Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi

“Bwe muba nga mulina ekigambo ekiyinza okuzzaamu abantu amaanyi, mukibabuulire.”—BIK. 13:15.

ENNYIMBA: 121, 45

1, 2. Lwaki kikulu okuzzaamu abalala amaanyi?

OMUWALA ow’emyaka 18 ayitibwa Cristina [1] agamba nti: “Bazadde bange tebatera kunzizzaamu maanyi, wabula batera kunnenya. Ebigambo bye baŋŋamba bimmalamu nnyo amaanyi. Baŋŋamba nti nneeyisa nga mwana muto, era nti nnina omugejjo. Mu butuufu emirundi mingi nkaaba n’okukaaba era mba saagala kwogera nabo. Mpulira nga sirina mugaso.” Ekyokulabirako ekyo kiraga nti kya kabi obutazzaamu balala maanyi!

2 Ku luuyi olulala, kikulu nnyo okuzzaamu abalala amaanyi. Rubén agamba nti: “Okumala emyaka mingi nnali mpulira nga sirina kye ngasa. Naye lumu bwe nnali mbuulirako n’omukadde mu kibiina, yakiraba nti nnali siri musanyufu. Yampuliriza bulungi nga mmubuulira ebyandi ku mutima. Omukadde oyo yanzijukiza ebintu ebirungi bye nnali nkola. Era yanzijukiza ebigambo Yesu bye yayogera, bwe yagamba nti buli omu ku ffe wa muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi. Ntera okufumiitiriza ku bigambo ebyo era binzizaamu nnyo amaanyi. Ebigambo omukadde oyo bye yayogera byannyamba nnyo.”​—Mat. 10:31.

3. (a) Kiki omutume Pawulo kye yayogera ku kuzzaamu abalala amaanyi? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Bayibuli ekiraga nti kikulu nnyo okuzzaamu abalala amaanyi. Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya n’abagamba nti: “Ab’oluganda, mwegendereze waleme kubaawo n’omu ku mmwe afuna omutima omubi ogutalina kukkiriza olw’okuva ku Katonda omulamu; naye buli omu abuulirirenga munne buli lunaku, . . . waleme kubaawo akakanyala olw’obulimba bw’amaanyi g’ekibi.” (Beb. 3:12, 13) Bwe kiba nti waliwo ekiseera we wali oweddemu amaanyi naye ne wabaawo eyayogera ebigambo ne bikuzzaamu amaanyi, oteekwa okuba ng’otegeera bulungi obukulu bw’okuzzaamu abalala amaanyi. Kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Lwaki kikulu okuzzaamu abalala amaanyi? Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa, Yesu, ne Pawulo gye bazzaamu abalala amaanyi? Tuyinza tutya okuzzaamu abalala amaanyi?

FFENNA TWETAAGA OKUZZIBWAMU AMAANYI

4. Baani abeetaaga okuzzibwamu amaanyi, era lwaki abantu bangi leero tebazzaamu balala maanyi?

4 Ffenna, naddala abaana, twetaaga okuzzibwamu amaanyi. Omusomesa ayitibwa Timothy Evans yagamba nti: “Abaana . . . beetaaga okuzzibwamu amaanyi ng’ekimera bwe kyetaaga amazzi. Omwana bw’azzibwamu amaanyi, kimuleetera okuwulira nga wa mugaso.” Mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu abasinga obungi beefaako bokka, okwagala kwe balina eri ab’eŋŋanda zaabwe kutono, era tebazzaamu balala maanyi. (2 Tim. 3:1-5) Abazadde abamu tebasiima baana baabwe, olw’okuba nabo bazadde baabwe tebaabasiimanga. Abakozi bangi tebasiimibwa, era ekyo kireetedde bangi okuwulira nga baweddemu amaanyi.

5. Tuyinza tutya okuzzaamu abalala amaanyi?

5 Tusobola okuzzaamu abalala amaanyi nga tubasiima olw’ebirungi bye baba bakoze. Era tusobola okuzzaamu abalala amaanyi nga tubategeeza engeri ennungi ze balina oba nga tubabudaabuda nga baweddemu amaanyi. (1 Bas. 5:14, obugambo obuli wansi.) Tusobola okukozesa buli kakisa ke tufuna nga tuweerereza wamu ne bakkiriza bannaffe okubazzaamu amaanyi. (Soma Omubuulizi 4:9, 10.) Ofuba okukozesa buli kakisa k’ofuna okusiima abalala n’okubategeeza nti obaagala? Nga tonnaddamu kibuuzo ekyo, kikulu okusooka okulowooza ku bigambo bino: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!”​—Nge. 15:23.

6. Lwaki Sitaani ayagala okutumalamu amaanyi? Waayo ekyokulabirako.

6 Sitaani Omulyolyomi ayagala okutumalamu amaanyi kubanga amanyi nti ekyo kijja kutunafuya mu by’omwoyo ne mu ngeri endala. Engero 24:10 wagamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” Sitaani yaleetera omusajja omutuukirivu Yobu ebizibu era n’amuwaayiriza ng’ayagala okumumalamu amaanyi, kyokka yalemererwa. (Yob. 2:3; 22:3; 27:5) Tusobola okuziyiza Sitaani nga tuzzaamu ab’omu maka gaffe ne bakkiriza bannaffe amaanyi. Ekyo kijja kutuleetera okuwulira emirembe n’okufuna essanyu nga tuli mu maka gaffe oba nga tuli ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

EBYOKULABIRAKO OKUVA MU BAYIBULI

7, 8. (a) Byakulabirako ki okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa akitwala nti kikulu nnyo okuzzaamu abalala amaanyi? (b) Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 4.)

7 Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo abaweddemu amaanyi.” (Zab. 34:18, obugambo obuli wansi.) Nnabbi Yeremiya bwe yali aweddemu amaanyi, Yakuwa yamugumya. (Yer. 1:6-10) Ate lowooza ku ngeri nnabbi Danyeri eyali akaddiye gye yawuliramu Yakuwa bwe yamusindikira malayika n’amuzzaamu amaanyi. Malayika yamugamba nti: “Ggwe Danyeri, omusajja ow’omuwendo ennyo.” (Dan. 10:8, 11, 18, 19.) Naawe osobola okuzzaamu amaanyi ababuulizi, bapayoniya, ne bakkiriza banno abalala ababa baweddemu amaanyi?

8 Wadde nga Katonda ne Yesu baali bamaze emyaka mingi nnyo nga bali wamu mu ggulu, Yesu bwe yajja ku nsi Katonda yamusiimanga era yamuzzangamu amaanyi. Emirundi ebiri, Yesu yawulira Kitaawe ng’ayogera okuva mu ggulu ng’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Mat. 3:17; 17:5) Katonda yakiraga nti asiima Yesu olw’ebyo bye yali akola. Kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Yesu amaanyi okuwulira ebigambo ebyo ku ntandikwa y’obuweereza bwe ne ku nkomerero yaabwo. Era Yesu bwe yali mu nnaku ey’amaanyi ng’anaatera okuttibwa, Yakuwa yasindika malayika n’amuzzaamu amaanyi. (Luk. 22:43) Abazadde, mulina okukoppa Yakuwa nga muzzaamu abaana bammwe amaanyi era nga mubasiima olw’ebirungi bye bakola. Ate era musaanidde okuyamba abaana bammwe nga boolekagana n’okugezesebwa ku ssomero.

9. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abatume be?

9 Yesu. Yesu bwe yali agenda kutandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe, yakiraba nti abatume be baalinamu amalala. Yesu yayoleka obwetoowaze n’abanaaza ebigere, naye ne beeyongera okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Okugatta ku ekyo, Peetero yali yeekakasa ekisukkiridde. (Luk. 22:24, 33, 34) Wadde kyali kityo, Yesu yasiima abatume be olw’okumunywererako ng’agezesebwa. Yabagamba nti bandikoze emirimu egisinga ku egyo gye yakola, era n’abakakasa nti Katonda abaagala nnyo. (Luk. 22:28; Yok. 14:12; 16:27) Naffe tusaanidde okukoppa Yesu nga tusiima abaana baffe olw’ebirungi bye bakola mu kifo ky’okukuliriza ensobi zaabwe.

10, 11. Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali akitwala nga kikulu okuzzaamu abalala amaanyi?

10 Omutume Pawulo. Mu mabaluwa ge yawandiika, Pawulo yayogeranga bulungi ku Bakristaayo banne. Abamu ku bo Pawulo yali amaze ebbanga ng’akolera wamu nabo era ng’amanyi obunafu bwabwe. Wadde kyali kityo, yaboogerako bulungi. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba nti Timoseewo yali ‘mwana mwagalwa era mwesigwa mu Mukama waffe,’ era nti yali afaayo nnyo ku Bakristaayo banne. (1 Kol. 4:17; Baf. 2:19, 20) Pawulo era yayogera bulungi ku Tito. Yagamba Abakkolinso nti “[Tito] munnange era mpeereza naye ku lw’obulungi bwammwe.” (2 Kol. 8:23) Ng’ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byasanyusa nnyo Timoseewo ne Tito!

11 Pawulo ne Balunabba bateeka obulamu bwabwe mu kabi ne baddayo mu bifo gye baabanga bayisiddwa obubi. Ng’ekyokulabirako, baddayo mu Lusitula okuzzaamu abayigirizwa abapya amaanyi basobole okusigala nga banywevu wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi. (Bik. 14:19-22) Bwe yali mu Efeso, Pawulo yalumbibwa ekibiina ky’abantu abakambwe. Ebikolwa 20:1, 2 wagamba nti: “Oluyoogaano bwe lwakendeera, Pawulo n’atumya abayigirizwa, era bwe yamala okubazzaamu amaanyi n’okubasiibula, n’agenda e Masedoniya. Bwe yamala okuyitaayita mu bitundu ebyo n’okuzzaamu abayigirizwa abaaliyo amaanyi ng’ababuulira ekigambo, n’atuuka mu Buyonaani.” Mu butuufu, Pawulo yakitwala nti kikulu okuzzaamu abalala amaanyi.

OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI LEERO

12. Enkuŋŋaana zaffe zituyamba zitya okuzzibwamu amaanyi n’okuzzaamu abalala amaanyi?

12 Emu ku nsonga lwaki Kitaffe ow’omu ggulu atuteereddewo enkuŋŋaana eri nti, ayagala tuzzibwemu amaanyi era tuzzeemu abalala amaanyi. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Okufaananako Abakristaayo abasooka, naffe tukuŋŋaana okuyigirizibwa n’okuzzibwamu amaanyi. (1 Kol. 14:31) Cristina, eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino, agamba nti: “Bwe ŋŋenda mu nkuŋŋaana, ab’oluganda bandaga okwagala era banzizaamu amaanyi. Ebiseera ebimu we ntuukira ku Kizimbe ky’Obwakabaka mba mwennyamivu. Naye baganda bange bantuukirira ne bangwa mu kifuba era baŋŋamba nti ndabika bulungi. Baŋŋamba nti banjagala nnyo era bansiima olw’engeri gye nkulaakulanyeemu mu by’omwoyo. Mu butuufu banzizaamu nnyo amaanyi!” Nga kikulu nnyo buli omu ffe okubaako ky’akola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi!​—Bar. 1:11, 12.

13. Lwaki n’abo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Katonda beetaaga okuzzibwamu amaanyi?

13 N’abo abamaze emyaka emingi nga baweereza Yakuwa beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Lowooza ku Yoswa. Wadde nga yali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa, Yakuwa yagamba Musa amuzzeemu amaanyi. Yagamba Musa nti: “Fuula Yoswa omukulembeze, omuzzeemu amaanyi era omugumye, kubanga y’agenda okukulemberamu abantu bano okusomoka, era y’agenda okubakulemberamu okutwala ensi eyo gy’ogenda okulaba.” (Ma. 3:27, 28) Yoswa yali anaatera okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuyingiza Abayisirayiri mu Nsi Ensuubize. Yali agenda kwolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi, omwali n’okuwangulwa mu lutalo. (Yos. 7:1-9) Mu butuufu, Yoswa yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi! N’olwekyo, twetaaga okuzzaamu amaanyi abakadde n’abalabirizi abakyalira ebibiina, abakola ennyo okulabirira ekisibo kya Katonda. (Soma 1 Abassessalonika 5:12, 13.) Omulabirizi w’ekitundu omu yagamba nti: “Ebiseera ebimu bakkiriza bannaffe batuwandiikira amabaluwa nga batwebaza olw’okubakyalira. Amabaluwa ago tugatereka era bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi tugaggyayo ne tugasoma. Amabaluwa ago gatuzzaamu nnyo amaanyi.”

Bwe tusiima abaana baffe kibazzaamu amaanyi (Laba akatundu 14)

14. Lwaki kikulu okwebaza abalala n’okubazzaamu amaanyi?

14 Abakadde mu kibiina n’abazadde bakirabye nti okwebaza abalala n’okubazzaamu amaanyi kibakubiriza okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli. Pawulo bwe yasiima Abakristaayo mu Kkolinso olw’okukolera ku kubuulirira kwe yabawa, kiteekwa okuba nga kyabakubiriza okweyongera okukola ekituufu. (2 Kol. 7:8-11) Ow’oluganda Andreas, alina abaana ababiri, agamba nti: “Abaana bwe bazzibwamu amaanyi, kibayamba okukula mu by’omwoyo n’okuwulira obulungi. Bw’obazzaamu amaanyi kibakubiriza okukolera ku kubuulirira kw’obawa. Wadde ng’abaana baffe bamanyi kye balina okukola, okubazzaamu amaanyi kibaleetera okuba abamalirivu okukola ekituufu.”

ENGERI GYE TUYINZA OKUZZAAMU ABALALA AMAANYI

15. Ekimu ku bintu bye tusobola okukola okuzzaamu abalala amaanyi kye kiruwa?

15 Siima bakkiriza banno olw’engeri gye bafubamu okuweereza Katonda n’olw’engeri ennungi ze balina. (2 Byom. 16:9; Yob. 1:8) Wadde ng’embeera yaffe eyinza okuba nga tetusobozesa kuweereza Yakuwa nga bwe twandyagadde, Yakuwa ne Yesu basiima nnyo ebyo byonna bye tukola okuwagira Obwakabaka. (Soma Lukka 21:1-4; 2 Abakkolinso 8:12.) Ng’ekyokulabirako, abamu ku bakkiriza bannaffe abakaddiye bafuba okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okubuulira. Tusaanidde okubasiima n’okubazzaamu amaanyi.

16. Lwaki tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okuzzaamu abalala amaanyi?

16 Kozesa buli kakisa k’ofuna okuzzaamu abalala amaanyi. Bwe wabaawo akoze ekintu ekirungi, lwaki tokozesa akakisa ako n’omusiima? Lowooza ku ekyo ekyaliwo Pawulo ne Balunabba bwe baali mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya. Abakulu b’ekkuŋŋaaniro baabagamba nti: “Ab’oluganda, bwe muba nga mulina ekigambo ekiyinza okuzzaamu abantu amaanyi, mukibabuulire.” Pawulo yakozesa akakisa ako okwogera eri abantu ku bintu ebikulu ennyo. (Bik. 13:13-16, 42-44) Bwe wabaawo ekintu kye tuyinza okwogera ne kizzaamu abalala amaanyi, tusaanidde okukyogera. Bwe tugifuula empisa yaffe okuzzaamu abalala amaanyi, naffe bajja kutuzzaamu amaanyi.​—Luk. 6:38.

17. Kiki ekifuula ebigambo bye twogera nga tusiima abalala okuba eby’amakulu?

17 Bategeeze ensonga lwaki obasiima. Wadde ng’okugamba obugambi omuntu nti omusiima kirungi, okumubuulira ensonga lwaki omusiima kimukwatako nnyo. Ekyo kyeyoleka bulungi mu bigambo Yesu bye yagamba Abakristaayo mu Suwatira. (Soma Okubikkulirwa 2:18, 19.) Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli muzadde, osobola okubuulira abaana bo enkulaakulana gye batuuseko mu by’omwoyo ekuleetedde okubasiima. Ate bwe tuba twogera n’omuzadde ali obwannamunigina, tusobola okumubuulira ekitusanyusa ku ngeri gy’alabiriramu abaana be, wadde ng’embeera si nnyangu. Okubuulira abalala ensonga lwaki tubasiima, kisobola okubazzaamu ennyo amaanyi.

18, 19. Tuyinza tutya okuzzaamu abalala amaanyi?

18 Wadde nga Yakuwa tajja kutugamba butereevu kugenda kuzzaamu balala maanyi nga bwe yagamba Musa okuzzaamu Yoswa amaanyi, kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. (Nge. 19:17; Beb. 12:12) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubuulira oyo aba atuwadde emboozi ya bonna engeri emboozi ye gy’etuganyuddemu oba engeri gy’etuyambyemu okutegeera ekyawandiikibwa ekimu. Mwannyinaffe omu yagamba ow’oluganda eyabakyalira n’abawa emboozi nti: “Wadde nga nnayogera naawe okumala akaseera katono, wategeera ekyandi ku mutima, n’onzizaamu amaanyi. Njagala okukutegeeza nti, engeri ey’ekisa gye wayogeramu ng’owa emboozi ne bwe wali ng’oyogera nange, yandeetera okuwulira nti ddala Yakuwa ye yali akukozesezza okunnyamba.”

19 Buli omu ku ffe ajja kusobola okuzzaamu abalala amaanyi singa akolera ku bigambo bya Pawulo bino: “Muzziŋŋanengamu amaanyi era muzimbaganenga, nga bwe mukola.” (1 Bas. 5:11) Ffenna tujja kusobola okusanyusa Yakuwa singa buli omu ku ffe afuba okuzzaamu abalala amaanyi buli lunaku.

^ [1] (akatundu 1) Amannya agamu gakyusiddwa.