BY’OYINZA OKWESOMESA
Okugumira Obutali Bwenkanya
Soma Olubereberye 37:23-28; 39:17-23 okusobola okumanya engeri Yusufu gye yagumiramu obutali bwenkanya.
Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Kiki ekyaviirako Yusufu okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (Lub. 37:3-11; 39:1, 6-10) Yusufu yamala bbanga ki ng’agumira obutali bwenkanya? (Lub. 37:2; 41:46) Mu kiseera ekyo, kiki Yakuwa kye yakolera Yusufu era kiki ky’ataamukolera?—Lub. 39:2, 21; w23.01 17 ¶13.
Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Bayibuli teraga nti Yusufu yeewozaako nga muka Potifaali amuwaayiriza. Ebyawandiikibwa bino biyinza bitya okutuyamba okumanya ensonga lwaki Yusufu ayinza okuba nga yasalawo okusirika obusirisi, oba lwaki tetwandisuubidde kutegeezebwa kalonda yenna akwata ku ebyo ebyaliwo? (Nge. 20:2; Yok. 21:25; Bik. 21:37) Ngeri ki eziyinza okuba nga ze zaayamba Yusufu okugumira obutali bwenkanya?—Mi. 7:7; Luk. 14:11; Yak. 1:2, 3.
Lowooza ku ebyo by’oyigamu. Weebuuze:
-
‘Butali bwenkanya bwa ngeri ki bwe nnyinza okwolekagana nabwo olw’okubeera omugoberezi wa Kristo?’ (Luk. 21:12, 16, 17; Beb. 10:33, 34)
-
‘Nnyinza ntya okweteekerateekera obutali bwenkanya bwe nnyinza okwolekagana nabwo?’ (Zab. 62:7, 8; 105:17-19; w19.07 2-7)