OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Apuli 2018

Magazini eno erimu ebitundu ebijja okusomebwa okuva nga Jjuuni 4 okutuuka nga Jjulaayi 8, 2018.

Engeri Gye Tuyinza Okufunamu Eddembe Erya Nnamaddala

Abantu bangi baagala okuva mu kunyigirizibwa, okulekera awo okusosolwa, mu bwavu, era n’abalala baaga okuba n’eddembe ery’okwogera n’okwesalirawo. Kisoboka okufuna eddembe erya nnamaddala?

Weereza Yakuwa, Katonda ow’Eddembe

Omwoyo gwa Yakuwa gutuyambye gutya okufuna eddembe? Era tuyinza tutya okwewala okukozesa obubi eddembe Katonda lye yatuwa?

Abakadde N’abaweereza Muyigire Ku Timoseewo

Kirabika Timoseewo we yatandikira okuweereza ne Pawulo yali yeetya. Biki abakadde n’abaweereza bye basobola okuyigira ku Timoseewo?

Koppa Yakuwa Katonda Azzaamu Amaanyi

Yakuwa azzenga azzaamu abantu be amaanyi.

Ka Tweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

Ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda lweyongera okusembera, twetaaga okweyongera okufaayo ku bakkiriza bannaffe tusobole okubazzaamu amaanyi bwe kiba kyetaagisizza.

Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?

Abavubuka bayinza okusoberwa olw’ebintu ebingi bye balina okusalawo. Bayinza batya okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Lwaki tekikkirizibwa kuteeka vidiyo oba ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ku mikutu gya Intaneeti egy’obwannannyini oba ku mikutu emigatta bantu?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki enkyukakyuka yakolebwa mu Zabbuli 144:12-15?