Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Gula Amazima era Togatundanga”

“Gula Amazima era Togatundanga”

“Gula amazima, n’amagezi, n’okuyigirizibwa, awamu n’okutegeera, era tobitundanga.”​—NGE. 23:23.

ENNYIMBA: 94, 96

1, 2. (a) Kintu ki ekisingayo okuba eky’omuwendo gye tuli? (b) Mazima ki ge tutwala nga ga muwendo nnyo, era lwaki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

KINTU ki ekisingayo okuba eky’omuwendo gy’oli? Wandikiwaddeyo n’ofunamu ekintu ekirala ekitali kya muwendo nnyo? Abaweereza ba Yakuwa abeewaayo gy’ali bamanyi eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo gye tuli ye nkolagana yaffe ne Yakuwa era tetusobola kugiwanyisaamu kintu kirala kyonna. Ate era n’amazima agali mu Bayibuli, agaatusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, nago tugatwala nga ga muwendo ennyo.​—Bak. 1:9, 10.

2 Lowooza ku bintu eby’omuwendo ennyo Yakuwa, Omuyigiriza Waffe Asingiridde, by’atuyigiriza mu Kigambo kye, Bayibuli! Atuyamba okutegeera amakulu g’erinnya lye n’engeri ze. Atubuulira ku kirabo eky’omuwendo ennyo kye yatuwa, nga kino kye kinunulo kye yawaayo okuyitira mu Mwana we, Yesu. Yakuwa era atutegeeza ku Bwakabaka bwa Masiya, era awadde abaafukibwako amafuta essuubi ery’okugenda mu ggulu n’ab’endiga endala essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yok. 10:16) Ate era atuyigiriza engeri gye tusaanidde okweyisaamu. Amazima ago tugatwala nga ga muwendo nnyo kubanga gatusobozesa okusemberera Omutonzi waffe. Ate era gatusobozesa okubeera n’obulamu obw’amakulu.

3. Kiki ‘okugula amazima’ kye kitategeeza?

3 Yakuwa Katonda mugabi nnyo. Tamma birungi abo abanoonya amazima. Yakuwa era yawaayo Omwana we ku lwaffe nga tetulina kye tumusasudde. Ate era Katonda tatusaba ssente okusobola okufuna amazima. Omusajja ayitibwa Simooni bwe yayagala okuwa omutume Peetero ssente, asobole okufuna obuyinza okuwa abantu omwoyo omutukuvu, Peetero yamunenya n’amugamba nti: “Ssente zo ka zizikirire naawe, kubanga oyagala okufuna ekirabo kya Katonda ng’owaayo ssente.” (Bik. 8:18-20) Kati olwo Bayibuli bw’egamba nti, “Gula amazima,” eba etegeeza ki?

KITEGEEZA KI ‘OKUGULA’ AMAZIMA?

4. Kiki kye tugenda okuyiga mu kitundu kino?

4 Soma Engero 23:23. Okusobola okufuna amazima agali mu Kigambo kya Katonda, kitwetaagisa okufuba. Tulina okuba abeetegefu okubaako bye twefiiriza okusobola okugafuna. Ng’omuwandiisi w’ekitabo ky’Engero bwe yagamba, bwe tumala ‘okugula’ amazima oba okugafuna, tusaanidde okuba abeegendereza tuleme ‘kugatunda’ oba okugafiirwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba kye kitegeeza okugula amazima na biki bye tusasula okusobola ‘okugagula.’ Ekyo kijja kutuyamba okwongera okusiima amazima n’okuba abamalirivu obutagatunda. Nga bwe tugenda okulaba, amazima gasingira wala ebintu byonna bye tuyinza okwefiiriza okugagula.

5, 6. (a) Tuyinza tutya okugula amazima nga tetuwaddeeyo ssente? Waayo ekyokulabirako. (b) Amazima gatuganyula gatya?

5 N’ekintu eky’obwereere kisobola okukwetaagisa okubaako bye weefiiriza okusobola okukifuna. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa ‘okugula’ mu Engero 23:23 era kisobola okutegeeza “okufuna.” Ebigambo ebyo byombi biraga nti omuntu alina okubaako ky’akolawo oba ky’awaayo okusobola okufuna ekintu eky’omuwendo. Okusobola okutegeera kye kitegeeza okugula amazima lowooza ku kyokulabirako kino. Ka tugambe nti waliwo amenvu ag’obwereere ge bagaba mu katale. Amenvu ago ganeereeta gokka awaka wo? Nedda. Oba olina okutambula n’ogenda mu katale okusobola okugafuna. Amenvu ago gaba ga bwereere? Yee. Naye oba olina okufissaayo akadde okugenda mu katale okugakima. Mu ngeri y’emu, tetwetaaga ssente okugula amazima. Naye tulina okufuba okubaako kye tukolawo okusobola okugafuna.

6 Soma Isaaya 55:1-3. Ebigambo bya Yakuwa ebiri mu Isaaya nabyo bituyamba okutegeera kye kitegeeza okugula amazima. Mu nnyiriri ezo, Yakuwa ageraageranya Ekigambo kye ku mazzi, amata, n’omwenge. Okufaananako amazzi, amazima agali mu Kigambo kya Katonda gaweweeza nnyo. Ate era ng’amata bwe gatuzzaamu amaanyi era ne gayamba abaana okukula, amazima agali mu Kigambo kya Yakuwa gatuzzaamu amaanyi era gatuyamba okukula mu by’omwoyo. Ate era amazima agali mu Kigambo kya Yakuwa gali ng’omwenge. Mu ngeri ki? Mu Bayibuli, omwenge gukwataganyizibwa n’essanyu. (Zab. 104:15) N’olwekyo Yakuwa okutugamba ‘okugula omwenge,’ aba alaga nti bwe tukolera ku Kigambo kye tuba basanyufu. (Zab. 19:8) Ennyiriri ezo ziraga bulungi emiganyulo egiri mu kuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda n’okugakolerako. Okufuba kwe tuteekamu okufuna amazima kuyinza okugeraageranyizibwa ku muwendo gwe tusasula. Kati ka tulabe ebintu bitaano bye tuyinza okusasula okusobola okugula amazima.

BIKI BYE WEEFIIRIZZA OKUSOBOLA OKUGULA AMAZIMA?

7, 8. (a) Lwaki tulina okuwaayo ebiseera okusobola okugula amazima? (b) Kiki omuwala omu kye yali omwetegefu okuwaayo okugula amazima, era biki ebyavaamu?

7 Ebiseera. Kino kye kintu buli omu ayagala okugula amazima ky’alina okuwaayo. Kyetaagisa ebiseera okusobola okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka, okusoma Bayibuli n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, okwesomesa, okutegeka enkuŋŋaana n’okuzibaamu. Ebiseera ebyo tulina ‘kubigula’ ku bintu ebirala ebitali bikulu nnyo. (Soma Abeefeso 5:15, 16, obugambo obuli wansi.) Omuntu kimwetaagisa biseera byenkana wa okusobola okumanya enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako? Ekyo kisinziira ku mbeera ye. Naye tewali kkomo ku bintu bye tusobola okuyiga ebikwata ku magezi ga Yakuwa, ku makubo ge, ne ku mirimu gye. (Bar. 11:33) Magazini ya Watch Tower eyasooka yageraageranya amazima ku “kimuli ekirabika obulungi” n’egamba nti: “Tosaanidde kuba mumativu na kimuli kimu kyokka eky’amazima. Singa ekimuli ekimu kyali kimala, tewandibaddeyo bimuli birala. Weeyongera okunoonya ebirala.” Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Ekisaaganda ky’ebimuli eby’amazima bye nkuŋŋaanyizza kyenkana wa?’ Ne bwe tunaabaawo emirembe gyonna, tujja kweyongera okubangako bye tuyiga ku Yakuwa. Kikulu nnyo leero okukozesa obulungi ebiseera byaffe tusobole okugula amazima mangi nga bwe kisoboka okusinziira ku mbeera zaffe. Lowooza ku kyokulabirako kino eky’omuntu eyali ayagala ennyo okumanya amazima.

8 Omuwala Omujapaani ayitibwa Mariko, * yagenda mu kibuga New York ekya Amerika okusoma. Mu kiseera ekyo yali ali mu ddiini eyatandikibwawo mu Japan mu myaka gya 1950. Mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, yasisinkana Mariko. Mariko bwe yatandika okuyiga amazima agali mu Bayibuli yagaagala nnyo era n’asaba payoniya oyo okuyiganga Bayibuli naye emirundi ebiri buli wiiki. Wadde nga Mariko yalina eby’okukola bingi ku ssomero ate ng’alina n’okukola omulimu ogutali gwa kiseera kyonna, yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana. Ate era yakendeeza ku budde bwe yali amalira ku bintu ebimu asobole okufuna obudde obusingawo okuyiga amazima. Ekyo kye yakola kyamusobozesa okukulaakulana amangu mu by’omwoyo. Mu bbanga lya mwaka gumu gwokka Mariko yabatizibwa. Mu 2006, nga wayise emyezi mukaaga bukya abatizibwa, yatandika okuweereza nga payoniya era akyaweereza nga payoniya.

9, 10. (a) Okugula amazima kikwata kitya ku ndowooza gye tulina ku bintu? (b) Bintu ki omuwala omu bye yeefiiriza okusobola okugula amazima, era awulira atya?

9 Ebintu. Okusobola okugula amazima, kiyinza okutwetaagisa okulekayo omulimu ogusasula ssente ennyingi. Yesu bwe yayita Peetero ne Andereya okufuuka “abavubi b’abantu,” ‘baaleka obutimba bwabwe ne bamugoberera.’ (Mat. 4:18-20) Kya lwatu nti abasinga obungi ku abo abayiga amazima leero tebasobola kumala galeka awo mirimu gyabwe, kubanga baba n’obuvunaanyizibwa Yakuwa bw’abeetaagisa okutuukiriza. (1 Tim. 5:8) Naye abantu kinnoomu bwe bayiga amazima emirundi mingi baba balina okukyusa endowooza gye balina ku bintu ne ku ebyo bye bakulembeza mu bulamu. Ekyo Yesu yakyoleka bulungi bwe yagamba nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi . . . Naye mweterekere eby’obugagga mu ggulu.” (Mat. 6:19, 20) Lowooza ku Maria.

10 Maria yatandika okuzannya omuzannyo gwa goofu nga tannaba na kutandika kusoma. Yeeyongera okuzannya omuzannyo ogwo ne bwe yali mu siniya era n’afuna sikaala okugenda ku yunivasite. Yali anyumirwa nnyo okuzannya goofu, era yalina ekiruubirirwa eky’okufuula omuzannyo ogwo omulimu gwe. Maria yatandika okuyiga Bayibuli era yayagala nnyo amazima ge yali ayiga. Yasanyuka nnyo olw’enkyukakyuka amazima ze gaamusobozesa okukola. Yagamba nti: “Gye nnakoma okutuukanya endowooza yange n’enneeyisa yange n’ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli, gye nnakoma okuba omusanyufu.” Maria yakiraba nti kyandimubeeredde kizibu nnyo okuluubirira eby’obugagga eby’omwoyo n’eby’omubiri mu kiseera kye kimu. (Mat. 6:24) Okusobola okugula amazima, yalekayo ekiruubirirwa kye yalina eky’okufuula omuzannyo gwa goofu omulimu gwe n’eky’okufuna eby’obugagga n’ettutumu. Okugula amazima kisobozesezza Maria okuweereza nga payoniya era agamba nti alina obulamu obusingayo okuleeta essanyu.

11. Bwe tugula amazima, kiki ekiyinza okutuuka ku nkolagana yaffe n’abantu abamu?

11 Enkolagana gye tulina n’abalala. Bwe tusalawo okutambuliza obulamu bwaffe ku mazima agali mu Bayibuli, enkolagana gye tulina ne mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe eyinza okukyuka. Lwaki? Bwe yali asabira abagoberezi be, Yesu yagamba nti: “Batukuze ng’okozesa amazima; ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17; obugambo obuli wansi.) Ekigambo “batukuze” era kisobola okutegeeza “baawulewo.” Bwe tukkiriza amazima, twawulibwa ku nsi kubanga tuba tetukyatambulira ku mitindo gyayo. Abantu batandika okututunuulira mu ngeri endala, kubanga tuba tweyisa mu ngeri ya njawulo. Tuba tutambuliza obulamu bwaffe ku mazima agali mu Bayibuli. Wadde nga tetwagala kuleetawo njawukana, abamu ku mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutukyawa oba okutuyigganya olw’enzikiriza yaffe. Kino tekitwewuunyisa. Yesu yagamba nti: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:36) Naye era yagamba nti emiganyulo gye tufuna mu kugula amazima gisingira wala nnyo ebintu byonna bye tuyinza okuba nga twefiiriza okugagula.​—Soma Makko 10:28-30.

12. Kintu ki omusajja omu Omuyudaaya kye yeefiiriza okusobola okugula amazima?

12 Omusajja omu Omuyudaaya ayitibwa Aaron yayigirizibwa okuviira ddala mu buto nti erinnya lya Katonda terisaanidde kwatulwa. Naye Aaron yali ayagala nnyo okumanya amazima. Aaron yasanyuka nnyo omu ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe yamuyamba okukiraba nti bw’ogatta ennukuta enjatuza mu nnukuta ez’Olwebbulaniya ennya ensirifu ezikiikirira erinnya lya Katonda, erinnya eryo osobola okulyatula nga “Yakuwa.” Nga musanyufu nnyo, Aaron yagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okutegeeza abasomesa b’eddiini ku kintu ekyo ekirungi ennyo kye yali azudde. Engeri gye beeyisaamu Aaron yali tagisuubira. Mu kifo ky’okusanyuka okuyiga amazima agakwata ku linnya lya Katonda, baamuwandulira amalusu era ne batandika okumuboola. N’ab’eŋŋanda ze nabo baamunyiigira. Wadde kyali kityo, Aaron yeeyongera okugula amazima era yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa. Okufaananako Aaron, naffe okusobola okugula amazima, tuli beetegefu okwefiiriza enkolagana gye tulina ne mikwano gyaffe awamu n’ab’eŋŋanda zaffe.

13, 14. Nkyukakyuka ki ze tulina okukola mu ndowooza yaffe ne mu nneeyisa yaffe okusobola okugula amazima? Waayo ekyokulabirako.

13 Endowooza embi n’enneeyisa embi. Okusobola okukkiriza amazima n’okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Bayibuli, tulina okuba abeetegefu okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tulowoozaamu ne gye tweyisaamu. Omutume Peetero yagamba nti: “Ng’abaana abawulize, mulekere awo okugoberera okwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya, naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna.” (1 Peet. 1:14, 15) Okusobola okugula amazima, abantu abaali mu kibuga ky’e Kkolinso ekyali ekyonoonefu baalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu ngeri gye baali beeyisaamu. (1 Kol. 6:9-11) Ne leero, okusobola okugula amazima, abantu bangi baleseeyo enneeyisa embi. Ate era Peetero yagamba Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kye nti: “Ekiseera ekyayita kyabamala okukola ebyo amawanga bye gaagala, bwe mwatambuliranga mu bikolwa eby’obugwagwa, mu kwegomba okubi awatali kwekomako, mu kwekamirira omwenge, mu binyumu, mu kunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya, ne mu kusinza ebifaananyi okw’obujeemu.”​—1 Peet. 4:3.

14 Devynn ne Jasmine baali bamaze emyaka mingi nga batamiivu. Wadde nga Devynn yalina obumanyirivu mu kubalirira ebitabo, omwenge gwali gumulemesezza okunyweza omulimu gwonna gwe yabanga afunye. Ate ye Jasmine yali amanyiddwa ng’omuntu ow’obusungu era akola ebikolwa eby’obukambwe. Lumu Jasmine bwe yali atambula ku luguudo ng’atamidde, yasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa babiri abaminsani. Abaminsani abo baakola enteekateeka okumuyigiriza Bayibuli, naye bwe baagenda mu maka ga Devynn baasanga bombi Jasmine ne Devynn batamidde. Jasmine ne Devynn baali tebakisuubira nti abaminsani abo baali basobola okubalowoozaako ne bajja ewaabwe. Naye abaminsani bwe baddayo omulundi omulala baabasanga tebatamidde. Okuviira ddala ku mulundi gwe baasooka okusoma, Jasmine ne Devynn baali bayizi ba Bayibuli banyiikivu era baatandika okukolera ku ebyo bye baali bayiga. Mu myezi esatu gyokka baali bamaze okwekutula ku muze ogw’okunywa omwenge era baalongoosa obufumbo bwabwe. Enkyukakyuka ze baakola zaamanyibwa abantu bangi era ekyo kyaviirako abantu bangi ku kyalo kyabwe okuyiga amazima.

15. Ekimu ku bintu ebisinga okuba ebizibu okuleka okusobola okugula amazima kye kiruwa, era lwaki?

15 Emikolo n’obulombolombo ebikontana ne Bayibuli. Okulekayo obulombolombo n’emikolo ebikontana ne Bayibuli kye kimu ku bintu ebisingayo obuzibu okukola okusobola okugula amazima. Wadde ng’abamu kiyinza okubanguyira okulekayo emikolo n’obulombolombo obwo, abalala kiyinza okubazibuwalira okukikola olw’okutya ab’eŋŋanda zaabwe, bakozi bannaabwe, ne mikwano gyabwe. Ekyo kiyinza okubeera ekizibu ennyo okukola naddala singa akalombolombo kakwata ku kujjukira ab’eŋŋanda abaafa. (Ma. 14:1) Ekyokulabirako ky’abo abaayoleka obuvumu ne balekayo obulombolombo ng’obwo kisobola okutuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Lowooza ku ekyo abantu abamu abaali mu Efeso mu kyasa ekyasooka kye baakola.

16. Kiki abantu abamu mu Efeso kye baakola okusobola okugula amazima?

16 Ekibuga Efeso kyali kimanyiddwa nnyo olw’ebikolwa eby’obusamize. Kiki abantu abamu mu Efeso abaali beenyigira mu by’obusamize kye baakola okusobola okugula amazima? Bayibuli egamba nti: “Bangi ku abo abaakolanga eby’obufumu baaleeta ebitabo byabwe ne babyokera mu maaso g’abantu bonna. Bwe baabalirira omuwendo gwa ssente ezibigula, gwali ebitundu bya ffeeza 50,000. Bwe kityo ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.” (Bik. 19:19, 20) Abakristaayo abo abeesigwa baalekayo ebintu ebyo wadde nga tekyali kyangu, era baafuna emikisa mingi.

17. (a) Ebimu ku bintu bye twerekereza okusobola okugula amazima bye biruwa? (b) Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

17 Biki bye weefiiriza okusobola okugula amazima? Ffenna twawaayo ebiseera okusobola okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Abamu beerekereza ebintu n’enkolagana gye baalina n’abalala okusobola okugula amazima. Abalala baakola enkyukakyuka mu ndowooza yaabwe ne mu nneeyisa yaabwe era baalekayo obulombolombo n’emikolo ebikontana n’Ebyawandiikibwa. Ka kibe ki kye twefiiriza, tuli bakakafu nti amazima agali mu Bayibuli gasingira wala ebintu ebyo byonna bye twefiiriza. Amazima ago gaatuyamba okufuna ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo, ng’eno ye nkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tufumiitiriza ku miganyulo egiva mu kumanya amazima, kitwewuunyisa okuba nti waliwo abasalawo okugatunda. Ekyo kibaawo kitya? Era omuntu ayinza atya okwewala okukola ensobi eyo ey’amaanyi? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 8 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.