Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mu Enkyusa ey’Ensi Empya” eya 2013 ebigambo ebiri mu Zabbuli 144:12-15 bikwata ku bantu ba Katonda. Naye mu “Enkyusa ey’Ensi Empya” enkadde ebigambo ebyo byali bikwata ku bagwira ababi aboogerwako mu lunyiriri 11. Lwaki enkyukakyuka eyo yakolebwa?

Ebigambo by’Olwebbulaniya ebyakozesebwa mu nnyiriri ezo bisobola okuwa amakulu gombi. Naye enkyukakyuka yakolebwa okusinziira ku bino wammanga:

  1. Enkyukakyuka eyakolebwa mu “Enkyusa ey’Ensi Empya” eya 2013 yeesigamizibwa ku mpandiika y’olulimi n’amateeka agafuga olulimi. Akakwate akaliwo wakati w’ebigambo ebiri mu Zabbuli 144:12-15 n’ennyiriri ezisooka waggulu keesigamiziddwa ku kigambo ky’Olwebbulaniya asher ekisooka mu lunyiriri 12. Ekigambo Asher kisobola okuvvuunula nga “abo.” Ekigambo “abo” kye kyakozesebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya eyasooka. Bwe kityo, ebintu ebirungi ebyogerwako mu lunyiriri olwa 12 okutuuka ku lwa 14 byakwataganyizibwa n’abantu ababi aboogerwako mu nnyiriri ezisooka waggulu. Kyokka era ekigambo, asher kisobola okuvvuunulwa nga “awo” oba “olwo nno.” Ekigambo “awo” kye kyakozesebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya eya 2013 ne mu nkyusa za Bayibuli endala.

  2. Ekigambo ekyakozesebwa mu “Enkyusa ey’Ensi Empya” eya 2013 kikwatagana bulungi n’ennyiriri endala eziri mu zabbuli eyo. Okukozesa ekigambo “awo” mu lunyiriri olwa 12 kiba kitegeeza nti ebintu ebirungi ebyogerwako mu lunyiriri olwa 12 okutuuka ku lwa 14 bikwata ku batuukirivu, abasaba ‘okununulwa okuva mu mukono’ gw’ababi aboogerwako mu lunyiriri olwa 11. Enkyukakyuka eyo era ekwatagana bulungi n’olunyiriri olwa 15, omulabikira ebigambo “balina essanyu” emirundi ebiri. Bwe kityo ebigambo ebyo ebiddibwamu emirundi ebiri byogera ku bantu be bamu, nga bano be bantu “abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe!” Ate era kijjukire nti mu biwandiiko by’Olwebbulaniya eby’edda temwalingamu bubonero, gamba ng’obubonero obuwaabi. N’olwekyo, abavvuunuzi bategeera amakulu nga basinziira ku mpandiika y’ebitontome by’Olwebbulaniya, ku nnyiriri eziriraanyeewo, ne ku nnyiriri endala eziri mu Bayibuli ezirina akakwate n’olunyiriri lwe baba bavvuunula.

  3. Enkyukakyuka eyo eyakolebwa ekwatagana bulungi n’ennyiriri za Bayibuli endala eziraga emikisa abantu ba Katonda abeesigwa gye bajja okufuna. Enkyukakyuka eyakolebwa mu ngeri ekigambo asher gye kyavvuunulwamu ekwatagana bulungi n’essuubi ekkakafu Dawudi lye yalina nti oluvannyuma lwa Katonda okununula Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe, Katonda yandibawadde essanyu n’obulamu obulungi. (Leev. 26:9, 10; Ma. 7:13; Zab. 128:1-6) Ng’ekyokulabirako, Ekyamateeka 28:4 wagamba nti: “Abaana bo banaabanga n’omukisa, n’ebibala by’ettaka lyo binaabanga n’omukisa, era n’abaana b’ensolo zo n’ab’ente zo n’ab’ekisibo kyo nabo banaabanga n’omukisa.” Mu butuufu, mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani, mutabani wa Dawudi, eggwanga lya Isirayiri lyalina emirembe mingi era lyali bulungi nnyo, ne kiba nti obufuzi obwo bwalina engeri gye bwali busonga ku bufuzi bwa Masiya.​—1 Bassek. 4:20, 21; Zab. 72:1-20.

N’olwekyo, enkyukakyuka eyakolebwa mu Zabbuli 144 tekyusa ngeri gye tutegeeramu njigiriza za Bayibuli. Wabula ereetera zabbuli eyo yonna okwoleka obulungi essuubi abaweereza ba Katonda lye bamaze ebbanga nga balina. Balina essuubi nti Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi aleetere abantu abatuukirivu emirembe egy’olubeerera era babe bulungi.​—Zab. 37:10, 11.