OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Noovemba 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ddesemba26, 2016 okutuuka nga Jjanwali29, 2017.

Ekigambo Ekyali eky’Amakulu Ennyo!

Kigambo ki Yesu kye yakozesa ekyalaga nti yali awa abakazi ekitiibwa?

Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

Lwaki kikulu okuzzaamu abalala amaanyi? Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa, Yesu, ne Pawulo gya bazzaamu abalala amaanyi? Oyinza otya okuzzaamu abalala amaanyi?

Ekigambo kya Katonda Kibayambye Okukola Ebintu mu Ngeri Entegeke Obulungi

Yakuwa Katonda wa ntegeka. Olowooza n’abantu be tebasaanidde kuba bategeke bulungi?

Ekigambo kya Katonda Okitwala nga kya Muwendo?

Abaweereza ba Katonda bafuna emikisa mingi olw’okuba bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda era olw’okuba bawagira ekibiina kye.

“Omulimu Munene”

Naawe osobola okuguwagira.

Yabayita Okuva mu Kizikiza

Mu ngeri ki abantu ba Katonda gye baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni okuva mu kyasa eky’okubiri E.E.? Ddi lwe baatandika okuggibwa mu kizikiza era ekyo kyaliwo kitya?

Beekutula ku Ddiini ez’Obulimba

Ddi abantu ba Katonda lwe baateebwa okuva mu buwambe mu Babulooni ekinene?

“Ababuulizi b’Obwakabaka mu Bungereza​—Muzuukuke!”

Okumala emyaka kkumi waali tewaliiwo kweyongera kwa maanyi mu babuulizi b’Obwakabaka mu bungereza! Kiki ekyatereeza embeera eyo?