Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4

Ensonga Lwaki Tubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo

Ensonga Lwaki Tubaawo ku Mukolo gw’Ekijjukizo

“Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”​—LUK. 22:19.

OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo

OMULAMWA *

1-2. (a) Okusingira ddala ddi lwe tujjukira omuntu waffe eyafa? (b) Kiki Yesu kye yatandikawo mu kiro ekyasembayo amale attibwe?

 BWE tufiirwa omuntu waffe tusigala tukyamujjukira ne bwe waba nga wayiseewo bbanga ki. Olunaku lwe yafiirako bwe lutuuka, tuba na bingi bye tujjukira ebimukwatako.

2 Buli mwaka tukuŋŋaana okujjukira okufa kw’oyo gwe twagala ennyo, ng’ono ye Yesu Kristo. (1 Peet. 1:8) Tukuŋŋaana okujjukira oyo eyawaayo obulamu bwe okutununula okuva mu kibi n’okufa. (Mat. 20:28) Mu butuufu Yesu yalagira abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe. Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe, era n’agamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”​—Luk. 22:19.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Abantu abatonotono ku abo ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Naye abalala bukadde na bukadde abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, nabo babaawo ku mukolo ogwo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu n’abo abajja okubeera ku nsi emirembe gyonna, babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka. Ate era tujja kulaba engeri gye tuganyulwamu bwe tubaawo ku mukolo ogwo. Ka tusooke tulabe ezimu ku nsonga lwaki abo abaafukibwako amafuta babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo.

ENSONGA LWAKI ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BABAAWO KU KIJJUKIZO

4. Lwaki abaafukibwako amafuta balya ku mugaati era ne banywa ne ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

4 Buli mwaka, abo abaafukibwako amafuta babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ne balya ku mugaati era ne banywa ne ku nvinnyo. Lwaki balya ku mugaati era ne banywa ne ku nvinnyo? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku kyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe. Oluvannyuma lw’okukwata Embaga ey’Okuyitako, Yesu yatandikawo omukolo ogumanyiddwa ng’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Yawa abatume be 11 abeesigwa omugaati era n’envinnyo n’abagamba okulyako n’okunywako. Yesu yababuulira ku ndagaano bbiri: endagaano empya, n’endagaano y’Obwakabaka. * (Luk. 22:19, 20, 28-30) Endagaano ezo zaggulirawo abatume abo awamu n’abantu abalala abatonotono ekkubo eribasobozesa okufuuka bakabaka era bakabona mu ggulu. (Kub. 5:10; 14:1) Ensigalira * y’abaafukibwako amafuta abali mu ndagaano ezo ebbiri, be bokka abalya ku mugaati era ne banywa ne ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo.

5. Kiki abaafukibwako amafuta kye balina okukola okusobola okufuna ebyo Yakuwa bye yabasuubiza?

5 Ensonga endala lwaki abo abaafukibwako amafuta babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo eri nti okubaawo ku Mukolo ogwo kibawa akakisa okufumiitiriza ku ssuubi lyabwe. Yakuwa abawadde enkizo ey’ekitalo ey’okunyumirwa obulamu mu ggulu, obutayinza kuzikirizibwa, era n’okufuga ne Yesu Kristo nga bali wamu ne bannaabwe abalala abaafukibwako amafuta. N’ekisinga byonna, bajja kufuna enkizo ey’okulaba Yakuwa! (1 Kol. 15:51-53; 1 Yok. 3:2) Abaafukibwako amafuta basiima nnyo enkizo ezo. Naye bakimanyi nti okusobola okufuna enkizo ezo, balina okusigala nga beesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa. (2 Tim. 4:7, 8) Kibasanyusa nnyo okufumiitiriza ku ssuubi lyabwe ery’okugenda mu ggulu. (Tit. 2:13) Ate bo ‘ab’endiga endala’? (Yok. 10:16) Ezimu ku nsonga lwaki babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ze ziruwa?

ENSONGA LWAKI AB’ENDIGA ENDALA BABAAWO KU KIJJUKIZO

6. Lwaki ab’endiga endala babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka?

6 Wadde ng’ab’endiga endala tebalya ku mugaati era tebalya ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, nabo babaawo ku mukolo ogwo. Mu 1938 abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi lwe baasookera ddala okwanirizibwa okubangawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Watchtower eya Maaki 1, 1938, yagamba nti: “Kiba kituufu era kisaana ab’endiga endala okubaawo ku mukolo ogwo basobole okulaba ebigenda mu maaso. . . . Nabo olunaku olwo luba lwa ssanyu gye bali.” Okufaananako abagenyi ababa abasanyufu okubaawo ku mukolo gw’embaga, eb’endiga endala nabo baba basanyufu okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo.

7. Lwaki ab’endiga endala beesunga emboozi eweebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?

7 Ab’endiga endala nabo bwe babaawo ku mukolo ogwo kibawa akakisa okufumiitiriza ku ssuubi lye balina. Baba beesunga okuwuliriza okwogera okuweebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo, kubanga ebisinga obungi mu kwogera okwo biba bikwata ku ebyo Yesu Kristo awamu ne 144,000 b’ajja okufuga nabo bye bajja okukolera abantu mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Nga bali wamu ne Yesu Kristo, abafuzi abo bajja kuyambako mu kufuula ensi olusuku lwa Katonda, era n’okuyamba abantu okufuuka abatuukiridde. Obukadde n’obukadde bw’abantu ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kibasanyusa nnyo okukuba akafaananyi ng’obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukiriziddwa, gamba ng’obwo obuli mu Isaaya 35:5, 6; 65:21-23; ne Okubikkulirwa 21:3, 4. Bwe bakuba akafaananyi nga bali wamu n’abantu baabwe mu nsi empya, kinyweza okukkiriza kwe balina mu bisuubizo bya Yakuwa ne baba bamalirivu okweyongera okumuweereza.​—Mat. 24:13; Bag. 6:9.

8. Nsonga ki endala ereetera ab’endiga endala okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

8 Lowooza ku nsonga endala lwaki ab’endiga endala babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Baagala okukiraga nti baagala abaafukibwako amafuta era nti babawagira. Ekigambo kya Katonda kyalaga nti wandibaddewo enkolagana ey’oku lusegere wakati w’abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala. Mu ngeri ki? Ka tulabeyo ebyokulabirako.

9. Obunnabbi obuli mu Zekkaliya 8:23 bulaga nti ab’endiga endala batwala batya abaafukibwako amafuta?

9 Soma Zekkaliya 8:23. Obunnabbi buno bulaga engeri ab’endiga endala gye batwalamu baganda baabwe ne bannyinaabwe abaafukibwako amafuta. Ekigambo “Omuyudaaya” ne “nammwe” byombi bikwata ku bantu be bamu, nga ye nsigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Bar. 2:28, 29) ‘Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga,’ bakiikirira ab’endiga endala. ‘Banyweza’ ekyambalo ky’Omuyudaaya, kwe kugamba, banywerera ku baafukibwako amafuta, nga babeegattako mu kusinza okulongoofu. N’olwekyo, ku lunaku lw’Ekijjukizo ab’endiga endala bakiraga nti balina enkolagana ey’oku lusegere n’abaafukibwako amafuta nga babeerawo ku mukolo ogwo.

10. Yakuwa atuukirizza atya obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:15-19, 24, 25?

10 Soma Ezeekyeri 37:15-19, 24, 25. Yakuwa atuukirizza obunnabbi obwo ng’agatta wamu abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala, era bali bumu. Obunnabbi obwo bwogera ku miggo ebiri. Abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu bakiikirirwa omuggo “gwa Yuda” (ekika bakabaka ba Isirayiri mwe baavanga), ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bakiikirirwa omuggo “gwa Efulayimu.” * Yakuwa yandigasse ebibinja ebyo ebibiri ne bifuuka “omuggo gumu.” Ekyo kitegeeza nti baweereza Yakuwa nga bali bumu, wansi wa Kabaka omu, Kristo Yesu. Buli mwaka abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, si ng’ebibinja ebibiri eby’enjawulo, wabula ‘ng’ekisibo kimu, ekiri wansi w’omusumba omu.’​—Yok. 10:16.

11. Okusingira ddala “endiga” ezoogerwako mu Matayo 25:31-36, 40 ziwagira zitya baganda ba Kristo?

11 Soma Matayo 25:31-36, 40. “Endiga” Yesu ze yayogerako mu lugero olwo be batuukirivu abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, kwe kugamba, ab’endiga endala. Okusingira ddala bawagira baganda ba Kristo nga babayamba okukola omulimu omukulu, ogw’okubuulira n’okufuula abantu mu nsi yonna abayigirizwa.​—Mat. 24:14; 28:19, 20.

12-13. Ngeri ki endala eb’endiga endala gye balagamu nti bawagira baganda ba Kristo?

12 Buli mwaka ng’omukolo gw’Ekijjukizo gunaatera okutuuka, ab’endiga endala bawagira baganda ba Kristo nga beenyigira mu bujjuvu mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okuyita abantu ku Kijjukizo. (Laba akasanduuko, “ Weeteekeddeteekedde Ekiseera ky’Ekijjukizo?”) Ate era bayambako mu kuteekateeka omukolo ogwo kisobozese ebibiina okwetooloola ensi yonna okuba nagwo wadde ng’ebibiina ebisinga obungi tebibaamu muntu yenna eyafukibwako mafuta. Ab’endiga endala basanyufu okuwagira baganda ba Kristo mu ngeri ezo. Bakimanyi nti ebyo bye bakolera baganda ba Kristo, Yesu abitwala nti baba babikolera ye.​—Mat. 25:37-40.

13 Biki ebirala ebituleetera ffenna okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, ka tube nga tulina ssuubi ki?

ENSONGA LWAKI FFENNA TUBAAWO KU KIJJUKIZO

14. Yakuwa ne Yesu bakiraze batya nti batwagala nnyo?

14 Tusiima nnyo okwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. Yakuwa atulaze okwagala mu ngeri nnyingi, naye waliwo engeri emu esinga zonna. Katonda yatulaga okwagala okw’ensusso bwe yatuma Omwana we gw’ayagala ennyo okutufiirira. (Yok. 3:16) Yesu naye yatulaga okwagala kwa maanyi bwe yawaayo obulamu bwe kyeyagalire ku lwaffe. (Yok. 15:13) Tetuyinza kusasula Yakuwa ne Yesu olw’okwagala kwe batulaze. Naye tuyinza okukiraga nti tusiima ebyo bye baatukolera okuyitira mu ngeri gye tweyisaamu buli lunaku. (Bak. 3:15) Ate era bwe tubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kitusobozesa okufumiitiriza ku kwagala kwe baatulaga, era n’okukiraga nti naffe tubaagala.

15. Lwaki abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala basiima nnyo ekinunulo?

15 Tusiima nnyo ekinunulo. (Mat. 20:28) Abaafukibwako amafuta basiima ekinunulo kubanga kijja kubasobozesa okufuna Yakuwa bye yabasuubiza. Olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, Yakuwa abatwala nti batuukirivu era abayita baana be. (Bar. 5:1; 8:15-17, 23) Ab’endiga endala nabo basiima nnyo ekinunulo. Olw’okuba bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, balina enkolagana ennungi ne Katonda, bamuweereza, era balina essuubi ‘ery’okuyita mu kibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:13-15) Engeri emu abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala gye balagamu nti basiima ekinunulo, kwe kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka.

16. Nsonga ki endala etuleetera okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

16 Ensonga endala lwaki tubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo eri nti twagala okugondera Yesu. Ka tube nga tulina ssuubi ki, ffenna twagala okugondera ekiragiro Yesu kye yawa abagoberezi be bwe yali atandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe. Yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”​—1 Kol. 11:23, 24.

ENGERI FFENNA GYE TUGANYULWA MU KUBAAWO KU KIJJUKIZO

17. Omukolo gw’Ekijjukizo gutuyamba gutya okweyongera okusemberera Yakuwa?

17 Tweyongera okusemberera Yakuwa. (Yak. 4:8) Nga bwe tulabye, omukolo gw’Ekijjukizo gutuwa akakisa okufumiitiriza ku ssuubi Yakuwa lye yatuwa era ne ku kwagala okungi kwe yatulaga. (Yer. 29:11; 1 Yok. 4:8-10) Bwe tufumiitiriza ku ssuubi lye tulina ne ku kwagala Katonda kwe yatulaga, tweyongera okwagala Yakuwa era n’okunyweza enkolagana yaffe naye.​—Bar. 8:38, 39.

18. Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu kituleetera kukola ki?

18 Tukubirizibwa okukoppa Yesu. (1 Peet. 2:21) Ng’ebulayo ennaku ntono omukolo gw’Ekijjukizo gutuuke, tufumiitiriza ku byawandiikibwa ebyogera ku ebyo ebyaliwo mu wiiki eyasembayo Yesu amale attibwe, ku kufa kwe, ne ku kuzuukira kwe. Ku lunaku lw’Ekijjukizo, mu kwogera okuweebwa, tujjukizibwa okwagala Yesu kwe yatulaga. (Bef. 5:2; 1 Yok. 3:16) Bwe tusoma ebyawandiikibwa ebiraga engeri Yesu gye yeefiirizaamu era ne tubifumiitirizaako, kituleetera okwagala ‘okutambulanga nga ye bwe yatambula.’​—1 Yok. 2:6.

19. Tuyinza tutya okusigala mu kwagala kwa Katonda?

19 Tweyongera okuba abamalirivu okusigala mu kwagala kwa Katonda. (Yud. 20, 21) Tusigala mu kwagala kwa Katonda nga tumugondera, nga tutukuza erinnya lye, era nga tukola ebimusanyusa. (Nge. 27:11; Mat. 6:9; 1 Yok. 5:3) Okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kutuleetera okweyongera okuba abamalirivu okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Yakuwa. Bwe kityo ne tuba ng’abamugamba nti, ‘Njagala kusigala mu kwagala kwo emirembe gyonna!’

20. Nsonga ki ezituleetera okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

20 Ka tube nti tulina essuubi lya kugenda mu ggulu oba okubeera ku nsi, tulina ensonga nnyingi ezituleetera okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Tuba tujjukira okufa kw’oyo gwe twagala ennyo, ng’oyo ye Yesu Kristo. N’ekisinga byonna, tuba tujjukira okwagala okungi Yakuwa kwe yatulaga bwe yawaayo omwana we ng’ekinunulo ku lwaffe. Omwaka guno, omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokutaano, Apuli 15, 2022. Twagala nnyo Yakuwa n’Omwana we. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo.

OLUYIMBA 16 Mutende Yakuwa olw’Omwana We Eyafukibwako Amafuta

^ Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu, oba lya kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi, twesunga okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo buli mwaka. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga eziri mu Byawandiikibwa, lwaki tubaawo ku mukolo ogwo, era n’engeri gye tuganyulwamu.

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku ndagaano empya n’endagaano y’Obwakabaka, laba ekitundu “Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2014, lup. 15-17.

^ EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ebigambo ensigalira y’abaafukibwako amatuta bitegeeza Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi.

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi obukwata ku miggo ebiri obuli mu Ezeekyeri essuula 37, laba ekitabo Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!, lup. 130-135, kat. 3-17.