Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?

Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?

“Buli ky’okola kikwase Yakuwa, olwo nno by’oteekateeka bijja kugenda bulungi.”​—NGE. 16:3.

ENNYIMBA: 135, 144

1-3. (a) Kusoomooza ki abavubuka bonna kwe boolekagana nakwo? Waayo ekyokulabirako. (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Abavubuka Abakristaayo bayinza batya okwaŋŋanga okusoomooza okwo?

WATYA singa waliwo omukolo omukulu ennyo gw’ogendako nga guli mu kibuga ekiri ewala era ng’okutuukayo weetaaga kulinnya bbaasi. Bw’otuuka ku siteegi ya bbaasi, osangawo abantu bangi nnyo ne bbaasi nnyingi nnyo. Mu mbeera ng’eyo kiba kikulu nnyo okumanya bbaasi yennyini egenda gy’olaga! Bw’omala galinnya bbaasi yonna, oyinza obutatuuka gy’oyagala kugenda.

2 Embeera abavubuka gye balimu efaananako ey’omusaabaze oyo. Abavubuka balina olugenda oluwanvu lwe boolekedde mu bulamu bwabwe. Oluusi baba n’ebintu bingi bye balina okusalawo n’okulondawo. Kiba kyangu eri abavubuka okusalawo obulungi singa baba bamanyi bulungi engeri gye baagala okukozesaamu obulamu bwabwe. Osaanidde kukozesa otya obulamu bwo?

3 Ekitundu kino kiddamu ekibuuzo ekyo era kikubiriza abavubuka okuba n’ekiruubirirwa eky’okusanyusa Yakuwa. Ekyo kitegeeza nti balina okulowooza ku Yakuwa mu byonna bye basalawo mu bulamu. Mu bino muzingiramu obuyigirize, emirimu, amaka, n’ebirala. Era kitegeeza okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Abavubuka abeemalira ku kuweereza Yakuwa bafuna emikisa mingi era ebintu bibagendera bulungi.​—Soma Engero 16:3.

LWAKI OSAANIDDE OKWETEERAWO EBIRUUBIRIRWA EBY’OMWOYO?

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Kya magezi omuntu okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo ng’akyali muto. Lwaki? Tugenda kulaba ensonga ssatu. Ensonga ebbiri ezisooka ziraga nti omuntu okufuba okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo kinyweza enkolagana ye ne Yakuwa; ate ensonga ey’okusatu eraga emiganyulo egiri mu kufuba okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo ng’omuntu akyali muto.

5. Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo y’eruwa?

5 Ensonga esinga obukulu lwaki tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kwe kulaga nti tusiima Yakuwa olw’okwagala kw’atulaze n’olw’ebyo byonna by’atukoledde. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Kirungi okukwebazanga ggwe Yakuwa . . . Kubanga onsanyusizza, Ai Yakuwa, olw’ebikolwa byo; njogerera waggulu n’essanyu olw’ebyo emikono gyo bye gyakola.” (Zab. 92:1, 4) Omuvubuka, lowooza ku bintu byonna Yakuwa by’akukoledde. Akuwadde obulamu, akuyambye okumumanya, akuwadde Bayibuli, ekibiina, n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Okukulembeza ebintu eby’omwoyo y’emu ku ngeri gy’olagamu nti osiima Katonda olw’ebintu ebyo, era kikuyamba okunyweza enkolagana yo naye.

6. (a) Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kikwata kitya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa? (b) Biruubirirwa ki by’osobola okweteerawo ng’okyali muto?

6 Ensonga ey’okubiri lwaki wandyeteereddewo ebiruubirirwa eby’omwoyo eri nti ebyo by’okola okusobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo bikuyamba okukola erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa. Ekyo kyongera okunyweza enkolagana yo naye. Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.” (Beb. 6:10) Ne bw’oba okyali muto, osobola okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Christine yalina emyaka kkumi we yasalirawo okusomanga ebitundu ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa. Bwe yali wa myaka 12, Toby yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okusoma Bayibuli yonna nga tannabatizibwa. Maxim yalina emyaka 11 ate mwannyina Noemi yalina emyaka kkumi we baabatirizibwa. Bombi beeteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza ku Beseri. Okusobola okukuumira ebirowoozo byabwe ku kiruubirirwa kyabwe ekyo, baatimba mu nnyumba yaabwe foomu ejjuzibwamu abo abaagala okuweereza ku Beseri. Lwaki naawe tolowooza ku biruubirirwa eby’omwoyo by’osobola okweteerawo era n’ofuba okubituukako?​—Soma Abafiripi 1:10, 11.

7, 8. (a) Okweteerawo ebiruubirirwa kiyamba kitya omuntu okwanguyirwa okusalawo obulungi? (b) Lwaki omuvubuka omu yagaana okugenda ku yunivasite?

7 Ensonga endala lwaki kikulu omuntu okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo ng’akyali muto eri nti kimuyamba okusalawo obulungi. Abavubuka beetaaga okusalawo ku bikwata ku buyigirize, emirimu, n’ebintu ebirala. Okusalawo kuyinza okugeraageranyizibwa ku muntu aba atuuse mu masaŋŋanzira ng’alina okulondawo ekkubo ery’okukwata. Bw’oba omanyi gy’olaga, tekiba kizibu kulondawo kkubo lya kukwata. Mu ngeri y’emu, bw’oba ng’omanyi ebiruubirirwa byo, kikubeerera kyangu okusalawo obulungi. Engero 21:5 wagamba nti: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.” Bw’oyanguwa okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, ojja kwanguwa okufuna ebirungi. Bwe kityo bwe kyali eri Damaris bwe yayolekagana n’ekintu ekikulu eky’okusalawo ng’akyali mutiini.

8 Damaris yayita bulungi nnyo emisomo gye egya siniya. Yali asobola okukkiriza sikaala okugenda okusoma eby’amateeka ku yunivasite, naye yasalawo kukola mu bbanka. Lwaki? Agamba nti: “Nnali nneeteerawo dda ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya. N’olwekyo nnaluubirira okufuna omulimu ogutali gwa kiseera kyonna. Singa nnafuna ddiguli mu by’amateeka, nnandibadde nfuna ssente nnyingi nnyo naye kyandizibuwalidde okufuna omulimu ogutali gwa kiseera kyonna.” Kati Damaris amaze emyaka 20 ng’aweereza nga payoniya. Damaris yejjusa olw’ekiruubirirwa kye yeeteerawo n’olw’ekyo kye yasalawo ng’akyali mutiini? Agamba nti: “Mu bbanka mwe nkolera, nsisinkana bannamateeka bangi. Bakola omulimu gwe nnandibadde nkola singa nnasoma bya mateeka. Naye bangi omulimu gwabwe tegubaleetera ssanyu. Okusalawo okuweereza nga payoniya kyannyamba okwewala okukola omulimu ogwandibadde gummalako essanyu era kinnyambye okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa ebbanga lino lyonna.”

9. Lwaki abavubuka bangi bagwana okusiimibwa?

9 Abavubuka bangi mu kibiina kya Yakuwa okwetooloola ensi bagwana okusiimibwa ennyo. Byonna bye bakola babikwasa Yakuwa era beemalidde ku bintu eby’omwoyo. Abavubuka ng’abo banyumirwa nnyo obulamu ate nga mu kiseera kye kimu bayiga okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa mu byonna bye basalawo, ka bibe nga bikwata ku buyigirize, emirimu, oba maka. Sulemaani yagamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna. . . . Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.” (Nge. 3:5, 6) Abavubuka abali mu kibiina Ekikristaayo ba muwendo nnyo eri Yakuwa era abaagala nnyo, abakuuma, abawa obulagirizi, era abawa emikisa.

BA MWETEGEFU OKUWA OBUJULIRWA

10. (a) Lwaki tulina okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe? (b) Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu?

10 Omuvubuka amaliridde okusanyusa Yakuwa atwala omulimu gw’okubuulira nga mukulu nnyo. Yesu yagamba nti “amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa.” (Mak. 13:10) Olw’okuba omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo, tulina okugukulembeza mu bulamu bwaffe. Osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwongera ku biseera by’omala mu mulimu gw’okubuulira? Osobola okuweereza nga payoniya? Naye watya singa omulimu gw’okubuulira tegukunyumira? Era oyinza otya okwongera okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu? Osobola okukola ebintu bibiri: Weeteeketeekenga bulungi, era tolekera awo kubuulira balala ku mazima g’omanyi. Ekyo kisobola okukuyamba okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira.

Weeteekateeka otya okuwa obujulirwa? (Laba akatundu 11, 12)

11, 12. (a) Abavubuka bayinza batya okweteekateeka okuwa obujulirwa? (b) Omuvubuka omu yakozesa atya akakisa ke yafuna okuwa obujulirwa ku ssomero?

11 Oyinza okutandika ng’onoonyereza ku ngeri gy’oyinza okuddamu ekibuuzo bayizi banno ku ssomero kye batera okubuuza. Ng’ekyokulabirako, abayizi batera okubuuza nti, “Okakasa otya nti Katonda gyali?” Ku mutukuvu gwaffe ogwa jw.org kuliko ebitundu ebisobola okuyamba abavubuka okumanya engeri gye bayinza okuddamu ekibuuzo ekyo. Genda wansi wa BIBLE TEACHINGS > TEENAGERS. Ojja kulaba ekitundu ekirina omutwe “Lwaki Nzikiriza nti Katonda Gyali?” Ekitundu ekyo kijja kukuyamba okumanya engeri gy’osobola okuteekateekamu by’oyinza okuddamu mu kibuuzo ekyo. Kirimu ebyawandiikibwa bisatu by’osobola okukozesa okunnyonnyola bayizi banno ensonga lwaki okkiriza nti Katonda gy’ali, era ebyawandiikibwa ebyo bye bino: Abebbulaniya 3:4, Abaruumi 1:20, ne Zabbuli 139:14. Ng’okozesa ebitundu ng’ebyo, osobola okuteekateeka eby’okuddamu mu bibuuzo bayizi banno bye bakubuuza.​—Soma 1 Peetero 3:15.

12 Bw’ofuna akakisa, kubiriza bayizi banno okugenda ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Ekyo Luca kye yakola. Lumu mu kibiina baali bakubaganya ebirowoozo ku madiini ag’enjawulo, Luca n’akiraba nti ekitabo kye baali bakozesa kyali kyogera ebintu ebitali bituufu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga mu kusooka yafunamu okutya, yasaba omusomesa amuwe akakisa okubabuulira ekituufu, era omusomesa n’amukkiriza. Ng’oggyeeko okunnyonnyola bayizi banne ebikwata ku nzikiriza ye, Luca era yalaga ekibiina kyonna omukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Omusomesa yalagira abaana bonna nti bwe baddayo eka, balabe vidiyo erina omutwe By’Oyinza Okukola nga Waliwo Akuyiikiriza. Luca kyamusanyusa nnyo okuba nti yali asobodde okuwa obujulirwa mu ngeri eyo.

13. Lwaki tusaanidde okunywerera ku biruubirirwa byaffe ne bwe twolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi?

13 Ne bw’oyolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi, toggwaamu maanyi. (2 Tim. 4:2) Bw’ofuna okugezesebwa, nywerera ku biruubirirwa byo. Katharina yalina emyaka 17 we yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okubuulira buli omu ku bakozi banne. Omu ku bakozi banne yamwogereranga bubi, naye Katharina teyaggwaamu maanyi. Engeri ennungi gye yeeyisaamu ng’ayolekaganye n’embeera eyo, yakwata nnyo ku mukozi munne omulala ayitibwa Hans. N’ekyavaamu, Hans yasoma ebitabo byaffe, n’ayiga Bayibuli, era n’abatizibwa. Ebyo byonna we byabeererawo, Katharina yali yava dda mu kitundu ekyo era teyabimanyako. Lowooza ku ssanyu Katharina lye yafuna nga wayise emyaka 13 bwe yali atudde n’ab’omu maka ge mu Kizimbe ky’Obwakabaka ne banjula Hans nti ye yali omugenyi akyadde eyali agenda okubawa emboozi! Okuba nti Katharina yanywerera ku kiruubirirwa kye eky’okubuulira bakozi banne kyavaamu ebirungi!

TOWUGULIBWA

14, 15. (a) Kiki abavubuka kye basaanidde okukuumira mu birowoozo nga bavubuka bannaabwe bagezaako okubawugula? (b) Abavubuka bayinza batya okwaŋŋanga okupikirizibwa?

14 Ekitundu kino kikukubirizza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza Yakuwa n’okumwemalirako. Ekyo kitegeeza nti olina okwemalira ku bintu eby’omwoyo. Abavubuka ab’emyaka gyo bayinza okuba nga beemalidde ku by’amasanyu, era bayinza n’okwagala obeegatteko. Ekiseera kyonna oyinza okwesanga mu mbeera ng’olina okulaga obanga ddala omaliridde okunywerera ku biruubirirwa eby’omwoyo bye weeteerawo. Tokkiriza bavubuka banno kukuwugula. Nga bwe twalabye mu kyokulabirako kya bbaasi, tosobola kumala galinnya bbaasi yonna gy’osanze olw’okuba abalimu balabika ng’abanyumirwa obulamu.

15 Waliwo ebintu ebiwerako by’osobola okukola okusobola okwewala okutwalirizibwa abalala. Ng’ekyokulabirako, weewale embeera eziyinza okukuviirako okukemebwa. (Nge. 22:3) Era bulijjo lowooza ku bintu ebibi ebiyinza okuvaamu singa weegatta ku balala okukola ebintu ebikyamu. (Bag. 6:7) Ate era kikulu okukkiriza okuwabulwa. Bw’oba omwetoowaze, ojja kukkiriza okuwabulwa okuva eri bazadde bo ne bakkiriza banno abakulu mu by’omwoyo.​—Soma 1 Peetero 5:5, 6.

16. Waayo ekyokulabirako ekiraga omuganyulo oguli mu kuba omwetoowaze.

16 Obwetoowaze bwasobozesa Christoph okukkiriza okuwabulwa okwamuweebwa. Bwe yali yaakabatizibwa, yatandika okugendanga okwetendekera mu kifo bannabyamizannyo gye batendekerwa. Abavubuka abalala be yasangayo, baamugamba yeegatte ku kiraabu yaabwe. Christoph yayogerako n’omukadde ku nsonga eyo, era omukadde n’amugamba nti nga tannasalawo, asooke alowooze ku bizibu ebiyinza okuva mu kwegatta ku kiraabu eyo, gamba ng’okuyingiramu omwoyo ogw’okuvuganya. Wadde kyali kityo, Christoph yeegatta ku kiraabu eyo. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yakiraba nti omuzannyo gwe baali bazannya gwalimu ebikolwa eby’obukambwe era gwali gwa mutawaana. Christoph yaddamu okwogerako n’abakadde ab’enjawulo era bonna baamuwa amagezi agava mu Bayibuli. Christoph agamba nti: “Yakuwa yansindikira abantu be abalungi okumbuulirira, era nnamuwuliriza wadde ng’ekyo nnalwawo okukikola.” Onookyoleka nti oli mwetoowaze n’okkiriza okuwabulwa?

17, 18. (a) Kiki Yakuwa ky’ayagaliza abavubuka? (b) Kintu ki ekibi ekiyinza okubaawo ng’omuntu akuze era tuyinza tutya okukyewala? Waayo ekyokulabirako.

17 Bayibuli egamba nti: “Muvubuka, sanyuka ng’okyali muto era omutima gwo gubeere musanyufu ng’okyali muvubuka.” (Mub. 11:9) Bw’oba omuvubuka, kimanye nti Yakuwa ayagala obeere musanyufu. Ekitundu kino kiraze engeri emu gy’osobola okufunamu essanyu. Weemalire ku bintu eby’omwoyo era Yakuwa mulowoozeeko mu byonna by’oteekateeka okukola. Ekyo bw’oyanguwa okukikola, ojja kwanguwa okulaba obulagirizi Yakuwa bw’akuwa, obukuumi bwe, awamu n’emikisa egiva gy’ali. Lowooza ku magezi amangi agasangibwa mu Kigambo kya Katonda era fumiitirizanga ku bigambo bino: “Jjukiranga Omutonzi wo ow’Ekitalo ng’okyali muvubuka.”​—Mub. 12:1.

18 Emyaka gy’obuvubuka giyita mangu. Okutemya n’okuzibula, omuvubuka aba amaze okufuuka omuntu omukulu. Kya nnaku nti abantu abakulu bangi bejjusa olw’okuba beeteerawo ebiruubirirwa ebikyamu mu myaka egy’obuvubuka oba olw’okuba tebeeteerawo kiruubirirwa kyonna mu myaka egyo. Naye abavubuka abeeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne bafuba okubituukako, bajja kufuna essanyu lingi nga bakuze olw’ebiruubirirwa ebyo ebirungi bye beeteerawo. Bwe kityo bwe kyali eri Mirjana, eyalina ekitone mu by’emizannyo mu myaka gy’obuvubuka. Baamugamba okugenda mu mizannyo gya Olimpikisi naye n’asalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Kati wayise emyaka 30 bukya ekyo kibaawo naye Mirjana akyali mu buweereza obw’ekiseera kyonna awamu n’omwami we. Agamba nti: “Ettutumu, ekitiibwa, obuyinza, n’eby’obugagga biggwaawo mangu, era biruubirirwa ebitaliimu. Okuweereza Katonda n’okuyamba abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda bye biruubirirwa ebisingayo obulungi era eby’olubeerera.”

19. Mu bufunze, yogera ku miganyulo omuntu gy’afuna bwe yeeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo ng’akyali muto.

19 Abavubuka abali mu kibiina kya Yakuwa bagwana okusiimibwa olw’engeri gye baŋŋangamu okusoomooza okutali kumu kwe boolekagana nakwo, n’olw’okuba abamalirivu okukozesa obulamu bwabwe okuweereza Yakuwa. Ekyo abavubuka bakikola nga beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era nga bakulembeza omulimu gw’okubuulira. Era baba bamalirivu obutakkiriza bintu ebiri mu nsi ya Sitaani eno kubawugula. Abavubuka basaanidde okukijjukira nti okufuba kwabwe si kwa bwereere. Balina obuwagizi bwa bakkiriza bannaabwe, era buli kye bakola bwe bakikwasa Yakuwa, bye bateekateeka bijja kubagendera bulungi.