Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

Weeyongere Okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’

Weeyongere Okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’

“Eribaayo oluguudo olunene,era luliyitibwa Ekkubo ery’Obutukuvu.”​—IS. 35:8.

OLUYIMBA 31 Tambulanga ne Katonda!

OMULAMWA a

1-2. Kintu ki ekikulu Abayudaaya abaali babeera mu Babulooni kye baalina okusalawo? (Ezera 1:2-4)

 EKIRAGIRO kyali kiyise! Abayudaaya abaali bamaze emyaka nga 70 nga bali mu buwambe e Babulooni baali bakkiriziddwa okuddayo mu nsi yaabwe, mu Isirayiri. (Soma Ezera 1:2-4.) Ekyo Yakuwa ye yakisobozesa okubaawo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Abababulooni tebakkirizanga bantu be baabanga bawambye kuddayo waabwe. (Is. 14:4, 17) Kyokka Babulooni kyali kiwambiddwa, era omufuzi omupya yali akkirizza Abayudaaya okuddayo mu nsi yaabwe. N’olwekyo buli Muyudaaya, nnaddala emitwe gy’amaka, yalina okusalawo obanga anaasigala mu Babulooni oba anaagenda mu Isirayiri. Tekyali kyangu kusalawo ku nsonga eyo. Lwaki tugamba bwe tutyo?

2 Abayudaaya bangi bayinza okuba nga baali bakaddiye era nga kyandibabeeredde kizibu okutambula olugendo olwo oluwanvu. Ate okuva bwe kiri nti abasinga obungi ku Bayudaaya baali baazaalibwa mu Babulooni, Babulooni ye nsi yokka gye baali bamanyi. Isirayiri baali tebagitwala ng’ensi yaabwe, wabula baali bagitwala ng’ensi ya bajjajjaabwe. Ate era kirabika abamu ku Bayudaaya baali bagaggawalidde e Babulooni, era tekyandibabeeredde kyangu okuleka amayumba gaabwe amalungi ne bizineesi zaabwe okugenda okubeera mu nsi gye baali batamanyiridde.

3. Miganyulo ki Abayudaaya abandizzeeyo mu Isirayiri gye bandifunye?

3 Abayudaaya abeesigwa baali bakimanyi nti emiganyulo gye bandifunye nga bazzeeyo mu Isirayiri gyandisingidde wala ekintu kyonna kye bandyefiirizza. Omuganyulo ogusinga gyonna gwali gukwata ku kusinza. Wadde nga mu kibuga Babulooni waaliyo yeekaalu za bakatonda ab’obulimba ezisukka mu 50, tewaaliyo yeekaalu ya Yakuwa. Tewaaliyo kyoto Abayisirayiri kwe baali basobola okuweerayo ssaddaaka nga bwe baali balagiddwa mu Mateeka ga Musa, era tewaaliyo na bakabona baali bateekeddwateekeddwa okuwaayo ssaddaaka ezo. Ate era abantu ba Yakuwa mu kibuga ekyo baali batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu abaali basinza bakatonda ab’obulimba era abaali batassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. N’olwekyo, Abayudaaya bangi abaali baagala Yakuwa baali beesunga nnyo okuddayo mu nsi yaabwe bazzeewo okusinza okulongoofu.

4. Yakuwa yandiyambye atya Abayudaaya abandizzeeyo mu Isirayiri?

4 Abayisirayiri kyandibatwalidde emyezi ng’ena okutambula okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri. Era olugendo olwo terwandibadde lwangu. Kyokka Yakuwa yasuubiza nti yandiggyeewo emisanvu gyonna egyandibadde gibalemesa okuddayo. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Mwerule ekkubo lya Yakuwa! Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu oluyita mu ddungu. . . . Ekifo ekirimu ebisirikko kijja kufuuka kitereevu, n’ekifo ekitali kitereevu kijja kufuuka kya museetwe.” (Is. 40:3, 4) Lowooza ku luguudo olutereevu era olw’omuseetwe oluyita mu ddungu ng’erudda n’erudda eriyo ensozi. Abantu bandinyumiddwa nnyo okulutambulirako! Kyandibabeeredde kyangu nnyo okulutambulirako okusinga okulinnya ensozi n’okuyita mu biwonvu. Ate era bandituuse mangu gye balaga.

5. Oluguudo olw’akabonero olwali luva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri lwali luyitibwa lutya?

5 Leero enguudo ennene zitera okutuumibwa amannya oba okuweebwa ennamba. N’oluguudo olunene Isaaya lwe yayogerako lulina erinnya. Yagamba nti: “Eribaayo oluguudo olunene, era luliyitibwa Ekkubo ery’Obutukuvu. Atali mulongoofu taliritambuliramu.” (Is. 35:8) Ebigambo ebyo byalina makulu ki eri Abayisirayiri mu kiseera eky’edda? Birina makulu ki gye tuli leero?

“EKKUBO ERY’OBUTUKUVU”—MU BISEERA EBY’EDDA NE MU KISEERA KYAFFE

6. Lwaki ekkubo eryo lyayitibwa ery’obutukuvu?

6 “Ekkubo ery’Obutukuvu.” Erinnya eryo nga ddungi! Lwaki ekkubo eryo lyayitibwa ery’obutukuvu? Oyo yenna ‘ataali mulongoofu,’ kwe kugamba, Omuyudaaya yenna eyeenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu, eyasinzanga ebifaananyi, oba eyakolanga ebibi ebirala eby’amaanyi teyandikkiriziddwa kugenda mu Isirayiri. Abayudaaya abandizzeeyo mu Isirayiri bandifuuse “ggwanga ttukuvu” eri Katonda waabwe. (Ma. 7:6) Naye ekyo kyali tekitegeeza nti abo abaava e Babulooni tebaalina nkyukakyuka ze baalina kukola okusobola okusanyusa Yakuwa.

7. Nkyukakyuka ki Abayudaaya abamu ze baalina okukola? Waayo ekyokulabirako.

7 Nga bwe kyayogeddwako waggulu, Abayudaaya abasinga obungi baazaalibwa Babulooni. N’olwekyo, kirabika baali bamanyidde engeri Abababulooni gye beeyisangamu n’endowooza gye baalina ku bintu ebitali bimu. Nga wayise emyaka 65 bukya ekibinja ekisooka eky’Abayudaaya kituuka mu Isirayiri, Ezera yakitegeera nti abamu ku Bayudaaya baali bawasizza abakazi abaali batasinza Yakuwa. (Kuv. 34:15, 16; Ezer. 9:1, 2) Ate era oluvannyuma Gavana Nekkemiya yeewuunya nnyo bwe yakitegeera nti abaana abaazaalibwa mu Isirayiri baali tebamanyi lulimi lw’Abayudaaya. (Ma. 6:6, 7; Nek. 13:23, 24) Abaana abo bandisobodde batya okuyiga okwagala Yakuwa n’okumusinza nga tebamanyi Lwebbulaniya, olulimi Ekigambo kya Katonda okusingira ddala mwe kyali kiwandiikiddwa? (Ezer. 10:3, 44) N’olwekyo, Abayudaaya abo kyali kibeetaagisa okubaako enkyukakyuka ez’amaanyi ze bakola. Naye kyandibabeeredde kyangu okuzikola kubanga baali mu Isirayiri okusinza okulongoofu gye kwali kutandise okuzzibwawo.—Nek. 8:8, 9.

Okuva mu 1919 E.E., abantu bukadde na bukadde nga mwe muli abasajja, abakazi, n’abaana, bavudde mu Babulooni Ekinene ne batandika okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu’ (Laba akatundu 8)

8. Lwaki ebyo ebyaliwo mu biseera eby’emabega bitukwatako leero? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

8 Abamu bayinza okugamba nti ebyo bye tusoma ku Bayudaaya abo birungi. Naye beebuuza obanga bya makulu gye tuli leero. Ebyo bye tusoma ku Bayudaaya abo bya makulu gye tuli, kubanga naffe mu ngeri ey’akabonero tutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ Ka kibe nti tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba ab’endiga endala, tusaanidde okusigala mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okusinza Yakuwa mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga ensi mu bujjuvu. b (Yok. 10:16) Okuviira ddala mu 1919 E.E., abantu bukadde na bukadde, nga mwe muli abasajja, abakazi, n’abaana, bavudde mu Babulooni ekinene, kwe kugamba, amadiini gonna ag’obulimba ne batandika okutambulira mu kkubo eryo ery’akabonero. Naawe oyinza okuba ng’oli omu ku bo. Wadde ng’ekkubo eryo abantu baatandika okulitambulirako emyaka nga 100 emabega, waliwo abaali baatandika okuliteekateeka emyaka mingi emabega ng’abantu tebannatandika kulitambulirako.

OKUTEEKATEEKA EKKUBO

9. Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 57:14, “Ekkubo ery’Obutukuvu” lyatandika litya okuteekebwateekebwa?

9 Yakuwa yaggyawo emisanvu mu kkubo Abayudaaya lye baayitamu okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri. (Soma Isaaya 57:14.) Ate lyo “Ekkubo ery’Obutukuvu” mu kiseera kyaffe? Okumala ebyasa bingi ng’omwaka 1919 tegunnatuuka, Yakuwa yakozesa Abasajja abaali bamutya okwerulira abalala ekkubo basobole okuva mu Babulooni Ekinene. (Geraageranya Isaaya 40:3.) Baakola omulimu ogwali gwetaagisa okwerula ekkubo eryo, ekyandisobozesezza abantu abeesimbu abandizzeewo oluvannyuma okuva mu Babulooni Ekinene ne beegatta ku bantu ba Katonda. Biki ebyali bizingirwa mu mulimu ‘gw’okwerula’ ekkubo eryo? Ka tulabe ebimu.

Okumala ebyasa bingi ng’omwaka 1919 E.E. tegunnatuuka, abasajja abaali batya Katonda baayerula ekkubo, ne kisobozesa abantu ab’emitima emirungi okuva mu Babulooni ekinene (Laba akatundu 10-14)

10-11. Okukuba Bayibuli n’okugivvuunula kireetedde kitya amazima agali mu Bayibuli okweyongera okubuna? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Okukuba ebitabo. Bayibuli yakoppololwanga na ngalo okutuukira ddala awo nga mu mwaka gwa 1450. Ekyo kyatwalanga ebiseera bingi. Bayibuli zaali ntono era nga ziri ku buseere. Kyokka bwe baatandika okukozesa ebyuma okukuba ebitabo, omulimu gwayanguwa, era Bayibuli nnyingi zaakubibwa ne ziweebwa abantu.

11 Okuvvuunula. Okumala ebyasa bingi, okusingira ddala Bayibuli yali mu lulimi Lulattini, era ng’abantu abayivu bokka be baali balutegeera. Naye ebyuma ebikuba ebitabo bwe byeyongera okukozesebwa, abantu abaali batya Katonda baafuba okulaba nga bavvuunula Bayibuli mu nnimi ezaali zoogerwa abantu aba bulijjo. Abo abaali basoma Bayibuli baali basobola okugeraageranya ebyo bye baali bayigirizibwa bannaddiini n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.

Abasajja abaali batya Katonda baayamba abantu okuva mu Babulooni Ekinene (Laba akatundu 12-14) c

12-13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abayizi ba Bayibuli abeesimbu abaaliwo mu kyasa ekya 19 gye baatandika okwanikamu enjigiriza z’amadiini ez’obulimba.

12 Ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Abo abaali basoma Bayibuli n’obwegendereza baasobola okuyiga ebintu bingi okuva mu Kigambo kya Katonda. Ebyo bye baayiga bwe baatandika okubibuulirako abalala, kyanyiiza nnyo abakulembeze b’amadiini. Ng’ekyokulabirako, okuva awo nga mu mwaka gwa 1835, waaliwo abasajja abatonotono abeesimbu abaatandika okufulumya tulakiti ezaali zaanika enjigiriza ez’obulimba ezaali ziyigirizibwa mu makanisa.

13 Awo nga mu mwaka gwa 1835, omusajja eyali atya Katonda eyali ayitibwa Henry Grew yafulumya tulakiti eyali eyogera ku mbeera y’abafu. Mu tulakiti eyo yakiraga okuva mu Byawandiikibwa nti, omuntu tazaalibwa na mwoyo ogutafa ng’amakanisa mangi bwe gayigiriza, kubanga obutafa kiba kirabo okuva eri Katonda. Mu 1837, omusajja omu eyali ayitibwa George Storrs yafuna kopi ya tulakiti eyo bwe yali mu ggaali y’omukka. Yagisoma era yakiraba nti yali azudde amazima ag’omuwendo. Ekyo kye yayiga yasalawo okukibuulirako abalala. Mu 1842 yawa emboozi ez’omuddiriŋŋanwa ezaalina omutwe “Ababi Tebafa?” Ebyo George Storrs bye yawandiika byakwata nnyo ku Charles Taze Russell eyali omuvubuka mu kiseera ekyo.

14. Ow’Oluganda Russell ne banne baaganyulwa batya mu mulimu gw’okuteekateeka ekkubo ogwali gwakolebwa mu biseera eby’emabega? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Ow’Oluganda Russell ne banne baaganyulwa batya mu mulimu gw’okuteekateeka ekkubo ogwali gwakolebwa mu biseera eby’emabega? Mu kunoonyereza kwabwe, baakozesa ebitabo ebitali bimu n’enkyusa za Bayibuli ez’enjawulo, era ng’ebintu ebyo byateekebwateekebwa nga Russell ne banne tebannatandika mulimu gwabwe. Ate era baaganyulwa nnyo mu ebyo abasajja nga Henry Grew, George Storrs, n’abalala bye baanoonyereza mu Bayibuli. Ow’Oluganda Russell ne banne nabo balina kye baakola ku mulimu gw’okuteekateeka ekkubo. Baafulumya ebitabo bingi ne tulakiti ebyali biraga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.

15. Kintu ki ekikuli ekyaliwo mu 1919?

15 Okuva mu 1919, Babulooni Ekinene kyali tekikyalina buyinza ku bantu ba Katonda. Mu mwaka ogwo, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yatandika okukola, n’ayamba abantu ab’emitima emirungi okutandika okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ (Mat. 24:45-47) Omulimu gw’okuteekateeka ekkubo eryo abalala gwe baakola mu biseera eby’emabega gwasobozesa abantu okutandika okulitambuliramu ne bayiga ebisingawo ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. (Nge. 4:18) Ekyo kyabasobozesa okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Yakuwa. Yakuwa tasuubira baweereza be kukola nkyukakyuka mulundi gumu. Mu kifo ky’ekyo, azze alongoosa abantu be mpolampola. (Laba akasanduuko “ Yakuwa Alongoosa Abantu Be Mpolampola.”) Nga tujja kuba basanyufu nnyo ekiseera bwe kinaatuuka ne tuba nga tusobola okusanyusa Katonda waffe mu buli kimu kye tukola.—Bak. 1:10.

“EKKUBO ERY’OBUTUKUVU” LIKYALI LIGGULE

16. Okuviira ddala mu 1919, mulimu ki ogukoleddwa ku ‘Kkubo ery’Obutukuvu’? (Isaaya 48:17; 60:17)

16 Ekkubo lyonna okusobola okusigala nga liri mu mbeera nnungi, lirina okulabirirwa. Okuviira ddala mu 1919, omulimu gw’okulabirira “Ekkubo ery’Obutukuvu” gubaddenga gukolebwa, kisobozese abantu abalala bangi okuva mu Babulooni Ekinene. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi eyali yaakalondebwa, yatandika okukola omulimu gwe era mu 1921, yafulumya akatabo akaali ak’okuyamba abantu okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Kopi z’akatabo ako akaali kayitibwa The Harp of God, obukadde mukaaga ze zaafulumizibwa mu nnimi 36, era abantu bangi baayiga amazima okuyitira mu katabo ako. Leero tulina ekitabo ekirungi ennyo kye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli ekiyitibwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Mu kiseera kyonna eky’ennaku ez’enkomerero, Yakuwa akozesezza ekibiina kye okutuwa emmere ey’eby’omwoyo tusobole okweyongera okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’—Soma Isaaya 48:17; 60:17.

17-18. “Ekkubo ery’Obutukuvu” litutuusa wa?

17 Tuyinza okugamba nti omuntu bw’akkiriza okuyigirizibwa Bayibuli, aba afunye akakisa okutandika okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ Abamu balitambulirako okumala ekiseera kitono ne balivaako. Ate abalala bamalirivu okweyongera okulitambulirako okutuusa lwe banaatuuka gye balaga. Wa gye balaga?

18 Abaafukibwako amafuta, “Ekkubo ery’Obutukuvu” libatuusa mu “lusuku lwa Katonda” mu ggulu. (Kub. 2:7) Ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, ekkubo eryo libatuusa mu bulamu obutuukiridde bwe balifuna ku nkomerero y’obufuzi bwa Kristo obw’emyaka 1,000. Bw’oba ng’oli omu ku abo abatambulira mu kkubo eryo leero, totunula mabega. Lisigalemu paka lwe linaakutuusa gy’olaga, mu nsi empya! Tukwagaliza “olugendo olulungi.”

OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

a Ekkubo ery’akabonero Abayisirayiri lye baalina okutambuliramu okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri Yakuwa yaliyita “Ekkubo ery’Obutukuvu.” Ne leero Yakuwa ayerulidde abantu be ekkubo? Yee! Okuva mu 1919 E.E., abantu bukadde na bukadde bavudde mu Babulooni ekinene ne batandika okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ Ffenna tusaanidde okweyongera okutambulira mu kkubo eryo okutuusa lwe tunaatuuka gye tulaga.

c EBIFAANANYI: Ow’Oluganda Russell ne banne baakozesa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebyakubibwa nga tebannatandika mulimu gwabwe.