Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19

Ebyo Ebiri mu Kitabo ky’Okubikkulirwa Birina Makulu Ki gy’Oli Leero?

Ebyo Ebiri mu Kitabo ky’Okubikkulirwa Birina Makulu Ki gy’Oli Leero?

“Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno.”​—KUB. 1:3.

OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!

OMULAMWA *

1-2. Emu ku nsonga lwaki tusaanidde okwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa y’eruwa?

 KUBA akafaananyi ng’okyalidde omuntu era n’akuwa ebifaananyi okulaba. Bw’ogenda otunuulira ebifaananyi ebyo, okiraba nti abantu abasinga obungi ababirimu tobamanyi. Naye wabaawo ekifaananyi kimu ekikukwatako ennyo. Lwaki? Kubanga naawe mu kifaananyi ekyo mw’oli. Bw’oba weetegereza ekifaananyi ekyo, ogezaako okujjukira ddi lwe mwakyekubya na wa we mwakyekubisiza. Era ogezaako okujjukira buli muntu ali mu kifaananyi ekyo. Ekifaananyi ekyo kya makulu nnyo gy’oli.

2 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiringa ekifaananyi ekyo. Lwaki? Lwa nsonga nga bbiri. Esooka, ekitabo ekyo kyawandiikirwa ffe. Olunyiriri olusookera ddala mu kitabo ekyo lugamba nti: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.” (Kub. 1:1) N’olwekyo, ebyo ebiri mu kitabo ekyo tebyawandiikirwa bantu bonna okutwaliza awamu, wabula byawandiikirwa abaweereza ba Katonda abeewaayo gy’ali. Olw’okuba tuli bantu ba Katonda, tekitwewuunyisa kukimanya nti naffe tuzingirwa mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu kitabo ekyo. Mu butuufu, bwe tusoma ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa, tuba tusoma ebintu ebitukwatako kinnoomu.

3-4. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa byali bya kutuukirizibwa ddi, era ekyo kisaanidde kutukwatako kitya kinnoomu?

3 Ensonga ey’okubiri ekwata ku kiseera obunnabbi obwo lwe bwandibadde butuukirizibwa. Omutume Yokaana yalaga ekiseera ekyo bwe yagamba nti: “Omwoyo omutukuvu gwantwala mu lunaku lwa Mukama waffe.” (Kub. 1:10) Yokaana we yawandiikira ebigambo ebyo, awo nga mu mwaka gwa 96 E.E., ‘olunaku lwa Mukama waffe’ lwali lukyali mu biseera bya mu maaso. (Mat. 25:14, 19; Luk. 19:12) Naye okusinziira ku bunnabbi obuli mu Bayibuli, olunaku olwo lwatandika mu 1914 Yesu bwe yatandika okufuga mu ggulu nga Kabaka. Okuva mu mwaka ogwo, obunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, obukwata ku bantu ba Katonda, bwatandika okutuukirizibwa. Kati tuli mu kiseera ‘eky’olunaku lwa Mukama waffe’!

4 Olw’okuba ebiseera bye tulimu bikulu nnyo, tusaanidde okussaayo omwoyo ku kubuulirira okuli mu Okubikkulirwa 1:3, awagamba nti: “Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno, n’abo ababiwulira era abakwata ebintu ebiwandiikiddwa mu bwo, kubanga ekiseera ekigereke kiri kumpi.” Mazima ddala tusaanidde ‘okusoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno,’ ‘okubiwuliriza, n’okubikwata.’ Ebimu ku bigambo ebyo bye tusaanidde okukwata bye biruwa?

KAKASA NTI OSINZA KATONDA MU NGERI GY’ASIIMA

5. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga kitya nti kikulu okukakasa nti tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima?

5 Okuviira ddala mu ssuula esooka ey’ekitabo ky’Okubikkulirwa, tukiraba nti Yesu amanyi bulungi ebyo ebigenda mu maaso mu bibiina by’abantu be. (Kub. 1:12-16, 20; 2:1) Obubaka Yesu bwe yaweereza ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono, bulaga nti amanyi bulungi ebyo ebigenda mu maaso mu bibiina. Mu bubaka obwo, yawa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka obulagirizi obwandibayambye okukakasa nti basinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Ate era ebyo bye yayogera mu bubaka obwo, bikwata ne bantu ba Yakuwa bonna leero. Biki bye tuyiga mu bubaka obwo? Mukama waffe, Kristo Yesu, amanyi bulungi embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Atukulembera, atukuuma, era alaba buli kimu. Amanyi kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Bulagirizi ki bwe yawa bwe tusaanidde okukolerako leero?

6. (a) Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 2:3, 4, kizibu ki ab’omu kibiina ky’e Efeso kye baalina? (b) Ffe ekyo tukiyigirako ki?

6 Soma Okubikkulirwa 2:3, 4. Tetulina kuleka okwagala kwe twalina eri Yakuwa olubereberye. Obubaka Yesu bwe yaweereza ab’omu kibiina ky’e Efeso bwalaga nti baali bagumiikirizza ebizibu ebitali bimu era nga beeyongedde okuweereza Yakuwa awatali kuddirira. Wadde kyali kityo, baali balese okwagala kwe baalina olubereberye. Okusinza kwabwe okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, baalina okuddamu okukulaakulanya okwagala okwo. Naffe leero tetulina kukoma ku kuba bagumiikiriza. Tulina okuba n’ensonga ennungi kwe tusinziira okugumiikiriza. Katonda waffe afaayo ku ebyo bye tukola era ne ku nsonga lwaki tubikola. Ebiruubirirwa byaffe abitwala nga bikulu, kubanga atusuubira okumusinza olw’okuba tumwagala era olw’okuba tusiima by’atukolera.​—Nge. 16:2; Mak. 12:29, 30.

7. (a) Okusinziira ku Okubikkulirwa 3:1-3, kizibu ki ab’omu kibiina ky’e Saadi kye baalina? (b) Kiki kye tusaanidde okukola?

7 Soma Okubikkulirwa 3:1-3. Tulina okusigala nga tutunula era nga tuli bulindaala. Ekizibu ab’omu kibiina ky’e Saadi kye baalina kyali kya njawulo. Wadde ng’emabega baali baweereza Yakuwa n’obunyiikivu, kati baali bamuweereza kutuukiriza butuukiriza mukolo. N’olwekyo Yesu yabagamba ‘okuzuukuka.’ Ekyo tukiyigirako ki? Kya lwatu nti Yakuwa tayinza kwerabira mulimu gwaffe. (Beb. 6:10) Wadde kiri kityo, tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba twaweerezanga Yakuwa mu biseera eby’emabega, kati tekikyatwetaagisa kumuweereza. Wadde nga wayinza okubaawo ebitulemesa okukola ebintu ebimu mu buweereza bwaffe, tusaanidde okweyongera okukukola ‘omulimu gwa Mukama waffe,’ nga tusigala tutunula era nga tuli bulindaala okutuukirira ddala ku nkomerero.​—1 Kol. 15:58; Mat. 24:13; Mak. 13:33.

8. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba ab’omu kibiina ky’e Lawodikiya ebiri mu Okubikkulirwa 3:15-17?

8 Soma Okubikkulirwa 3:15-17. Tusaanidde okusinza Yakuwa n’obunyiikivu era n’omutima gwaffe gwonna. Obubaka Yesu bwe yaweereza ab’omu kibiina ky’e Lawodikiya bulaga ekizibu eky’enjawulo kye baalina. Yagamba nti baali ‘tebannyogoga ate nga tebookya.’ Olw’okuba tebaali banyiikivu mu kusinza kwabwe, Yesu yabagamba nti baali ‘banaku era abasaasirwa.’ Baali beetaaga okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Kub. 3:19) Ekyo tukiyigirako ki? Bwe tuba nga tetukyali banyiikivu nga bwe twalinga edda, tusaanidde okufuba okulaba nga tuddamu okusiima ebintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa. (Kub. 3:18) Tetusaanidde kussa kusinza kwaffe mu kifo eky’okubiri, olw’okuba twagala okuba mu bulamu obulungi obutaliimu kukaluubirirwa kwonna.

9. Okusinziira ku bubaka Yesu bwe yawa ab’omu kibiina ky’e Perugamo n’eky’e Suwatira, kiki kye tusaanidde okwewala?

9 Tulina okwewalira ddala enjigiriza za bakyewaggula. Yesu yanenya abamu ku Bakristaayo ab’omu kibiina ky’e Perugamo olw’okuleetawo enjawukana mu b’oluganda. (Kub. 2:14-16) Yasiima ab’omu kibiina ky’e Suwatira abaali beewalidde ddala “ebintu bya Sitaani eby’omunda,” era n’abakubiriza ‘okunywerera’ ku mazima. (Kub. 2:24-26) Abakristaayo abaali abanafu mu by’omwoyo abaaliyo, abaali bakkirizza okutwalirizibwa enjigiriza ez’obulimba, baalina okwenenya. Ate ffe leero? Tulina okwewalira ddala enjigiriza zonna ezitakwatagana na ndowooza ya Yakuwa. Bakyewaggula bayinza okuwa “ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.” (2 Tim. 3:5) Bwe tuba nga tuli banyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda, kiba kyangu okumanya enjigiriza ez’obulimba era n’okuzeewala.​—2 Tim. 3:14-17; Yud. 3, 4.

10. Kiki ekirala kye tuyiga mu ebyo Yesu bye yagamba ab’omu kibiina ky’e Perugamo n’eky’e Suwatira?

10 Tetusaanidde kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okubigumiikiriza, oba okuzibira abo ababyenyigiramu. Waliwo n’ekizibu ekirala ekyali mu kibiina ky’e Perugamo n’eky’e Suwatira. Yesu yanenya abamu ku Bakristaayo mu bibiina ebyo olw’obuteewala bikolwa bya bugwenyufu. (Kub. 2:14, 20) Ekyo tukiyigirako ki? Tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa ajja kutugumiikiriza nga twenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ka tube nga tumaze emyaka mingi nga tumuweereza era nga mu kiseera kino tulina enkizo ezitali zimu. (1 Sam. 15:22; 1 Peet. 2:16) Atusuubira okutambulira ku mitindo gye egya waggulu egikwata ku mpisa, wadde ng’emitindo gy’empisa mu nsi giserebye nnyo.​—Bef. 6:11-13.

11. Biki bye twakalaba? (Laba n’akasanduuko “ Bye Tuyiga Leero.”)

11 Mu bumpimpi, biki bye twakalaba? Tulabye nti kikulu okukakasa nti tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. Bwe kiba nti waliwo ekintu kye tukola ekiviirako okusinza kwaffe okuba nga tekusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tusaanidde okukola mu bwangu enkyukakyuka ezeetaagisa tusobole okusiimibwa mu maaso ga Katonda. (Kub. 2:5, 16; 3:3, 16) Kyokka waliwo ekintu ekirala Yesu kye yayogerako mu bubaka bwe yaweereza ebibiina. Kintu ki ekyo?

BEERA MWETEGEFU OKUGUMIRA OKUYIGGANYIZIBWA

Oluvannyuma lwa Sitaani okugobebwa mu ggulu, bulumbaganyi ki bw’azze akola ku bantu ba Katonda? (Laba akatundu 12-16)

12. Kiki kye tuyigira ku bubaka Yesu bwe yawa Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Sumuna n’eky’e Firaderufiya? (Okubikkulirwa 2:10)

12 Kati ate ka tulabe obubaka Yesu bwe yawa ekibiina ky’e Sumuna n’eky’e Firaderufiya. Yagamba Abakristaayo ab’omu bibiina ebyo obutatya kuyigganyizibwa, kubanga bwe bandisigadde nga beesigwa Yakuwa yandibawadde empeera. (Soma Okubikkulirwa 2:10; 3:10) Ekyo tukiyigirako ki leero? Tusaanidde okusuubira okuyigganyizibwa era n’okuba abeetegefu okukugumira. (Mat. 24:9, 13; 2 Kol. 12:10) Lwaki ekyo kikulu nnyo?

13-14. Ebintu ebyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 12 bikutte bitya ku bantu ba Katonda?

13 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti abantu ba Katonda bandibadde bayigganyizibwa mu kiseera ‘ky’olunaku lwa Mukama waffe,’ era ng’ekiseera ekyo kye tulimu leero. Okubikkulirwa essuula 12 eraga nti waaliwo olutalo mu ggulu amangu ddala ng’Obwakabaka bwa Katonda bwakatandika okufuga. Mikayiri, ng’ono ye Yesu oluvannyuma lw’okuddayo mu ggulu, awamu n’eggye lye, baalwanyisa Sitaani ne badayimooni. (Kub. 12:7, 8) Abalabe ba Katonda abo baawangulwa ne basuulibwa wano ku nsi, era ne baviirako abantu okubonaabona ennyo. (Kub. 12:9, 12) Ebyo ebyaliwo bikutte bitya ku bantu ba Katonda?

14 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kitulaga engeri Sitaani gye yakwatibwako. Takyasobola kuddayo mu ggulu. N’olwekyo obusungu bwe abumalidde ku baafukibwako amafuta abakyasigaddewo abakiikirira Obwakabaka bwa Katonda wano ku nsi, era “abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.” (Kub. 12:17; 2 Kol. 5:20; Bef. 6:19, 20) Obunnabbi obwo butuukiriziddwa butya?

15. Baani abakiikirirwa ‘abajulirwa ababiri’ aboogerwako mu Okubikkulirwa essuula 11, era kiki ekyabatuukako?

15 Sitaani yakola obulumbaganyi ku b’oluganda abaafukibwako amafuta abaali bawoma omutwe mu kukola omulimu gw’okubuulira. Ab’oluganda abo be boogerwako ‘ng’abajulirwa ababiri’ abattibwa. * (Kub. 11:3, 7-11) Mu 1918, munaana ku b’oluganda abaali batwala obukulembeze baasibibwako emisango era ne basalirwa ekibonerezo kya kumala ekiseera kiwanvu mu kkomera. Mu ndaba ey’obuntu, omulimu gw’abafukibwako amafuta abo gwalabika ng’ogwali gukomezeddwa.

16. Kintu ki ekyewuunyisa ekyaliwo mu 1919, naye kiki Sitaani kye yeeyongedde okukola okuva mu kiseera ekyo?

16 Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa essuula 11 era bulaga nti ‘abajulirwa ababiri’ bandizzeemu okuba abalamu oluvannyuma lw’akaseera katono. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, waliwo ekintu ekyewuunyisa akyaliwo nga wayise omwaka nga gumu ng’ab’oluganda abo bamaze okusibibwa. Ku ntandikwa ya 1919 ab’oluganda abo abaafukibwako amafuta baasumululwa era ne baggibwako emisango. Mangu ddala ab’oluganda abo baddamu okukola omulimu gw’Obwakabaka. Naye ekyo tekyaleetera Sitaani kulekera awo kulumba bantu ba Katonda. Okuva mu kiseera ekyo, ayolekezza “omugga” gw’okuyigganyizibwa ku bantu ba Katonda bonna. (Kub. 12:15) Mazima ddala buli omu ku ffe kimwetaagisa “okugumiikiriza n’okuba n’okukkiriza.”​—Kub. 13:10.

WEENYIGIRE MU BUJJUVU MU MULIMU YAKUWA GWE YATUWA

17. Wadde nga Sitaani alumbye abantu ba Katonda, buyambi ki bwe bafunye?

17 Okubikkulirwa essuula 12 eraga nti abantu ba Katonda bandifunye obuyambi okuva awatasuubirwa. Essuula eyo eraga nti ensi yandibadde “emira omugga” ogw’okuyigganyizibwa. (Kub. 12:16) Ekyo kyennyini kye kibaddewo. Oluusi n’oluusi, ezimu ku nteekateeka eziri mu nsi ya Sitaani, gamba ng’enteekateeka y’eby’amateeka, ziyambye abantu ba Katonda. Emirundi mingi abaweereza ba Katonda bawangudde emisango mu kkooti, ne kibasobozesa okufuna eddembe ku kigero ekitonotono. Bakozesezza batya eddembe eryo? Bakozesezza mu bujjuvu buli kakisa ke bafuna okukola omulimu Yakuwa gwe yabawa. (1 Kol. 16:9) Omulimu ogwo guzingiramu ki?

Bubaka ki obw’emirundi ebiri abantu ba Katonda bwe balangirira? (Laba akatundu 18-19)

18. Mulimu ki omukulu gwe tukola mu nnaku zino ez’enkomerero?

18 Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde balangirira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda’ mu nsi yonna ng’enkomerero tennajja. (Mat. 24:14) Bwe baba bakola omulimu ogwo, bayambibwako malayika, oba ekibinja kya bamalayika, aboogerwako ng’abalina “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe ag’okulangirira eri abo ababeera ku nsi, eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.”​—Kub. 14:6.

19. Bubaka ki obulala abo abaagala Yakuwa bwe balina okubuulira?

19 Amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda si ge gokka abantu ba Katonda ge balangirira. Beenyigira ne mu mulimu ogukolebwa bamalayika aboogerwako mu Okubikkulirwa, okuva ku ssuula 8 okutuuka ku 10. Bamalayika abo balangirira ebibonyoobonyo ebyandituuse ku abo abagaana okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa babadde balangirira obubaka obw’omusango obufaanaanyirizibwako “omuzira n’omuliro,” nga bulaga omusango Katonda gw’asalidde enteekateeka ya Sitaani. (Kub. 8:7, 13) Abantu beetaaga okumanya nti enkomerero eneetera okutuuka, bakole enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okuwonawo ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda. (Zef. 2:2, 3) Naye abantu abasinga obungi tebaagala kuwuliriza bubaka obwo. N’olwekyo, kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okulangirira obubaka obwo. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, obubaka obusembayo obw’omusango bujja kweyongera okuyisiza ddala obubi abantu.​—Kub. 16:21.

KOLERA KU BIGAMBO EBY’OBUNNABBI

20. Biki bye tujja okulaba mu bitundu ebibiri ebiddako?

20 Mazima ddala tulina okukolera ku ‘bigambo by’obunnabbi buno,’ kubanga naffe tuzingirwa mu kutuukirizibwa kw’ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Okubikkulirwa. (Kub. 1:3) Naye tuyinza tutya okugumira okuyigganyizibwa, ne tweyongera okulangirira obubaka buno n’obuvumu? Ebintu bibiri bijja kutuyamba: ekisooka, ebyo ekitabo ky’Okubikkulirwa bye kitubuulira ku balabe ba Katonda. Eky’okubiri, emikisa gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso singa tusigala nga tuli beesigwa. Ebintu ebyo bijja kwogerwako mu bitundu ebibiri ebiddako.

OLUYIMBA 32 Nywerera ku Yakuwa!

^ Ebiseera bye tulimu bikulu nnyo! Obunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa butuukirizibwa leero. Obunnabbi obwo butukwatako butya? Mu kitundu kino ne mu bitundu ebibiri ebiddako, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okusinza Yakuwa Katonda waffe mu ngeri gy’asiima, nga tukolera ku bintu ebiwandiikiddwa mu kitabo ekyo.

^ Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2014, lup. 30.