Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21

Engeri Yakuwa gy’Addamu Essaala Zaffe

Engeri Yakuwa gy’Addamu Essaala Zaffe

“Tumanya nti tujja kufuna bye tusabye kubanga tuba tubisabye ye.”​—1 YOK. 5:15.

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

OMULAMWA a

1-2. Kiki kye tuyinza okwebuuza ku bikwata ku ssaala zaffe?

 WALI weebuuzizzaako obanga ddala Yakuwa addamu essaala zo? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Bakkiriza bannaffe bangi ekyo baali bakyebuuzizzaako naddala bwe baali boolekagana n’ebizibu. Bwe tuba n’ebizibu, kiyinza okutubeerera ekizibu okulaba engeri Yakuwa gy’addamu essaala zaffe.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa addamu essaala z’abaweereza be. (1 Yok. 5:15) Ate era tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Lwaki oluusi tuyinza okuwulira nti Yakuwa taddamu ssaala zaffe? Yakuwa addamu atya essaala z’abaweereza be leero?

YAKUWA AYINZA OBUTADDAMU SSAALA ZAFFE MU NGERI GYE TUBA TUSUUBIRA

3. Lwaki Yakuwa ayagala tumusabe?

3 Bayibuli etukakasa nti Yakuwa atwagala nnyo era nti tuli ba muwendo gy’ali. (Kag. 2:7; 1 Yok. 4:10) Eyo ye nsonga lwaki atukubiriza okumusaba atuyambe. (1 Peet. 5:6, 7) Ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye era mwetegefu okutuyamba tusobole okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo.

Yakuwa yaddamu essaala za Dawudi ng’amuwonya abalabe be (Laba akatundu 4)

4. Tumanya tutya nti Yakuwa addamu essaala z’abaweereza be? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Mu Bayibuli tusoma ku baweereza ba Yakuwa abaamusaba era n’addamu essaala zaabwe. Ani gw’oyinza okulowoozaako? Lowooza ku Kabaka Dawudi. Yalina abalabe bangi era emirundi mingi yasaba Yakuwa okumuyamba. Lumu yasaba Katonda nti: “Ai Yakuwa, wulira okusaba kwange; wulira okuwanjaga kwange. Nnyanukula kubanga oli mwesigwa era oli mutuukirivu.” (Zab. 143:1) Yakuwa yaddamu okusaba kwa Dawudi. (1 Sam. 19:10, 18-20; 2 Sam. 5:17-25) N’olwekyo Dawudi yali mukakafu nti “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.” Naffe tusobola okuba abakakafu ku ekyo. —Zab. 145:18.

Yakuwa yaddamu essaala z’omutume Pawulo ng’amuwa amaanyi ge yali yeetaaga okugumira ekizibu kye yalina (Laba akatundu 5)

5. Yakuwa yaddangamu essaala z’abaweereza be ab’edda mu ngeri gye baali basuubira? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)

5 Yakuwa ayinza obutaddamu ssaala zaffe mu ngeri gye tuba tusuubira. Bwe kityo bwe kyali eri omutume Pawulo. Yasaba Katonda amuggyemu “eriggwa mu mubiri.” Emirundi esatu yeegayirira Katonda aggyewo ekizibu kye yalina. Yakuwa yaddamu okusaba kwe? Yee. Naye si mu ngeri Pawulo gye yali asuubira. Mu kifo ky’okuggyawo ekizibu kye yali ayolekagana nakyo, Yakuwa yamuwa amaanyi ge yali yeetaaga okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.—2 Kol. 12:7-10.

6. Lwaki oluusi tuyinza okuwulira nti Yakuwa taddamu ssaala zaffe?

6 Naffe oluusi Yakuwa ayinza okuddamu essaala zaffe mu ngeri gye tuba tutasuubira. Tuli bakakafu nti Yakuwa amanyi engeri esingayo obulungi ey’okutuyambamu. Ate era ‘asobola okutukolera ebisingira ddala ku ebyo bye tuba tusabye oba bye tulowooza.’ (Bef. 3:20) N’olwekyo Yakuwa asobola okuddamu essaala zaffe mu kiseera kye tuba tutasuubira, ne mu ngeri gye tuba tutasuubira.

7. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ebyo bye tusaba? Waayo ekyokulabirako.

7 Kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ebyo bye tusaba bwe tweyongera okutegeerera ddala ekyo Yakuwa ky’ayagala. Lowooza ku w’Oluganda Martin Poetzinger. Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okuwasa, yasibibwa mu nkambi y’Abanazi. Mu kusooka ow’Oluganda Poetzinger yasaba Yakuwa amuyambe ateebwe asobole okulabirira mukyala we, era yeeyongere okukola omulimu gw’okubuulira. Kyokka oluvannyuma lwa wiiki bbiri, yakiraba nti tewaaliwo kiraga nti Yakuwa yali agenda kumuyamba ateebwe. Bwe kityo yasaba nti: “Yakuwa, nkusaba ondage ky’oyagala nkole.” Oluvannyuma yatandika okulowooza ku ebyo ab’oluganda abalala abaali mu nkambi eyo bye baali bayitamu. Bangi ku bo baali beeraliikirivu nnyo olw’abakyala baabwe n’abaana baabwe. Oluvannyuma ow’oluganda Poetzinger yasaba n’agamba nti: “Yakuwa, nkwebaza olw’obuvunaanyizibwa obupya bw’ompadde. Nnyamba nsobole okuzzaamu baganda bange amaanyi.” Ow’oluganda oyo yamala emyaka mwenda mu nkambi ezitali zimu ng’azzaamu bakkiriza banne amaanyi!

8. Kintu ki ekikulu kye tusaanidde okujjukira nga tusaba?

8 Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa alina ekigendererwa, era ajja kukituukiriza mu kiseera kye ekigereke. Ekigendererwa ekyo kizingiramu okumalirawo ddala ebizibu byonna ebireeta okubonaabona, gamba ng’obutyabaga, obulwadde, n’okufa. Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye ng’akozesa Obwakabaka bwe. (Dan. 2:44; Kub. 21:3, 4) Kyokka ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, Yakuwa alese Sitaani okufuga ensi. b (Yok. 12:31; Kub. 12:9) Singa Yakuwa agonjoola ebizibu by’abantu byonna kati, kyandireetedde abantu okulowooza nti obufuzi bwa Sitaani bulungi. N’olwekyo wadde nga mu kiseera kino tulina okulindirira okutuusa Yakuwa lw’anaatuukiriza ebisuubizo bye, bwe twolekagana n’ebizibu, atuyamba. Ka tulabe engeri Yakuwa gy’atuyambamu.

ENGERI YAKUWA GY’ADDAMU ESSAALA ZAFFE LEERO

9. Yakuwa ayinza atya okutuyamba nga tulina bye tusalawo? Waayo ekyokulabirako.

9 Atuwa amagezi. Yakuwa asuubiza okutuwa amagezi ge twetaaga okusobola okusalawo obulungi. Okusingira ddala twetaaga amagezi okuva eri Yakuwa nga tusalawo ebintu ebikulu ennyo ebinaakwata ku bulamu bwaffe, gamba ng’okuyingira obufumbo oba obutabuyingira. (Yak. 1:5) Lowooza ku Mwannyinaffe Maria ali obwannamunigina. c Yali aweereza nga payoniya owa bulijjo mu kiseera we yasisinkanira ow’oluganda omu. Agamba nti: “Omukwano gwaffe bwe gweyongera okunywera, n’okwagala buli omu kwe yalina eri munne kweyongera. Nnakiraba nti nnalina okusalawo. Nnamala ekiseera nga nsaba Yakuwa ku nsonga eyo. Nnali nneetaaga obulagirizi bwa Yakuwa, kyokka era nnali nkimanyi nti Yakuwa si ye yali agenda okunsalirawo.” Mwannyinaffe oyo akiraba nti Yakuwa yaddamu essaala ze ng’amuwa amagezi ge yali yeetaaga. Mu ngeri ki? Bwe yanoonyereza mu bitabo byaffe, yasoma ebitundu ebyamuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza. Ate era yakolera ku magezi maama we ge yamuwa. Amagezi ago gaamuyamba obutatwalirizibwa nneewulira ye. Oluvannyuma yasobola okusalawo obulungi.

Yakuwa atuwa atya amaanyi okusobola okugumiikiriza? (Laba akatundu 10)

10. Okusinziira ku Abafiripi 4:13, kiki Yakuwa ky’akola okusobola okuyamba abaweereza be? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)

10 Atuwa amaanyi ne tusobola okugumiikiriza. Nga bwe kyali eri omutume Pawulo, naffe Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okugumira ebizibu. (Soma Abafiripi 4:13.) Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu ow’oluganda Benjamin okugumira embeera enzibu. Ekiseera kye ekisinga eky’obuvubuka yakimala abeera n’ab’eŋŋanda ze mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamu ezitali zimu mu Afirika. Agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa obutayosa annyambe okukola ebimusanyusa. Yakuwa yaddamu essaala zange ng’ampa emirembe ku mutima, ng’ampa obuvumu okweyongera okubuulira, ate era okuyitira mu bitabo byaffe, yannyamba okusigala nga ndi munywevu mu by’omwoyo.” Benjamin agattako nti: “Okusoma ku byokulabirako bya bakkiriza bannange era n’okulaba engeri Yakuwa gye yabayamba okugumiikiriza, kyannyamba okuba omumalirivu okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa.”

Olabye engeri Yakuwa gy’akozesezzaamu bakkiriza banno okukuyamba? (Laba akatundu 11-12) d

11-12. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ayinza okukozesaamu bakkiriza bannaffe okuddamu essaala zaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Akozesa bakkiriza bannaffe. Ekiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yasaba nnyo Yakuwa. Yeegayirira Yakuwa amuyambe aleme kutwalibwa ng’omuvvoozi. Mu kifo kya Yakuwa okukola ekyo Yesu kye yamusaba, yatuma omu ku bamalayika be okumuzzaamu amaanyi. (Luk. 22:42, 43) Naffe Yakuwa asobola okutuyamba ng’akozesa bakkiriza bannaffe. Bayinza okutukubira ku ssimu oba okutukyalirako. Ffenna tusaanidde okunoonya akakisa okwogera “ebigambo ebirungi” eri bakkiriza bannaffe.—Nge. 12:25.

12 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Miriam. Oluvannyuma lwa wiiki ntono ng’omwami we afudde, yali yekka awaka era nga mwennyamivu nnyo. Yali akaaba nnyo era nga yeetaaga omuntu ow’okwogera naye. Agamba nti: “Saalina maanyi kubaako muntu yenna gwe nkubira ssimu, bwe ntyo nnasaba Yakuwa. Bwe nnali nga nkaaba era nga nsaba, essimu yange yavuga. Omukadde omu mu kibiina, era mukwano gwange, ye yali akubye.” Omukadde oyo ne mukyala we bazzaamu Miriam amaanyi. Miriam mukakafu nti Yakuwa ye yaleetera omukadde oyo okumukubira essimu.

Yakuwa ayinza atya okukozesa abantu abalala okutuyamba? (Laba akatundu 13-14)

13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’ayinza okukozesa abantu abatamuweereza okuddamu essaala zaffe.

13 Yakuwa Ayinza okukozesa abantu abamu abatamuweereza. (Nge. 21:1) Oluusi Yakuwa addamu essaala z’abaweereza be ng’akozesa abantu abatamuweereza. Ng’ekyokulabirako, yaleetera Kabaka Alutagizerugiizi okukkiriza Nekkemiya okugenda e Yerusaalemi ayambeko mu kuddamu okuzimba ekibuga. (Nek. 2:3-6) Ne leero, Yakuwa asobola okukozesa abantu abatamuweereza okutuyamba.

14. Ekyokulabirako kya Soo Hing kikuzzizzaamu kitya amaanyi? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Mwannyinaffe ayitibwa Soo Hing agamba nti Yakuwa yamuyamba ng’akozesa omusawo we. Mutabani we atawaanyizibwa obulwadde obw’amaanyi. Mutabani waabwe oyo bwe yafuna akabenje ak’amaanyi, Soo Hing n’omwami we baaleka emirimu gyabwe okusobola okumujjanjaba. N’ekyavaamu, baafuna obuzibu mu by’enfuna. Soo Hing yawulira ng’ebizibu bimuyitiriddeko era nga takyasobola na kubigumira. Yeegayirira Yakuwa okumuyamba. Omusawo eyali abakolako yabayamba ne bafuna obuyambi okuva mu gavumenti n’ekifo eky’essente ensaamusaamu kye baali basobola okubeeramu. Oluvannyuma lw’ekiseera Soo Hing yagamba nti: “Twalaba engeri Yakuwa gye yatuyambamu. Mazima ddala, ‘awulira okusaba.’”—Zab. 65:2.

KITWETAAGISA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKULABA ENGERI YAKUWA GY’ADDAMU ESSAALA ZAFFE N’OKUSIIMA ENGERI GY’ABA AZIZZEEMU

15. Kiki ekyayamba mwannyinaffe omu okukiraba nti essaala ze zaali ziddibwamu?

15 Emirundi egimu essaala zaffe ziyinza obutaddibwamu mu ngeri erabikirawo. Kyokka ziddibwamu mu ngeri etusobozesa okusigala nga tuli beesigwa eri Kitaffe ow’omu ggulu. N’olwekyo fuba okulaba engeri Yakuwa gy’addamu essaala zo. Mwannyinaffe ayitibwa Yoko yawulira nti Yakuwa yali taddamu ssaala ze. N’olwekyo yatandika okuwandiika mu kitabo buli kye yabanga asabye Yakuwa. Nga wayise ekiseera yatunula mu kitabo ekyo, era n’akiraba nti Yakuwa yali azzeemu essaala ze ezisinga obungi, nga mwe muli n’ezo ze yali asabye n’azeerabira. Buli luvannyuma lwa kiseera, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’aba azzeemu essaala zaffe.—Zab. 66:19, 20.

16. Tuyinza tutya okukiraga nti tulina okukkiriza bwe kituuka ku ssaala zaffe? (Abebbulaniya 11:6)

16 Tukiraga nti tulina okukkiriza bwe tusaba Yakuwa era ne tukkiriza engeri yonna gy’addamu essaala zaffe. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Lowooza ku Mike ne mukyala we Chrissy. Bombi baalina ekiruubirirwa eky’okuweereza ku Beseri. Mike agamba nti: “Twajjuzaamu foomu emirundi egiwerako era ne tusaba Yakuwa enfunda n’enfunda atuyambe okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, naye tetwayitibwa kuweereza ku Beseri.” Mike ne Chrissy baali bakakafu nti Yakuwa yali amanyi engeri entuufu ey’okubakozesaamu okumuweereza. Beeyongera okukola ebyo bye baali basobola, gamba ng’okuweereza nga bapayoniya oba bulijjo mu kitundu awaali obwetaavu obusingako, n’okuyambako mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa. Mu kiseera kino Mike akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Agamba nti: “Yakuwa abaddenga taddamu ssaala zaffe mu ngeri gye tuba tusuubira, kyokka abaddenga aziddamu mu ngeri esingawo ne ku eyo gye tuba tusuubira.”

17-18. Okusinziira ku Zabbuli 86:6, 7, tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

17 Soma Zabbuli 86:6, 7. Dawudi, eyawandiika zabbuli eyo, yali mukakafu nti Yakuwa yali awulira essaala ze era nti yali aziddamu. Naawe osobola okuba omukakafu ku ekyo. Ebyokulabirako bye tulabye mu kitundu kino bitukakasa nti Yakuwa asobola okutuwa amagezi n’amaanyi bye twetaaga okusobola okugumira ebizibu. Ayinza okukozesa bakkiriza bannaffe oba abantu abatamuweereza okutuyamba.

18 Wadde nga Yakuwa ayinza obutaddamu ssaala zaffe mu ngeri gye tuba tusuubira, tukimanyi nti aziddamu. Ajja kutuwa ekyo kye twetaaga mu kiseera kyennyini we tuba tukyetaagira. N’olwekyo, weeyongere okusaba Yakuwa ng’oli mukakafu nti ajja kukuyamba kati, era nti ne mu nsi empya ajja kukuwa buli kimu ky’oyagala.—Zab. 145:16.

OLUYIMBA 46 Tukwebaza Yakuwa

a Yakuwa atukakasa nti ajja kuddamu essaala zaffe kasita ziba nga zituukagana n’ebyo by’ayagala. Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, tuba bakakafu nti ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga tusobole okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Ka tulabe engeri Yakuwa gy’addamu essaala zaffe.

b Okusobola okulaba ensonga lwaki Yakuwa akkirizza Sitaani okufuga ensi, laba ekitundu “Amaaso Go Gakuumire ku Nsonga Enkulu,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 2017.

c Amannya agamu gakyusiddwa.

d EBIFAANANYI: Maama ne muwala we nga batuuse mu nsi gye bazzeemu ng’abanoonyi b’obubudamu. Bakkiriza bannaabwe babaaniriza n’essanyu era balina kye bakolawo okubayamba.