Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kirabo Ki Kye Tusobola Okuwa Yakuwa?

Kirabo Ki Kye Tusobola Okuwa Yakuwa?

YESU yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Amazima ago gakwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Lwaki? Yakuwa atuwadde ebintu bingi ebituleetera essanyu. Naye tusobola n’okufuna essanyu erisingawo singa tubaako kye tuwa Yakuwa. Kiki kye tusobola okuwa Yakuwa? Engero 3:9 wagamba nti: “Ossangamu Yakuwa ekitiibwa n’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo.” Ebintu byaffe eby’omuwendo bizingiramu ebiseera byaffe, ebitone bye tulina, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga byaffe. Bwe tukozesa ebintu ebyo okuwagira okusinza okw’amazima, tuba tuwa Yakuwa ekirabo era ekyo kituleetera essanyu lingi.

Kiki ekiyinza okutuyamba obuteerabira kuwa Yakuwa ku by’obugagga byaffe? Omutume Pawulo yagamba Abakkolinso ‘babeeko kye baterekawo’ eky’okuwaayo. (1 Kol. 16:2) Kiki ky’oyinza okukola bw’oba ng’oyagala okumanya engeri gy’oyinza okuwaayo okusinziira ku kitundu ky’olimu? Laba akasanduuko wammanga.

Mu nsi ezimu tekisoboka kuwaayo ng’okozesa Intaneeti. Naye engeri endala ez’okuwaayo ziragibwa ku mukutu gwaffe. Mu nsi ezimu ku mukutu gwaffe kuliko ekiwandiiko ekiddamu ebibuuzo ebikwata ku kuwaayo abantu bye batera okwebuuza.