OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Noovemba 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ddesemba 31, 2018 okutuuka nga Febwali 3, 2019.

“Gula Amazima era Togatundanga”

Kitegeeza ki okugula amazima? Bwe tumala okugafuna, tuyinza tutya okuganyweza?

“Nja Kutambulira mu Mazima Go”

Tuyinza tutya okuba abamalirivu okutambulira mu mazima Yakuwa ge yatuyigiriza?

Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!

Ebyo bye tusoma mu kitabo kya Kaabakuuku bisobola okutuyamba okuba n’emirembe ku mutima wadde nga twolekagana n’ebizibu.

Ndowooza y’Ani gy’Olina?

Oyinza otya okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, so si ng’ey’abantu?

Ofuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Yakuwa?

Kitegeeza ki ‘okufuna endowooza empya,’ era ekyo tukikola tutya?

Ekisa—Ngeri Gye Twoleka mu Bigambo ne mu Bikolwa

Ekisa kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eyo?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abayambi Yesu be yayogerako bwe yali anaatera okuttibwa be baani, era lwaki baali bayitibwa batyo?

Kirabo Ki Kye Tusobola Okuwa Yakuwa?

‘Ebintu eby’omuwendo’ ebyogerwako mu Engero 3:9 bye biki, era tuyinza tutya okubikozesa okuwagira okusinza okw’amazima?