Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20

Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Ekyo Ekinaatuuka ku Balabe ba Katonda

Ekitabo ky’Okubikkulirwa Kyogera Ki ku Ekyo Ekinaatuuka ku Balabe ba Katonda

“Ne bibakuŋŋaanya wamu mu kifo ekiyitibwa Amagedoni mu Lwebbulaniya.”​—KUB. 16:16.

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

OMULAMWA *

1. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga ki ekyandituuse ku bantu ba Katonda?

 EKITABO ky’Okubikkulirwa kiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu, era nti Sitaani yagobebwa mu ggulu. (Kub. 12:1-9) Ekyo kyaviirako abo abali mu ggulu okuba mu mirembe, naye wano ku nsi kyatuviirako okuba n’ebizibu bingi. Lwaki? Kubanga Sitaani obusungu bwe abwolekezza abo abaweereza Yakuwa n’obwesigwa wano ku nsi.​—Kub. 12:12, 15, 17.

2. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

2 Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde nga Sitaani atulumba? (Kub. 13:10) Ekintu ekimu ekigenda okutuyamba kwe kumanya ebyo ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okubikkulirwa, omutume Yokaana yalaga ebimu ku bintu ebirungi ebinaatera okubaawo. Mu bintu ebyo mwe muli okusaanyizibwawo kw’abalabe ba Katonda. Kati ka tulabe ekitabo ekyo bye kyogera ku balabe abo n’ekigenda okubatuukako.

ABALABE BA KATONDA BOOGERWAKO MU NGERI YA ‘KABONERO’

3. Ezimu ku nsolo ezoogerwako mu ngeri ey’akabonero mu kitabo ky’Okubikkulirwa ze ziruwa?

3 Olunyiriri olusookera ddala mu kitabo ky’Okubikkulirwa lulaga nti ebyo ebiri mu kitabo ekyo byogerwako mu ngeri ya ‘kabonero.’ (Kub. 1:1) Mu kitabo ekyo, tusoma ku nsolo ezitali zimu ezikiikirira abalabe ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, waliwo ensolo erabibwa “ng’eva mu nnyanja.” Erina “amayembe kkumi n’emitwe musanvu.” (Kub. 13:1) Ensolo eyo eddirirwa ensolo endala eyogerwako “ng’eva mu ttaka.” Ensolo eno eyogera ng’ogusota era ereetera “omuliro okuva mu ggulu.” (Kub. 13:11-13) Ate era waliwo ‘n’ensolo endala emmyufu’ eyogerwako, era nga malaaya agyebagaddeko. Ensolo ezo essatu zikiikirira abalabe ba Yakuwa Katonda abamaze ekiseera kiwanvu nga balwanyisa Obwakabaka bwe. N’olwekyo, kikulu okumanya abalabe abo.​—Kub. 17:1, 3.

ENSOLO NNYA ENNENE

“Ziva mu nnyanja.” (Dan. 7:1-8, 15-17) Zikiikirira obufuzi kirimaanyi obulina eky’amaanyi kye bukoze ku bantu ba Katonda, okuviira ddala mu kiseera kya Danyeri (Laba akatundu 4, 7)

4-5. Ebyo ebyogerwako mu Danyeri 7:15-17 bituyamba bitya okutegeera amakulu g’obubonero obwo?

4 Nga tetunnamanya balabe ba Katonda abo, tusaanidde okusooka okutegeera ensolo ezo ne malaaya kye bikiikirira. Okusobola okutegeera ekyo, tusaanidde okuleka Bayibuli yennyini n’ennyonnyola ebyo by’eyogerako. Bungi ku bubonero obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa bunnyonnyolebwa mu bitabo ebirala ebya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Danyeri alina ekirooto kye yaloota, era mu kirooto ekyo yalaba ‘ensolo ennene nnya nga ziva mu nnyanja.’ (Dan. 7:1-3) Danyeri yalaga ensolo ezo kye zikiikirira. Ensolo ezo ennene zikiikirira “bakabaka” bana, oba zigavumenti. (Soma Danyeri 7:15-17.) Ekyo kituyamba okukitegeera nti n’ensolo ezoogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa ziteekwa okuba nga zikiikirira zigavumenti.

5 Kati ka tulabe obumu ku bubonero obwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Nga twekenneenya obubonero obwo, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’etuyamba okutegeera amakulu gaabwo. Tugenda kusooka kulaba ensolo ezitali zimu ezoogerwako ne kye zikiikirira. Ate era tugenda kulaba ekizituukako. Oluvannyuma tugenda kulaba amakulu g’ebintu ebyo gye tuli.

ABALABE BA KATONDA BAMANYIBWA

ENSOLO EY’EMITWE OMUSANVU

“Eva mu nnyanja” era erina emitwe musanvu, amayembe kkumi, n’engule kkumi. (Kub. 13:1-4) Ekiikirira obufuzi bw’abantu bwonna obuzze bufuga. Emitwe omusanvu gikiikirira obufuzi kirimaanyi musanvu obulina eky’amaanyi kye bukoze ku bantu ba Katonda (Laba akatundu 6-8)

6. Ensolo ey’emitwe omusanvu eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1-4 ekiikirira ki?

6 Ensolo ey’emitwe omusanvu ekiikirira ki? (Soma Okubikkulirwa 13:1-4.) Bayibuli eraga nti ensolo eno efaanana engo naye ng’ebigere byayo bifaanana eby’eddubu, ate omumwa gwayo gufaanana ogw’empologoma era ng’erina amayembe kkumi. Ebitundu by’omubiri ebyo byonna bisangibwa ne ku nsolo ennya ezoogerwako mu Danyeri essuula 7. Kyokka mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ebitundu ebyo biri ku nsolo emu so si ku nsolo nnya ez’enjawulo. Ensolo eyo tekiikirira gavumenti emu, oba obufuzi kirimaanyi. Eyogerwako ng’efuga “buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga.” Ensolo eyo teyinza kuba ng’ekiikirira gavumenti ya nsi emu. (Kub. 13:7) N’olwekyo, ensolo eyo eteekwa okuba ng’ekiikirira obufuzi bw’abantu bwonna obuzze bubaawo. *​—Mub. 8:9.

7. Buli gumu ku mitwe omusanvu egy’ensolo gukiikirira ki?

7 Buli gumu ku mitwe omusanvu gukiikirira ki? Okubikkulirwa essuula 17, ennyonnyola ekifaananyi ky’ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13, etuyamba okumanya emitwe egyo kye gikiikirira. Okubikkulirwa 17:10 walaga nti waliwo “bakabaka musanvu: abataano baagwa, omu waali, omulala tannajja, naye bw’alijja ajja kubeerawo okumala akaseera katono.” Ku bufuzi bwonna Sitaani bw’azze akozesa, obufuzi musanvu bwe buyinza okugeraageranyizibwa ku “mitwe” gy’ensolo, olw’amaanyi amangi ge bubadde nago. Buno bwe bufuzi kirimaanyi obulina eky’amaanyi kye bukoze ku bantu ba Katonda. Mu kiseera ky’omutume Yokaana, butaano ku bufuzi obwo bwali bwamala dda okufuga, era bwe buno: Misiri, Bwasuli, Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, ne Buyonaani. Obufuzi kirimaanyi obw’omukaaga, nga ye Rooma, bwe bwali bufuga mu kiseera omutume Yokaana we yafunira Okubikkulirwa. Bufuzi ki obwandibadde obw’omusanvu, era obufuzi kirimaanyi obusembayo?

8. Omutwe ogw’omusanvu ogw’ensolo gukiikirira bufuzi ki?

8 Nga bwe tugenda okulaba, obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri butuyamba okumanya omutwe gw’ensolo ogw’omusanvu, era nga gwe gusembayo. Bufuzi ki kirimaanyi obubadde bufuga mu kiseera kino eky’enkomerero, ekiseera ‘ky’olunaku lwa Mukama waffe’? (Kub. 1:10) Bwe bufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. N’olwekyo tuyinza okugamba nti obufuzi obwo gwe mutwe ogw’omusanvu ogw’ensolo eyogerwako mu Okubikkulirwa 13:1-4.

ENSOLO EY’AMAYEMBE ABIRI AGALINGA AG’OMWANA GW’ENDIGA

“Eva mu ttaka” era eyogera “ng’ogusota.” Ereetera “omuliro okuva mu ggulu” era ekola obubonero nga “nnabbi ow’obulimba.” (Kub. 13:11-15; 16:13; 19:20) Obufuzi bwa Bungereza ne Amerika bukiikirirwa ensolo ey’amayembe abiri, era eyitibwa nnabbi ow’obulimba, olw’okuba erimbalimba abantu mu nsi n’ebagamba “okukola ekifaananyi ky’ensolo” ey’emitwe omusanvu n’amayembe kkumi (Laba akatundu 9)

9. Ensolo ‘ey’amayembe abiri agalinga ag’omwana gw’endiga’ ekiikirira ki?

9 Okubikkulirwa essuula 13 eraga nti omutwe guno ogw’omusanvu, kwe kugamba, obufuzi bwa Bungereza ne Amerika, era bweyisa ng’ensolo ‘ey’amayembe abiri agalinga ag’omwana gw’endiga, naye nti etandika okwogera ng’ogusota.’ Ensolo eno “ekola obubonero obukulu; ereetera n’omuliro okuva mu ggulu ne gukka ku nsi ng’abantu balaba.” (Kub. 13:11-15) Okubikkulirwa essuula 16 ne 19 zoogera ku nsolo eno nga “nnabbi ow’obulimba.” (Kub. 16:13; 19:20) Danyeri naye yayogera ku kintu ekifaananako bwe kityo. Yalaga nti obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika bwandibadde ‘buzikiriza mu ngeri ey’ekitalo.’ (Dan. 8:19, 23, 24) Ekyo kyennyini kye yaliwo mu Ssematalo II. Bbomu nnamuzisa ebbiri ezaakola ekinene mu kukomya olutalo olwo zaakolebwa bannassaayansi ba Bungereza ne Amerika. Kiyinza okugambibwa nti obufuzi kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika bwaleetera ‘omuliro okuva mu ggulu ne gukka ku nsi.’

ENSOLO EMMYUFU

Malaaya ayitibwa Babulooni Ekinene agyebagaddeko. Ensolo eno eyogerwako nga kabaka ow’omunaana. (Kub. 17:3-6, 8, 11) Mu kusooka malaaya aba n’obuyinza ku nsolo, naye oluvannyuma emuzikiriza. Malaaya akiikirira amadiini gonna ag’obulimba. Ensolo ekiikirira Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, ekiwagira eby’obufuzi by’ensi. (Laba akatundu 10, 14-17)

10. “Ekifaananyi ky’ensolo” kikiikirira ki? (Okubikkulirwa 13:14, 15; 17:3, 8, 11)

10 Waliwo n’ensolo endala eyogerwako. Eno kyenkana efaananira ddala ensolo ey’emitwe omusanvu naye nga yo mmyufu. Eyitibwa “ekifaananyi ky’ensolo” era yogerwako nga “kabaka” ow’omunaana.” * (Soma Okubikkulirwa 13:14, 15; 17:3, 8, 11.) Bayibuli eraga nti ekiseera kituuka ‘kabaka’ ono n’abaawo, ate n’avaawo, kyokka oluvannyuma n’addamu okubaawo. Kino kituukagana bulungi n’ebyo ebikwata ku Kibiina ky’Amawanga Amagatte, ekiwagira eby’obufuzi by’ensi yonna! Mu kusooka kyatandikibwawo ng’Ekinywi ky’Amawanga. Kyokka mu kiseera kya Ssematalo II kyavaawo. Naye oluvannyuma kyaddamu ne kibaawo era nga kati kiyitibwa Ekibiina ky’Amawanga Amagatte.

11. Kiki ensolo ezikiikirira obufuzi bw’abantu kye zikola, era lwaki tetusaanidde kuzitya?

11 Ensolo zino ezikiikirira obufuzi bw’abantu, zikubiriza abantu okujeemera obufuzi bwa Katonda. Mu ngeri ey’akabonero, zikuŋŋaanya “bakabaka b’ensi yonna” okulwana ku lutalo lwa Amagedoni, olw’oku “lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Kub. 16:13, 14, 16) Naye tetujja kutya kintu kyonna. Yakuwa Katonda waffe ow’amaanyi, ajja kubaako ky’akolawo mu bwangu okununula abo bonna abawagira obufuzi bwe.​—Ezk. 38:21-23.

12. Kiki ekijja okutuuka ku nsolo zonna?

12 Kiki ekituuka ku nsolo ezo zonna? Okubikkulirwa 19:20 wagamba nti: “Ensolo n’ekwatibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga obubonero mu maaso gaayo. Obubonero obwo bwe yakozesanga okubuzaabuza abo abaafuna akabonero k’ensolo n’abo abasinza ekifaananyi kyayo. Byombi ne bisuulibwa mu nnyanja eyaka omuliro n’obuganga, nga biramu.” N’olwekyo, obufuzi obwo obuwakanya obufuzi bwa Katonda, Katonda ajja kubuzikiriza nga bukyagenda mu maaso n’okufuga.

13. Kiki gavumenti ezimu mu nsi kye zaagala Abakristaayo bakole?

13 Kiki kye tusaanidde okukola? Olw’okuba tuli bagoberezi ba Kristo, tulina okuba abeesigwa eri Katonda n’Obwakabaka bwe. (Yok. 18:36) Okusobola okuba abeesigwa, tetulina kubaako ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi bw’ensi eno. Kyokka oluusi kiyinza obutaba kyangu kusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, olw’okuba gavumenti z’ensi zaagala tuziwagire mu bujjuvu mu bigambo ne mu bikolwa. Abo abekkiriranya ne baziwagira, bafuna akabonero k’ensolo. (Kub. 13:16, 17) Kyokka buli muntu aba n’akabonero k’ensolo tasiimibwa mu maaso ga Yakuwa, era aba tajja kufuna bulamu butaggwaawo. (Kub. 14:9, 10; 20:4) N’olwekyo, kikulu nnyo buli omu ku ffe okufuba okusigala nga taliiko ludda lw’awagira mu by’obufuzi, k’abe ng’apikirizibwa kwenkana wa!

MALAAYA OMUKULU AJJA KUSAANYIZIBWAWO MU BUSWAVU

14. Kintu ki ekyewuunyisa ekyogerwako mu Okubikkulirwa 17:3-5 omutume Yokaana kye yalaba?

14 Omutume Yokaana yayogera ku kintu ekirala kye yalaba ekyamwewuunyisa ennyo. Kintu ki ekyo? Yalaba omukazi ng’atudde ku emu ku nsolo ezo ez’entiisa. (Kub. 17:1, 2, 6) Omukazi oyo ayogerwako nga “malaaya omukulu,” era ayitibwa “Babulooni Ekinene.” Yeenyigira mu ‘bikolwa eby’obugwenyufu’ ne “bakabaka b’ensi.”​—Soma Okubikkulirwa 17:3-5.

15-16. “Babulooni Ekinene” kye ki, era ekyo tukimanya tutya?

15 “Babulooni Ekinene” kikiikirira ki? Omukazi ono ayitibwa Babulooni Ekinene tayinza kuba ng’akiikirira nteekateeka ya bya bufuzi, kubanga ayogerwako ng’ayenda be bannabyabufuzi. (Kub. 18:9) Ate era afuba okuba n’obuyinza ku bakabaka abo, kubanga Bayibuli eraga nti yeebagadde ku nsolo. Era tayinza kuba ng’akiikirira enteekateeka y’eby’obusuubuzi by’ensi ya Sitaani. Enteekateeka y’eby’obusuubuzi eragibwa nga ya njawulo ku Babulooni Ekinene, era eyogerwako ‘ng’abasuubuzi b’oku nsi.’​—Kub. 18:11, 15, 16.

16 Mu Byawandiikibwa, ekigambo “malaaya” oluusi kitegeeza abo abeetwala okuba nga basinza Katonda, kyokka nga mu ngeri emu oba endala basinza ebifaananyi oba nga bakola ebintu ebibaleetera okuba mikwano gy’ensi. (1 Byom. 5:25; Yak. 4:4) Naye abo abasinza Katonda n’obwesigwa boogerwako ‘ng’abalongoofu’ oba “embeerera.” (2 Kol. 11:2; Kub. 14:4) Babulooni eky’edda ye yali entabiro y’okusinza okw’obulimba. N’olwekyo, Babulooni Ekinene kiteekwa okuba nga kikiikirira okusinza kwonna okw’obulimba. Mu butuufu, Babulooni Ekinene ge madiini gonna ag’obulimba agali mu nsi.​—Kub. 17:5, 18; laba ekitundu ekirina omutwe, “Babulooni Ekinene Kye Ki?”, ku jw.org.

17. Kiki ekinaatuuka ku Babulooni Ekinene?

17 Kiki ekinaatuuka ku Babulooni Ekinene? Okubikkulirwa 17:16, 17 wagamba nti: “Amayembe ekkumi g’olabye era n’ensolo, birikyawa malaaya, birimuzikiriza, birimuleka bukunya, birirya omubiri gwe era birimwokera ddala omuliro. Katonda yakiteeka mu mitima gyabyo okutuukiriza ekirowoozo kye.” Yakuwa ajja kuleetera amawanga okukozesa ensolo emmyufu, kwe kugamba, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, okusaanyaawo amadiini ag’obulimba.​—Kub. 18:21-24.

18. Tuyinza tutya okukakasa nti tetulina kakwate konna na Babulooni Ekinene?

18 Kiki kye tusaanidde okukola? Tulina okwekuumira mu kusinza “okulongoofu era okutaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe.” (Yak. 1:27) Tusaanidde okwewalira ddala enjigiriza ez’obulimba, emikolo egy’ekikaafiiri, era tulina okwewala okutambulira ku mitindo gy’empisa egy’ensi n’okwenyigira mu bikolwa eby’obusamize ebya Babulooni Ekinene! Ate era tusaanidde okweyongera okulabula abantu ‘bafulume’ mu Babulooni ekinene, baleme okubaako omusango gwakyo.​—Kub. 18:4.

EKIBONEREZO EKIGENDA OKUWEEBWA OMULABE OMUKULU OWA KATONDA

OGUSOTA OGUMYUFU

Sitaani awa ensolo obuyinza. (Kub. 12:3, 9, 13; 13:4; 20:2, 10) Sitaani, omulabe wa Yakuwa omukulu, ajja kusuulibwa mu bunnya amaleyo emyaka 1,000. Oluvannyuma ajja kusuulibwa mu “nnyanja ey’omuliro n’obuganga” (Laba akatundu 19-20)

19. “Ogusota ogunene ogumyufu” y’ani?

19 Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kyogera ku gusota “ogunene ogumyufu.” (Kub. 12:3) Ogusota ogwo gulwanyisa Yesu ne bamalayika. (Kub. 12:7-9) Gulumba abantu ba Katonda era guwa ensolo, oba gavumenti z’abantu, obuyinza. (Kub. 12:17; 13:4) Ogusota ogwo gukiirira ki? Ogusota ogwo gwe ‘musota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani.’ (Kub. 12:9; 20:2) Y’akozesa abalabe ba Yakuwa abalala bonna.

20. Kiki ekinaatuuka ku gusota?

20 Kiki ekinaatuuka ku gusota? Okubikkulirwa 20:1-3 walaga nti malayika ajja kusuula Sitaani mu bunnya, era nga kino kitegeeza nti Sitaani ajja kuba ng’ali mu kkomera. Ekiseera Sitaani ky’anaamala ng’asibiddwa, ajja kuba takyasobola ‘kulimbalimba mawanga, okutuusa emyaka 1,000 lwe giriggwaako.’ Oluvannyuma Sitaani ne badayimooni bajja kusuulibwa “mu nnyanja ey’omuliro n’obuganga,” nga kino kitegeeza nti bajja kuzikiririzibwa ddala. (Kub. 20:10) Lowooza ku nsi bw’eneebeera nga Sitaani ne badayimooni tebakyaliwo. Ekyo nga kijja kuba kiseera kirungi nnyo!

21. Lwaki ebyo bye tusomye mu kitabo ky’Okubikkulirwa bituzzizzaamu nnyo amaanyi?

21 Mazima ddala tuzziddwamu nnyo amaanyi okutegeera amakulu g’obubonero obwogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa! Ng’oggyeeko okuba nti tusobodde okutegeera abalabe ba Katonda, naye era tulabye n’ekigenda okubatuukako. Mazima ddala, “alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno”! (Kub. 1:3) Naye abalabe ba Katonda bwe banaamala okuggibwawo, mikisa ki abantu abeesigwa gye bajja okufuna? Ekyo kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 23 Yakuwa Atandika Okufuga

^ Ekitabo ky’Okubikkulirwa bwe kiba kyogera ku balabe ba Katonda, kikozesa obubonero obutali bumu. Ekitabo kya Danyeri kituyamba okutegeera amakulu g’obubonero obwo. Mu kitundu kino tugenda kugeraageranya obumu ku bunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri n’obwo obubufaanana obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ekyo kijja kutuyamba okumanya abalabe ba Katonda. Era tujja kulaba ekigenda okubatuukako.

^ Ekintu ekirala ekiraga nti ensolo ey’emitwe omusanvu eteekwa okuba ng’ekiikirira obufuzi bw’abantu bwonna obuzze bubaawo, kwe kuba nti erina “amayembe kkumi.” Mu Bayibuli, nnamba kkumi etera okukozesebwa okutegeeza obulambalamba oba obujjuvu bw’ekintu.

^ Okwawukana ku nsolo esooka, ekifaananyi ky’ensolo tekirina “ngule” ku mayembe gaakyo. (Kub. 13:1) Ekyo kiri bwe kityo kubanga Bayibuli eraga nti kabaka ono “ava mu bakabaka omusanvu,” era be bamuwa obuyinza.​—Laba ekitundu ekirina omutwe, “Ensolo Emmyufu Eyogerwako mu Okubikkulirwa Essuula 17 Kye Ki?”, ku jw.org.