Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yabayita Okuva mu Kizikiza

Yabayita Okuva mu Kizikiza

“[Yakuwa yabayita] okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.”—1 PEET. 2:9.

ENNYIMBA: 95, 74

1. Biki ebyaliwo nga Yerusaalemi kizikirizibwa?

MU MWAKA gwa 607 E.E.T., amagye ga Babulooni agaali gaduumirwa Kabaka Nebukadduneeza II gaalumba ekibuga Yerusaalemi. Ng’eyogera ku ebyo ebyaliwo, Bayibuli egamba nti: “[Nebukadduneeza yatta] n’ekitala abavubuka baabwe mu kifo kyabwe ekitukuvu. Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu. . . . Yayokya ennyumba ya Katonda ow’amazima era n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi; yayokya ebigo byamu byonna era n’ayonoona ebintu byonna eby’omuwendo.”​—2 Byom. 36:17, 19.

2. Kulabula ki okukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi Yakuwa kwe yawa, era kiki ekyandituuse ku Bayudaaya?

2 Abayudaaya bateekwa okuba nga tebeewuunya kulaba nga Yerusaalemi kizikiriziddwa. Okumala emyaka mingi, bannabbi ba Katonda baali balabula Abayudaaya nti bwe bandijeemedde Amateeka ga Katonda bandiweereddwayo mu mikono gy’Abababulooni. Abayudaaya bangi baali ba kuttibwa n’ekitala; ate abo abatandittiddwa banditwaliddwa mu buwambe e Babulooni. (Yer. 15:2) Obulamu bwali butya nga bali mu buwambe e Babulooni? Waliwo ekintu ekifaananako ng’ekyo ekyatuuka ku Bakristaayo? Bwe kiba kityo, kyaliwo ddi?

OBULAMU NGA BALI MU BUWAMBE

3. Njawulo ki eyaliwo wakati w’obulamu Abayisirayiri bwe baalimu mu Babulooni n’obulamu bwe baalimu nga bali mu buddu e Misiri?

3 Ebyo bannabbi bye baali boogedde byatuukirira. Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yagamba Abayudaaya abaali mu buwambe okukkiriza embeera gye baalimu n’okutuukana nayo. Yabagamba nti: “Muzimbe ennyumba [mu Babulooni] muzibeeremu, musige ensigo mu nnimiro mulye ebibala byamu. Mukolerere emirembe gy’ekibuga mwe nnabawaŋŋangusiza, era mukisabire eri Yakuwa, kubanga bwe kibaamu emirembe nammwe mujja kuba n’emirembe.” (Yer. 29:5, 7) Abo abaakolera ku bigambo ebyo obulamu tebwababeerera buzibu nnyo. Abababulooni baabawa eddembe essaamusaamu okukola bye baagala. Abayudaaya abaali mu buwambe baalina eddembe okwetaayiza mu Babulooni. Ekibuga Babulooni ye yali entabiro y’eby’obusuubuzi mu biseera by’edda, era ebiwandiiko eby’edda ebyazuulibwa biraga nti Abayudaaya bangi baayiga okusuubula ate abalala baakuguka mu mirimu gy’emikono. Abayudaaya abamu baagaggawala. Obulamu Abayisirayiri bwe baalimu mu Babulooni bwali tebufaanana n’obwo bwe baalimu nga bali mu buddu e Misiri.​—Soma Okuva 2:23-25.

4. Ng’oggyeeko Abayisirayiri abaali abajeemu, baani abalala abaatwalibwa mu buwambe e Babulooni, era ekyo kyakwata kitya ku ngeri gye baali basinzaamu Yakuwa?

4 Wadde ng’Abayudaaya baali bafuna ebyetaago byabwe eby’omubiri, baali basobola okusinza obulungi Yakuwa? Yeekaalu ya Yakuwa n’ekyoto kyayo byali byazikirizibwa, era ng’enteekateeka y’obwakabona tetegekeddwa bulungi. Abamu ku Bayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni baali tebalina kye bakoze ekyandibaleetedde okubonerezebwa, naye baabonaabonera wamu n’Abayudaaya abalala. Wadde kyali kityo, baakola kyonna ekisoboka okukwata Amateeka ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, bwe baali mu Babulooni, Danyeri ne banne abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, baagaana okulya emmere eyandibaleetedde okumenya amateeka ga Katonda. Ate era Danyeri yeeyongera okusaba Katonda buli lunaku. (Dan. 1:8; 6:10) Wadde kyali kityo, tekyali kyangu eri Abayudaaya abaali abeesigwa eri Katonda okukola byonna ebyali biragiddwa mu Mateeka ga Katonda nga bali mu buwambe.

5. Kiki Yakuwa kye yasuubiza abantu be, era lwaki ekisuubizo ekyo tekyali kyangu kukkiriza?

5 Abayisirayiri bandisobodde okuddamu okuweereza Katonda mu ngeri gy’asiima? Bwe baali mu buwambe, ekyo kyali kirabika ng’ekitasoboka. Abababulooni tebaatanga bantu be baabanga batutte mu buwambe. Naye ekyo kyali tekisobola kulemesa Yakuwa Katonda kukola ky’ayagala. Yakuwa yali yasuubiza nti ekiseera kyandituuse abantu be ne bateebwa okuva mu buwambe, era ekyo kyatuukirira. Mu butuufu, ebyo byonna Katonda by’aba asuubizza bituukirira.​—Is. 55:11.

ABAKRISTAAYO NABO BAATWALIBWAKO MU BUWAMBE?

6, 7. Lwaki kibadde kyetaagisa okukyusa mu ngeri gye tubadde tunnyonnyolamu ekiseera abantu ba Katonda lwe baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene?

6 Abakristaayo nabo baaliko mu mbeera efaananako ng’eyo Abayudaaya gye baalimu nga bali mu buwambe e Babulooni? Okumala emyaka mingi, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ebadde egamba nti abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kyaffe, mu ngeri ey’akabonero, baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni mu 1918 era ne bava mu buwambe obwo mu 1919. Naye okusinziira ku bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako, kyeyoleka lwatu nti waliwo enkyukyuka eyalina okukolebwa mu ngeri gye tunnyonnyolamu ensonga eno.

7 Okusookera ddala lowooza ku kino: Babulooni Ekinene ge madiini gonna ag’obulimba. Bwe kiba nti abantu ba Katonda baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni mu 1918, wandibadde waliwo ekiraga nti abantu ba Katonda baatwalibwa mu buwambe mu madiini ag’obulimba mu mwaka ogwo. Kyokka obukakafu bulaga nti ng’ebula emyaka egiwerako Ssematalo I atandike, abaweereza ba Katonda baali batandise okwekutula ku Babulooni Ekinene, so si kutwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Kyo kituufu nti abaafukibwako amafuta baayigganyizibwa nnyo mu kiseera ekyo, naye okusingira ddala baayigganyizibwa gavumenti so si madiini ag’obulimba. N’olwekyo, kyeyoleka lwatu nti abantu ba Yakuwa tebaatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene mu 1918.

ABAKRISTAAYO BAATWALIBWA DDI MU BUWAMBE MU BABULOONI?

8. Nnyonnyola engeri ekibiina Ekikristaayo gye kyayonoonebwamu. (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)

8 Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Abayudaaya nkumi na nkumi n’abakyufu baafukibwako omwoyo omutukuvu. Abakristaayo abo abapya baafuuka “ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, ekintu kya Katonda ekiganzi.” (Soma 1 Peetero 2:9, 10.) Abatume bwe baali bakyali balamu, baakuuma ekibiina Ekikristaayo ne kitayonoonebwa njigiriza za bulimba. Naye oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, waliwo abantu abajjawo ne ‘boogera ebintu ebikyamye nga baagala okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.’ (Bik. 20:30; 2 Bas. 2:6-8) Bangi ku bantu abo baalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo, nga baweereza ng’abalabirizi mu kibiina, era oluvannyuma ne batandika okuyitibwa “babisopu.” Wadde nga Yesu yali yagamba Abakristaayo bonna nti “mmwenna muli ba luganda,” abantu abo baatandika okwetwala okuba nga ba waggulu ku balala mu kibiina. (Mat. 23:8) Abasajja abaali batwala obukulembeze mu kibiina abaali batwaliriziddwa enjigiriza za Aristotle n’eza Plato, baatandika okuyigiriza enjigiriza ezo mu kifo ky’okuyigiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda.

9. Nnyonnyola engeri Abakristaayo ab’obulimba gye baatandikamu okukolagana ne gavumenti ya Rooma, era biki ebyavaamu?

9 Mu mwaka gwa 313 E.E., Empula Constantine yatongoza Obukristaayo obw’obulimba mu bwakabaka bwa Rooma. Okuva olwo, Abakristaayo ab’obulimba baatandika okukolagana ne gavumenti ya Rooma. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lw’eddiini olwali mu Nicaea, Constantine, naye eyali mu lukuŋŋaana olwo, yalagira nti munnaddiini ayitibwa Arius, eyali agaanye okukkiriza nti Yesu Katonda, atwalibwe mu buwaŋŋanguse. Oluvannyuma, mu bufuzi bwa Empula Theodosius I (379-395 E.E.), eddiini y’Ekikatuliki yafuuka eddiini enkulu ey’obwakababaka bwa Rooma. Bannabyafaayo bagamba nti Rooma, eggwanga eryali ery’abakaafiiri, lyafuuka “ery’Abakristaayo” mu bufuzi bwa Empula Theodosius. Naye ekituufu kiri nti ekiseera ekyo we kyatuukira Abakristaayo ab’obulimba baali bayigiriza enjigiriza z’abakaafiiri, ne kiba nti baali baamala dda okufuuka ekitundu kya Babulooni Ekinene. Wadde kyali kityo, waaliwo Abakristaayo abatonotono, abaali ng’eŋŋaano, abaali bafuba okusinza Katonda mu ngeri entuufu, naye nga tewali n’omu abawuliriza. (Soma Matayo 13:24, 25, 37-39.) Mu butuufu, Abakristaayo abo baali mu buwambe mu Babulooni Ekinene!

10. Lwaki abantu abamu baatandika okuwakanya enjigiriza z’Ekkereziya?

10 Kyokka oluvannyuma lw’ekyasa ekyasooka, waayita ebyasa bitonotono ng’abantu bakyasobola okusoma Bayibuli mu Luyonaani oba mu Lulattini. N’olwekyo, baali basobola okugeraageranya ebyo ebyali mu Kigambo kya Katonda n’ebyo Ekkereziya bye yali eyigiriza. Nga basinziira ku ebyo bye baabanga basomye mu Bayibuli, abantu abamu baagaana okukkiriza enjigiriza z’Ekkereziya ezaali zikontana ne Bayibuli, kyokka kyali kya kabi omuntu yenna okugezaako okuwakanya enjigiriza z’Ekkereziya kubanga ekyo kyali kiyinza okumuviirako okuttibwa.

11. Abakulembeze b’eddiini baatuuka batya okulemesa abantu okusoma Bayibuli?

11 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abantu abasinga obungi baalekera awo okwogera Oluyonaani n’Olulattini, naye abakulembeze b’eddiini baagaana abantu okuvvuunula Bayibuli mu nnimi abantu ze baali bategeera. N’ekyavaamu, abakulembeze b’eddiini bokka n’abantu abamu abaali abayivu be baali basobola okusoma Bayibuli. Kyokka abamu ku bakulembeze b’eddiini nabo baali tebamanyi kusoma na kuwandiika. Omuntu yenna atakkiriziganyanga n’ebyo Ekkereziya bye yayigirizanga, yabonerezebwanga nnyo. Bwe kityo, abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta baakuŋŋaaniranga mu bubinja obutonotono mu bifo ebyekusifu, naye abamu tebaasobolanga kukuŋŋaana. Okufaananako Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni, Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta baali tebasobola kusinza Katonda mu ngeri entegeke obulungi. Mu kiseera ekyo, Babulooni Ekinene kyalina obuyinza bungi ku bantu.

EKITANGAALA KITANDIKA OKULABIKA

12, 13. Bintu ki ebibiri ebyawa Abakristaayo essuubi nti baali banaatera okusumululwa okuva mu buwambe mu Babulooni Ekinene? Nnyonnyola.

12 Abakristaayo ab’amazima bandizzeemu okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima nga tewali abakuba ku mukono? Yee! Lowooza ku bintu bibiri ebikulu ebyaliwo. Ekisooka, mu myaka gya 1450 baatandika okukola ebyuma ebikuba ebitabo mu kyapa. Ebyuma ebyo bwe byali tebinnatandika kukolebwa, okusobola okukolayo kopi ya Bayibuli endala, omuntu yalinanga kugikoppolola na ngalo. Tekyalinga kyangu kufuna Bayibuli era Bayibuli zaali za buseere. Kigambibwa nti omukoppolozi omulungi kyamutwaliranga emyezi kkumi okumaliriza Bayibuli emu! Okugatta ku ekyo, ebintu ebyakozesebwanga okukoppolola Bayibuli byali bya buseere. Kyokka omuntu eyakozesanga ekyuma ekikuba ebitabo kati yali asobola okukuba empapula za Bayibuli ezisukka mu 1,300 buli lunaku!

Okukola ebyuma ebikuba ebitabo n’okuba nti waaliwo abavvuunuzi ba Bayibuli abaayoleka obuvumu kyanafuya obuyinza Babulooni bwe yalina ku bantu (Laba akatundu 12, 13)

13 Eky’okubiri, ekyasa ekya 16 bwe kyali kyakatandika, waliwo abantu abaayoleka obuvumu ne bavvuunula Bayibuli mu nnimi z’abantu aba bulijjo. Ekyo baakikola wadde nga kyali kiteeka obulamu bwabwe mu kabi. Naye ekyo kyatiisa nnyo abakulembeze b’eddiini. Lwaki? Baali bakimanyi nti singa abantu ab’emitima emirungi basoma Bayibuli bandibadde batandika okubabuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ppuligaatuli eyogerwako wa mu Bayibuli? Wa Bayibuli w’eragira nti omukulembeze w’eddiini alina okusasulwa ssente okusabira omuntu afudde? Wa Bayibuli w’eyogerera ku bakalidinaali ne ku bappaapa?’ Nyingi ku njigiriza z’Ekkereziya zaali zeesigamiziddwa ku njigiriza za Aristotle ne Plato, abasajja abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi. Abakulembeze b’eddiini baanyiiga nnyo abantu bwe baatandika okubabuuza ebibuuzo ng’ebyo. Abantu bangi abatakkiriziganya na njigiriza z’Ekkereziya battibwa. Abakulembeze b’eddiini baali baagala abantu balekere awo okusoma Bayibuli n’okubabuuza ebibuuzo, era abantu abasinga obungi ekyo kye baakola. Naye waliwo abantu abatonotono abaagaana okutiisibwatiisibwa Babulooni Ekinene. Baali bazudde amazima agali mu Kigambo kya Katonda era baali baagala okumanya ebisingawo. Mu butuufu ekiseera kyali kinaatera okutuuka Abakristaayo ab’amazima bave mu buwambe bwa Babulooni ekinene.

14. (a) Kiki abantu abaali baagala okuyiga amazima agali mu Bayibuli kye baakola? (b) Ow’oluganda Russell yanoonya atya amazima?

14 Bangi ku bantu abaali baagala okuyiga amazima agali mu Bayibuli baddukira mu nsi endala Ekkereziya gy’etaalina nnyo buyinza. Baali baagala okusoma n’okwekenneenya Bayibuli awatali kuziyizibwa kwonna. Charles Taze Russell ne banne nabo baali mu nsi efaananako bw’etyo (Amerika) we baatandikira okwekenneenya Bayibuli mu myaka gya 1800. Mu kusooka, ekigendererwa ky’Ow’oluganda Russell kyali kya kuzuula ddiini ki ku ezo ezaaliwo eyali eyigiriza amazima. Yageraageranya ebyali mu Bayibuli n’ebyo amadiini agatali gamu, nga mw’otwalidde n’ago agataali ga Bakristaayo, bye gaali gayigiriza. Yakiraba nti tewaali ddiini n’emu eyali eyigiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Lumu Russell ne banne baasisinkana abakulembeze b’eddiini ne bababuulira ku mazima ge baali bazudde mu Bayibuli nga basuubira nti abakulembeze b’eddiini abo bandibadde batandika okuyigiriza abantu mu masinzizo amazima ago. Kyokka abakulembeze b’eddiini abo tebeefiirayo. Bwe kityo, Abayizi ba Bayibuli baakiraba nti ekiseera kyali kituuse okwekutula ku bantu abaali bagugubidde ku njigiriza ez’obulimba.​—Soma 2 Abakkolinso 6:14.

15. (a) Abakristaayo baatwalibwa ddi mu buwambe mu Babulooni Ekinene? (b) Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

15 Mu kitundu kino, tulabye nti Abakristaayo ab’amazima baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’omutume eyasembayo okufa. Kyokka waliwo ebibuuzo ebirala ebijjawo: Bukakafu ki obulala obulaga nti ng’ebula emyaka mitono omwaka gwa 1914 gutuuke abaafukibwako amafuta baali batandise okwekutula ku Babulooni ekinene? Yakuwa yanyiigira abaweereza be olw’okuba baddirira mu mulimu gw’okubuulira mu kiseera kya Ssematalo I? Waaliwo abamu ku baganda baffe abekkiriranya ne babaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi by’ensi eno ne kinyiiza Yakuwa? N’ekisembayo, bwe kiba nti Abakristaayo baatwalibwa mu buwambe mu ddiini ez’obulimba okuva mu kyasa eky’okubiri E.E., obuwambe obwo baabuvaamu ddi? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.