Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ka Tweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

Ka Tweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

“Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne . . . , nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.”​—BEB. 10:24, 25.

ENNYIMBA: 90, 87

1. Lwaki omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okweyongera okuzziŋŋanamu amaanyi?

LWAKI tusaanidde okweyongera okuzziŋŋanamu amaanyi? Ensonga tugirabira mu bigambo bya Pawulo ebiri mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Yabagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Mu myaka ettaano gyokka, Abakristaayo Abayudaaya abaali babeera mu Yerusaalemi baali bagenda kutandika okulaba akabonero akandiraze nti “olunaku lwa Yakuwa” lusembedde era nti beetaaga okuva mu kibuga ekyo nga Yesu bwe yali agambye. (Bik. 2:19, 20; Luk. 21:20-22) Olunaku lwa Yakuwa olwo lwatuuka mu mwaka gwa 70 E.E., Abaruumi bwe baazikiriza Yerusaalemi.

2. Lwaki buli omu ku ffe asaanidde okweyongera okufaayo ku munne?

2 Obukakafu obuliwo leero bulaga nti ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa ennyo’ lusembedde. (Yow. 2:11) Nnabbi Zeffaniya yagamba nti: “Olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi okutuuka! Luli kumpi okutuuka era lwanguwa nnyo!” (Zef. 1:14) Okulabula okwo kutukwatako leero. Olw’okuba olunaku lwa Yakuwa lunaatera okutuuka, Pawulo atukubiriza buli omu ‘okufaayo ku munne n’okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24, obugambo obuli wansi.) N’olwekyo, tusaanidde okweyongera okufaayo ku bakkiriza bannaffe, tusobole okubazzaamu amaanyi buli lwe kiba kyetaagisa.

BAANI ABEETAAGA OKUZZIBWAMU AMAANYI?

3. Kiki omutume Pawulo kye yayogera ku kuzzaamu abalala amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 20.)

3 Bayibuli egamba nti: “Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza, naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.” (Nge. 12:25) Ekyo kituufu ddala. Oluusi n’oluusi ffenna twetaaga okuzzibwamu amaanyi. Pawulo yakiraga nti n’abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okuzzaamu abalala amaanyi nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Yagamba Abakristaayo ab’omu Rooma nti: “Njagala nnyo okubalaba, nsobole okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo munywezebwe; oba, musobole okunzizaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwammwe nange nsobole okubazzaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwange.” (Bar. 1:11, 12) Wadde nga Pawulo yakola kinene nnyo mu kuzzaamu abalala amaanyi, oluusi naye kennyini yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi.​—Soma Abaruumi 15:30-32.

4, 5. Baani be tusobola okuzzaamu amaanyi leero, era lwaki?

4 Abo abeerekerezza ebintu ebitali bimu okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu beetaaga okusiimibwa ennyo. Mu bano mulimu bapayoniya. Bangi ku bo beerekerezza ebintu bingi okusobola okuweereza nga bapayoniya. Bwe kityo bwe kiri n’eri abaminsani, Ababeseri, abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe, awamu n’abo abaweerereza ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo byaffe. Abo bonna beefiiriza ebintu bingi okusobola okwemalira ku kuweereza Yakuwa. N’olwekyo, bagwanidde okuzzibwamu amaanyi. Ate era n’abo abaagala okubeera mu buweereza obw’ekiseera kyonna naye ng’embeera zaabwe tezibasobozesa nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi.

5 Ab’oluganda ne bannyinaffe abasigala nga si bafumbo olw’okuba bagondera ekiragiro ekikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka” nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi. (1 Kol. 7:39) Era n’abakyala abakola ennyo, basanyuka nnyo abaami baabwe bwe bakiraga nti basiima bye bakola. (Nge. 31:28, 31) Ate era n’Abakristaayo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa nga bayigganyizibwa oba nga balwadde beetaaga okuzzibwamu amaanyi. (2 Bas. 1:3-5) Yakuwa ne Yesu bazzaamu amaanyi Abakristaayo ng’abo abeesigwa.​—Soma 2 Abassessalonika 2:16, 17.

ABAKADDE, MUFUBE OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI

6. Okusinziira ku Isaaya 32:1, 2, abakadde balina buvunaanyizibwa ki?

6 Soma Isaaya 32:1, 2. Yesu Kristo, ng’ayitira mu baganda be abaafukibwako amafuta awamu “n’abaami” ab’endiga endala, azzaamu amaanyi era awa obulagirizi abo aboolekagana n’ebizibu era abaweddemu amaanyi. Abakadde abo si be balina obuyinza ku kukkiriza kwaffe naye ‘bakozi bannaffe.’ Bafuba okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu era nga tuli beesigwa.​—2 Kol. 1:24.

7, 8. Ng’oggyeeko okugamba bakkiriza bannaabwe ebigambo ebizzaamu amaanyi, kiki ekirala abakadde kye bayinza okukola okuzimba abalala?

7 Omutume Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Yagamba bw’ati Abakristaayo b’omu Ssessalonika abaali bayigganyizibwa: “Olw’okuba twali tubaagala nnyo, twali bamalirivu okubabuulira amawulire amalungi aga Katonda n’okuwaayo obulamu bwaffe okusobola okubayamba.”​—1 Bas. 2:8.

8 Okusobola okulaga nti oluusi ebigambo obugambo tebimala okusobola okuzzaamu abalala amaanyi, Pawulo yagamba abakadde b’omu Efeso nti: ‘Mulina okuyamba abeetaaga obuyambi, era mulina okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu, nga bwe yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”’ (Bik. 20:35) Ng’oggyeeko okuzzaamu baganda be amaanyi, Pawulo era yali mwetegefu ‘okuwaayo buli kintu era naye kennyini akozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwabwe.’ (2 Kol. 12:15) Mu ngeri y’emu, abakadde tebasaanidde kuzzaamu balala maanyi kuyitira mu bigambo byokka, naye era basaanidde okukiraga nti babafaako nnyo.​—1 Kol. 14:3.

9. Abakadde bayinza batya okuwabula abalala mu ngeri ezzaamu amaanyi?

9 Okusobola okuzimba abalala, abakadde era balina okubawabula. Kyokka ekyo balina okukikola nga bagoberera ebyokulabirako ebirungi ebiri mu Bayibuli ebiraga engeri y’okuwabulamu abalala mu ngeri ezzaamu amaanyi. Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu nsonga eno bwe yali amaze okuzuukira. Yesu alina ensonga ze yayogerako ebibiina ebimu eby’omu Asiya Omutono ze byalina okutereeza. Bwe yali tannawabula bibiina bya Efeso, Perugamo, ne Suwatira, Yesu yasooka kubisiima olw’ebintu bye byali bikola obulungi. (Kub. 2:1-5, 12, 13, 18, 19) Yagamba ekibiina ky’e Lawodikiya nti: “Abo bonna be njagala mbanenya era mbakangavvula. N’olwekyo, beera munyiikivu era weenenye.” (Kub. 3:19) Abakadde basaanidde okukoppa Yesu nga baliko be bawabula.

ABAKADDE SI BE BOKKA ABALINA OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI

Abazadde, mutendeka abaana bammwe okuzzaamu abalala amaanyi? (Laba akatundu 10)

10. Ffenna tuyinza tutya okwenyigira mu kuzimba abalala?

10 Abakadde si be bokka abalina obuvunaanyizibwa obw’okuzzaamu abalala amaanyi. Pawulo yakubiriza Abakristaayo bonna okwogera “ekirungi ekisobola okuzimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa,” kisobole okubaganyula. (Bef. 4:29) Buli omu ku ffe asaanidde okufaayo ku byetaago by’abalala. Pawulo yagamba Abakristaayo Abebbulaniya nti: “Munyweze emikono egiragaye n’amaviivi agajugumira, mutereeze amakubo g’ebigere byammwe, ekiremadde kireme kuggibwa mu nnyingo, wabula kiwonyezebwe.” (Beb. 12:12, 13) Ffenna, nga mw’otwalidde n’abato, tusobola okuzimba abalala nga twogera nabo ebigambo ebizzaamu amaanyi.

11. Kiki ekyayamba Marthe mu kiseera we yali nga yennyamidde?

11 Mwannyinaffe Marthe, * eyayolekagana n’embeera enzibu, agamba nti: “Lumu bwe nnasaba Yakuwa annyambe okuddamu amaanyi, nnasisinkana muganda wange nnamukadde eyandaga omukwano era eyanfaako ennyo, era ng’ekyo kye nnali nneetaaga mu kiseera ekyo. Era yambuulira n’engeri gye yaŋŋangamu embeera yennyini gye nnali njolekagana nayo, ekyo ne kindeetera okuwulira nti nnali siri nzekka.” Mwannyinaffe oyo nnamukadde ayinza okuba nga teyamanya na kumanya ngeri bigambo bye gye byakwata ennyo ku Marthe.

12, 13. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu Abafiripi 2:1-4?

12 Pawulo yagamba abo bonna abaali mu kibiina ky’omu Firipi nti: “Kale bwe wabaawo okuzzibwamu amaanyi kwonna mu Kristo, okubudaabudibwa mu kwagala, okufaayo ku balala, okwagala, n’obusaasizi, essanyu lyange mulifuule lijjuvu nga mubeera n’endowooza emu, okwagala kumu, nga muli bumu, era nga mulowooza bumu. Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula nga mukola ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga, era nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.”​—Baf. 2:1-4.

13 Ffenna tulina okufuba okufaayo ku baganda baffe ne bannyinaffe, nga ‘tubabudaabuda mu kwagala,’ nga ‘tubafaako,’ era nga ‘tubalaga okwagala n’obusaasizi’ okusobola okubazzaamu amaanyi.

EBITUZZAAMU AMAANYI

14. Kiki ekisobola okutuzzaamu amaanyi?

14 Bwe tuwulira nti abo be twayamba mu biseera eby’emabega bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa kituzzaamu nnyo amaanyi. Omutume Yokaana yagamba nti: “Tewali kisinga kunsanyusa ng’okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.” (3 Yok. 4) Bapayoniya bangi bagamba nti kibazzaamu nnyo amaanyi bwe bawulira nti abo be baayamba okuyiga amazima emyaka mingi emabega bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa, oboolyawo ng’abamu ku bo baweereza nga bapayoniya. Okujjukiza payoniya aba aweddemu amaanyi ku bintu ng’ebyo, kisobola okumuzzaamu amaanyi.

15. Emu ku ngeri gye tuyinza okuzzaamu amaanyi abo abakola ennyo mu kuweereza Yakuwa y’eruwa?

15 Abalabirizi abakyalira ebibiina bangi awamu ne bakyala baabwe bagamba nti bazzibwamu nnyo amaanyi bwe bafuna akabaluwa ab’oluganda ke baba bawandiise nga babasiima olw’okubakyalira. N’abakadde, abaminsani, bapayoniya, n’Ababeseri basanyuka nnyo bwe basiimibwa olw’emirimu gye bakola.

BYE TUSOBOLA OKUKOLA OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI

16. Oluusi kiki ekyetaagisa okusobola okuzzaamu abalala amaanyi?

16 Tekiba kituufu kulowooza nti tetusobola kuzzaamu balala maanyi olw’okuba tetuli banyumya. Tekyetaagisa bintu bingi okusobola okuzzaamu abalala maanyi. Oluusi okumwenya obumwenya ng’obuuza omuntu kimala. Oyo gw’obuuzizza bw’atamwenya kisobola okulaga nti alina ekizibu, era ng’okumuwuliriza obuwuliriza kye yeetaaga okusobola okubudaabudibwa.​—Yak. 1:19.

17. Ow’oluganda omu omuvubuka yayambibwa atya mu kiseera we yali ng’aweddemu amaanyi?

17 Henri, ow’oluganda omuvubuka, yaggwaamu amaanyi ab’eŋŋanda ze nga mw’otwalidde ne taata we eyali aweereza ng’omukadde bwe baava ku Yakuwa. Henri yazzibwamu nnyo amaanyi omulabirizi akyalira ebibiina bwe yamutwala ku kawooteeri ne banywa caayi ng’eno omulabirizi oyo bw’amuwuliriza. Henri yakiraba nti engeri yokka gye yali asobola okuyambamu ab’eŋŋanda ze okukomawo eri Yakuwa kwe kusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Yaddamu nnyo amaanyi bwe yasoma ebigambo ebiri mu Zabbuli 46; Zeffaniya 3:17; ne Makko 10:29, 30.

Ffenna tusobola okuzimbagana n’okuzziŋŋanamu amaanyi (Laba akatundu 18)

18. (a) Kiki Kabaka Sulemaani kye yagamba? (b) Kiki omutume Pawulo kye yagamba?

18 Ebyo bye tulabye ku Marthe ne Henri biraga nti tusobola okuzzaamu amaanyi mukkiriza munnaffe aba yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi! Amaaso amacamufu galeetera omutima okusanyuka; amawulire amalungi gazzaamu amagumba amaanyi.” (Nge. 15:23, 30) Okusoma Omunaala gw’Omukuumi oba ebyo ebiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti nakyo kisobola okuzzaamu amaanyi omuntu aba aweddemu amaanyi. Ate era Pawulo yakiraga nti okuyimbira awamu ennyimba z’Obwakabaka nakyo kisobola okutuzzaamu amaanyi. Yagamba nti: “Muyigirizaganenga era muzziŋŋanemu amaanyi nga mukozesa zabbuli, ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo eziyimbibwa n’essanyu, nga muyimbira Yakuwa mu mitima gyammwe.”​—Bak. 3:16; Bik. 16:25.

19. Lwaki tujja kwetaaga nnyo okuzziŋŋanamu amaanyi mu biseera ebijja mu maaso awo, era kiki kye tusaanidde okukola?

19 Ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda ‘lusembera,’ tujja kwetaaga nnyo okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb. 10:25) N’olwekyo, nga Pawulo bwe yagamba, ka tweyongere ‘okuzziŋŋanamu amaanyi n’okuzimbagana, nga bwe tukola.’​—1 Bas. 5:11.

^ lup. 11 Amannya gakyusiddwa.