Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3

Bye Tuyigira ku Maziga Yesu ge Yakaaba

Bye Tuyigira ku Maziga Yesu ge Yakaaba

“Yesu n’akulukusa amaziga.”​—YOK. 11:35.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

OMULAMWA *

1-3. Biki ebiyinza okuleetera abaweereza ba Yakuwa okukaaba?

 DDI lwe wasembayo okukaaba? Ebiseera ebimu tukaaba amaziga ag’essanyu. Naye emirundi egisinga tukaaba olw’obulumi bwe tuba nabo ku mutima. Ng’ekyokulabirako, tukaaba bwe tufiirwa omuntu waffe. Mwannyinaffe ayitibwa Lorilei, abeera mu Amerika, yagamba nti: “Waliwo lwe nnawuliranga obulumi obw’amaanyi ennyo olw’okufiirwa muwala wange, ne kiba nti nnali mpulira nga tewali kiyinza kumbudaabuda. Nnali sirowooza nti ekiseera kyandituuse ne mba nga nsobola okugumira obulumi obwo.” *

2 Waliwo ensonga endala ezisobola okutuleetera okukaaba. Mwannyinaffe ayitibwa Hiromi aweereza nga payoniya mu Japan, yagamba nti: “Oluusi mpulira nga mpeddemu nnyo amaanyi olw’abantu mu kitundu kye mbuuliramu obuteefiirayo. Oluusi bwe mba nsaba Yakuwa annyambe okufuna omuntu ayagala okuyiga amazima, nkulukusa n’amaziga.”

3 Oluusi naawe owulira nga bannyinaffe abo aboogeddwako waggulu? Bangi ku ffe oluusi bwe tutyo bwe tuwulira. (1 Peet. 5:9) Twagala ‘okuweereza Yakuwa n’essanyu,’ naye oluusi tuyinza okumuweereza nga tulina obulumi ku mutima olw’okufiirwa omuntu waffe, n’olw’ebizibu ebirala ebimalamu amaanyi era ebigezesa okukkiriza kwaffe. (Zab. 6:6; 100:2) Kiki ekiyinza okutuyamba okugumira embeera ng’ezo?

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Waliwo bye tusobola okuyigira ku Yesu. Oluusi naye yayolekagananga n’embeera ezaamuviirakangako ‘okukulukusa amaziga.’ (Yok. 11:35; Luk. 19:41; 22:44; Beb. 5:7) Kati ka tulabe embeera ezo, era n’ebyo bye tusobola okuyigamu. Ate era tugenda kulaba bye tusobola okukola okusobola okwaŋŋanga embeera ezituviirako okukaaba.

YAKAABA OLW’OKUBA YALI AFAAYO KU MIKWANO GYE

Budaabuda abo ababa bafiiriddwa, nga Yesu bwe yakola (Laba akatundu 5-9) *

5. Ebyo ebiri mu Yokaana 11:32-36 bituyigiriza ki ku Yesu?

5 Mu mwaka gwa 32 E.E., Laazaalo mukwano gwa Yesu ow’oku lusegere yalwala era n’afa. (Yok. 11:3, 14) Laazaalo yalina bannyina babiri, Maliyamu ne Maliza, era nabo Yesu yali abaagala nnyo. Abakazi abo baanakuwala nnyo olw’okufiirwa mwannyinaabwe. Laazaalo bwe yafa, Yesu yagenda ku kyalo ky’e Bessaniya, Maliyamu ne Maliza gye baali babeera. Maliza bwe yawulira nti Yesu yali ajja, yagenda mangu n’amusisinkana. Lowooza ku nnaku gye yali awulira bwe yagamba nti: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” (Yok. 11:21) Oluvannyuma Yesu bwe yalaba Maliyamu n’abalala nga bakaaba, naye ‘yakulukusa amaziga.’​—Soma Yokaana 11:32-36.

6. Lwaki Yesu yakaaba nga Laazaalo afudde?

6 Lwaki Yesu yakaaba nga Laazaalo afudde? Ekitabo Insight on the Scriptures kigamba nti: “Okufa kwa mukwano gwe Laazaalo, n’ennaku bannyina gye baalimu bye byaleetera Yesu ‘okusinda n’okukulukusa amaziga.’” * Yesu ayinza okuba nga yalowooza ku bulumi n’ennaku mukwano gwe Laazaalo bye yayitamu nga mulwadde, n’engeri gye yawulira ng’akitegedde nti agenda kufa. Ate era n’obulumi Maliyamu ne Maliza bwe baalimu olw’okufiirwa mwannyinaabwe, nabwo bwaleetera Yesu okukwatibwako n’akulukusa amaziga. Bw’oba nga wali ofiiriddwako mukwano gwo ow’oku lusegere oba omu ku b’eŋŋanda zo, oteekwa okuba nga naawe wawulira obulumi bungi. Ka tulabe ebintu bisatu bye tusobola okuyigira ku ebyo ebyaliwo.

7. Eky’okuba nti Yesu yakaaba olwa mikwano gye, kikuyigiriza ki ku Yakuwa?

7 Yakuwa ategeera engeri gy’owuliramu. Yesu yakoppera ddala Kitaawe. (Beb. 1:3) Yesu bwe yakaaba, yalaga engeri Kitaawe gy’awuliramu nga tufiiriddwa omuntu waffe. (Yok. 14:9) Bw’oba ng’owulira obulumi olw’okufiirwa omuntu wo, kijjukire nti Yakuwa takoma bukomi ku kumanya bulumi bw’oyitamu wabula naye alumirwa wamu naawe. Ayagala nnyo okukubudaabuda.​—Zab. 34:18; 147:3.

8. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yesu ajja kuzuukiza abantu baffe abaafa?

8 Yesu ayagala okuzuukiza abantu bo abaafa. Yesu bwe yali tannakaaba, yagamba Maliza nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza yali akkiririza mu ekyo Yesu kye yamugamba. (Yok. 11:23-27) Olw’okuba Maliza yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa, ateekwa okuba nga yali yawulirako ku bantu nnabbi Eriya ne Erisa be baazuukiza emyaka mingi emabega. (1 Bassek. 17:17-24; 2 Bassek. 4:32-37) Ate era ayinza okuba nga yali yawulirako ku bantu Yesu be yazuukiza. (Luk. 7:11-15; 8:41, 42, 49-56) Naawe osobola okuba omukakafu nti ojja kuddamu okulaba abantu bo abaafa. Yesu okukaba ng’abudaabuda mikwano gye abaali bafiiriddwa, kiraga nti ayagala nnyo okuzuukiza abantu!

9. Okufaananako Yesu, oyinza otya okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa? Waayo ekyokulabirako.

9 Osobola okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa. Yesu teyakoma bukomi ku kukaabira wamu ne Maliyamu ne Maliza, naye era yabawuliriza era n’ayogera ebigambo ebyabazzaamu amaanyi. Naffe tusobola okukola kye kimu. Omukadde omu ayitibwa Dan, abeera mu Australia agamba nti: “Oluvannyuma lw’okufiirwa mukyala wange, nnali nneetaaga nnyo okubudaabudibwa. Ab’oluganda abawerako ne bakyala baabwe bajjanga okumbudaabuda buli lunaku, era bampulirizanga. Bandeka ne nkaaba, era okukaaba kwange tekwabaleetera kuwulira nsonyi. Ate era bannyambako ku mirimu gye nnali mpulira nga sisobola kukola mu kiseera ekyo, gamba ng’okunjoleza ku mmotoka, okungulira ku bintu, okufumba, n’emirimu emirala. Ate era baasabira wamu nange. Mazima ddala baakiraga nti baali mikwano gya nnamaddala era baafuuka baganda bange ‘mu biro eby’okulaba ennaku.’”​—Nge. 17:17.

YAKABA OLW’OKUBA YALI AFAAYO KU BANTU

10. Nnyonnyola ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu Lukka 19:36-40.

10 Yesu bwe yali anaatera okutuuka mu Yerusaalemi nga Nisaani 9, 33 E.E., abantu baayalirira engoye zaabwe mu kkubo aziyiteko, okulaga nti baali bamutwala nga Kabaka waabwe. Awatali kubuusabuusa, olunaku olwo lwali lwa ssanyu nnyo. (Soma Lukka 19:36-40.) N’olwekyo, abayigirizwa ba Yesu bayinza okuba nga baali tebasuubira ekyo Yesu kye yakola oluvannyuma. Yesu ‘bwe yatuuka okumpi n’ekibuga, yakitunuulira, n’akikaabira.’ Ng’alina amaziga ku maaso, Yesu yayogera ekyali kigenda okutuuka ku bantu b’omu kibuga ekyo.​—Luk. 19:41-44.

11. Lwaki Yesu yakaabira abantu b’omu Yerusaalemi?

11 Yesu yawulira obulumi ku mutima olw’okuba yali akimanyi nti wadde ng’abantu abo baali bamwanirizza n’essanyu, Abayudaaya abasinga obungi tebandikkirizza bubaka bw’Obwakabaka bwe yali abuulira. N’ekyandivuddemu, ekibuga Yerusaalemi kyandizikiriziddwa era Abayudaaya abandiwonyeewo banditwaliddwa mu buwambe. (Luk. 21:20-24) Eky’ennaku, nga Yesu bwe yagamba, abantu abasinga obungi tebaamukkiriza. Abantu mu kitundu gy’obeera, batwala batya amawulire amalungi? Bwe kiba nti abantu abakkiriza amawulire amalungi mu kitundu kyo batono, biki by’osobola okuyigira ku Yesu? Ka tulabe ebintu ebirala bisatu bye tusobola okumuyigirako.

12. Yesu okukaba ku lw’abantu be yali abuulira kituyigiriza ki ku Yakuwa?

12 Yakuwa afaayo ku bantu. Yesu okukaaba kitulaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu. “Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Leero tusobola okulaga nti twagala baliraanwa baffe nga tunyiikira okubabuulira amawulire amalungi.​—Mat. 22:39. *

Kyusakyusa mu nteekateeka yo ey’okubuulira, nga Yesu bwe yakola (Laba akatundu 13-14) *

13-14. Yesu yakiraga atya nti asaasira abantu, era tuyinza tutya okumukoppa?

13 Yesu yabuulira n’obunyiikivu. Yakiraga nti yali ayagala nnyo abantu bwe yakozesanga akakisa konna ke yabanga afunye okubabuulira n’okubayigiriza. (Luk. 19:47, 48) Kiki ekyamuleetera okukola bw’atyo? Yabasaasiranga. Ebiseera ebimu abantu abaabanga baagala okuwuliriza Yesu baabanga bangi nnyo ne kiba nti ye n’abayigirizwa be ‘tebaafunanga na kaseera ka kulya mmere.’ (Mak. 3:20) Omusajja omu bwe yayagala okwogera naye ekiro, Yesu yali mwetegefu okumubuulira. (Yok. 3:1, 2) Abantu abasinga obungi ku abo Yesu be yasooka okubuulira tebaafuuka bayigirizwa be. Naye abo bonna abaamuwuliriza baafuna obujulirwa mu bujjuvu. Ne leero twagala okuwa buli muntu akakisa okuwulira amawulire amalungi. (Bik. 10:42) Ekyo okusobola okukikola, kiyinza okutwetaagisa okukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu.

14 Beera mwetegefu okukyusakyusaamu. Bwe tutakyusakyusaamu mu biseera bye tugenderamu okubuulira, tuyinza obutatuuka ku abo abandiwulirizza amawulire amalungi. Payoniya ayitibwa Matilda, agamba nti: “Nze n’omwami wange tugezaako okubuulira mu biseera eby’enjawulo. Mu budde obw’oku makya, tubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi. Mu budde obw’amalya g’ekyemisana tukozesa akagaali okuba ebitabo. Ate mu budde obw’akawungeezi, tubuulira nnyumba ku nnyumba kubanga mu kiseera ekyo bangi babeerayo awaka.” Mu kifo ky’okunywerera ku nteekateeka etwanguyira, tusaanidde okuba abeetegefu okukyusakyusaamu tusobole okubuulira mu biseera we tuyinza okusangira abantu. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.

YESU YAKAABA OLW’ERINNYA LYA KITAAWE

Bw’oba oyolekagana n’ekizibu, saba nnyo Yakuwa nga Yesu bwe yakola (Laba akatundu 15-17) *

15. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 22:39-44, kiki ekyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe?

15 Akawungeezi nga Nisaani 14, 33 E.E., Yesu yagenda mu nnimiro y’e Gesusemane. Ng’ali eyo, yasaba nnyo Yakuwa. (Soma Lukka 22:39-44.) Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Yesu “yakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka era n’akulukusa amaziga nga yeegayirira” Kitaawe. (Beb. 5:7) Kiki Yesu kye yasaba Yakuwa mu kiro ekyo ekyasembayo amale attibwe? Yamusaba amuwe amaanyi asobole okusigala nga mwesigwa gy’ali era n’okukola by’ayagala. Yakuwa yawulira essaala y’Omwana we, era n’atuma malayika okumuzzaamu amaanyi.

16. Lwaki Yesu yali munakuwavu nnyo ng’asaba mu nnimiro y’e Gesusemane?

16 Yesu yakaaba bwe yali asaba mu nnimiro y’e Gesusemane kubanga yawulira bubi nnyo bwe yalowooza ku ky’okuba nti yali agenda kutwalibwa ng’omuntu avvoola Katonda. Ate era yali amanyi obuvunaanyizibwa bwe yalina, obw’okusigala nga mwesigwa asobole okutukuza erinnya lya Kitaawe. Bw’oba ng’oyolekagana n’embeera egezesa obwesigwa bwo eri Yakuwa, kiki ky’oyinza okuyigira ku Yesu? Ka tulabe ebintu ebirala bisatu bye tuyinza okuyiga.

17. Okuba nti Yakuwa yaddamu essaala ya Yesu kituyigiriza ki?

17 Yakuwa awulira okusaba kwo. Yakuwa yawulira okusaba kwa Yesu. Lwaki? Kubanga Yesu kye yakulembeza mu kusaba kwe, kwe kusigala nga mwesigwa eri Kitaawe era n’okutukuza erinnya lye. Bwe kiba nti kye tukulembeza kwe kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era n’okutukuza erinnya lye, ajja kuddamu okusaba kwaffe.​—Zab. 145:18, 19.

18. Mu ngeri ki Yesu gy’ali nga mukwano gwaffe ategeera obulungi embeera gye tulimu?

18 Yesu ategeera engeri gye weewuliramu. Bwe tuba nga tulina ekizibu kye twolekagana nakyo, kitusanyusa nnyo mukwano gwaffe bw’atuzzaamu amaanyi, nnaddala bwe kiba nti naye yayolekaganako n’ekibu ekyo. Yesu alinga mukwano gwaffe oyo. Amanyi kye kitegeeza okuba ng’oweddemu amaanyi era nga weetaaga obuyambi. Atutegeera bulungi, era ajja kukakasa nti tufuna obuyambi ‘mu kiseera we tubwetaagira.’ (Beb. 4:15, 16) Nga Yesu bwe yakkiriza obuyambi malayika bwe yamuwa mu nnimiro y’e Gesusemane, naffe tusaanidde okuba abeetegefu okukkiriza obuyambi bwonna Yakuwa bw’atuwa, ka kibe nti buli mu bitabo byaffe, mu vidiyo, mu mboozi, oba okuva eri omukadde oba mukwano gwaffe omukulu mu by’omwoyo.

19. Oyinza otya okufuna amaanyi ng’oyolekagana n’ekizibu ekigezesa obwesigwa bwo eri Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.

19 Yakuwa ajja kukuwa “emirembe gya Katonda.” Yakuwa atuzzaamu atya amaanyi? Bwe tumusaba, tufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Baf. 4:6, 7) Emirembe Yakuwa gy’atuwa gitusobozesa okuba abakkakkamu n’okufuna endowooza ennuŋŋamu. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Luz. Agamba nti: “Oluusi mpulira ekiwuubaalo eky’amaanyi, era oluusi enneewulira eyo endeetera okulowooza nti Yakuwa tanjagala. Naye ekyo bwe kibaawo, nsaba mangu Yakuwa ne mmutegeeza engeri gye nneewuliramu. Okusaba kunnyamba okuwulira obulungi.” Okufaananako mwannyinaffe oyo, naffe okusaba kusobola okutuyamba okufuna emirembe.

20. Biki bye tuyigidde ku ky’okuba nti Yesu yakaaba?

20 Tulina ebintu bingi bye tuyigidde ku ky’okuba nti Yesu yakaaba. Tukirabye nti kikulu nnyo okubudaabuda mikwano gyaffe ababa bafiiriddwa abantu baabwe, era n’okuba abakakafu nti Yakuwa ne Yesu bajja kutubudaabuda nga tufiiriddwa omuntu waffe. Ate era tukubiriziddwa okukoppa Yakuwa ne Yesu nga twoleka obusaasizi bwe tuba tubuulira abantu era nga tubayigiriza. Era kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa n’Omwana we bategeera engeri gye twewuliramu bwe tuba twolekagana n’ebizibu, era nti batuyamba okugumiikiriza. Ka tweyongere okukolera ku ebyo bye tuyize okutuusa ekiseera Yakuwa lw’anaatuukiriza ekisuubizo kye ‘eky’okusangula amaziga gaffe gonna.’​—Kub. 21:4.

OLUYIMBA 120 Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

^ Bayibuli eraga nti waliwo emirundu egimu Yesu lwe yawulira obulumi obw’amaanyi ku mutima, n’atuuka n’okukaaba. Mu kitundu kino tugenda kulaba esatu ku mirundi egyo, era tulabe ne bye tusobola okuyigamu.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, lup. 69.

^ Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “muliraanwa” mu Matayo 22:39, tekitegeeza abo bokka ababeera okumpi naffe. Kizingiramu abantu bonna.

^ EBIFAANANYI: Yesu yabudaabuda Maliyamu ne Maliza. Naffe tusaanidde okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa abantu baabwe.

^ EBIFAANANYI: Yesu yayigiriza Nikodemu mu budde obw’ekiro. Tusaanidde okuba abeetegefu okuyigiriza abantu Bayibuli mu kiseera ekibanguyira.

^ EBIFAANANYI: Yesu yasaba Yakuwa amuwe amaanyi asobole okusigala nga mwesigwa gy’ali. Tusaanidde okukola kye kimu nga waliwo ekizibu kye twolekagana nakyo.