Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Koppa Yakuwa Katonda Azzaamu Amaanyi

Koppa Yakuwa Katonda Azzaamu Amaanyi

“Atenderezebwe Katonda . . . atuzzaamu amaanyi mu kubonaabona kwaffe kwonna.”​—2 KOL. 1:3, 4, obugambo obuli wansi.

ENNYIMBA: 7, 3

1. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi Yakuwa bye yayogera nga Adamu ne Kaawa baakamujeemera?

OKUVA abantu lwe baayonoona era ne bafuuka abatatuukiridde, Yakuwa azze ekiraga nti ye Katonda azzaamu abalala amaanyi. Amangu ddala nga Adamu ne Kaawa baakoonoona, Yakuwa yayogera obunnabbi obwandizizzaamu ennyo abantu amaanyi. Waali wakyaliwo essuubi. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bwalaga nti ekiseera kyandituuse “omusota ogw’edda,” Sitaani Omulyolyomi, n’asaanyizibwawo awamu n’ebikolwa bye ebibi.​—Kub. 12:9; 1 Yok. 3:8.

YAKUWA YAZZAAMU AMAANYI ABAWEEREZA BE AB’EDDA

2. Yakuwa yazzaamu atya Nuuwa amaanyi?

2 Omuweereza wa Yakuwa, Nuuwa, yali yeetooloddwa abantu abaali batatya Katonda, era mu kiseera ekyo ye n’ab’omu maka ge bokka be baali basinza Yakuwa. Okulaba ebikolwa eby’obukambwe n’obugwenyufu ebyali buli wamu, kyali kisobola okumalamu Nuuwa amaanyi. (Lub. 6:4, 5, 11; Yud. 6) Naye Yakuwa yamuwa obubaka obwamuzzaamu amaanyi n’asobola okweyongera ‘okutambula ne Katonda.’ (Lub. 6:9) Yakuwa yagamba Nuuwa nti yali agenda kuzikiriza abantu ababi era yamubuulira kye yalina okukola okusobola okuwonawo awamu n’ab’omu maka ge. (Lub. 6:13-18) Ddala Yakuwa yazzaamu Nuuwa amaanyi.

3. Yakuwa yazzaamu atya Yoswa amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 15.)

3 Nga wayise emyaka mingi, Yoswa yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuyingiza abantu ba Katonda mu Nsi Ensuubize. Kino kyali kizingiramu okulwanyisa amagye ag’amaanyi ag’amawanga agaali mu nsi eyo. Yoswa ayinza okuba nga yatyamu. Bwe kityo, Yakuwa yalagira Musa okugumya Yoswa. Yamugamba nti: “Fuula Yoswa omukulembeze, omuzzeemu amaanyi era omugumye, kubanga y’agenda okukulemberamu abantu bano okusomoka, era y’agenda okubakulemberamu okutwala ensi eyo gy’ogenda okulaba.” (Ma. 3:28) Yoswa bwe yali tannatandika kukola mulimu ogwali gumukwasiddwa, Yakuwa yamugamba nti: “Si nze akulagidde? Beera muvumu era beera wa maanyi. Totya era totekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wo anaabeeranga naawe yonna gy’onoogendanga.” (Yos. 1:1, 9) Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Yoswa amaanyi!

4, 5. (a) Yakuwa yazzaamu atya abantu be ab’edda amaanyi? (b) Yakuwa yazzaamu atya Yesu amaanyi?

4 Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa yazzaamu abaweereza be kinnoomu amaanyi, era yazzaamu amaanyi abantu be bonna okutwalira awamu. Yakuwa yagamba Abayudaaya abaali mu buwambe mu Babulooni obunnabbi buno obuteekwa okuba nga bwabazzaamu amaanyi: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.” (Is. 41:10) Yakuwa yazzaamu amaanyi n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka era azzaamu amaanyi n’Abakristaayo abaliwo leero.​—Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.

5 Yakuwa era yazzaamu amaanyi Omwana we. Yesu bwe yali yaakamala okubatizibwa, yawulira eddoboozi okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Mat. 3:17) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Yesu amaanyi mu kiseera kyonna kye yamala ng’aweereza ku nsi!

YESU YAZZAAMU ABALALA AMAANYI

6. Olugero olukwata ku ttalanta lutuzzaamu lutya amaanyi?

6 Yesu yakoppa Kitaawe. Olugero lwe yagera olukwata ku ttalanta luzzaamu amaanyi abo bonna abaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mukama w’abaddu yasiima buli omu ku baddu abaali abeesigwa ng’amugamba nti: “Weebale nnyo omuddu omulungi era omwesigwa! Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukukwasa ebintu bingi. Sanyukira wamu ne mukama wo.” (Mat. 25:21, 23) Tewali kubuusabuusa nti ebigambo ebyo bitukubiriza okusigala nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa.

7. Yesu yazzaamu atya Peetero n’abatume be abalala amaanyi?

7 Abatume ba Yesu baateranga okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Naye Yesu yayoleka obugumiikiriza ng’abakubiriza okwetoowaza n’okuba abeetegefu okuweereza abalala so si okwagala okuweerezebwa. (Luk. 22:24-26) Peetero yakola ensobi ezitali zimu era ekyo tekyasanyusa Yesu. (Mat. 16:21-23; 26:31-35, 75) Naye mu kifo ky’okwabulira Peetero, Yesu yamuzzaamu amaanyi era n’amukubiriza n’okuzzaamu baganda be amaanyi.​—Yok. 21:16.

ABAWEEREZA BA YAKUWA AB’EDDA ABAZZAAMU ABALALA AMAANYI

8. Keezeekiya yazzaamu atya amaanyi abakulu b’eggye n’abantu b’omu Yuda?

8 Yesu ne bwe yali tannajja ku nsi, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali bafuba okuzzaamu abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Abaasuli bwe baali bateekateeka okulumba Yerusaalemi, Keezeekiya yakuŋŋaanya abakulu b’eggye n’abantu b’omu Yuda bonna okubazzaamu amaanyi. Bayibuli egamba nti: ‘Abantu baaguma olw’ebigambo bya Keezeekiya.’​—Soma 2 Ebyomumirembe 32:6-8.

9. Ebyo bye tusoma mu kitabo kya Yobu bituyigiriza ki ku kuzzaamu abalala amaanyi?

9 Wadde nga Yobu yali yeetaaga okubudaabudibwa, yayigiriza banne abasatu abaali bamunakuwaza obukulu bw’okuzzaamu abalala amaanyi. Yabagamba nti singa ye yali bo, ‘yandyogedde ebigambo ebyandibazizzaamu amaanyi, era nti ebigambo bye byandibaleetedde obuweerero.’ (Yob. 16:1-5) Oluvannyuma, Eriku ne Yakuwa bazzaamu Yobu amaanyi.​—Yob. 33:24, 25; 36:1, 11; 42:7, 10.

10, 11. (a) Lwaki muwala wa Yefusa yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi? (b) Baani leero abali mu mbeera ng’eyiye abeetaaga okuzzibwamu amaanyi?

10 Omuntu omulala eyaliwo mu biseera eby’edda eyali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi ye muwala wa Yefusa. Yefusa bwe yali tannagenda kulwana n’Abaamoni yeeyama eri Yakuwa n’amugamba nti bwe yandimusobozesezza okuwangula olutalo, omuntu eyandisoose okujja okumukulisaayo yandimuwaddeyo okugenda okuweereza ku weema entukuvu obulamu bwe bwonna. Muwala wa Yefusa, omwana omu yekka gwe yalina, ye yasooka okuvaayo okumukulisaayo. Ekyo kyanakuwaza nnyo Yefusa. Naye yatuukiriza obweyamo bwe n’asindika muwala we eyali embeerera okuweereza ku weema entukuvu e Siiro obulamu bwe bwonna.​—Balam. 11:30-35.

11 Wadde ng’embeera eyo yali nzibu nnyo eri Yefusa, yali nzibu nnyo n’okusingawo eri muwala we eyakkiriza okukola ekyo kitaawe kye yali yeeyamye. (Balam. 11:36, 37) Omuwala oyo yeefiiriza okufumbirwa, okuzaala abaana, n’okukuuma erinnya ly’ennyumba yaabwe. Tewali kubuusabuusa nti omuwala oyo yali yeetaaga okubudaabudibwa. Bayibuli egamba nti: “Buli mwaka abawala Abayisirayiri baagendanga okusiima muwala wa Yefusa Omugireyaadi, ennaku nnya mu mwaka.” (Balam. 11:39, 40) N’Abakristaayo leero abakozesa embeera gye balimu nga bali obwannamunigina okwemalira ku ‘bintu bya Mukama waffe,’ beetaaga okusiimibwa n’okuzzibwamu amaanyi.​—1 Kol. 7:32-35.

ABATUME BAZZAAMU BAGANDA BAABWE AMAANYI

12, 13. Peetero yazzaamu atya baganda be amaanyi?

12 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba omutume Peetero nti: “Simooni, Simooni, laba! Sitaani asabye okubakuŋŋunta mmwenna ng’eŋŋaano. Naye nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo; era bw’olimala okukomawo, onywezanga baganda bo.”​—Luk. 22:31, 32.

Amabaluwa abatume ge baawaandiika gazzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka era naffe gatuzzaamu amaanyi (Laba akatundu 12-17)

13 Peetero yali mpagi ya maanyi mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. (Bag. 2:9) Obuvumu bwe yayoleka ku Pentekooti ne mu biseera ebyaddirira bwazzaamu baganda be amaanyi. Bwe yali anaatera okufa, yawandiikira Bakristaayo banne ebbaluwa. Ng’alaga ensonga lwaki yagibawandiikira, yagamba nti: “Mbawandiikidde ebigambo bitono okubazzaamu amaanyi n’okubakakasa nti kino kye kisa kya Katonda eky’ensusso eky’amazima. Mukinywereremu.” (1 Peet. 5:12) Ebbaluwa za Peetero zizze zizzaamu Abakristaayo amaanyi n’okutuusa leero. Mazima ddala twetaaga nnyo okuzzibwamu amaanyi mu kiseera kino nga tunaatera okuyingira mu nsi empya Yakuwa gye yasuubiza.​—2 Peet. 3:13.

14, 15. Ebyo omutume Yokaana bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika bizzaamu bitya Abakristaayo amaanyi?

14 Omutume Yokaana naye yali mpagi mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Ekitabo ky’Enjiri kye yawandiika ekikwata ku buweereza bwa Yesu kizzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo. Enjiri ya Yokaana ye yokka erimu ebigambo Yesu bye yayogera bwe yagamba nti okwagala ke kabonero abantu kwe banditegeeredde abayigirizwa be ab’amazima.​—Soma Yokaana 13:34, 35.

15 Ebbaluwa za Yokaana essatu nazo zirimu ebintu ebizzaamu ennyo amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tulumirizibwa omutima olw’ebibi bye twakola, tekituzzaamu amaanyi bwe tukimanya nti ‘omusaayi gwa Yesu gutunaazaako ebibi byonna’? (1 Yok. 1:7) Era omutima gwaffe bwe gweyongera okutulumiriza, tekituleetera ssanyu okukimanya nti “Katonda asinga emitima gyaffe”? (1 Yok. 3:20) Yokaana yekka ye yawandiika nti “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8, 16) Mu bbaluwa ye ey’okubiri n’ey’okusatu yakiraga nti yali asiima nnyo Abakristaayo abeeyongera ‘okutambulira mu mazima.’​—2 Yok. 4; 3 Yok. 3, 4.

16, 17. Omutume Pawulo yazzaamu atya Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka amaanyi?

16 Mu kyasa ekyasooka omutume Pawulo yazzaamu nnyo abalala amaanyi. Kirabika Obukristaayo bwe bwali bwakatandika, abatume abasinga obungi baali babeera mu Yerusaalemi awaali akakiiko akafuzi. (Bik. 8:14; 15:2) Abakristaayo mu Buyudaaya, abantu be baali babuulira ebikwata ku Kristo baali bakkiririza mu Katonda omu kubanga baali ba mu nzikiriza ya Kiyudaaya. Kyokka ye Pawulo omwoyo omutukuvu gwamutuma kubuulira bantu ab’amawanga amalala abaali basinza bakatonda abangi.​—Bag. 2:7-9; 1 Tim. 2:7.

17 Pawulo yatalaaga ebitundu bingi mu nsi kati emanyiddwa nga Butuluuki, era yatalaaga n’ebitundu bingi mu Buyonaani ne mu Yitale n’atandikawo ebibiina mu bantu abataali Bayudaaya. Abakristaayo abo abapya ‘baabonyaabonyezebwa abantu b’amawanga gaabwe’ era baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi. (1 Bas. 2:14) Awo nga mu mwaka 50 E.E., Pawulo yawandiikira ab’oluganda mu kibiina ekipya ky’e Ssessalonika ebbaluwa n’abagamba nti: “Bulijjo twebaza Katonda nga tuboogerako mmwenna mu kusaba kwaffe, kubanga bulijjo tujjukira mu maaso ga Katonda era Kitaffe omulimu gwe mukola olw’okukkiriza kwammwe, n’okufuba kwammwe okukubirizibwa okwagala, n’obugumiikiriza bwe mulina.” (1 Bas. 1:2, 3) Ate era yabakubiriza okuzziŋŋanamu amaanyi. Yabagamba nti: “Muzziŋŋanengamu amaanyi era muzimbaganenga.”​—1 Bas. 5:11.

AKAKIIKO AKAFUZI KAZZAAMU ABALALA AMAANYI

18. Akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka kazzaamu katya Firipo amaanyi?

18 Akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka, kazzaamu nnyo amaanyi abo abaali batwala obukulembeze awamu n’Abakristaayo abalala. Firipo omubuulizi w’enjiri bwe yali abuulira Abasamaliya ebikwata ku Kristo, akakiiko akafuzi kaamuwagira nnyo. Kaatuma ab’oluganda babiri, Peetero ne Yokaana, abamu ku abo abaali ku kakiiko ako, okugenda okusabira Abasamaliya abaali baakafuuka Abakristaayo basobole okufuna omwoyo omutukuvu. (Bik. 8:5, 14-17) Ng’ekyo akakiiko akafuzi kye kaakola kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Firipo n’Abakristaayo abapya amaanyi!

19. Ebbaluwa akakiiko akafuzi gye kaasindika mu bibiina yakwata etya ku b’oluganda?

19 Oluvannyuma akakiiko akafuzi kaalina okusalawo oba nga Abakristaayo abatali Bayudaaya kyali kibeetaagisa okukomolebwa ng’Amateeka ga Musa bwe gaali geetaagisa Abayudaaya okukola. (Bik. 15:1, 2) Nga bagoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu era n’oluvannyuma lw’okwekenneenya Ebyawandiikibwa, ab’oluganda ku kakiiko ako baasalawo nti okukomolebwa kwali tekukyetaagisa era ne bawandiikira ebibiina ebbaluwa ku nsonga eyo. Ab’oluganda abaali bakiikiridde akakiiko akafuzi baasindikibwa mu bibiina okutwalayo ebbaluwa eyo. Biki ebyavaamu? ‘Bwe baamala okugisoma, baasanyuka olw’ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyagirimu.’​—Bik. 15:27-32.

20. (a) Akakiiko Akafuzi kazzaamu katya ab’oluganda mu nsi yonna amaanyi? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

20 Leero, Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kazzaamu amaanyi Ababeseri, ababuulizi abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo, n’ab’oluganda bonna okutwalira awamu. Era nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ekyo kisanyusa nnyo ab’oluganda era kibazzaamu amaanyi. Ate era mu 2015 Akakiiko Akafuzi kaafulumya brocuwa Komawo eri Yakuwa, era brocuwa eyo ezizzaamu bangi amaanyi okwetooloola ensi yonna. Naye abo bokka abatwala obukulembeze be balina okuzzaamu abalala amaanyi? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.