Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebisobola Okukuyamba Ng’onoonyereza

Ebisobola Okukuyamba Ng’onoonyereza

Ebituyamba mu Kunoonyereza Ebiri ku LAYIBULALE EY’OKU MUKUTU GWAFFE OGWA INTANEETI

Ebyo bye tukozesa okunoonyereza bisobola okukuyamba okuyiga ebintu bingi ebikwata ku nsonga ez’enjawulo. Ebyo bye tukozesa mu kunoonyereza ebiri ku mukutu gwaffe bizingiramu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, n’ebyo ebiri mu Lungereza gamba nga Glossary, Insight on the Scriptures, ne Watch Tower Publications Index.

Bw’oba olina ky’oyagala okunoonyerezaako ku layibulale yaffe ey’oku mukutu, kiwandiike mu kasanduuko akalimu ebigambo “Wandiika ky’Onoonyerezaako.” Bw’otandika okuwandiika ky’oyagala okunoonyerezaako, wansi w’akasanduuko ako bajja kukuleetera ebigambo ebirala ebifaananako ekyo ky’oba owandiikamu. Ekigambo ky’oba onoonyerezaako bwe kiba nga mwekiri mu ebyo bye tukozesa okunoonyereza, ojja kukirabako ekigambo “Ky’Onoonyerezaako.”

Kigezeeko: Wandiika ekigambo “Yakuwa” mu kasanduuko akalimu ebigambo “Wandiika ky’Onoonyerezaako” (A). Nyiga ku kigambo “Yakuwa” ekiggiddeko ekigambo “Ky’Onoonyerezaako” (B). Bajja kukuleetera ebigambo ebirala ebirina akakwate ku ekyo ky’onoonyerezaako okuva mu ebyo bye tukozesa okunoonyereza eby’enjawulo.