Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Biseera Byo eby’Omu Maaso?

Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Biseera Byo eby’Omu Maaso?

“Amiina! Jjangu, Mukama waffe Yesu.”​—KUB. 22:20.

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

OMULAMWA *

1. Kintu ki ekikulu ennyo abantu bonna kye balina okusalawo?

 LEERO abantu balina ekintu ekikulu kye balina okusalawo. Banaawagira Yakuwa Katonda, oyo agwanidde okufuga obutonde bwonna, oba banaawagira omulabe we, Sitaani Omulyolyomi? Buli muntu alina okusalawo ludda ki kw’agwa. Tewaliiwo butabaako na ludda. Kyonna abantu kye basalawo kijja kubaviirako okufuna obulamu obutaggwaawo oba obutabufuna. (Mat. 25:31-33, 46) Mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ bajja kuteekebwako akabonero ak’okuwonawo oba okuzikirizibwa.​—Kub. 7:14; 14:9-11; Ezk. 9:4, 6.

2. (a) Abebbulaniya 10:35-39 watukubiriza kukola ki? (b) Ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa biyinza kutuyamba bitya?

2 Soma Abebbulaniya 10:35-39. Bw’oba nga wasalawo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, wasalawo bulungi. Kati oteekwa okuba ng’oyagala nnyo okuyamba abalala nabo basobole okusalawo obulungi. Osobola okukozesa ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa okubayamba. Ng’oggyeeko okuba nti ekitabo ekyo kiraga ebyo ebigenda okutuuka ku abo abawakanya obufuzi bwa Yakuwa, era kiraga emikisa abo ababuwagira gye bajja okufuna. Tusaanidde okwekenneenya ebintu ebyo ebikulu ebyogerwako mu kitabo ekyo. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa. Ate era ebyo bye tuyize tusobola okubikozesa okuyamba abalala okusalawo obulungi n’okunywerera ku ekyo kye baba basazeewo.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Biki abo abawagira obufuzi bwa Katonda bye bajja okufuna? Ate kiki ekinaatuuka ku abo abasazeewo okuwagira ensolo emmyufu eyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa?

EMIKISA ABO ABASIGALA NGA BEESIGWA ERI YAKUWA GYE BAJJA OKUFUNA

4. Kibinja ki eky’abantu omutume Yokaana ky’alaba nga kiri ne Yesu mu ggulu?

4 Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba ebibinja bibiri eby’abantu abawagira obufuzi bwa Yakuwa era abajja okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekibinja ekisooka kirimu abantu 144,000. (Kub. 7:4) Baggibwa ku nsi okubeera mu gavumenti ey’omu ggulu nga bafugira wamu ne Yesu. Bajja kufugira wamu naye ensi. (Kub. 5:9, 10; 14:3, 4) Yokaana yalaba mu kwolesebwa nga bayimiridde wamu ne Yesu ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu.​—Kub. 14:1.

5. Kiki ekinaatera okutuuka ku baafukibwako amafuta abakyaliwo ku nsi?

5 Okuviira ddala mu biseera by’abatume, abantu nkumi na nkumi bazze balondebwa okubeera abamu ku 144,000. (Luk. 12:32; Bar. 8:17) Kyokka, Yokaana yagambibwa nti batono nnyo ku abo abanaaba bakyasigaddewo ku nsi mu nnaku ez’enkomerero. Abo abanaaba ‘bakyasigaddewo’ bajja kuteekebwako akabonero akasembayo ‘ng’ekibonyoobonyo’ ekinene kigenda okutandika, akalaga nti basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Kub. 7:2, 3; 12:17) Oluvannyuma ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda mu maaso, abo abanaaba bakyasigaddewo ku 144,000, bajja kutwalibwa mu ggulu beegatte ku bannaabwe. Bajja kufugira wamu ne Yesu mu Bwakabaka bwa Katonda.​—Mat. 24:31; Kub. 5:9, 10.

6-7. (a) Kibinja ki Yokaana ky’addako okulaba, era kiki kye tumanyi ku abo abakirimu? (b) Lwaki abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ‘n’ab’ekibiina ekinene’ basaanidde okukwatibwako ennyo bwe basoma ebyo ebiri mu Okubikkulirwa essuula 7?

6 Oluvannyuma lw’okulaba abo abagenda okufugira awamu ne Yesu mu ggulu, Yokaana yalaba “ekibiina ekinene.” Okwawukana ku 144,000, omuwendo gw’abali mu kibinja kino teguyinza kubalika. (Kub. 7:9, 10) Kiki Bayibuli ky’eboogerako? Yokaana yagambibwa nti: “Bano be baayita mu kibonyoobonyo ekinene, era baayoza ebyambalo byabwe mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga ne babitukuza.” (Kub. 7:14) Abo abali mu ‘kibiina ekinene’ bwe banaamala okuyita mu kibonyoobonyo ekinene, bajja kusigala wano ku nsi era bajja kufuna emikisa mingi.​—Zab. 37:9-11, 27-29; Nge. 2:21, 22; Kub. 7:16, 17.

7 Ka tube nga twalondebwa okuba abamu ku abo abagenda mu ggulu oba nga tugenda kusigala wano ku nsi, tusaanidde okuba n’okukkiriza nti tujja kuba abamu ku abo aboogerwako mu Okubikkulirwa essuula 7. Mazima ddala kijja kuba kiseera kya ssanyu nnyo eri abaweereza ba Katonda abanaaba mu bibinja ebyo byombi! Tujja kusanyuka nnyo okuba nti twasalawo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Kiki ekirala ekitabo ky’Okubikkulirwa kye kyogera ku kibonyoobonyo ekinene?​—Mat. 24:21.

EKINAATUUKA KU ABO ABAWAKANYA KATONDA

8. Ekibonyoobonyo ekinene kinaatandika kitya, era kiki abantu abasinga obungi kye bajja okukola?

8 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, mu kiseera ekitali kya wala, gavumenti z’ensi zigenda kwefuulira Babulooni Ekinene, kwe kugamba, amadiini gonna ag’obulimba. (Kub. 17:16, 17) Eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ekyo kinaaviirako abantu bangi nnyo okutandika okusinza Yakuwa? Nedda. Okwawukana ku ekyo, Okubikkulirwa essuula 6 eraga nti mu kiseera ekyo abo abataweereza Yakuwa obukuumi bajja kubunoonyeza mu bannabyabufuzi ne bannabyabusuubuzi abageraageranyizibwa ku nsozi. Olw’okuba bajja kuba tebawagira Bwakabaka, Yakuwa ajja kubatwala ng’abamuwakanya.​—Luk. 11:23; Kub. 6:15-17.

9. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abantu ba Yakuwa banaayawukana batya ku bantu abalala, era kiki ekinaavaamu?

9 Mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bajja kuba ba njawulo ku bantu abalala. Ne mu kiseera ekyo, bajja kuba nga be bantu bokka ku nsi abaweereza Yakuwa Katonda era abatawagira ‘nsolo.’ (Kub. 13:14-17) Ekyo kijja kunyiiza nnyo abo abawakanya obufuzi bwa Yakuwa. N’ekinaavaamu, amawanga aganaaba geegasse awamu gajja kulumba abantu ba Katonda okwetooloola ensi. Obulumbaganyi obwo Bayibuli ebuyita obulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi.​—Ezk. 38:14-16.

10. Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 19:19-21, kiki Yakuwa ky’anaakola ng’abantu be balumbiddwa?

10 Obulumbaganyi obwo bunaakwata butya ku Yakuwa? Agamba nti: ‘Obusungu bwange bujja kubuubuuka.’ (Ezk. 38:18, 21-23) Okubikkulirwa essuula 19 etubuulira ekinaddako. Yakuwa ajja kutuma Omwana we okulwanirira abantu be n’okuzikiriza abalabe be. Mu lutalo olwo, Yesu ajja kwegattibwako “eggye ery’omu ggulu,” kwe kugamba, bamalayika abeesigwa n’abaafukibwako amafuta 144,000. (Kub. 17:14; 19:11-15) Biki ebinaava mu lutalo olwo? Ebibiina byonna n’abantu bonna abawakanya Yakuwa bajja kusaanyizibwawo!​—Soma Okubikkulirwa 19:19-21.

OLUVANNYUMA LW’OLUTALO WAJJA KUBAAWO EMBAGA

11. Kintu ki ekisinga obukulu ekyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa?

11 Lowooza ku ngeri abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abanaabaawo ku nsi gye banaawuliramu ng’abalabe ba Katonda bamaze okusaanyizibwawo. Ekyo nga kijja kuba kiseera kya ssanyu! Wadde nga wajja kubaawo essanyu lingi nnyo mu ggulu nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa, waliwo ekintu ekirala ekigenda okuleeta essanyu erisinga n’awo. (Kub. 19:1-3) Mu butuufu, kye kintu ekisinga obukulu ekyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ng’eno ye ‘mbaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.’​—Kub. 19:6-9.

12. Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 21:1, 2, embaga y’Omwana gw’Endiga eneebaawo ddi?

12 Embaga eyo eneebaawo ddi? Abakristaayo 144,000 bonna bajja kuba bamaze okutwalibwa mu ggulu ng’olutalo Amagedoni lugenda okutandika. Naye ekyo si kye kijja okuba ekiseera eky’embaga y’Omwana gw’Endiga. (Soma Okubikkulirwa 21:1, 2.) Embaga y’Omwana gw’endiga ejja kubaawo oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni okulwanibwa, era ng’abalabe ba Katonda bonna bamaze okuzikirizibwa.​—Zab. 45:3, 4, 13-17.

13. Kiki ekinaabaawo ku mbaga y’Omwana gw’Endiga?

13 Kiki ekinaabaawo ku mbaga y’Omwana gw’Endiga? Ng’omusajja n’omukazi bwe bagattibwa ku mbaga, bwe kityo bwe kijja okuba ne ku mbaga eno ey’akabonero. Kabaka Yesu Kristo ajja kugattibwa wamu ‘n’omugole’ we, kwe kugamba, abaafukibwako amafuta 144,000. Ekintu ekyo ekikulu ennyo bwe kinaabaawo, gavumenti empya ejja kutandika okufuga ensi yonna okumala emyaka 1,000.​—Kub. 20:6.

EKIBUGA EKY’EKITIIBWA N’EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO

Okubikkulirwa essuula 21 eyogera ku Yerusaalemi Ekiggya eky’akabonero nga “kikka okuva mu ggulu ewa Katonda.” Mu kiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, kijja kuleetera abantu abawulize emikisa mingi nnyo (Laba akatundu 14-16)

14-15. Abaafukibwako amafuta 144,000 bageraageranyizibwa ku ki mu Okubikkulirwa essuula 21? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

14 Ekiddako, Okubikkulirwa essuula 21 egeraageranya abaafukibwako amafuta 144,000 ku kibuga ekirabika obulungi ennyo ekiyitibwa “Yerusaalemi Ekiggya.” (Kub. 21:2, 9) Ekibuga ekyo kiri ku mayinja 12 ag’omusingi agawandiikiddwako “amannya 12 ag’abatume 12 ab’Omwana gw’Endiga.” Lwaki ekyo kiteekwa okuba nga kyakwata nnyo ku Yokaana? Kubanga yalaba erinnya lye nga liwandiikiddwa ku limu ku mayinja ago. Eyo nga yali nkizo ya kitalo nnyo!​—Kub. 21:10-14; Bef. 2:20.

15 Ekibuga ekyo eky’akabonero kya njawulo nnyo ku bibuga ebirala. Oluguudo lwakyo olunene lwa zzaabu omulongoofu, emiryango gyakyo ekkumi n’ebiri gya luulu, ebisenge byakyo n’emisingi gyakyo bitonaatoneddwa n’amayinja ag’omuwendo, era kyapimibwa bulungi nnyo. (Kub. 21:15-21) Naye kirabika ng’ekirina ekikibulamu. Yokaana agamba nti: “Saakirabamu yeekaalu, kubanga Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna n’Omwana gw’Endiga ye yeekaalu yaakyo. Era ekibuga kyali tekyetaaga njuba na mwezi kukimulisa, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyali kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye yali ettaala yaakyo.” (Kub. 21:22, 23) Abo abali mu Yerusaalemi Ekiggya bajja kuba balaba Yakuwa butereevu. (Beb. 7:27; Kub. 22:3, 4) N’olwekyo, yeekaalu y’ekibuga ekyo ye Yakuwa ne Yesu.

Baani abanaaganyulwa mu mikisa egyogerwako ‘ng’omugga n’emiti’? (Laba akatundu 16-17)

16. Abantu banaaba mu mbeera ki mu kiseera eky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi?

16 Abaafukibwako amafuta bawulira essanyu lingi bwe bafumiitiriza ku kibuga ekyo. Naye n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna basaanidde okusanyuka bwe bakirowoozaako. Mu kiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, Yerusaalemi Ekiggya kijja kuleeta emikisa mingi nnyo. Yokaana yalaba emikisa egyo nga gikulukuta ‘ng’omugga ogw’amazzi ag’obulamu.’ Eruuyi n’eruuyi ku lubalama lw’omugga ogwo waaliyo “emiti egy’obulamu” egiriko ebikoola nga “bya kuwonya mawanga.” (Kub. 22:1, 2) Abantu bonna abanaabaawo mu kiseera ekyo bajja kuganyulwa mu mikisa egyo. Mpolampola, abantu bonna abawulize bajja kufuuka abatuukiridde. Okulwala, obulumi, n’amaziga ag’ennaku, tebijja kuddamu kubaawo.​—Kub. 21:3-5.

17. Nga bwe kiragibwa Okubikkulirwa 20:11-13, baani abanaaganyulwa mu mikisa eginaabaawo mu Bufuzi obw’Emyaka Olukumi?

17 Baani abanaaganyulwa mu bintu ebyo ebirungi? Okusookera ddala, ab’ekibiina ekinene abanaawonawo ku lutalo Amagedoni, awamu n’abaana oboolyawo abalizaalibwa mu nsi empya. Naye Okubikkulirwa essuula 20 era eraga nti abafu bajja kuzuukizibwa. (Soma Okubikkulirwa 20:11-13.) Abantu “abatuukirivu” abaafa, awamu “n’abatali batuukirivu,” abataafuna kakisa kuyiga bikwata ku Yakuwa, bonna bajja kuzuukizibwa babeera wano ku nsi. (Bik. 24:15; Yok. 5:28, 29) Ekyo kitegeeza nti abantu bonna bajja kuzuukizibwa mu kiseera eky’emyaka 1,000? Abo abaafuna akakisa okuweereza Yakuwa nga tebannafa naye ne bagaana okumuweereza, tebajja kuzuukira. Baafuna akakisa naye ne bakiraga nti tebagwanira kufuna bulamu butaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Mat. 25:46; 2 Bas. 1:9; Kub. 17:8; 20:15.

OKUGEZESEBWA OKUSEMBAYO

18. Emyaka 1,000 we ginaggweerako embeera eneeba etya ku nsi?

18 Emyaka 1,000 we ginaggweerako, abo bonna abanaaba ku nsi bajja kuba bafuuse abantu abatuukiridde. Tewajja kubaawo muntu n’omu anaaba akyalina ekibi kye twasikira okuva ku Adamu. (Bar. 5:12) Ekikolimo ky’ekibi ekyo kijja kuba kiggiddwawo ddala. Ekyo kitegeeza nti ku nkomerero y’emyaka 1,000, abo abanaabeera ku nsi bajja kuba ‘balamuse’ olw’okuba bajja kuba bafuuse abantu abatuukiridde.​—Kub. 20:5.

19. Lwaki okugezesebwa okusembayo kwetaagisa?

19 Tukimanyi nti wadde nga Sitaani yagezaako okukema Yesu, Yesu yasigala mwesigwa eri Yakuwa. N’abantu bonna abanaaba batuukiridde banaasobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa, Sitaani bw’anaaweebwa akakisa okubagezesa? Buli muntu ajja kweddiramu ekibuuzo ekyo Sitaani bw’anaasumululwa mu bunnya ku nkomerero y’emyaka 1,000. (Kub. 20:7) Abo abanaasigala nga beesigwa mu kiseera ekyo eky’okugezesebwa okusembayo, bajja kufuna obulamu obutaggwaawo era kyaddaaki bajja kufuna eddembe erya nnamaddala. (Bar. 8:21) Abo abanaajeemera Yakuwa bajja kuzikirizibwa awamu ne Sitaani ne badayimooni.​—Kub. 20:8-10.

20. Owulira otya bw’ofumiitiriza ku bunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa?

20 Owulira otya oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa? Muli owulira ng’okwatibwako nnyo oluvannyuma lw’okukimanya nti naawe ozingirwa mu bunnabbi obwo? Ekyo tekikuleetera kwagala kuyamba balala okutwegattako mu kusinza okulongoofu? (Kub. 22:17) Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa, naffe tukwatibwako ng’omutume Yokaana, eyagamba nti: “Amiina! Jjangu, Mukama waffe Yesu.”​—Kub. 22:20.

OLUYIMBA 27 Okubikkulibwa kw’Abaana ba Katonda

^ Kino kye kitundu ekisembayo ku bitundu ebisatu ebyogera ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino, abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa bajja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi, ate abo abawakanya obufuzi bwe bajja kuzikirizibwa.