Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigambo Ekyali eky’Amakulu Ennyo!

Ekigambo Ekyali eky’Amakulu Ennyo!

EMIRUNDI egimu Yesu bwe yabanga ayogera n’abakazi, yakozesanga ekigambo “omukazi.” Ng’ekyokulabirako, bwe yali awonya omukazi eyali amaze emyaka 18 nga yeeweseemu, yamugamba nti: “Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.” (Luk. 13:10-13, Bayibuli y’Oluganda eya 1968) Yesu era yakozesa ekigambo ekyo bwe yali ayogera ne maama we. Mu kiseera ekyo, okukozesa ekigambo ekyo mu ngeri eyo kyalaganga nti omuntu omuwa ekitiibwa oba nti omukwatiddwa ekisa. (Yok. 19:26; 20:13, Bayibuli y’Oluganda eya 1968) Kyokka waliwo n’ekigambo ekirala ekyakozesebwanga mu ngeri efaananako bw’etyo.

Yesu yakozesa ekigambo ekyo ng’ayogera n’omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka 12. Engeri omukazi oyo gye yatuukiriramu Yesu yali ekontana n’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri agaali gagamba nti omuntu eyabanga n’obulwadde obwo teyabanga mulongoofu. Okusinziira ku mateeka ago, omukazi oyo yalina okweyawula ku bantu abalala. (Leev. 15:19-27) Naye yali atawaanyiziddwa nnyo obulwadde obwo. Mu butuufu, “yali abonyeebonye nnyo olw’obujjanjabi abasawo bangi bwe baamuwanga, era ng’asaasaanyizza ssente ze zonna, naye n’atafunawo njawulo, wabula nga yeeyongera kuba bubi.”​—Mak. 5:25, 26.

Mpolampola omukazi oyo yayita mu kibiina ky’abantu n’akwata ku kyambalo kya Yesu, era amangu ago n’awona ekikulukuto ky’omusaayi. Yalowooza nti tewali ajja kukimanya, naye Yesu yabuuza nti: “Ani ankutteko?” (Luk. 8:45-47) Omukazi oyo yatya nnyo era yafukamira mu maaso ga Yesu “n’amubuulira buli kimu.”​—Mak. 5:33.

Okusobola okugumya omukazi oyo, Yesu yamugamba nti: “Muwala, totya!” (Mat. 9:22) Okusinziira ku beekenneenya Bayibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya n’eky’Oluyonaani ebyavvuunulwa “muwala” bisobola okukozesebwa okulaga nti omuntu gw’oyogera naye omukwatiddwa “ekisa.” Yesu era yeeyongera okugumya omukazi oyo ng’amugamba nti: “Okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe era wonera ddala obulwadde obubadde bukubonyaabonya.”​—Mak. 5:34.

Omuyisirayiri ayitibwa Bowaazi bwe yali ayogera n’Omumowaabu ayitibwa Luusi, yamugamba nti: “Mwana wange.” Ebigambo ebyo era biyinza okuvvuunulwa “muwala.” Ekyo kiteekwa okuba nga kyagumya nnyo Luusi kubanga yali alonderera ssayiri mu nnimiro y’omusajja gwe yali tamanyi. Bowaazi yagamba Luusi nti: “Wuliriza mwana wange.” Era yakubiriza Luusi okweyongera okulonderera mu nnimiro ze. Luusi yafukamira mu maaso ga Bowaazi n’amubuuza ensonga lwaki yali amukwatiddwa ekisa ate nga yali mukazi mugwira. Bowaazi yamugamba nti: “Bambuulira byonna bye wakolera nnyazaala wo [nnamwandu ayitibwa Nawomi] . . . Yakuwa akusasule olw’ebyo bye wakola.”​—Luus. 2:8-12.

Yesu ne Bowaazi baateerawo abakadde mu kibiina ekyokulabirako ekirungi! Oluusi, abakadde babiri bayinza okusisinkana mwannyinaffe eyeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo n’okuzzibwamu amaanyi. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa abawe obulagirizi n’okuwuliriza obulungi mwannyinaffe, abakadde abo baba basobola okumuzzaamu amaanyi n’okumubudaabuda nga bakozesa Ekigambo kya Katonda.​—Bar. 15:4.