe kituuka ku kumanya engeri y’okweyisaamu?

12 Mu biramu byonna ebiri ku nsi, abantu bokka be balina obusobozi bw’okujjukira n’okufumiitiriza ku bintu eby’emabega ne bamanya engeri y’okweyisaamu. Olw’obusobozi obwo, abantu basobola okulongoosa mu mpisa zaabwe. (1 Kol. 6:9-11; Bak. 3:9, 10) Mu butuufu, abantu basobola okutendeka omuntu waabwe ow’omunda okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Beb. 5:14) Tusobola okuyiga okulaga okwagala, obusaasizi, n’ekisa. Era tusobola okuyiga okwoleka obwenkanya.

13. Nga Zabbuli 77:11, 12 bwe walaga, tusaanidde kukozesa tutya ekirabo eky’okujjukira?

13 Engeri emu gye tulagamu nti tusiima ekirabo eky’okujjukira kwe kusalawo okujjukira emirundi gyonna Yakuwa gy’azze atuyambamu era gy’azze atubudaabudamu. Ekyo kituyamba okuba n’obwesige nti ajja kutuyamba ne mu biseera eby’omu maaso. (Soma Zabbuli 77:11, 12; 78:4, 7) Engeri endala, kwe kujjukira ebintu ebirungi abalala bye batukolera era ne tukiraga nti tusiima. Abanoonyereza bakizudde nti abantu abasiima emirundi mingi baba basanyufu. Ate era kirungi okukoppa Yakuwa ne tusalawo okwerabira ebintu ebimu. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Yakuwa alina obusobozi bw’okujjukira obutuukiridde, bwe twenenya, asalawo okutusonyiwa n’okwerabira nsobi ze tuba tukoze. (Zab. 25:7; 130:3, 4) Yakuwa ayagala tumukoppe nga tuba beetegefu okusonyiwa abalala abatusaba okubasonyiwa olw’ensobi ze baba batukoze.​—Mat. 6:14; Luk. 17:3, 4.

Tukiraga nti tusiima ekirabo eky’obwongo nga tubukozesa okugulumiza Yakuwa (Laba akatundu 14) *

14. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’obwongo?

14 Tusobola okulaga nti tusiima ekirabo eky’obwongo nga tubukozesa okugulumiza Oyo eyabutuwa. Abamu basalawo okukozesa obubi obwongo bwabwe nga beeteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe ku bikwata ku kituufu n’ekikyamu. Naye okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatutonda, tewali kubuusabuusa nti emitindo gye gisingira wala egyaffe. (Bar. 12:1, 2) Bwe tukolera ku mitindo gye, tufuna emirembe. (Is. 48:17, 18) Ate era tumanya ekigendererwa ky’obulamu, kwe kugamba, okugulumiza Omutonzi waffe era Kitaffe n’okumusanyusa.​—Nge. 27:11.

BAYIBULI KIRABO KYA MUWENDO

15. Bayibuli eyoleka etya okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu?

15 Bayibuli kirabo kya muwendo okuva eri Katonda. Kitaffe ow’omu ggulu yaluŋŋamya abantu okugiwandiika kubanga afaayo ku baana be ab’oku nsi. Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa addamu ebibuuzo ebisinga obukulu bye twebuuza, gamba nga: Twava wa? Obulamu bulina kigendererwa ki? Ebiseera eby’omu maaso binaaba bitya? Yakuwa ayagala abaana be bonna ab’oku nsi okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, era eyo ye nsonga lwaki aleetedde abantu okuvvuunula Bayibuli mu nnimi nnyingi. Leero, Bayibuli eri mu nnimi ezisukka mu 3,000! Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okuvvuunula mu nnimi ez’enjawulo n’okubunyisibwa mu byafaayo. Ka wabe wa abantu gye babeera oba ka lube lulimi ki lwe boogera, abasinga obungi basobola okusoma Bayibuli mu lulimi lwabwe.​—Laba akasanduuko “ Bayibuli mu Nnimi Ezoogerwa mu Afirika.”

16. Okusinziira ku Matayo 28:19, 20, tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Bayibuli?

16 Tukiraga nti tusiima Bayibuli nga tugisoma buli lunaku, nga tufumiitiriza ku bye tusoma, era nga tufuba okukolera ku ebyo ebigirimu. Ate era tulaga nti tusiima Katonda olw’okutuwa Bayibuli nga tufuba okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka ebigirimu.​—Zab. 1:1-3; Mat. 24:14; soma Matayo 28:19, 20.

17. Birabo ki bye tulabye mu kitundu kino, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Mu kitundu kino tulabye ebimu ku birabo Katonda bye yatuwa, gamba nga ensi; obwongo obwewuunyisa; n’Ekigambo kye Bayibuli. Naye era waliwo ebirabo ebirala Yakuwa bye yatuwa ebitalabibwa na maaso. Ebirabo ebyo bijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

^ lup. 5 Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwongera okusiima Yakuwa n’ebintu ebirungi bisatu ku ebyo by’atuwa. Era kijja kutuyamba okulaba engeri y’okunnyonnyolamu abo ababuusabuusa nti eriyo Katonda.

^ lup. 64 EKIFAANANYI: Mwannyinaffe ayiga olulimi olulala asobole okuyigiriza abagwira amazima agali mu Kigambo kya Katonda.