Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 20

Okulongoosa mu Ngeri Gye Tusabamu

Okulongoosa mu Ngeri Gye Tusabamu

“Mumubuulire ebibali ku mitima.”​—ZAB. 62:8.

OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

OMULAMWA a

Tusobola okusaba Yakuwa obutayosa atuwe obulagirizi mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe (Laba akatundu 1)

1. Kiki Yakuwa ky’akubiriza abaweereza be okukola? (Laba n’ekifaananyi.)

 BWE tuba nga twetaaga okubudaabudibwa n’okuweebwa obulagirizi, ani gwe tusaanidde okusaba? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo tukimanyi bulungi. Yakuwa gwe tusaanidde okusaba era atukubiriza okumusaba. Mu butuufu ayagala tumusabe emirundi mingi, era mu Kigambo kye Bayibuli atukubiriza ‘okusabanga obutayosa.’ (1 Bas. 5:17) Tusobola okumutuukirira ne tumusaba okutuwa obulagirizi mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. (Nge. 3:5, 6) Olw’okuba mugabi, tassaawo kkomo ku mirundi gye tulina okumusaba.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Ekirabo eky’okusaba tukitwala nga kya muwendo nnyo. Kyokka olw’okuba tulina eby’okukola bingi, oluusi tekitubeerera kyangu kufuna biseera kusaba. Ate era tuyinza okukiraba nti twetaaga okulongoosa mu ngeri gye tusabamu. Ekirungi kiri nti Ebyawandiikibwa bituwa obulagirizi ku nsonga ezo ebbiri. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okufuna ebiseera okusaba, nga twekenneenya ekyokulabirako Yesu kye yassaawo. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tusabamu, nga twogera ku bintu bitaano ebikulu bye tusaanidde okussa mu ssaala zaffe.

YESU YEETERANGAWO EBISEERA OKUSABA

3. Kiki Yesu kye yali amanyi ku kusaba?

3 Yesu yali akimanyi nti okusaba Yakuwa akutwala nga kukulu nnyo. Bwe yali nga tannajja ku nsi, yalabanga Kitaawe ng’addamu essaala z’abaweereza be abeesigwa. Ng’ekyokulabirako, yamulaba ng’addamu essaala za Kaana, eza Dawudi, eza Eriya, n’ez’abalala. (1 Sam. 1:10, 11, 20; 1 Bassek. 19:4-6; Zab. 32:5) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba abayigirizwa be okusabanga nga bakakafu nti Yakuwa awulira essaala zaabwe!—Mat. 7:7-11.

4. Yesu yakiraga atya nti okusaba yali akutwala nga kukulu nnyo?

4 Okuyitira mu ssaala ze yasabanga, Yesu yateerawo abayigirizwa be ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku kusaba. Yesu yasabanga nnyo mu kiseera kyonna eky’obuweereza bwe ku nsi. Olw’okuba yalina eby’okukola bingi ate ng’emirundi mingi abantu baabanga bamwetoolodde, yafuba okweteerangawo ebiseera eby’okusabiramu. (Mak. 6:31, 45, 46) Yazuukukanga ku makya nnyo asobole okusaba ng’ali yekka. (Mak. 1:35) Ate waliwo lwe yamala ekiro kiramba ng’asaba, bwe yali ng’agenda okusalawo ku kintu ekikulu ennyo. (Luk. 6:12, 13) Mu kiro ekyasembayo ng’agenda okuttibwa, Yesu yasaba enfunda n’enfunda ku kintu ekyali kisinga obuzibu mu ebyo bye yajja okukola ku nsi.—Mat. 26:39, 42, 44.

5. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo ku bikwata ku kusaba?

5 Kye tuyigira ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo kiri nti, ka tube nga tulina eby’okukola bingi, tusaanidde okufissangawo ebiseera okusaba. Okufaananako Yesu, kiyinza okutwetaagisa okussaawo ebiseera eby’okusabiramu, gamba nga tuzuukuka ku makya ennyo, oba nga tufunayo obudde ekiro nga tetunnaba kwebaka. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tusiima ekirabo ekyo eky’omuwendo ennyo Yakuwa kye yatuwa. Mwannyinaffe ayitibwa Lynne ajjukira engeri gye yakwatibwako lwe yasooka okuyiga ebikwata ku nkizo gye tulina ey’okusaba. Agamba nti: “Bwe nnakimanya nti nsobola okwogera ne Yakuwa ekiseera kyonna, kyannyamba okumutwala nga mukwano gwange ow’oku lusegere n’okulaba obukulu bw’okulongoosa mu ngeri gye nnali nsabamu.” Kya lwatu nti bangi ku ffe tuwulira nga mwannyinaffe oyo. Kati ka tulabe ebintu bitaano bye tusaanidde okussa mu ssaala zaffe.

EBINTU EBIKULU BITAANO BYE TUSAANIDDE OKUSSA MU SSAALA ZAFFE

6. Okusinziira ku Okubikkulirwa 4:10, 11, kiki Yakuwa ky’agwanidde okuweebwanga?

6 Tendereza Yakuwa. Mu kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna, yalaba abakadde 24 mu ggulu nga basinza Yakuwa. Baamutendereza nga bagamba nti agwanidde “okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo.” (Soma Okubikkulirwa 4:10, 11.) Bamalayika abeesigwa nabo balina ensonga nnyingi kwe basinziira okutendereza Yakuwa n’okumuwa ekitiibwa. Babeera naye mu ggulu era bamumanyi bulungi. Balaba engeri ze ezeeyolekera mu ebyo by’akola. Bwe bamulaba ng’akola ebintu ebitali bimu, kibaleetera okumutendereza.—Yob. 38:4-7.

7. Bintu ki ebituleetera okutendereza Yakuwa?

7 Naffe bwe tuba tusaba, tusobola okutendereza Yakuwa nga twogera ku ebyo ebituleetera okumwagala n’okumusiima. Bw’oba osoma Bayibuli, fuba okwetegereza engeri za Yakuwa ezisinga okukukwatako ennyo. (Yob. 37:23; Bar. 11:33) Oluvannyuma tegeeza Yakuwa engeri gy’okwatibwako olw’engeri ze ezo. Ate era tusobola okutendereza Yakuwa olw’ebyo by’atukolera n’ebyo by’akolera bakkiriza bannaffe bonna. Yakuwa bulijjo atulabirira era atukuuma.—1 Sam. 1:27; 2:1, 2.

8. Ebimu ku bintu ebingi bye tusaanidde okwebaza Yakuwa bye biruwa? (1 Abassessalonika 5:18)

8 Weebazenga Yakuwa. Waliwo ebintu bingi bye tusaanidde okwebaza Yakuwa mu kusaba. (Soma 1 Abassessalonika 5:18.) Tusobola okumwebaza olwa buli kintu kyonna ekirungi kye tulina, kubanga ebintu byonna ebirungi biva gy’ali. (Yak. 1:17) Ng’ekyokulabirako, tusobola okumwebaza olw’ensi erabika obulungi, n’olw’ebintu ebyewuunyisa bye yatonda. Ate era tusobola okumwebaza olw’obulamu bwe tulina, olw’ab’omu maka gaffe, olwa mikwano gyaffe, n’olw’essuubi lye tulina. Tusobola n’okumwebaza olw’okutukkiriza okuba mikwano gye.

9. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okukulaakulanya omwoyo gw’okusiima ebyo Yakuwa by’atukolera?

9 Oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okulowooza ku bintu bye tusaanidde okwebaza Yakuwa. Abantu bangi mu nsi tebasiima. Emirundi mingi bangi balowooza ku ngeri gye bayinza kufunamu ebyo bye baagala, mu kifo ky’okulowooza ku ngeri gye bayinza okwolekamu okusiima olw’ebyo bye balina. Bwe tutwalirizibwa endowooza ng’eyo, mu ssaala zaffe tuba tusaba busabi Yakuwa kubaako by’atukolera na by’atuwa. Ekyo okusobola okukyewala, tusaanidde okweyongera okukulaakulanya omwoyo gw’okusiima ebyo byonna Yakuwa by’atukolera.—Luk. 6:45.

Okwebazanga Yakuwa olw’ebirungi by’atukolera kituyamba okugumira ebizibu (Laba akatundu 10)

10. Okusiima kwayamba kutya mwannyinaffe omu okugumira ekizibu eky’amaanyi? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Bwe tuba abantu abasiima kituyamba okugumira ebizibu. Lowooza ku mwannyinaffe Kyung-sook eyayogerwako mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 15, 2015. Abasawo baamukebera ne bakizuula nti obulwadde bwa kkookolo bwali bulidde ekitundu kinene eky’amawuggwe ge. Yagamba nti: “Ekyo bwe nnakimanya, kyankuba wala. Nnawulira ng’eyali afiiriddwa buli kimu, era nnatya nnyo.” Kiki ekyamuyamba okugumira embeera eyo? Yagamba nti buli kiro yagendanga waggulu ku nnyumba n’asaba mu ddoboozi ery’omwanguka ne yeebaza Yakuwa ng’ayogera ku bintu bitaano ebyabangawo ku lunaku olwo. Ekyo kyamuleetera okukendeeza ku kweraliikirira kwe yalina, n’okwoleka okwagala kwe yalina eri Yakuwa. Yalaba engeri Yakuwa gy’ayambamu abaweereza be abeesigwa nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, era yakiraba nti ebirungi bye tulina mu bulamu bingi nnyo okusinga ebizibu bye twolekagana nabyo. Okufaananako Kyung-sook, naffe tulina ebintu bingi nnyo bye tusinziirako okwebaza Yakuwa, ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Bwe twebaza Yakuwa, kituyamba okugumira ebizibu, n’okusigala nga tuli bakkakkamu.

11. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baali beetaaga okuba abavumu oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu?

11 Saba Yakuwa akuwe obuvumu ng’obuulira. Yesu bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, yajjukiza abayigirizwa be omulimu gwe yabawa ogw’okumuwaako obujulirwa “mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:8; Luk. 24:46-48) Nga wayise ekiseera kitono, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baakwata omutume Peetero ne Yokaana ne babatwala mu maaso g’Olukiiko Olukulu, ne babalagira okulekera awo okubuulira era ne babatiisatiisa. (Bik. 4:18, 21) Kiki Peetero ne Yokaana kye baakola?

12. Okusinziira ku Ebikolwa 4:29, 31, kiki abayigirizwa kye baakola?

12 Peetero ne Yokaana baagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abo abaali babatiisatiisa nti: “Bwe kiba nga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe mu kifo ky’okuwulira Katonda, mwesalirewo. Naye ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Bik. 4:19, 20) Peetero ne Yokaana bwe baateebwa, abayigirizwa baasaba Yakuwa ku nsonga ekwatagana n’ekigendererwa kye. Baagamba nti: “Sobozesa abaddu bo okweyongera okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.” Yakuwa yaddamu essaala eyo.—Soma Ebikolwa 4:29, 31.

13. Kiki kye tuyigira ku Jin-hyuk?

13 Tusaanidde okukoppa abatume nga tweyongera okubuulira, ab’obuyinza ne bwe batugamba okulekera awo okubuulira. Lowooza ku w’oluganda Jin-hyuk, eyasibibwa mu kkomera olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi. Bwe yali mu kkomera, yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abamu ku basibe abaali baawuddwa ku balala nga buli omu ali mu kaduukulu ke. Naye teyakkirizibwa kwogera na basibe abo kintu kyonna ekyali kitakwatagana na buvunaanyizibwa obwamuweebwa, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku Bayibuli. Yasaba Yakuwa amuyambe okuba omuvumu n’okukozesa buli kakisa k’afuna okubuulira abalala mu ngeri ey’amagezi. (Bik. 5:29) Agamba nti: “Yakuwa yaddamu essaala yange n’ampa obuvumu n’amagezi ne nsobola okutandika okuyigiriza abantu bangi Bayibuli okumala eddakiika ttaano ku miryango gy’obuduukulu. Oluvannyuma ekiro nnawandiikanga amabaluwa enkeera ge nnandiwadde abasibe abo abaalinga mu buduukulu obwo.” Naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe. Okufaananako Jin-hyuk, tusaanidde okumusaba atuwe obuvumu n’amagezi.

14. Kiki ekiyinza okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu? (Zabbuli 37:3, 5)

14 Saba Yakuwa akuyambe okugumira ebizibu. Bangi ku ffe twolekagana n’ebizibu gamba ng’obulwadde, okufiirwa omuntu waffe, embeera y’omu maka enzibu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu ebirala. Ate ebintu gamba ng’ebirwadde eby’amaanyi ebibaluseewo, n’entalo, bikifudde kizibu nnyo okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu, weeyabize Yakuwa. Mutegeeze embeera gy’oyitamu nga bwe wandibadde otegeeza mukwano gwo ow’oku lusegere. Weesige Yakuwa nti “ajja kukuyamba.”—Soma Zabbuli 37:3, 5.

15. Okusaba kutuyamba kutya ‘okugumiikiriza nga tubonaabona’? Waayo ekyokulabirako.

15 Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutuyamba ‘okugumiikiriza nga tubonaabona.’ (Bar. 12:12) Yakuwa amanyi ebyo abaweereza be bye bayitamu, era “awulira okuwanjaga kwabwe.” (Zab. 145:18, 19) Ekyo mwannyinaffe ow’emyaka 29 ayitibwa Kristie, era aweereza nga payoniya, akirabye nti ddala kituufu. Yatandika okutawaanyizibwa obulwadde obw’amaanyi bwe yali tasuubira, era ekyo kyamuviirako okwennyamira ennyo. Ate oluvannyuma yakitegeerako nti maama we yali azuuliddwamu obulwadde obwali bugenda okumutta. Kristie agamba nti: “Buli lunaku nnasabanga nnyo Yakuwa ampe amaanyi ge nnabanga nneetaaga mu lunaku olwo. Nnafuba okunywerera ku nteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, nga mbaawo mu nkuŋŋaana era nga nneesomesa.” Era agamba nti: “Okusaba kwannyamba nnyo mu mbeera eyo eyali enzibu. Nnali nkimanyi nti bulijjo Yakuwa yalingawo okunnyamba, era ekyo kyannyamba obuteeraliikirira nnyo. Wadde ng’obulwadde obwali buntawaanya tebwawonerawo mu bwangu, Yakuwa yaddamu okusaba kwange ng’ampa emirembe ku mutima, era ng’annyamba okusigala nga ndi mukkakkamu.” Bulijjo ka tukijjukirenga nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako n’abaggya mu kugezesebwa.”—2 Peet. 2:9.

Okusobola okwewala okukola ekikyamu ng’okemeddwa, (1) saba Yakuwa akuyambe, (2) kolera ku kusaba kwo, ne (3) nyweza enkolagana yo ne Yakuwa (Laba akatundu 16-17)

16. Lwaki twetaaga Yakuwa okutuyamba bwe tuba ab’okwewala okukola ekibi nga tukemeddwa?

16 Saba Yakuwa akuyambe oleme kumenya misingi gye ng’okemeddwa. Olw’okuba tetutuukiridde, bulijjo kitwetaagisa okufuba ennyo okwewala okukola ekibi. Sitaani akola kyonna ky’asobola okulaba nti atulemesa okukola ekituufu. Engeri emu gy’agezaako okwonoona ebirowoozo byaffe, kwe kutuleetera okwenyigira mu by’okwesanyusaamu ebitasaana. Eby’okwesanyusaamu ng’ebyo byonoona ebirowoozo byaffe, era ebirowoozo byaffe bwe byonooneka, kiyinza okutuviirako okukola ekibi eky’amaanyi.—Mak. 7:21-23; Yak. 1:14, 15.

17. Bwe tusaba Yakuwa atuyambe okwewala okukola ekibi nga tukemeddwa, tuyinza tutya okukolera ku kusaba kwaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Twetaaga Yakuwa okutuyamba bwe tuba ab’okwewala okukola ekibi nga tukemeddwa. Mu ssaala ey’okulabirako, Yesu yatugamba tusabe Yakuwa nti: “Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.” (Mat. 6:13) Yakuwa ayagala okutuyamba, naye tulina okumusaba okutuyamba. Ate era tulina okukolera ku ssaala zaffe. Tusaanidde okwewala okusoma oba okuwuliriza ebintu ebisobola okwonoona endowooza yaffe ka bibe nga byettanirwa nnyo mu nsi ya Sitaani. (Zab. 97:10) Ate era tusaanidde okujjuza mu birowoozo byaffe ebintu ebirungi, nga tusoma Ekigambo kya Katonda era nga twesomesa. Okubangawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nakyo kituyamba okukuuma ebirowoozo byaffe. Bwe tukola ebintu ebyo, Yakuwa atusuubiza nti tajja kutukkiriza kukemebwa kusukka ku ekyo kye tusobola kugumira.—1 Kol. 10:12, 13.

18. Biki ffenna bye tulina okukola ku bikwata ku kusaba?

18 Buli omu ku ffe asaanidde okusaba ennyo Yakuwa amuyambe okusigala nga mwesigwa mu nnaku zino ez’enkomerero enzibu ennyo. Buli lunaku weeteerewo obudde okusaba Yakuwa okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwo. Yakuwa ayagala ‘tumubuulire ebituli ku mutima.’ (Zab. 62:8) Mutenderezenga era mwebazenga olw’ebyo byonna by’atukolera. Musabe akuyambe okuba omuvumu ng’obuulira. Era musabe akuyambe okugumira ebizibu by’oyolekagana nabyo n’okwewala okukola ekibi ng’okemeddwa. Tokkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kukulemesa kusabanga Yakuwa obutayosa. Naye Yakuwa addamu atya essaala zaffe? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 42 Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda

a Twagala essaala zaffe zibe ng’ebbaluwa ze tuwandiikira mukwano gwaffe gwe twagala ennyo. Naye oluusi tekiba kyangu kufuna biseera kusaba. Era ebiseera ebimu kiyinza obutatubeerera kyangu kumanya bye tusaanidde kwogerako mu kusaba. Mu kitundu kino tugenda kwogera ku nsonga ezo ebbiri.