Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigambo kya Katonda Okitwala nga kya Muwendo?

Ekigambo kya Katonda Okitwala nga kya Muwendo?

“Bwe mwafuna ekigambo kya Katonda, . . . mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala.”—1 BAS. 2:13.

ENNYIMBA: 96, 94

1-3. Obutakkaanya obwaliwo wakati wa Ewudiya ne Suntuke buyinza kuba nga bwava ku ki, era tuyinza tutya okwewala embeera ng’eyo okubaawo? (Laba ekifaananyi waggulu.)

ABAWEEREZA ba Yakuwa bassa ekitiibwa mu Bayibuli. Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna emirundi egimu tuwabulwa. Singa wabaawo aba atuwabudde ng’akozesa Bayibuli twandyeyisizza tutya? Lowooza ku Bakristaayo ababiri Ewudiya ne Suntuke abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Abakyala abo ababiri abaafukibwako amafuta baafuna obutakkaanya. Obuzibu bwali buvudde ku ki? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye ka tugambe nti embeera ng’eno wammanga yaliwo.

2 Watya singa Ewudiya yakyaza ab’oluganda ewuwe n’aliirako wamu nabo emmere era n’asanyukirako wamu nabo, naye n’atayita Suntuke, kyokka oluvannyuma ekyo Suntuke n’akitegeerako. Suntuke ayinza okuba nga yagamba nti: ‘Ewudiya ayinza atya obutampita ate nga mbadde ndowooza nti tuli ba mukwano?’ Suntuke asibira Ewudiya ekiruyi era n’atandika okumwewala. N’ekivaamu, Suntuke naye ategekayo akabaga n’ayita ab’oluganda bennyini Ewudiya be yayita, naye n’atayita Ewudiya! Obutakkaanya obwaliwo wakati wa Ewudiya ne Suntuke buteekwa okuba nga bwataataaganya emirembe mu kibiina. Ebyawandiikibwa tebitubuulira biki ebyavaamu, naye Ewudiya ne Suntuke bateekwa okuba nga baakolera ku kubuulirira omutume Pawulo kwe yabawa.​—Baf. 4:2, 3.

3 Ne leero, embeera ezifaananako bwe zityo zisobola okutaataaganya emirembe mu kibiina kya Yakuwa. Naye tusobola okwewala embeera ng’ezo okubaawo singa tukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Mu butuufu, bwe tuba nga tussa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda, tujja kukolera ku magezi agakirimu.​—Zab. 27:11.

EKIGAMBO KYA KATONDA KITUYAMBA OKUFUGA OBUSUNGU

4, 5. Kubuulirira ki Bayibuli kw’etuwa okukwata ku kufuga obusungu?

4 Tekitera kuba kyangu kufuga busungu nga tuwulira nti tuyisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya, oboolyawo olw’eggwanga lyaffe, olwa langi yaffe, oba olw’ekintu ekirala ekifaananako ng’ekyo. Ate kiyinza okutuyisa obubi ennyo singa oyo aba atuyisizza obubi mukkiriza munnaffe! Waliwo amagezi gonna agali mu Kigambo kya Katonda agasobola okutuyamba nga tuyisiddwa mu ngeri ng’eyo?

5 Okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu, Yakuwa abadde alaba engeri abantu gye bakolaganamu. Ategeera enneewulira zaffe era alaba ebyo bye tukola. Bwe tusunguwala, tuyinza okwogera ebigambo oba okukola ekintu oluvannyuma kye tuyinza okwejjusa. N’olwekyo, nga kya magezi okukolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli ne twewala okusunguwala amangu! (Soma Engero 16:32; Omubuulizi 7:9.) Kya lwatu nti ffenna tulina okuyiga okufuga obusungu bwaffe n’okuba abeetegefu okusonyiwa. Mu butuufu, Yesu yagamba nti singa tetusonyiwa balala, ne Yakuwa tajja kutusonyiwa. (Mat. 6:14, 15) Okiraba nga weetaaga okwongera okuba omwetegefu okusonyiwa abalala n’okuyiga okufuga obusungu?

6. Lwaki tulina okwewala okusunguwala?

6 Abantu abatafuga busungu batera okunyiiganyiiga. Bwe kityo, abalala tebatera kwagala kubeera kumpi nabo. Omuntu atafuga busungu asobola okumalawo obumu mu kibiina. Omuntu oyo ne bw’agezaako okukweka ekyo ky’ali, ekyo ekiri mu mutima gwe ‘kijja kwanikibwa mu kibiina.’ (Nge. 26:24-26) Abakadde basaanidde okuyamba omuntu ng’oyo okukiraba nti Abakristaayo balina okwewala obusungu, obukyayi, n’okusiba ekiruyi. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwewala ebintu ebyo. (Leev. 19:17, 18; Bar. 3:11-18) Okkiriziganya n’ebyo bye kigamba?

YAKUWA ATULUŊŊAMYA

7, 8. (a) Yakuwa aluŋŋamya atya abaweereza be abali ku nsi? (b) Ebimu ku biragiro ebiri mu Kigambo kya Katonda bye biruwa, era lwaki tulina okubikolerako?

7 Yakuwa aliisa abantu be ku nsi era abaluŋŋamya ng’akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” akolera ku bulagirizi bwa Kristo “omutwe gw’ekibiina.” (Mat. 24:45-47; Bef. 5:23) Okufaananako akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka, omuddu omwesigwa assa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda era akolera ku bulagirizi obukirimu. (Soma 1 Abassessalonika 2:13.) Obumu ku bulagirizi oba ebiragiro ebiri mu Bayibuli bye biruwa?

8 Bayibuli etulagira okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. (Beb. 10:24, 25) Etukubiriza okuba obumu mu kukkiriza. (1 Kol. 1:10) Era etukubiriza okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) Okugatta ku ekyo Bayibuli etulagira okubuulira nnyumba ku nnyumba, okubuulira mu bifo ebya lukale, n’okubuulira embagirawo. (Mat. 28:19, 20; Bik. 5:42; 17:17; 20:20) Ate era Bayibuli eragira abakadde okukuuma ekibiina kya Yakuwa nga kiyonjo. (1 Kol. 5:1-5, 13; 1 Tim. 5:19-21) Yakuwa ayagala bonna abali mu kibiina kye okuba abayonjo mu mubiri ne mu by’omwoyo.​—2 Kol. 7:1.

9. Kiki Yesu ky’akozesa okutuyamba okutegeera Ekigambo kya Katonda?

9 Abamu balowooza nti basobola okutegeera Bayibuli ku lwabwe. Naye ekyo si kituufu. Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuyamba abagoberezi be okutegeera Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako. Okuva mu 1919, Kabaka Yesu Kristo abadde akozesa omuddu omwesigwa okuyamba abagoberezi be okutegeera Ekigambo kya Katonda. Bwe tukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda kiyamba ekibiina okuba obumu, okubaamu emirembe, n’okusigala nga kiyonjo. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Nkolera ku bulagirizi Yesu bw’atuwa okuyitira mu muddu omwesigwa?’

EGGAALI LYA YAKUWA LITAMBULIRA KU SIPIIDI!

10. Ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kyogerwako kitya mu kitabo kya Ezeekyeri?

10 Ekigambo kya Katonda kituyamba okumanya ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Ezeekyeri yafuna okwolesebwa n’alaba eggaali eddene, erikiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. (Ezk. 1:4-28) Yakuwa y’avuga eggaali eryo, era eggaali eryo ligenda eyo yonna omwoyo gwa Yakuwa gye gulitwala. Ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kitambulira wamu n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti eggaali lya Yakuwa litambulira ku sipiidi! Lowooza ku nkyukakyuka ezitali zimu ezikoleddwa mu kibiina kya Yakuwa mu myaka egiyise. Osaanidde okukijjukira nti Yakuwa y’ali emabega w’enkyukakyuka ezo. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukozesa Yesu ne bamalayika okuzikiriza ensi ya Sitaani, atukuze erinnya lye era akirage bulungi nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna!

Nga tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abakola ennyo okuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima! (Laba akatundu 11)

11, 12. Ebimu ku bintu ekibiina kya Yakuwa bye kikoze bye biruwa?

11 Lowooza ku bintu ebitali bimu ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa bye kikoze mu nnaku zino ez’enkomerero. Okuzimba. Bannakyewa bangi baakola butaweera okuzimba ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Warwick, New York, Amerika. Nga bakolera ku bulagirizi obuweebwa ekitongole ekirabirira omulimu gw’okuzimba mu nsi yonna, bannakyewa nkumi na nkumi bazimba Ebizimbe by’Obwakabaka ne ofiisi z’amatabi. Nga tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abo abakola ennyo! Ate era Yakuwa awa omukisa ab’oluganda bonna abawaayo ssente kyeyagalire okuwagira omulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu nsi yonna.​—Luk. 21:1-4.

12 Eby’enjigiriza. Lowooza ku masomero g’ekibiina agatali gamu. (Is. 2:2, 3) Waliwo Essomero lya Bapayoniya, Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, Essomero lya Gireyaadi, Essomero ly’Ababeseri Abapya, Essomero ly’Abalabirizi Abakyalira Ebibiina ne Bakyala Baabwe, Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka, n’Essomero ly’Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi ne Bakyala Baabwe. Mu butuufu Yakuwa ayigiriza abaweereza be! Yakuwa era atuyigiriza ng’akozesa omukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org, oguliko ebitabo mu nnimi nnyingi. Omukutu ogwo guliko ebintu ebiyamba abaana n’amaka era guliko n’ekitundu awateekebwa amawulire. Ofuba okukozesa omukutu gwa jw.org ng’obuulira ne mu kusinza kw’amaka?

BEERA MWESIGWA ERI YAKUWA ERA WAGIRA EKIBIINA KYE

13. Kiki abaweereza ba Yakuwa ffenna kye tulina okukola?

13 Nga nkizo ya maanyi okubeera mu kibiina kya Yakuwa! Olw’okuba tumanyi Yakuwa by’atwetaagisa, tulina okumugondera n’okufuba okukola ekituufu. Wadde nga buli lukya empisa z’abantu mu nsi zeeyongera okwonooneka, ffe tusaanidde ‘okukyawa ebibi,’ kubanga Yakuwa abikyawa. (Zab. 97:10) Twewala endowooza y’abantu b’ensi “abayita ekirungi ekibi, ate ekibi ne bakiyita ekirungi.” (Is. 5:20) Olw’okuba twagala okusanyusa Katonda, tufuba okusigala nga tuli bayonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. (1 Kol. 6:9-11) Twagala nnyo Yakuwa era tumwesiga. Tulaga nti tuli beesigwa gy’ali nga tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo egiri mu Kigambo kye, Bayibuli. Tufuba okukolera ku mitindo egyo mu maka gaffe, mu kibiina, ku mulimu, ku ssomero, n’awalala wonna. (Nge. 15:3) Waliwo engeri endala yonna gye tuyinza okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa?

14. Abazadde Abakristaayo bayinza batya okulaga nti beesigwa eri Yakuwa?

14 Okukuza abaana. Abazadde Abakristaayo balaga nti beesigwa eri Yakuwa bwe bagoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda nga batendeka abaana baabwe. Abazadde abatya Yakuwa beewala okugoberera endowooza z’abantu nga bakuza abaana baabwe. Beewala okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi. (Bef. 2:2) Taata Omukristaayo tasaanidde kuba na ndowooza egamba nti, ‘Mu buwangwa bwaffe, abakazi be bayigiriza abaana.’ Bayibuli egamba nti: “Bataata, . . . [mukulize abaana bammwe] mu kukangavvula [mu kuyigiriza] ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4; obugambo obuli wansi.) Abazadde abatya Yakuwa baagala abaana baabwe babe nga Samwiri. Yakuwa yali wamu ne Samwiri okuviira ddala mu buto.​—1 Sam. 3:19.

15. Tukiraga tutya nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo mu bulamu?

15 Nga tulina bye tusalawo. Bwe tuba tulina ebintu ebikulu bye tusalawo mu bulamu, tukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye, n’obwo obutuweebwa mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera eno abazadde bangi gye beesangamu. Abazadde bangi abakolera mu nsi endala, batera okuweereza abaana baabwe abakyali abato eri ab’eŋŋanda zaabwe bo basobole okweyongera okukola ssente mu nsi gye baba balimu. Kyo kituufu nti buli muntu alina okwesalirawo ku nsonga eno, naye tusaanidde okukijjukira nti ffenna tuvunaanyizibwa mu maaso ga Katonda olw’ekyo kye tuba tusazeewo. (Soma Abaruumi 14:12.) Naye ddala kiba kya magezi okusalawo ebintu ebikulu ebikwata ku maka gaffe oba ebikwata ku ngeri y’okweyimirizaawo nga tetusoose kulaba Bayibuli ky’egamba? Nedda! Twetaaga obulagirizi bwa Yakuwa kubanga tetusobola kweruŋŋamya ffekka.​—Yer. 10:23.

16. Omukyala omu bwe yazaala omwana, kintu ki ekikulu kye yalina okusalawo, era kiki ekyamuyamba okusalawo obulungi?

16 Omukyala omu eyazaala omwana ng’ali mu nsi endala yali ateekateeka okumuweereza eri bajjajjaabe abali mu nsi gye yava bamulabirire. Naye mu kiseera ekyo Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigiriza omukyala oyo Bayibuli. Omukyala oyo yakiraba nti, ng’omuzadde, Katonda yamukwasa obuvunaanyizibwa obw’okukuza omwana we n’okumuyigiriza ebikwata ku Katonda. (Zab. 127:3; Nge. 22:6) Yasaba Yakuwa amuyambe, nga Bayibuli bw’etukubiriza okukola. (Zab. 62:7, 8) Ate era yayogerako n’oyo eyali amuyigiriza Bayibuli awamu n’abalala mu kibiina bamuwe ku magezi. Wadde ng’ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye baali bamupikiriza okuweereza omwana we eri bajjajjaabe, yakiraba nti ekyo tekyali kituufu mu maaso ga Yakuwa. Omwami we yakwatibwako nnyo olw’engeri ab’oluganda mu kibiina gye baayambamu mukyala we n’omwana waabwe era n’atandika okuyiga Bayibuli n’okugendanga mu nkuŋŋaana awamu ne mukyala we n’omwana waabwe. Olowooza Yakuwa yaddamu okusaba kw’omukyala oyo? Yee, yakuddamu.

17. Bulagirizi ki obutuweereddwa obukwata ku kuyigiriza abantu Bayibuli?

17 Okugoberera obulagirizi. Engeri endala gye tuyinza okulagamu nti tuli beesigwa eri Katonda kwe kugoberera obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bulagirizi obutuweereddwa obukwata ku kuyigiriza abantu Bayibuli. Tukubirizibwa nti bwe tumala okuyigiriza omuntu mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? tusaanidde okukozesa eddakiika ntonotono okumuyamba okumanya ebikwata ku kibiina kya Yakuwa. Ekyo tuyinza okukikola nga tumulaga vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? oba brocuwa Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? Bwe tumala okusoma n’omuntu akulaakulana akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, tusaanidde okusoma naye akatabo Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda,’ ne bwe kiba nti amaze okubatizibwa. Ekibiina kya Yakuwa kituwadde obulagirizi buno tusobole okuyamba abayigirizwa abapya ‘baleme kusagaasagana mu kukkiriza.’ (Bak. 2:7) Ofuba okukolera ku bulagirizi obwo?

18, 19. Ezimu ku nsonga ezituleetera okwebaza Yakuwa ze ziruwa?

18 Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okwebaza Yakuwa! Yatuwa obulamu, era awatali ye, tetwandibaddewo. (Bik. 17:27, 28) Yakuwa atuwadde ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga ye Bayibuli. Okufaananako Abakristaayo abaali mu Ssessalonika, naffe tuli bakakafu nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda.​—1 Bas. 2:13.

19 Ekigambo kya Katonda kituyambye okumusemberera era naye atusemberedde. (Yak. 4:8) Kitaffe ow’omu ggulu atuwadde enkizo ya maanyi okuba mu kibiina kye. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.” (Zab. 136:1) Ebigambo “okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe” bisangibwa mu Zabbuli 136 emirundi 26. Tewali kubuusabuusa nti bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’ekibiina kye, tujja kubeerawo emirembe n’emirembe!