Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1

“Abanoonya Yakuwa Tebaajulenga Kirungi Kyonna”

“Abanoonya Yakuwa Tebaajulenga Kirungi Kyonna”

EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2022: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.”​—ZAB. 34:10.

OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”

OMULAMWA *

Ne mu biseera ebizibu, Dawudi yali awulira nti ‘talina kirungi kyonna ky’ajula’ (Laba akatundu 1-3) *

1. Mbeera ki enzibu Dawudi gye yalimu?

 DAWUDI yali adduka okutaasa obulamu bwe olw’okuba Sawulo kabaka wa Isirayiri eyali ow’amaanyi yali amaliridde okumutta. Dawudi bwe yali yeetaaga emmere, yagenda mu kabuga Nobu n’asaba aweebwe emigaati etaano gyokka. (1 Sam. 21:1, 3) Oluvannyuma ye n’abasajja be baagenda ne beekweka mu mpuku. (1 Sam. 22:1) Kyajja kitya okuba nti Dawudi yatuuka mu mbeera eyo?

2. Kintu ki ekibi ennyo Sawulo kye yakola? (1 Samwiri 23:16, 17)

2 Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya olw’okuba Dawudi abantu baali bamwagala nnyo era nga bamutendereza olw’okuwangula entalo. Ate era Sawulo yali akimanyi nti Yakuwa yali amuggyeeko obwakabaka olw’obujeemu bwe era nti yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri. (Soma 1 Samwiri 23:16, 17.) Wadde kyali kityo, Sawulo yali akyali kabaka wa Isirayiri era ng’alina eggye ddene n’abawagizi bangi. N’olwekyo Dawudi yalina okudduka okusobola okutaasa obulamu bwe. Ddala Sawulo yali alowooza nti asobola okulemesa Yakuwa okufuula Dawudi kabaka? (Is. 55:11) Bayibuli tetubuulira. Naye ekituufu kiri nti Sawulo okugezaako okulwanyisa Yakuwa yali yeeteeka mu buzibu obw’amaanyi. Bulijjo abo abalwanyisa Katonda tebawangula!

3. Wadde nga Dawudi yali mu mbeera nzibu, yali awulira atya?

3 Dawudi yali mwetoowaze. Si ye yasalawo nti afuuke kabaka wa Isirayiri, wabula Yakuwa ye yamulonda okuba kabaka. (1 Sam. 16:1, 12, 13) Sawulo yayoleka obukyayi obw’amaanyi eri Dawudi. Kyokka Dawudi teyanenya Katonda olw’obulamu bwe okuba mu kabi. Ate era Dawudi teyeemulugunya bwe yali ng’alina emmere ntono ddala era ng’abeera mu mpuku. Mu kifo ky’ekyo, eyo mu mpuku gye yali, ayinza okuba nga gye yayiiyiza oluyimba olulungi omuggiddwa ekyawandiikibwa ky’omwaka ekigamba nti: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.”​—Zab. 34:10.

4. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya, era lwaki kikulu okubyekenneenya?

4 Leero abaweereza ba Yakuwa bangi oluusi tebaba na mmere emala oba ebintu ebirala ebyetaagisa mu bulamu. * Ekyo kibadde bwe kityo naddala mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19. Ate era olw’okuba “ekibonyoobonyo ekinene” kinaatera okutuuka, tusuubira okwolekagana n’ebizibu ebisingawo. (Mat. 24:21) N’olwekyo kikulu okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Mu ngeri ki Dawudi gye yali ‘tajula kirungi kyonna’? Lwaki tulina okuyiga okuba abamativu? Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira? Era tuyinza tutya okweteekerateekera kati ebiseera eby’omu maaso?

“SIIJULENGA KINTU KYONNA”

5-6. Ebyo ebiri mu Zabbuli 23:1-6 bituyamba bitya okutegeera ekyo Dawudi kye yali ategeeza bwe yagamba nti abaweereza ba Katonda bandibadde ‘tebajula kintu kyonna kirungi’?

5 Kiki Dawudi kye yali ategeeza bwe yagamba nti abaweereza ba Yakuwa bandibadde ‘tebajula kintu kyonna kirungi’? Dawudi bwe yawandiika zabbuli 23 yakozesa ebigambo ebifaananako n’ebyo. N’olwekyo zabbuli eyo etuyamba okumanya kye yali ategeeza. (Soma Zabbuli 23:1-6.) Dawudi yatandika zabbuli eyo ng’agamba nti: “Yakuwa ye musumba wange. Siijulenga kintu kyonna.” Mu nnyiriri eziddako, Dawudi yayogera ku bintu ebikulu ennyo, kwe kugamba, ebintu ebirungi ebingi Yakuwa bye yamuwa olw’okuba yamukkiriza okuba omusumba we. Yakuwa yakulemberamu Dawudi “mu makubo ag’obutuukirivu,” era yamuyamba mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu. Dawudi yali akimanyi nti wadde nga Yakuwa yali amututte “awali omuddo omungi,” ekyo kyali tekitegeeza nti yali tajja kufuna kizibu kyonna. Ebiseera ebimu yali ayinza okuggwaamu amaanyi, ng’alinga atambulira mu “mu kiwonvu ekikutte enzikiza.” Ate era yandibadde n’abalabe. Naye olw’okuba Yakuwa ye yali omusumba we, yali ‘talina kabi k’atya.’

6 Kati tuyinza kuddamu tutya ekibuuzo ekigamba nti: Mu ngeri ki Dawudi gye yali ‘tajula kintu kyonna kirungi’? Eky’okuddamu kye kino: Dawudi yalina buli kimu kye yali yeetaaga okusobola okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Essanyu lye lyali terisinziira ku bintu bye yalina. Yali mumativu n’ebyo Yakuwa bye yali amuwadde. Dawudi kye yali atwala ng’ekisinga obukulu gye mikisa n’obukuumi Katonda we bye yali amuwa.

7. Okusinziira ku Lukka 21:20-24, mbeera ki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali mu Buyudaaya gye baayolekagana nayo?

7 Ebigambo bya Dawudi bituyamba obutatwala bya bugagga nti bikulu nnyo gye tuli. Tusobola okweyagalira mu bintu bye tulina, naye tetusaanidde kubitwala nti bye bisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Ekintu ekyo ekikulu Abakristaayo abamu abaali babeera mu Buyudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baakiraba. (Soma Lukka 21:20-24.) Yesu yali abalabudde nti ekiseera kyandituuse Yerusaalemi ‘ne kyetooloolwa amagye.’ Ekyo bwe kyabaawo, baalina ‘okuddukira mu nsozi.’ Okudduka kwandibayambye okuwonawo. Kyokka era bandibaddeko n’ebintu bye bafiirwa. Emyaka mingi emabega, Omunaala gw’Omukuumi gwagamba nti: ‘Baaleka ennimiro zaabwe n’amaka, era tebaasobola kukuŋŋaanya bintu bye baalina mu nnyumba zaabwe. Nga beesiga Yakuwa okubakuuma n’okubalabirira, baakulembeza okusinza Yakuwa so si kintu kirala kyonna ekyali kirabika ng’ekikulu.’

8. Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali babeera mu Buyudaaya?

8 Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali babeera mu Buyudaaya? Omunaala gw’Omukuumi ogwogeddwako waggulu gwagamba nti: “Wayinza okubaawo okugezesebwa mu biseera eby’omu maaso ku ngeri gye tutwalamu ebintu. [Tubitwala nti] bye bisingayo obukulu, oba obulokozi obulifunibwa abo bonna abali ku ludda lwa Katonda? Yee, okudduka kwaffe kuyinza okubeeramu obuzibu n’okwefiiriza. Kijja kutwetaagisa okubeera abeetegefu okukola kyonna ekyetaagisa, ng’ab’omu kyasa ekyasooka abadduka mu Buyudaaya bwe baakola.” *

9. Okubuulirira omutume Pawulo kwe yawa Abakristaayo Abebbulaniya kutuzzaamu kutya amaanyi?

9 Mazima ddala tekyali kyangu eri Abakristaayo abo okuleka kumpi buli kimu kye baalina ne batandika buto. Kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza nti Yakuwa yandibawadde bye baali beetaaga. Naye waaliwo ekyandibayambye. Ng’ebula emyaka etaano Abaruumi bazingize Yerusaalemi, omutume Pawulo yawa Abakristaayo Abebbulaniya okubuulirira kuno okulungi: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’ N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?’” (Beb. 13:5, 6) Kyali kyangu eri abo abaakolera ku kubuulirira kwa Pawulo okuba abamativu n’ebintu ebitono bye baalina mu kitundu ekipya gye baali bagenze. Baali bakakafu nti Yakuwa yandibawadde bye baali beetaaga. Okusinziira ku bigambo bya Pawulo ebyo, naffe tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa bye twetaaga.

“TUNAABANGA BAMATIVU N’EBYO”

10. “Kyama” ki Pawulo kye yatubuulira?

10 Pawulo yawa Timoseewo okubuulirira kwe kumu era nga naffe kutukwatako. Yagamba nti: “Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Tim. 6:8) Ekyo kitegeeza nti tetulina kulya mmere nnungi, kuba na kifo kirungi kya kubeeramu, oba okugulayo ku ngoye empya? Ekyo Pawulo si kye yali ategeeza. Pawulo yali ategeeza nti tulina okuba abamativu n’ebintu bye tuba nabyo. (Baf. 4:12) Ekyo “kyama” Pawulo kye yali avumbudde. Enkolagana yaffe ne Katonda kye ky’obugagga kyaffe ekisingayo okuba eky’omuwendo, so si bintu bye tulina.​—Kaab. 3:17, 18.

Abayisirayiri ‘tebaajula kintu kyonna’ mu myaka 40 gye baamala nga bali mu ddungu. Tuli bamativu n’ebintu bye tulina kati? (Laba akatundu 11) *

11. Ebigambo Musa bye yagamba Abayisirayiri tubiyigirako ki?

11 Ebyo bye tulowooza nti tubyetaaga biyinza okuba nga si bye byo Yakuwa by’atwala nti tubyetaaga. Lowooza ku ekyo Musa kye yagamba Abayisirayiri oluvannyuma lw’okumala emyaka 40 nga bali mu ddungu. Yabagamba nti: “Yakuwa Katonda wo akuwadde omukisa mu byonna by’okoze. Amanyi bulungi okutambula kwo mu ddungu lino eddene. Yakuwa Katonda wo abadde naawe emyaka gino 40 era obadde tojula kintu kyonna.” (Ma. 2:7) Mu myaka egyo 40, Yakuwa yawa Abayisirayiri emmaanu okulya. Ebyambalo byabwe bye baava nabyo e Misiri tebyakaddiwa. (Ma. 8:3, 4) Wadde ng’Abayisirayiri abamu bayinza okuba nga baali balowooza nti ebintu ebyo byali tebimala, Musa yabajjukiza nti baalina buli kimu kye baali beetaaga. Yakuwa asanyuka nnyo bwe tuyiga okuba bamativu. Ayagala tube nga tusiima n’ebintu ebirabika ng’ebitono by’atuwa, era tubitwale nti birabo okuva gyali.

WEESIGE YAKUWA NTI AJJA KUKULABIRIRA

12. Kiki ekiraga nti Dawudi yali yeesiga Yakuwa so si busobozi bwe?

12 Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa mwesigwa era nti afaayo nnyo ku abo abamwagala. Dawudi we yayiiyiza Zabbuli eya 34 obulamu bwe bwali mu kabi. Naye yalina okukkiriza okw’amaanyi ne kiba nti yali mukakafu nti “Malayika wa Yakuwa” yali ‘asiisidde okumwetooloola.’ (Zab. 34:7) Oboolyawo Dawudi yali ageraageranya malayika wa Yakuwa ku musirikale alina w’asiisidde ng’ekiseera kyonna ali bulindaala okwaŋŋanga omulabe. Wadde nga Dawudi yali mulwanyi muzira era nga Yakuwa yali amusuubizza okumufuula kabaka, teyeesigama ku busobozi bwe obw’okukasuka envuumuulo oba obw’okukozesa ekitala okuwangula omulabe. (1 Sam. 16:13; 24:12) Yeesiga Yakuwa nga mukakafu nti malayika wa Yakuwa ‘anunula abo abatya Yakuwa.’ Kya lwatu nti leero tetusuubira kukuumibwa mu ngeri ya kyamagero. Naye tukimanyi nti tewali n’omu eyeesiga Yakuwa ajja okutuukibwako akabi ak’olubeerera.

Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, amagye ga Googi ow’e Magoogi gayinza okugezaako okutulumba mu maka gaffe. Naye tuli bakakafu nti Yesu ne bamalayika be bajja kuba balaba ekigenda mu maaso era bajja kutulwanirira (Laba akatundu 13)

13. Googi ow’e Magoogi bw’anaatulumba, lwaki tujja kulabika ng’abangu okuwangula, naye tunaaba bakakafu ku ki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

13 Mu kiseera ekitali kya wala kijja kutwetaagisa okukyoleka obanga ddala twesiga Yakuwa okutukuuma oba nedda. Googi ow’e Magoogi, kwe kugamba, amawanga aganaaba geegasse awamu, bw’anaalumba abantu ba Katonda tuyinza okulowooza nti ajja kutusaanyawo. Kijja kutwetaagisa okuba n’obwesige nti Yakuwa ajja kutununula. Amawanga gajja kutulaba ng’endiga ezitasobola kwerwanako era ezitalina azikuuma. (Ezk. 38:10-12) Tujja kuba tetulina kya kulwanyisa kyonna, era nga tetwatendekebwa kulwana ntalo. Amawanga gajja kulowooza nti kyangu okutuwangula. Bajja kuba tebalaba ekyo ffe kye tulaba n’amaaso gaffe ag’okukkiriza, kwe kugamba, bamalayika ba Yakuwa abasiisidde okwetooloola abantu ba Katonda okubalwanirira. Kya lwatu nti amawanga gajja kuba tegabalaba kubanga tegakkiririza mu Katonda. Gajja kwewuunya nnyo eggye ery’omu ggulu bwe linajja okutulwanirira!​—Kub. 19:11, 14, 15.

WEETEEKERETEEKERE KATI EBISEERA EBY’OMU MAASO

14. Biki bye tulina okukola okusobola okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso?

14 Kiki kye tusaanidde okukola kati okusobola okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso? Okusookera ddala, tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bintu, nga tukijjukira nti lujja kukya lumu tubireke. Ate era tulina okuba abamativu ne bye tulina, n’okutwala enkolagana yaffe ne Yakuwa ng’eky’obugagga kyaffe ekisingayo okuba eky’omuwendo. Gye tunaakoma okumanya obulungi Katonda waffe, gye tujja okukoma okuba abakakafu nti ajja kutukuuma nga Googi ow’e Magoogi atulumbye.

15. Bintu ki Dawudi bye yayitamu ebyamuyamba okukimanya nti bulijjo Yakuwa yali ajja kumuyamba?

15 Waliwo ekintu ekirala ekyayamba Dawudi okweteekerateekera ebigezo bye yayolekagana nabyo, era nga naffe kisobola okutuyamba. Dawudi yagamba nti: “Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi; alina essanyu oyo addukira gy’ali.” (Zab. 34:8) Ebigambo ebyo biraga ensonga lwaki Dawudi yali yeesiga Yakuwa okumuyamba. Dawudi yeesiganga Yakuwa nti ajja kumuyamba era ddala yamuyamba. Bwe yali akyali muvubuka, yagenda okulwanyisa Goliyaasi era n’agamba omusajja oyo eyali omulwanyi ow’amaanyi nti: “Olwa leero Yakuwa ajja kukugabula mu mukono gwange.” (1 Sam. 17:46) Oluvannyuma Dawudi bwe yali ng’aweereza kabaka Sawulo, Sawulo yagezaako enfunda nnyingi okumutta. Naye “Yakuwa yali” ne Dawudi. (1 Sam. 18:12) Olw’okuba Dawudi yali alabye engeri Yakuwa gye yamuyambamu mu biseera eby’emabega, bwe yafuna ebizibu yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kumuyamba.

16. Biki bye tuyinza okukola “okulega” ku bulungi bwa Yakuwa?

16 Gye tukoma okwesiga Yakuwa kati, gye tujja okukoma okuba abakakafu nti ajja kutuyamba mu biseera eby’omu maaso. Kitwetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’okwesiga Yakuwa okusobola okusaba oyo atukozesa okutukkiriza okugenda mu lukuŋŋaana okunene, oba okumusaba okukyusa mu biseera byaffe eby’okukola tusobole okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna, oba okwongera ku biseera bye tumala mu mulimu gw’okubuulira. Naye watya singa oyo atukozesa agaana kye tumusabye era ne tufiirwa omulimu. Tuli bakakafu nti Yakuwa tasobola kutwabulira era nti bulijjo ajja kutuwa bye twetaaga? (Beb. 13:5) Bangi abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna balabye engeri Yakuwa gy’azze abayambamu mu biseera we babaddenga beetaagira ennyo obuyambi. Yakuwa mwesigwa.

17. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2022 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

17 Olw’okuba Yakuwa ali naffe, tetusaanidde kutya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Katonda waffe tasobola kutwabulira bwe tukulembeza obwakabaka bwe. Okusobola okutujjukiza obukulu bw’okweteekerateekera ebiseera ebizibu ebijja mu maaso n’okwesiga Yakuwa nti tasobola kutwabulira, Akakiiko Akafuzi kaalonda Zabbuli 34:10 okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2022. Kigamba nti: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.”

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

^ Ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2022 kiggiddwa mu Zabbuli 34:10, awagamba nti: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.” Bangi ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa balina ebintu bitono ddala. Kati olwo lwaki tugamba nti ‘tebajula kirungi kyonna’? Era okutegeera amakulu g’olunyiriri luno, kinaatuyamba kitya okweteekerateekera ebiseera ebizibu ebijja mu maaso?

^ Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Munaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2014.

^ Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 1, 1999, lup. 26.

^ EBIFAANANYI: Dawudi ne bwe yali ng’ali mu mpuku ng’adduse Kabaka Sawulo, yali asiima ebyo Yakuwa bye yali amukolera.

^ EBIFAANANYI: Abayisirayiri bwe baamala okuva e Misiri, Yakuwa yabawa emmaanu okulya era n’ebyambalo byabwe tebyakaddiwa.