“Omulimu Munene”
EKISEERA kituuse olukuŋŋaana olukulu ennyo oluli mu Yerusaalemi lutandike. Kabaka Dawudi akuŋŋaanyizza abaami, abakungu b’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi. Bonna abaliwo basanyuka nnyo okuwulira ekirango eky’enjawulo. Yakuwa alonze Sulemaani, mutabani wa Dawudi, okuzimba yeekaalu ejja okukozesebwa mu kusinza Katonda ow’amazima. Katonda yawa Kabaka Dawudi, kati akaddiye, pulaani ya yeekaalu eyo era Dawudi agikwasizza Sulemaani. Dawudi agamba nti: “Omulimu munene; kubanga yeekaalu si ya muntu wabula ya Yakuwa Katonda.”—1 Byom. 28:1, 2, 6, 11, 12; 29:1.
Oluvannyuma Dawudi abuuza abantu nti: “Ani ayagala okubaako ky’awa Yakuwa leero?” (1 Byom. 29:5) Singa waliwo ku lukuŋŋaana olwo, kiki kye wandikoze? Wandibaddeko ne ky’owaayo okuwagira omulimu ogwo omunene? Abayisirayiri baawagira omulimu ogwo. Mu butuufu abantu “basanyuka olw’okuwaayo . . . eri Yakuwa ebiweebwayo ebya kyeyagalire n’omutima gwabwe gwonna.”—1 Byom. 29:9.
Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yakuwa yassaawo yeekaalu ey’eby’omwoyo esingira ewala yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Yeekaalu ey’eby’omwoyo ye nteekateeka Yakuwa gye yassaawo abantu okumusinza nga bayitira mu ssaddaaka ya Yesu. (Beb. 9:11, 12) Yakuwa ayamba atya abantu okutabagana naye leero? Ekyo akikola okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Okuyitira mu mulimu ogwo, buli mwaka abantu bukadde na bukadde bayigirizibwa Bayibuli, bangi ku bo babatizibwa, era ebibiina bingi bitandikibwawo.
Enkulaakulana eyo ereetawo obwetaavu obw’okwongera ku muwendo gw’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebikubibwa, obw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, n’obw’okuzimba ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene. Naawe okiraba nti omulimu gwe tukola ogw’okubuulira amawulire amalungi munene nnyo?—Mat. 24:14.
Olw’okuba baagala Katonda ne bantu bannaabwe, era olw’okuba bakimanyi nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mukulu nnyo, abaweereza ba Katonda bawaayo kyeyagalire okuwagira omulimu ogwo. Nga kitusanyusa nnyo okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo, era ne tulaba engeri ebyo bye tuwaayo gye bikozesebwamu obulungi okuwagira omulimu ogusingayo obukulu mu byafaayo by’omuntu!—Nge. 3:9.