Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24

Osobola Okutuuka ku Biruubirirwa Byo eby’eby’Omwoyo

Osobola Okutuuka ku Biruubirirwa Byo eby’eby’Omwoyo

“Ka tuleme kulekera awo kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”​—BAG. 6:9.

OLUYIMBA 84 Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako

OMULAMWA a

1. Kusoomooza ki abamu ku ffe kwe tufunye?

 WALI weeteereddewo ekiruubirirwa eky’eby’omwoyo naye ne kikuzibuwalira okutuukako? b Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Ng’ekyokulabirako, Philip yali ayagala kulongoosa mu ngeri gye yali asabamu, n’okwongera ku mirundi gye yali asaba, naye yali tafuna budde bumala. Erika yalina ekiruubirirwa eky’okutuukanga nga bukyali mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira, naye kumpi mu buli lukuŋŋaana yatuukanga kikeerezi. Tomáš yagezaako enfunda n’enfunda okusoma Bayibuli yonna. Agamba nti: “Nnali sinyumirwa kusoma Bayibuli. Nnagezaako emirundi esatu, naye ku buli mulundi nga nkoma ku kitabo ky’Eby’Abaleevi.”

2. Lwaki tetusaanidde kuggwaamu maanyi bwe tuba nga tweteerawo ekiruubirirwa eky’eby’omwoyo naye nga tetunnaba kukituukako?

2 Bw’oba olina ekiruubirirwa kye weeteerawo naye nga tonnakituukako, toggwaamu maanyi. Okutuuka ku kiruubirirwa, wadde ekirabika ng’ekitono, kyetaagisa ekiseera n’okufuba. Okuba nti okyayagala okutuuka ku kiruubirirwa kyo, kiraga nti enkolagana yo ne Yakuwa ogitwala nga ya muwendo era nti oyagala okumuwa ekisingayo obulungi. Yakuwa asiima okufuba kwo. Kya lwatu nti takusuubira kukola kisukka ku busobozi bwo. (Zab. 103:14; Mi. 6:8) N’olwekyo weeteerewo ekiruubirirwa ky’osobola okutuukako, okusinziira ku mbeera yo. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyo? Ka tulabe ebiyinza okutuyamba.

OKWAGALA ENNYO OKUTUUKA KU KIRUUBIRIRWA KYO KIKULU NNYO

Saba yakuwa oyagale nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo (Laba akatundu 3-4)

3. Lwaki kikulu okwagala ennyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo?

3 Kikulu okuba nti oyagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo eky’eby’omwoyo. Bw’oba owulira ng’oyagala nnyo okukituukako, ojja kukola kyonna ekisoboka okukituukako. Okwagala okw’amaanyi okwo kuyinza okugeraageranyizibwa ku mbuyaga ekunsa eryato ery’amatanga ne lituuka gye liraga. Embuyaga bw’eba ekunta nnyo, omugoba w’eryato eryo asobola okutuuka amangu gy’alaga. Mu ngeri y’emu bwe tuba nga twagala nnyo okutuuka ku biruubirirwa byaffe, ekyo kiyinza okutuyamba okubituukako. Ow’oluganda ayitibwa David abeera mu El Salvador agamba nti: “Bw’oba oyagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo, okola kyonna ekisoboka okukituukako. Ofuba okulaba nti tewabaawo kintu kyonna kikulemesa kukituukako.” Kiki ky’oyinza okukola okukuleetera okuwulira ng’oyagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo?

4. Kiki kye tuyinza okusaba Yakuwa? (Abafiripi 2:13) (Laba n’ekifaananyi.)

4 Saba Yakuwa akuyambe osobole okwagala ennyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Asobola okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuyamba okufuna okwagala okwo. (Soma Abafiripi 2:13.) Oluusi tweteerawo ekiruubirirwa kubanga tukimanyi nti tulina okweteerawo ebiruubirirwa. Ekyo kirungi. Naye tuyinza okuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako. Bwe kityo bwe kyali eri mwannyinaffe ayitibwa Norina abeera mu Uganda. Mwannyinaffe oyo yalina ekiruubirirwa eky’okuyigiriza omuntu Bayibuli, naye muli yali tawulira nti ayagala nnyo okukituukako kubanga yali alowooza nti si muyigiriza mulungi. Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Nnatandika okusaba Yakuwa buli lunaku mbe nga njagala nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli. Nnakolera ku ekyo kye nnasaba nga nfuba okulongoosa mu ngeri gye nnali njigirizaamu. Oluvannyuma lw’emyezi mitono, nnawulira nga njagala nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli. Omwaka ogwo gwennyini nnatandika okuyigiriza abantu babiri Bayibuli.”

5. Kiki kye tusobola okufumiitirizaako ekinaatuyamba okwagala ennyo okutuuka ku biruubirirwa byaffe?

5 Fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akukoledde. (Zab. 143:5) Omutume Pawulo yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yali amulazeemu ekisa, era ekyo kyamuleetera okwagala ennyo okumuweereza. (1 Kol. 15:9, 10; 1 Tim. 1:12-14) Mu ngeri y’emu, gy’onookoma okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akukoledde, gy’ojja okweyongera okuwulira ng’oyagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyo. (Zab. 116:12) Lowooza ku ekyo ekyayamba mwannyinaffe omu mu Honduras okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Agamba nti: “Nnafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’andazeemu okwagala. Yandeeta mu kibiina kye, andabirira, era ankuuma. Bwe nnafumiitiriza ku bintu ebyo, nneeyongera okumwagala era nnawulira nga njagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyange.”

6. Kiki ekirala ekisobola okutuyamba okwagala ennyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe?

6 Lowooza ku miganyulo gy’onoofuna ng’otuuse ku kiruubirirwa kyo. Weetegereze ekyo ekyayamba Erika eyayogeddwako waggulu okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okutuukanga nga bukyali mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Agamba nti: “Nnakiraba nti nnafiirwanga nnyo bwe nnatuukanga ekikeerezi. Naye bwe nnandituusenga nga bukyali, nnandisobodde okubuuzanga ku b’oluganda, era ne nnyumyako nabo. Era nnandisobodde okuwulira amagezi amalungi agandinnyambye okulongoosa mu buweereza bwange n’okubunyumirwa.” Erika bwe yalowooza ku miganyulo gye yandifunye ng’atuuse ku kiruubirirwa kye, yafuba okukituukako. Miganyulo ki gy’oyinza okulowoozaako? Ekiruubirirwa kyo bwe kiba nga kikwata ku kusoma Bayibuli oba okusaba, lowooza ku ngeri ekyo gye kinaanywezaamu enkolagana yo ne Yakuwa. (Zab. 145:18, 19) Ate bwe kiba nga kya kukulaakulanya emu ku ngeri z’Ekikristaayo, lowooza ku ngeri ekyo gye kinaakuyamba okwongera okukolagana obulungi n’abalala. (Bak. 3:14) Oyinza okufuna w’owandiika ensonga lwaki oyagala okutuuka ku kiruubirirwa kyo, era ozejjukanyenga. Tomáš, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe mba n’ensonga eziwera ezindeetera okwagala okutuuka ku kiruubirirwa kyange, kindeetera okufuba okukituukako.”

7. Kiki ekyayamba Julio ne mukyala we okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe?

7 Kola omukwano n’abo abanaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. (Nge. 13:20) Weetegereze ekyo ekyayamba Julio ne mukyala we okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe eky’okugaziya ku buweereza bwabwe. Agamba nti: “Twafuna emikwano egyandituyambye okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, era twayogeranga nabo ku kiruubirirwa ekyo. Bangi ku bo baali batuuse ku kiruubirirwa ekifaananako ng’ekyaffe, n’olwekyo amagezi ge baatuwa gaatuyamba. Mikwano gyaffe abo baatubuuzanga wa we twabanga tutuuse, era baatuzangamu amaanyi buli lwe kyabanga kyetaagisa.”

BWE TUBA NGA TETUWULIRA NTI TWAGALA NNYO OKUTUUKA KU KIRUUBIRIRWA KYAFFE

Fuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo (Laba akatundu 8)

8. Kiki ekiyinza okubaawo singa tufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe olwo lwokka lwe tuba tuwulira nti twagala nnyo okukituukako? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Ekituufu kiri nti, ffenna waliwo lwe tuwulira nga tetwagala kukola bintu ebimu bye tulina okukola. Kati olwo ekyo kiba kitegeeza nti tetulina kye tuyinza kukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe? Nedda. Ng’ekyokulabirako: Embuyaga ey’amaanyi esobola okuleetera eryato okutuuka gye liraga. Ennaku ezimu wabaayo embuyaga ya maanyi, kyokka olulala tebaayo. Ekyo kitegeeza nti omugoba w’eryato tasobola kubaako ky’akolawo asobole okutuuka gy’alaga? Si bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, amaato agamu ag’amatanga gabaako yingini oba gaba n’enkasi. Omugoba w’eryato asobola okukozesa ekimu ku ebyo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe. Okwagala ennyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe kuyinza okugeraageranyizibwa ku mbuyaga. Olumu kuyinza okuba okw’amaanyi, kyokka olulala ne kutabaawo. N’olwekyo bwe tubaako kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe olwo lwokka lwe tuba tuwulira nti twagala nnyo okukituukako, tuyinza obutakituukirako ddala. Ng’omugoba w’eryato bw’akozesa yingini oba enkasi okusobola okutuuka gy’alaga, naffe tusobola okubaako kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe ne bwe tuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako. Wadde ng’ekyo kiyinza obutaba kyangu, ebivaamu biba birungi. Nga tetunnalaba ekyo kye tuyinza okukola, ka tulabe ekibuuzo ekiyinza okujjawo.

9. Twandifubye okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe ne bwe tuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako? Nnyonnyola.

9 Yakuwa ayagala tumuweereze kyeyagalire era nga tuli basanyufu. (Zab. 100:2; 2 Kol. 9:7) Kati olwo twandifubye okubaako kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe ne bwe tuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako? Lowooza ku mutume Pawulo. Yagamba nti: “Nkuba omubiri gwange era ngufuga ng’omuddu.” (1 Kol. 9:25-27) Pawulo yafuba okukola ekituufu wadde ng’oluusi yawuliranga nga tayagala kukikola. Yakuwa yasiima obuweereza bwe? Awatali kubuusabuusa yabusiima! Yakuwa yamuwa emikisa olw’okufuba kwe.—2 Tim. 4:7, 8.

10. Tuganyulwa tutya bwe tufuba okubaako kye tukolawo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe wadde nga muli tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako?

10 Mu ngeri y’emu, Yakuwa asanyuka bw’atulaba nga naffe tufuba okubaako kye tukolawo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe ne bwe tuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukituukako. Akimanyi nti tufuba olw’okuba tumwagala. Nga Yakuwa bwe yawa Pawulo emikisa, naffe ajja kutuwa emikisa. (Zab. 126:5) Bwe tutandika okufuna emikisa gya Yakuwa, tuyinza n’okutandika okuwulira nga twagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe. Mwannyinaffe ayitibwa Lucyna abeera mu Poland agamba nti: “Emirundi egimu mba mpulira nga saagala kugenda kubuulira naddala bwe mba nga nkooye. Naye bwe ŋŋenda nfuna essanyu lingi.” Kati ka tulabe kye tusobola okukola singa tuba tetuwulira nti twagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe.

11. Yakuwa ayinza atya okutuyamba okweyongera okwefuga?

11 Saba Yakuwa akuyambe okwefuga. Okwefuga kuzingiramu okwekomako n’otokola kintu kibi. Kyokka era kitwetaagisa okwefuga okusobola okukola ekintu ekirungi, nnaddala nga kye tuba twagala okukola si kyangu, oba nga tetuwulira nti twagala nnyo okukikola. Kijjukire nti okwefuga kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. N’olwekyo saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe gukuyambe okukulaakulanya engeri eyo enkulu. (Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23) David eyayogeddwako waggulu alaga engeri okusaba gye kwamuyambamu. Yali ayagala okuba n’enteekateeka ey’okwesomesa obutayosa. Agamba nti: “Nnasabanga Yakuwa annyambe okwefuga. Yakuwa yannyamba okweteerawo enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era n’annyamba okuginywererako.”

12. Omubuulizi 11:4 watuyamba watya okutuuka ku biruubirirwa byaffe?

12 Tolinda mbeera kutereerera ddala. Mu nteekateeka y’ebintu eno, tetusuubira mbeera kuteererera ddala nga buli kimu kitambula bulungi nga bwe tuba twagala. Bwe tugirinda okutereerera ddala, tuyinza obutatuuka ku kiruubirirwa kyaffe. (Soma Omubuulizi 11:4.) Ow’oluganda ayitibwa Dayniel agamba nti: “Ebintu tebiyinza kutereerera ddala. N’olwekyo tetulina kubirinda kutereera. Tulina kutandika butandisi.” Ow’oluganda Paul abeera mu Uganda alaga ensonga endala lwaki tetusaanidde kwongezaayo kiseera we tunaakolera kintu. Agamba nti: “Bwe tutandika okukola ekintu wadde ng’embeera si nnyangu, Yakuwa atuyamba.”—Mal. 3:10.

13. Lwaki kirungi okutandika n’ebintu ebitonotono okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe?

13 Kitandikeko mpolampola. Tuyinza okuba nga tetuwulira nti twagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, kubanga kiyinza okulabika ng’ekizibu okutuukako. Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, lwaki totandika ng’okola ebintu ebitonotono ebinaakuyamba okukituukako? Ekiruubirirwa kyo bwe kiba nga kya kukulaakulanya emu ku ngeri eri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, lwaki tosooka kugyoleka ku kigero ekitono? Ate bwe kiba kya kusoma Bayibuli yonna, lwaki totandika kugisoma ng’omala ekiseera kitono? Tomáš, eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino tekyamwanguyira kutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okusoma Bayibuli yonna mu mwaka gumu. Agamba nti: “Nnakiraba nti nnali nsoma ennyiriri nnyingi olunaku. N’olwekyo nnasalawo kutandika buto era nga buli lunaku nsoma ennyiriri ntonotono, nga nzifumiitirizaako. N’ekyavaamu, nnatandika okunyumirwa okusoma Bayibuli.” Tomáš’ bwe yeeyongera okunyumirwa okusoma Bayibuli, yayongera ne ku biseera bye yamalanga ng’agisoma. Bwe kityo yasobola okusoma Bayibuli yonna n’agimalako. c

TOGGWAMU MAANYI BWE WABAAWO EBIKUTAATAAGANYA NG’OFUBA OKUTUUKA KU KIRUUBIRIRWA KYO

14. Biki ebiyinza okututaataaganya nga tufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe?

14 Ne bwe tuba nga twagala nnyo okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe, wayinza okubaawo ebitutaataaganya. Ng’ekyokulabirako, ‘ebintu ebitasuubirwa’ biyinza okugwaawo ne bitumalako ebiseera. (Mub. 9:11) Oba tuyinza okufuna ekizibu ne kitumalamu amaanyi. (Nge. 24:10) Ate era olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okukola ensobi ne kitubeerera kizibu okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe. (Bar. 7:23) Oba tuyinza okuwulira nga tuli bakoowu. (Mat. 26:43) Kiki ekiyinza okutuyamba bwe wabaawo ebitutaataaganya nga tufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe?

15. Bwe wabaawo ebikutaataaganya, kiba kiraga nti tojja kusobola kutuuka ku kiruubirirwa kyo? Nnyonnyola. (Zabbuli 145:14)

15 Kijjukire nti bwe wabaawo ebikutaataaganya, kiba tekitegeeza nti tosobola kutuuka ku kiruubirirwa kyo. Bayibuli eraga nti tuyinza okufuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Naye era eraga nti Yakuwa asobola okutuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe. (Soma Zabbuli 145:14.) Philip eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ebirowoozo sibissa ku mirundi gye nnemereddwa okutuuka ku kiruubirirwa kyange. Naye mbissa ku mirundi gye nfubye okukituukako.” David, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Bwe wabaawo ebintaataaganya nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa kyange, ako nkatwala ng’akakisa okukyoleka nti njagala nnyo Yakuwa.” Bwe weeyongera okufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo wadde nga waliwo ebikutaataaganyizza, kiba kiraga nti oyagala okusanyusa Yakuwa. Yakuwa asanyuka nnyo bw’akulaba ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa!

16. Bwe wabaawo ekikulemesa okutuuka ku kiruubirirwa kyo, kiyinza kulaga ki?

16 Baako by’oyigira ku ebyo ebikulemesa. Bwe wabaawo ekikulemesa okutuuka ku kiruubirirwa kyo, lowooza ku kwe kiba kivudde era weebuuze, ‘Kiki kye nnyinza okukola ekintu kino ne kitaddamu kubaawo?’ (Nge. 27:12) Kyokka oluusi bw’ozibuwalirwa okutuuka ku kiruubirirwa kyo, kiyinza okulaga nti weeteerawo ekiruubirirwa ky’otosobola kutuukako. Bwe kiba kityo, ddamu olowooze ku kiruubirirwa kyo olabe obanga okyasobola okukituukako. d Yakuwa tajja kukitwala nti tosobola kutuuka ku biruubirirwa byo.—2 Kol. 8:12.

17. Lwaki tetusaanidde kwerabira biruubirirwa bye tuba tutuuseeko?

17 Teweerabira by’osobodde okutuukako. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.” (Beb. 6:10) Naawe tosaanidde kwerabira. Fumiitiriza ku ebyo by’otuuseeko. Kuyinza okuba okubuulira, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, oba okubatizibwa. Nga bwe wasobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, osobola n’okutuuka ku kiruubirirwa kye weeteereddewo.—Baf. 3:16.

Laba emikisa yakuwa gy’akuwa ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo (Laba akatundu 18)

18. Kiki kye tusaanidde okukola nga tufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Kijjukire nti abagoba b’amaato banyumirwa eŋŋendo ze baba baliko. Mu ngeri y’emu, ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. Ekyo kijja kukuyamba okuba omusanyufu. (2 Kol. 4:7) Bw’onoofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa.—Bag. 6:9.

OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi

a Bulijjo tukubirizibwa okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Naye watya singa tulina ekiruubirirwa kye tweteerawo naye nga tukyalemereddwa okukituukako? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu eby’enjawulo ebisobola okutuyamba okutuuka ku biruubirirwa byaffe.

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekiruubirirwa eky’eby’omwoyo kiyinza okuzingiramu ekintu kyonna ky’ofuba okukola okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu n’okumusanyusa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okukulaakulanya engeri emu ey’Ekikristaayo, oba okulongoosa mu ebyo bye tukola mu kusinza kwaffe gamba ng’okusoma Bayibuli, okwesomesa, oba okubuulira.

c Laba ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, lup. 10-11, kat. 4.

d Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako, era Beera Musanyufu,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2008.