Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigambo kya Katonda Kibayambye Okukola Ebintu mu Ngeri Entegeke Obulungi

Ekigambo kya Katonda Kibayambye Okukola Ebintu mu Ngeri Entegeke Obulungi

“Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi. Eggulu yalinyweza na kutegeera.”—NGE. 3:19.

ENNYIMBA: 6, 24

1, 2. (a) Abantu abamu balina ndowooza ki ku kuba nti Yakuwa alina ekibiina kye? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

KATONDA alina ekibiina kye? Abamu bagamba nti, “Abantu tebeetaaga kuba mu kibiina kya ddiini okusobola okufuna obulagirizi bwa Katonda. Ekintu kyokka kye beetaaga kwe kuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.” Endowooza eyo ntuufu? Obukakafu bulaga ki?

2 Mu kitundu kino, tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa ye Katonda ow’entegeka. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa. (1 Kol. 14:33, 40) Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’abo abaliwo leero, basobodde okubuulira amawulire amalungi olw’okuba bakolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. Okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli n’obwo obutuweebwa mu kibiina kya Yakuwa kituyambye okusigala nga tuli bayonjo, nga tuli mu mirembe, era nga tuli bumu.

YAKUWA KATONDA WA NTEGEKA

3. Kiki ekikukakasa nti Yakuwa Katonda wa ntegeka?

3 Obutonde bulaga nti Katonda wa ntegeka. Bayibuli egamba nti: “Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi. Eggulu yalinyweza na kutegeera.” (Nge. 3:19) Tumanyi “bitono nnyo” ebikwata ku makubo ga Katonda, era “bye tumuwulirako bye bitono ddala.” (Yob. 26:14) Wadde kiri kityo, ebitono bye tumanyi ku ziseŋŋendo, ku mmunyeenye, ne ku bibinja by’emmunyeenye biraga nti Yakuwa yabitegeka bulungi nnyo. (Zab. 8:3, 4) Ebibinja by’emmunyeenye birimu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye, ezitambula mu ngeri entegeke obulungi. Ziseŋŋendo ezeetooloola enjuba, ziringa ezigoberera amateeka agafuga ebidduka! Mu butuufu, okuba nti obwengula butegekeddwa bulungi bukakafu obulanga nti Yakuwa “yakozesa bukugu okukola eggulu” era nti tusaanidde okumutendereza, okuba abeesigwa gy’ali, n’okumusinza.​—Zab. 136:1, 5-9.

4. Lwaki bannassaayansi tebasobodde kuddamu bibuuzo ebikulu abantu bye beebuuza?

4 Ssaayansi atuyambye okumanya ebintu bingi ebikwata ku bwengula ne ku nsi, era atuganyudde ne mu ngeri endala nnyingi. Naye waliwo ebibuuzo bingi ssaayansi by’atasobodde kuddamu. Ng’ekyokulabirako, bannassaayansi tebasobodde kunnyonnyola ngeri bwengula gye bwajjawo n’ensonga lwaki abantu tebali ku sseŋŋendo ndala wabula ku nsi. Ate era abantu okutwalira awamu tebasobola kunnyonnyola nsonga lwaki abantu baagala okubeerawo emirembe gyonna. (Mub. 3:11) Lwaki waliwo ebibuuzo bingi ebikulu abantu bye batasobodde kuddamu? Ekyo kiri kityo kubanga bannassaayansi n’abantu abalala tebafuddeeyo kumanya ekyo Katonda ky’agamba. Mu kifo ky’ekyo batumbula enjigiriza ez’obulimba gamba ng’eyo egamba nti, ebintu byajjawo byokka. Naye okuyitira mu Kigambo kye, Yakuwa addamu ebibuuzo ebikulu abantu mu nsi yonna bye beebuuza.

5. Amateeka agafuga obutonde gatuganyula gatya?

5 Amateeka agafuga obutonde Yakuwa ge yassaawo gatuganyula nnyo. Bayinginiya, abavuzi b’ennyonyi, n’abasawo, bonna beesigama ku ntegeka eri mu butonde okukola emirimu gyabwe. Ng’ekyokulabirako, okuba nti ebitundu by’omubiri gw’omuntu byakolebwa mu ngeri entegeke obulungi, kiyamba nnyo abasawo abalongoosa abantu. N’olwekyo, abasawo abo bwe baba balongoosa omuntu baba bamanyi bulungi wa ebitundu by’omubiri ebitali bimu, gamba ng’omutima, we bisangibwa. Era ffenna tuganyulwa nnyo mu mateeka agafuga obutonde. Singa tujeemera amateeka ago, gamba ng’etteeka lya gravity, ebivaamu tebiba birungi!

BATEGEKEDDWA KATONDA

6. Lwaki abaweereza ba Yakuwa balina okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi?

6 Okuba nti obwengula butegekeddwa bulungi nnyo, kiraga nti Yakuwa ayagala abaweereza be bakole ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Eyo ye nsonga lwaki yatuwa Bayibuli etuyambe okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Singa Yakuwa teyassaawo kibiina kye era singa tetwalina bulagirizi buli mu Kigambo kye, tetwandibadde basanyufu.

7. Kiki ekiraga nti Bayibuli yawandiikibwa mu ngeri entegeke obulungi?

7 Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda era yawandiikibwa mu ngeri entegeke obulungi. Ebitabo byonna ebiri mu Bayibuli bikwatagana. Ensonga enkulu eyogerwako okuva mu kitabo ky’Olubereberye okutuukira ddala mu kitabo ky’Okubikkulirwa, y’eyo ekwata ku kuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna n’okuba nti ekigendererwa kye kijja kutuukirizibwa okuyitira mu Bwakabaka bwa Kristo, “ezzadde” eryasuubizibwa.​—Soma Olubereberye 3:15; Matayo 6:10; Okubikkulirwa 11:15.

8. Lwaki tuyinza okugamba nti Abayisirayiri baali bategekeddwa bulungi?

8 Abayisirayiri nabo baali bategekeddwa bulungi. Ng’ekyokulabirako, waaliwo “abakazi abaali bategekeddwa okuweereza ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.” (Kuv. 38:8) Ate era Abayisirayiri bwe baabanga basitula okuva mu kifo we baabanga basiisidde, baakikolanga mu ngeri entegeke obulungi, era ne weema entukuvu baagitambuzanga mu ngeri entegeke obulungi. Bwe yali afuga nga kabaka, Dawudi yategeka Abaleevi ne bakabona mu bibinja. (1 Byom. 23:1-6; 24:1-3) Abayisirayiri bwe baagonderanga Yakuwa, baakolanga ebintu mu ngeri entegeke obulungi, baabanga mu mirembe, era baabanga bumu.​—Ma. 11:26, 27; 28:1-14.

9. Kiki ekiraga nti ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka kyali kitegekeddwa bulungi?

9 Ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka kyali kitegekeddwa bulungi, nga kikolera ku bulagirizi obwali buva ku kakiiko akafuzi, akaaliko abatume. (Bik. 6:1-6) Oluvannyuma, ab’oluganda abalala nabo baalondebwa okuweereza ku kakiiko ako. (Bik. 15:6) Abakristaayo mu bibiina ebitali bimu baaweebwanga obulagirizi okuyitira mu mabaluwa agaawandiikibwanga abasajja abaali ku kakiiko akafuzi oba abaali bakolera awamu n’akakiiko akafuzi. (1 Tim. 3:1-13; Tit. 1:5-9) Ebibiina byaganyulwanga bitya bwe byakoleranga ku bulagirizi obwavanga ku kakiiko akafuzi?

10. Ebibiina bwe byakoleranga ku bulagirizi obwavanga ku kakiiko akafuzi biki ebyavangamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 9.)

10 Soma Ebikolwa 16:4, 5. Ab’oluganda abaabanga bakiikiridde akakiiko akafuzi baabuuliranga ebibiina ebyabanga “bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.” Ebibiina bwe byakoleranga ku bulagirizi obwo, ‘byeyongeranga okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza gweyongeranga buli lunaku.’ Ekyo kituyigiriza ki leero?

OKOLERA KU BULAGIRIZI OBUTUWEEBWA?

11. Ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina bandyeyisizza batya nga bafunye obulagirizi okuva ku Kakiiko Akafuzi?

11 Kiki ab’oluganda abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi abakyalira ebibiina, n’abakadde mu kibiina kye balina okukola nga bafunye obulagirizi okuva Kakiiko Akafuzi? Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ffenna okuba abawulize. (Ma. 30:16; Beb. 13:7, 17) Bwe tutaba bawulize, kisobola okumalawo emirembe n’obumu mu kibiina. Kya lwatu nti tewali Mukristaayo mwesigwa eri Yakuwa yandyagadde kuba nga Diyotuleefe, eyanyoomoolanga obulagirizi obwawebwanga era ataali mwesigwa. (Soma 3 Yokaana 9, 10.) N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Nkubiriza abalala okuba abeesigwa eri Yakuwa? Nyanguwa okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa?’

12. Nkyukakyuka ki eyakolebwa mu ngeri abakadde n’abaweereza gye balondebwamu?

12 Lowooza ku kintu ekimu ekyasalibwawo Akakiiko Akafuzi gye buvuddeko awo. Ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2014, kyalaga enkyukakyuka eyali ekoleddwa mu ngeri abakadde n’abaweereza gye balondebwamu. Ekitundu ekyo kyalaga nti mu kyasa ekyasooka akakiiko akafuzi kaawa obuyinza abalabirizi abakyalira ebibiina okulonda abakadde n’abaweereza. N’olwekyo okuva nga Ssebutemba 1, 2014, abalabirizi abakyalira ebibiina baatandika okulonda abakadde n’abaweereza mu bibiina. Omulabirizi akyalira ebibiina afuba okumanya ebisingawo ebikwata ku b’oluganda ababa basembeddwa era bwe kiba kisoboka abuulirako wamu nabo. Yeetegereza ab’omu maka g’ab’oluganda abo, bwe baba nga bafumbo. (1 Tim. 3:4, 5) Akakiiko k’abakadde awamu n’omulabirizi akyalira ebibiina beetegereza okulaba obanga ab’oluganda abo batuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa abaweereza n’abakadde bye balina okutuukiriza.​—1 Tim. 3:1-10, 12, 13; 1 Peet. 5:1-3.

13. Tuyinza tutya okulaga nti tukolera ku bulagirizi abakadde bwe batuwa?

13 Tulina okukolera ku bulagirizi obuva mu Bayibuli abakadde bwe batuwa. Obulagirizi obwo bwa ‘muganyulo’ gye tuli. (1 Tim. 6:3) Lowooza ku kubuulirira Pawulo kwe yawa okukwata ku bantu abaali mu kibiina abaali batatambula bulungi. Abamu ku bantu abo baali ‘tebakola mirimu era nga beeyingiza mu nsonga ezitabakwatako.’ Kya lwatu nti abakadde baali balabudde abantu abo naye ne bagaana okukolera ku bulagirizi bwe baabawa. Ekibiina kyalina kuyisa kitya abantu ng’abo? Pawulo yagamba nti baalina ‘okubassaako eriiso, era balekere awo okukolagana nabo.’ Kyokka abantu abo baali tebalina kutwalibwa nga balabe. (2 Bas. 3:11-15) Leero singa wabaawo omuntu aba akola ekintu ekireeta ekivume ku kibiina kya Yakuwa, gamba ng’okwogereza omuntu atali mukkiriza, n’alabulwa naye n’agaana okukyusaamu, abakadde basobola okuwa emboozi erabula ekibiina ku muntu oyo. (1 Kol. 7:39) Wandyeyisizza otya ng’abakadde bawadde emboozi ng’eyo? Bwe kiba nti omuntu gwe boogeddeko omutegedde, oneewala okukolagana n’omuntu oyo? Bw’okolera ku bulagirizi obwo, kisobola okuleetera omuntu oyo okuleka ekkubo lye ebbi. [1]

KUUMA OBUYONJO, EMIREMBE, N’OBUMU MU KIBIINA

14. Tuyinza tutya okuyamba mu kukuuma obuyonjo bw’ekibiina?

14 Tusobola okuyamba okukuuma obuyonjo bw’ekibiina nga tukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Lowooza ku mbeera emu eyali mu kibiina ky’e Kkolinso. Pawulo yabuulira n’obunyiikivu mu Kkolinso era ng’ayagala nnyo ‘batukuvu’ banne abaali mu kibuga ekyo. (1 Kol. 1:1, 2) N’olwekyo kiteekwa okuba nga kyamunakuwaza nnyo okuwulira nti mu kibiina ekyo mwalimu omusajja eyali akola ebikolwa eby’obugwenyufu. Pawulo yalagira abakadde okuwaayo omusajja oyo eri Sitaani, kwe kugamba, agobebwe mu kibiina. Okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo, abakadde baalina okuggyawo “ekizimbulukusa” ekyo. (1 Kol. 5:1, 5-7, 12) Bwe tuwagira ekyo abakadde kye baba basazeewo, okugoba mu kibiina omwonoonyi agaanye okwenenya, tuyamba mu kukuuma obuyonjo bw’ekibiina, era kisobola okuleetera omwonoonyi oyo okwenenya.

15. Tuyinza tutya okukuuma emirembe mu kibiina?

15 Waliwo ekizibu ekirala ekyali mu kibiina ky’e Kkolinso. Ab’oluganda abamu baali bakuba bakkiriza bannaabwe mu mbuga z’amateeka. Pawulo yababuuza nti: “Lwaki temumala gakkiriza ne mukumpanyizibwa?” (1 Kol. 6:1-8) Embeera efaananako bw’etyo ebaddewo mu kibiina ne mu kiseera kyaffe. Mu bibiina ebimu, obumu bw’ekibiina butaataaganyiziddwa oluvannyuma lw’ab’oluganda ababadde bakolera awamu bizineesi okufuna obutakkaanya, ng’omu ku bo alowooza nti munne yakumpanya ssente ze. Abamu batuuse n’okutwala bakkiriza bannaabwe mu kkooti. Naye Ekigambo kya Katonda kiraga nti kisingako okufiirwa mu kifo ky’okukola ekintu ekireeta ekivume ku linnya lya Katonda oba ekimalawo emirembe mu kibiina. [2] Okusobola okugonjoola obutakkaanya ng’obwo obw’amaanyi, tulina okukolera ku magezi Yesu ge yawa. (Soma Matayo 5:23, 24; 18:15-17.) Bwe tukolera ku magezi ago, tuyamba mu kukuuma emirembe mu kibiina.

16. Lwaki abaweereza ba Katonda balina okuba obumu?

16 Ekigambo kya Katonda kyalaga nti abaweereza ba Katonda bandibadde bumu. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Laba! Nga kirungi era nga kisanyusa ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!” (Zab. 133:1) Abayisirayiri bwe baagonderanga Yakuwa, baakolanga ebintu mu ngeri entegeke obulungi era baabeeranga bumu. Ng’ayogera ku bantu be abandibaddewo mu biseera eby’omu maaso, Katonda yagamba nti: “Ndibateeka wamu ng’endiga mu kisibo.” (Mik. 2:12) Ate era, okuyitira mu nnabbi Zeffaniya, Yakuwa yagamba nti: “Ndikyusa olulimi lw’amawanga ne ngawa olulimi olulongoofu [amazima agali mu Byawandiikibwa], gonna gasobole okukoowoola erinnya lya Yakuwa, era gamuweereze nga gali bumu.” (Zef. 3:9) Nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa nga tuli bumu!

Abakadde bafuba okuyamba oyo aba akutte ekkubo ekyamu (Laba akatundu 17)

17. Okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo era nga kiri bumu, kiki abakadde kye basaanidde okukola nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi?

17 Okusobola okukuuma ekibiina nga kiri bumu era nga kiyonjo, abakadde balina okubaako kye bakolawo mu bwangu nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi. Pawulo yali akimanyi nti okwoleka okwagala okwa nnamaddala tekitegeeza kubuusa maaso ebibi eby’amaanyi ebiba bikoleddwa. (Nge. 15:3) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo teyatya kuwandiikira bakkiriza banne mu Kkolinso ebbaluwa eyasooka, n’abawabula. Ebbaluwa y’Abakkolinso ey’okubiri, Pawulo gye yawandiika nga wayiseewo ekiseera, eraga nti ab’oluganda mu Kkolinso baali bakoze enkyukakyuka ennungi kubanga abakadde baali bakoledde ku bulagirizi bwe yali abawadde mu bbaluwa eyasooka. Singa Omukristaayo akwata ekkubo ekyamu nga tannakitegeera, abasajja mu kibiina abalina ebisaanyizo basaanidde okumutereeza mu mwoyo omukkakkamu.​—Bag. 6:1.

18. (a) Okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda kyayamba kitya Abakristaayo mu kyasa ekyasooka? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda kyayamba Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka mu Kkolinso ne mu bitundu ebirala okukuuma obuyonjo, emirembe, n’obumu mu kibiina. (1 Kol. 1:10; Bef. 4:11-13; 1 Peet. 3:8) Ekyo kyasobozesa ab’oluganda ne bannyinaffe abaaliwo mu kiseera ekyo okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. Mu butuufu, Pawulo yagamba nti amawulire amalungi ‘gaabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ (Bak. 1:23) Ne leero, olw’okuba abaweereza ba Yakuwa bali bumu, basobodde okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Ekitundu ekiddako kijja kulaga obukakafu obulala obulaga nti abaweereza ba Yakuwa batwala Bayibuli nga ya muwendo era nti bamalirivu okuweesa Yakuwa Mukama Afuga Byonna ekitiibwa.​—Zab. 71:15, 16.

^ [1] (akatundu 13) Laba akatabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, lup. 134-136.

^ [2] (akatundu 15) Okusobola okumanya embeera eziyinza okwetaagisa Omukristaayo omu okutwala mukkiriza munne mu kkooti, laba akatabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda,’ lup. 223, obugambo obuli wansi.