Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5

‘Kozesa Bulungi Ebiseera Byo’

‘Kozesa Bulungi Ebiseera Byo’

“Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.”​—BEF. 5:15, 16.

OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe

OMULAMWA *

1. Tuyinza tutya okubeerako awamu ne Yakuwa?

 TWAGALA nnyo okubeerako awamu n’abantu be twagala. Abafumbo abaagalana banyumirwa nnyo okubeerako awamu mu biseera eby’akawungeezi. Abavubuka baagala nnyo okubeerako awamu ne mikwano gyabwe. Era ffenna tunyumirwa nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe. Kyokka okusingira ddala, tunyumirwa nnyo okubeerako awamu ne Katonda waffe. Tusobola okubeerako awamu naye nga tumusaba, nga tusoma ekigambo kye, era nga tufumiitiriza ku kigendererwa kye ne ku ngeri ze ennungi. Mazima ddala ebiseera bye tumala ne Yakuwa bya muwendo nnyo!​—Zab. 139:17.

2. Kusoomooza ki kwe twolekagana nakwo?

2 Wadde nga tunyumirwa nnyo okubeerako awamu ne Yakuwa, oluusi tekiba kyangu. Olw’okuba tulina eby’okukola bingi, tuyinza okuzibuwalirwa okufuna ebiseera okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Emirimu gye tukola, obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka, n’ebintu ebirala, bitutwalako obudde bungi ne kiba nti oluusi tuwulira nti tetulina biseera bya kusaba, okwesomesa, oba okufumiitiriza.

3. Kintu ki ekirala ekiyinza okututwalako ebiseera byaffe?

3 Waliwo ekintu ekirala ekiyinza okututwalako ebiseera byaffe. Bwe tuba nga tetwegenderezza, tuyinza okukkiriza ebintu ebimu wadde nga si bibi okutwalako ebiseera bye twandibadde tukozesa okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kikulu okufunayo ebiseera okwesanyusaamu. Eby’okwesanyusaamu bye tulondawo biyinza okuba ebirungi. Naye bwe tubimalirako ebiseera ebingi, tuyinza obutafuna biseera bimala okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Tusaanidde okukijjukira nti okwesanyusaamu si kye kintu ekisinga obukulu.​—Nge. 25:27; 1 Tim. 4:8.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki twetaaga okusalawo ebintu bye tutwala nti bye bisinga obukulu. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi ebiseera byaffe nga tunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, n’engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kukozesa obulungi ebiseera byaffe.

SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI; KULEMBEZA EBISINGA OBUKULU

5. Ebyo ebiri mu Abeefeso 5:15-17 biyinza bitya okuyamba omuvubuka okusalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe?

5 Londawo obulamu obusingayo obulungi. Abavubuka batera okulowooza ku ngeri gye banaakozesaamu obulamu bwabwe mu ngeri esingayo obulungi. Abasomesa n’ab’eŋŋanda zaabwe abatali baweereza ba Yakuwa, bayinza okubakubiriza okuluubirira obuyigirize obwa waggulu obunaabasobozesa okufuna omulimu ogusasula ssente ennyingi. Obuyigirize obwo emirundi mingi butwala ebiseera bingi. Ku luuyi olulala, bazadde baabwe ne mikwano gyabwe mu kibiina bayinza okubakubiriza okukozesa obulamu bwabwe okuweereza Yakuwa. Kiki ekiyinza okuyamba omuvubuka ayagala Yakuwa okusalawo obulungi? Kiba kirungi n’asoma Abeefeso 5:15-17 era n’afumiitiriza ku nnyiriri ezo. (Soma.) Oluvannyuma lw’okusoma ennyiriri ezo omuvubuka ayinza okwebuuza nti: ‘Kiki “Yakuwa ky’ayagala”? Ku ebyo bye nnina okusalawo, kiki ekinaamusanyusa? Ku ebyo bye nnina okusalawo, kiruwa ekinaansobozesa okukozesa obulungi ebiseera byange?’ Kijjukire nti “ennaku zino mbi” era ensi eno efugibwa Sitaani eneetera okuzikirizibwa. Kiba kya magezi okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Yakuwa.

6. Kiki Maliyamu kye yalondawo era lwaki kyali kya magezi?

6 Londawo ebisinga obukulu. Okusobola okukozesa obulungi ebiseera byaffe, kiyinza okutwetaagisa okulondawo ku bintu bibiri, kyokka nga byombi si bikyamu. Ekyo tukirabira ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yakyalira Maliyamu ne Maliza. Maliza yasanyuka nnyo okukyaza Yesu era n’ateekateeka ekijjulo ekinene. Kyokka ye Maliyamu yasalawo okutuula okumpi ne Mukama we n’awuliriza bye yali ayigiriza. Wadde nga Maliza kye yali akola tekyali kikyamu, Maliyamu kye yalondawo kye kyali ‘kisinga obulungi.’ (Luk. 10:38-42) Oluvannyuma lw’ekiseera, Maliyamu ayinza okuba nga yeerabira emmere gye baalya ku olwo naye ateekwa okuba teyeerabira Yesu bye yayigiriza ku olwo. Nga Maliyamu bwe yatwala ekiseera kye yamala ne Yesu nga kikulu nnyo, naffe ekiseera kye tumala nga tuli ne Yakuwa tusaanidde okukitwala nga kikulu nnyo. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ekiseera ekyo?

KOZESA BULUNGI EKISEERA KY’OMALA NG’OLI NE YAKUWA

7. Lwaki kikulu okusaba, okwesomesa, n’okufumiitiriza?

7 Kimanye nti okusaba, okwesomesa, n’okufumiitiriza bye bimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza kwaffe. Bwe tusaba, tuba twogera ne Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo. (Zab. 5:7) Bwe twesomesa Bayibuli, tuba tuyiga ‘ebiva eri Katonda’ ensibuko y’amagezi gonna. (Nge. 2:1-5) Bwe tufumiitiriza, tuba tulowooza ku ngeri za Yakuwa ennungi awamu n’ebintu ebirungi by’ajja okukolera abantu. Eyo ye ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okukozesaamu ebiseera byaffe. Naye tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu biseera ebitono bye tulina?

Bw’oba weesomesa, osobola okufuna ekifo ekisirifu? (Laba akatundu 8-9)

8. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yakozesaamu ekiseera kye mu ddungu?

8 Bwe kiba kisoboka funa ekifo ekisirifu. Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola. Bwe yali ng’agenda okutandika obuweereza bwe obw’oku nsi, yamala ennaku 40 ng’ali mu ddungu. (Luk. 4:1, 2) Ng’ali mu kifo ekyo ekisirifu, yali asobola okusaba Yakuwa n’okufumiitiriza ku ekyo Kitaawe kye yali ayagala akole. Yesu okukola ekyo kyamuyamba okweteekerateekera ebigezo bye yali agenda okwolekagana nabyo. Oyinza otya okuganyulwa mu kyokulabirako Yesu kye yassaawo? Bw’oba ng’obeera mu maka omuli abantu abangi, oluusi kiyinza obutakubeerera kyangu kufuna ekifo ekisirifu awaka. Mu mbeera ng’eyo, oyinza okufuna ekifo ekisirifu awalala. Ekyo mwannyinaffe Julie ky’akola bw’aba ng’ayagala okusaba Yakuwa. Ye n’omwami we babeera mu kayumba akatono mu Bufalansa, era nga kizibu okubeerako yekka nga tewali bimutawaanya. Julie agamba nti: “Buli lunaku nfunayo ekiseera ne ŋŋendako mu kifo ekimu ekiwummulirwamu. Eyo mba nzekka era mba nsobola okwogera ne Yakuwa nga tewali kintaataaganya.”

9. Wadde nga Yesu yalina eby’okukola bingi nnyo, yakiraga atya nti yali atwala enkolagana ye ne Yakuwa nga ya muwendo nnyo?

9 Yesu yalina eby’okukola bingi nnyo. Abantu baamugobereranga buli gye yagendanga nga baagala abeeko ky’abakolera. Lumu, ‘abantu b’omu kibuga ekimu bonna baakuŋŋaanira ku mulyango’ nga baagala okumulaba. Wadde kyali kityo, Yesu yafubanga okufuna ebiseera okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Yakeeranga ku makya nnyo ng’enjuba tennavaayo n’agenda “mu kifo etali bantu” okwogera ne Kitaawe.​—Mak. 1:32-35.

10-11. Okusinziira ku Matayo 26:40, 41, kiki Yesu kye yakubiriza abayigirizwa be okukola, naye kiki ekyaliwo?

10 Ne mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yanoonya ekifo ekisirifu okusobola okusaba n’okufumiitiriza. Ekifo ekyo yakifuna mu nnimiro ye Gesusemane. (Mat. 26:36) Ku olwo Yesu yabuulira abayigirizwa be ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku kusaba.

11 Lowooza ku ekyo ekyaliwo. We batuukira mu nnimiro y’e Gesusemane, kirabika obudde bwali bugenze nnyo, nga buli eyo mu matumbi budde. Yesu yagamba abayigirizwa be ‘okusigala nga batunula,’ era n’agenda n’asaba. (Mat. 26:37-39) Naye bwe yali ng’asaba, otulo twabatwala. Yesu bwe yakomawo n’abasanga nga beebase, yaddamu okubakubiriza ‘okusigala nga batunula era nga basaba.’ (Soma Matayo 26:40, 41.) Yakimanya nti baali beeraliikirivu nnyo era nga bakoowu. Yabasaasira era n’agamba nti “omubiri munafu.” Wadde kyali kityo, emirundi ebiri Yesu yaddayo okusaba era bwe yakomawo, yasanga abayigirizwa be beebase mu kifo ky’okusaba.​—Mat. 26:42-45.

Osobola okufuna ekiseera ky’oyinza okusabiramu nga toli mukoowu nnyo? (Laba akatundu 12)

12. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tuwulira nti tetusobola kusaba olw’okuba tuba tweraliikiridde nnyo oba nga tuli bakoowu?

12 Londa ekiseera ekituufu. Oluusi tuba tweraliikirira nnyo oba tuba bakoowu nnyo ne tuba nga tuwulira nti tetusobola kusaba. Ekyo bwe kiba nga kyali kikutuuseeko, toli wekka. Kiki ky’oyinza okukola? Bangi abaalina enteekateeka y’okusaba Yakuwa ekiro nga bagenda okwebaka, bakirabye nti kirungi okufunayo ekiseera eky’okusabiramu ng’obudde bukyali, gamba ng’olweggulo nga tebannakoowa nnyo. Abalala bakirabye nti engeri gye babaamu nga basaba nayo erina kinene ky’ekola. Ng’ekyokulabirako, bayinza okusaba nga batudde oba nga bafukamidde. Naye watya singa owulira nga weeraliikiridde nnyo oba ng’oweddemu amaanyi nga tosobola kusaba? Buulira Yakuwa engeri gy’owuliramu. Awatali kubuusabuusa, Kitaffe omusaasizi ajja kukuwuliriza.​—Zab. 139:4.

Osobola okwewala okusoma obubaka obukuweerezebwa ng’oli mu nkuŋŋaana? (Laba akatundu 13-14)

13. Amasimu gaffe oba tabbuleeti biyinza bitya okutuwugula mu biseera bye tuba tuwaddeyo okubeerako awamu ne Yakuwa?

13 Bw’oba weesomesa weewale ebiwugula. Okusaba si kwe kwokka okutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’okubangawo mu nkuŋŋaana, nabyo bituyamba okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda. Waliwo ky’oyinza okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu biseera by’omala nga weesomesa oba ng’oli mu nkuŋŋaana? Weebuuze, ‘Kiki ekitera okumpugula nga ndi mu nkuŋŋaana oba nga nneesomesa?’ Kyandiba nti amasimu ge bakukubira, oba obubaka bwe bakuweereza ku ssimu oba ku tabbuleeti bye bikuwugula? Leero abantu bangi balina amasimu, tabbuleeti, n’ebirala ebiringa ebyo. Okunoonyereza okumu okukoleddwa kulaze nti bwe tuba nga tulina ekintu kye tusizzaako omwoyo, okubeera obubeezi n’essimu okumpi awo kisobola okutuwugula. Omukugu omu mu mbeera z’abantu yagamba nti: “Ebirowoozo byo oba tobimalidde ku ekyo ky’oba oliko, wabula bibeera walala.” Bwe tuba mu nkuŋŋaana ennene nga zigenda okutandika, batera okutugamba nti tuggyeko amaloboozi g’amasimu gaffe galeme okutaataaganya abalala. Tuyinza okukola ekintu kye kimu mu biseera bye tuba tuwaddeyo okubeerako awamu ne Yakuwa.

14. Okusinziira ku Abafiripi 4:6, 7, Yakuwa atuyamba atya okussaayo omwoyo?

14 Saba Yakuwa akuyambe okussaayo omwoyo. Bw’okiraba nti ebirowoozo byo biwuguka bw’oba nga weesomesa oba ng’oli mu nkuŋŋaana, saba Yakuwa akuyambe. Bw’oba ng’olina ebikweraliikiriza kiyinza obutaba kyangu kubiggyako birowoozo n’oba ng’ossaayo omwoyo ku bintu eby’omwoyo. Naye kikulu nnyo okussaayo omwoyo. Saba Katonda akuwe emirembe gikuume omutima gwo “n’ebirowoozo” byo.​—Soma Abafiripi 4:6, 7.

OKUBEERAKO AWAMU NE YAKUWA KITUGANYULA NNYO

15. Ogumu ku miganyulo egiri mu kubeerako awamu ne Yakuwa gwe guliwa?

15 Bw’owaayo ebiseera okwogerako ne Yakuwa, okumuwuliriza, n’okulowooza ku bimukwatako ojja kuganyulwa nnyo. Mu ngeri ki? Okusookera ddala, ojja kuba osalawo mu ngeri ey’amagezi. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.” (Nge. 13:20) N’olw’ekyo, bw’ofunayo ebiseera n’obeerako wamu ne Yakuwa, Ensibuko y’amagezi, kijja kukusobozesa okuba ow’amagezi. Ojja kumanya engeri gy’oyinza okumusanyusaamu n’engeri y’okwewalamu ebintu ebimunyiiza.

16. Okubeerako awamu ne Yakuwa kituyamba kitya okuba abasomesa abalungi?

16 Eky’okubiri, ojja kweyongera okuba omusomesa omulungi. Bwe tuba nga tulina omuntu gwe tuyigiriza Bayibuli, ekimu ku bigendererwa byaffe ebisinga obukulu kwe kumuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Gye tukoma okwogera ne Kitaffe ow’omu ggulu, gye tukoma okweyongera okumwagala, era tuba tusobola n’okuyamba omuyizi waffe okumwagala. Lowooza ku Yesu. Yayogeranga ku Kitaawe mu ngeri ey’ebbugumu era mu ngeri eyali eraga nti yali amwagala nnyo. Ekyo kyayamba abayigirizwa be nabo okwagala Yakuwa.​—Yok. 17:25, 26.

17. Lwaki okusaba n’okwesomesa bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?

17 Eky’okusatu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. Lowooza ku ekyo ekibaawo bw’osaba Yakuwa okukuwa obulagirizi, okukubudaabuda, oba okukuyamba. Buli Yakuwa lw’addamu essaala ezo, okukkiriza kwo kweyongera okunywera. (1 Yok. 5:15) Kiki ekirala ekiyinza okunyweza okukkiriza kwo? Kwe kwesomesa. Kijjukire nti “okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira.” (Bar. 10:17) Kyokka okukkiriza kwaffe okusobola okuba okunywevu, tetulina kukoma ku kumanya bumanya biri mu Bayibuli. Kiki ekirala ekyetaagisa?

18. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okufumiitiriza.

18 Twetaaga okufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga. Lowooza ku muwandiisi wa Zabbuli 77. Yali mwennyamivu olw’okuba yali alowooza nti ye awamu ne Bayisirayiri banne, Yakuwa yali takyabasiima. Ekyo kyamuleetera okubulwa otulo ekiro. (Olunyiriri 2-8) Kiki kye yakola? Yagamba Yakuwa nti: “Nja kulowoozanga ku bikolwa byo byonna, era nja kufumiitirizanga ku bye wakola.” (Olunyiriri 12) Kya lwatu nti omuwandiisi wa zabbuli oyo yali amanyi bulungi ebintu Yakuwa bye yali akoledde abantu be mu biseera eby’emabega, naye yali yeebuuza nti: “Katonda yeerabidde okulaga ekisa, oba obusungu bwe bumuleetedde okulekera awo okulaga obusaasizi?” (Olunyiriri 9) Omuwandiisi wa zabbuli oyo yafumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yakola ne ku ky’okuba nti Yakuwa yali alaze abantu be obusaasizi mu biseera eby’emabega. (Olunyiriri 11) Kiki ekyavaamu? Omuwandiisi wa zabbuli yali mukakafu nti Yakuwa yali tayinza kwabulira bantu be. (Olunyiriri 15) Naawe okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera bw’onoofumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akoledde abantu be era naawe by’akukoledde.

19. Muganyulo ki omulala gwe tunaafuna mu kubeerako awamu ne Yakuwa?

19 Eky’okuna, era ekisinga obukulu, okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kweyongera. Okusingira ddala okwagala kwe kujja okukuleetera okugondera Yakuwa, okubaako ebintu bye weefiiriza okusobola okumusanyusa, n’okugumira ekizibu kyonna. (Mat. 22:37-39; 1 Kol. 13:4, 7; 1 Yok. 5:3) Okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo!​—Zab. 63:1-8.

20. Kiki ky’onookola okusobola okufuna ebiseera okubeerako awamu ne Yakuwa?

20 Kijjukire nti okusaba, okwesomesa, n’okufumiitiriza, bye bimu ku bizingirwa mu kusinza Yakuwa. Okufaananako Yesu, noonya ekifo ekisirifu osobole okubeerako awamu ne Yakuwa. Weewale ebintu ebiyinza okukuwugula. Bw’oba nga weenyigira mu bintu eby’omwoyo, saba Yakuwa akuyambe okussaayo omwoyo. Bw’ofuba okukozesa obulungi ebiseera byo kati, Yakuwa ajja kukuwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.​—Mak. 4:24.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

^ Yakuwa ye mukwano gwaffe asingayo. Omukwano gwe tulina naye tugutwala nga gwa muwendo nnyo, era twagala okweyongera okumumanya obulungi. Kitwala ekiseera okumanya omuntu. Bwe kityo bwe kiri bwe tuba nga twagala okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Tulina eby’okukola bingi mu bulamu, kati olwo tuyinza tutya okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, era tunaaganyulwa tutya nga tukikoze?