Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ofuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Yakuwa?

Ofuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Yakuwa?

“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya”​—BAR. 12:2.

ENNYIMBA: 56, 123

1, 2. Bwe tugenda tweyongera okukula mu by’omwoyo, kiki kye tuyiga okukola? Waayo ekyokulabirako.

OMWANA omuto aweebwa ekirabo era bazadde be bamugamba nti, “Weeyanze.” Omwana oyo yeeyanza, wadde ng’ekyo tekiva ku mutima gwe. Naye bw’agenda akula, atandika okutegeera ensonga lwaki bazadde be bakitwala nti kikulu okwebaza abalala nga baliko ekirungi kye bakukoledde. Kati atandika okwebaza okuviira ddala ku mutima. Lwaki? Kubanga aba ayize okusiima abalala.

2 Mu ngeri y’emu, bwe twali twakatandika okuyiga amazima, twayiga nti kikulu okugondera amateeka ga Yakuwa. Naye bwe tugenda tweyongera okukula mu by’omwoyo, tweyongera okutegeera endowooza ya Yakuwa, kwe kugamba, tutegeera ebyo by’ayagala ne by’atayagala, n’engeri gy’atunuuliramu ebintu ebitali bimu. Bwe tuyiga okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira era ne tuba nga bye tusalawo ne bye tukola bituukana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala, tuba tutuukanyizza endowooza yaffe n’eyiye.

3. Lwaki kiyinza okutubeerera ekizibu okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa?

3 Wadde nga kirungi nnyo okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa, oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu olw’obutali butuukirivu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutubeerera ekizibu okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku mitindo gy’empisa, ku by’obugagga, ku mulimu gw’okubuulira, ku kukozesa obubi omusaayi, oba ku kintu ekirala kyonna. Kiki kye tusaanidde okukola? Tuyinza tutya okweyongera okutuukanya endowooza yaffe n’endowooza ya Yakuwa? Era okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa kyandikutte kitya ku ebyo bye tukola kati ne bye tunaakola mu biseera eby’omu maaso?

OKUFUNA ENDOWOOZA YA KATONDA

4. Kiki ekizingirwa mu ‘kukyusa endowooza yaffe’?

4 Soma Abaruumi 12:2. Mu lunyiriri olwo, omutume Pawulo yannyonnyola ekyo ekizingirwa mu kutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa. Mu kitundu ekyayita twakiraba nti ‘okusobola okulekera awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno,’ tulina okwewala okuyingiza mu birowoozo byaffe endowooza z’ensi. Naye era Pawulo yagamba nti tulina ‘okukyusa endowooza yaffe.’ Kino kizingiramu okwesomesa Ekigambo kya Katonda nga tulina ekigendererwa eky’okumanya endowooza Katonda gy’alina ku bintu ebitali bimu, okugifumiitirizaako, n’okutuukanya endowooza yaffe n’eyiye.

5. Njawulo ki eriwo wakati w’okusoma n’okwesomesa?

5 Okwesomesa kisingawo ku kusoma obusomi ku kintu era kisingawo ku kusazaako obusaza ku by’okuddamu. Bwe tuba twesomesa, tufumiitiriza ku ngeri ebyo bye tusoma gye bituyamba okutegeera ebikwata ku Yakuwa, ku makubo ge, ne ku ndowooza ye. Tufuba okutegeera ensonga lwaki Yakuwa atulagira okukola ekintu ekimu ate ekirala n’akitugaana. Ate era tufumiitiriza ku nkyukakyuka ze twetaaga okukola mu bulamu bwaffe ne mu ndowooza yaffe. Wadde ng’ebintu ebyo byonna awamu tetuyinza kubifumiitirizaako buli lwe tuba twesomesa, tuganyulwa nnyo bwe tuwaayo ekiseera ekiwanvuko okufumiitiriza ku bye tuba tusomye.​—Zab. 119:97; 1 Tim. 4:15.

6. Bwe tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda, kiki ekibaawo?

6 Bwe tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda obutayosa, waliwo ekintu ekirungi ekibaawo. Tutandika okuba abakakafu nti endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu etuukiridde. Tutandika okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira, n’okukiraba nti endowooza ye ye ntuufu. Endowooza yaffe ‘ekyuka,’ era mpolampola tutandika okulowooza nga Yakuwa.

ENDOWOOZA YAFFE ERINA KINENE KY’EKOLA KU BIKOLWA BYAFFE

7, 8. (a) Yakuwa atwala atya eby’obugagga? (Laba ebifaananyi ku lupapula 23.) (b) Bwe tuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, kiki kye tujja okukulembezanga?

7 Ebyo bye tulowooza tebikwata ku ngeri gye tuwuliramu kyokka, naye era bikwata ne ku ebyo bye tukola. (Mak. 7:21-23; Yak. 2:17) Ka tulabeyo ebyokulabirako ebisobola okutuyamba okutegeera ensonga eyo. Ng’ekyokulabirako, ebitabo by’Enjiri bituyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku by’obugagga. Yakuwa yalonda Yusufu ne Maliyamu okukuza Omwana we wadde nga tebaali bagagga. (Leev. 12:8; Luk. 2:24) Yesu bwe yazaalibwa, Maliyamu ‘yamuzazika mu lutiba ebisolo mwe biriira, kubanga tebaafuna wa kusula mu nnyumba y’abagenyi.’ (Luk. 2:7) Singa Yakuwa yali ayagala, yandibadde akakasa nti Yesu azaalibwa mu kifo ekisingawo obulungi. Naye Yakuwa kye yali atwala ng’ekikulu kwe kuba nti Omwana we azaalibwa mu maka agakulembeza eby’omwoyo.

8 Ebyo Bayibuli by’etubuulira ku kuzaalibwa kwa Yesu bituyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atwalamu eby’obugagga. Abazadde abamu bafaayo nnyo okulaba ng’abaana baabwe bafuna ebintu ebisingayo obulungi ne bwe kiba ng’ekyo kikosa abaana abo mu by’omwoyo. Kyeyoleka lwatu nti ebintu eby’omwoyo Yakuwa by’atwala ng’ebisinga obukulu. Naawe olina endowooza ya Yakuwa eyo? Ebikolwa byo biraga ki?​—Soma Abebbulaniya 13:5.

9, 10. Tuyinza tutya okukiraga nti tulina endowooza ya Yakuwa bwe kituuka ku kwesittaza abalala?

9 Ekyokulabirako ekirala ye ngeri Yakuwa gy’atwalamu eky’okwesittaza abalala. Yesu yagamba nti: “Buli eyeesittaza omu ku bato bano abalina okukkiriza, kyandisinzeeko singa asibibwa mu bulago olubengo olusikibwa endogoyi n’asuulibwa mu nnyanja.” (Mak. 9:42) Ebigambo ebyo biraga nti eky’okwesitazza abalala Yesu yali akitwala nga kibi kya maanyi! Okuva bwe kiri nti Yesu ayoleka engeri za Kitaawe, kyeyoleka kaati nti ne Yakuwa akitwala nga kibi kya maanyi omuntu okukola ebintu ebyesittaza abalala naye nga teyeefiirayo.​—Yok. 14:9.

10 Tulina endowooza ya Yakuwa ne Yesu ku nsonga eyo? Ebikolwa byaffe biraga ki? Ng’ekyokulabirako, watya singa tulina engoye ze twagala okwambala oba nga twagala okwekolako mu ngeri emu naye ng’ekyo kiyinza okubaako be kyesittaza mu kibiina oba okuleetera abalala okufuna ebirowoozo ebibi. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kunaatuleetera okulekayo ebintu ebyo bye twagala?​—1 Tim. 2:9, 10.

11, 12. Okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bintu ebibi n’okwefuga kituyamba kitya okwewala okukola ebintu ebibi?

11 Ekyokulabirako eky’okusatu: Yakuwa akyawa obutali butuukirivu. (Is. 61:8) Wadde nga Yakuwa akimanyi nti oluusi tufuna ebirowoozo ebikyamu olw’okuba tetutuukiridde, atukubiriza okukyawa ebintu ebibi. (Soma Zabbuli 97:10.) Okufumiitiriza ku nsonga lwaki Yakuwa akyawa ebintu ebibi, kijja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okwewala okukola ebintu ebibi.

12 Bwe tufuba okuba n’endowooza ya Yakuwa ku butali butuukirivu kijja kutuyamba okutegeera ebikolwa ebitasaana ne bwe biba nga tebyogerwako butereevu mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, enzina ey’omuntu okuzinira ku bisambi by’omulala egenda yeeyongera okucaaka mu nsi. Abamu bayinza okugamba nti enzina eyo si mbi kubanga omuntu aba teyeegasse na mulala. * Naye omuntu akola ekintu ng’ekyo aba ayoleka endowooza ya Yakuwa, oyo akyawa ebibi ebya buli ngeri? Bwe tuyiga okwefuga era ne tukyayira ddala ebyo Yakuwa by’akyawa, kijja kutuyamba okwesambira ddala ebikolwa ebibi.​—Bar. 12:9.

LOWOOZA NGA BUKYALI KU KY’ONOOKOLA

13. Lwaki tusaanidde okulowooza nga bukyali ku ngeri gye tuyinza okukolera ku ndowooza ya Yakuwa mu mbeera ze tuyinza okwolekagana nazo?

13 Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okukolera ku ndowooza ya Yakuwa mu mbeera ze tuyinza okwolekagana nazo mu biseera eby’omu maaso. Singa tutuuka mu mbeera ezo nga kitwetaagisa okusalawo amangu, tujja kuba tumanyi ekituufu eky’okukola. (Nge. 22:3) Ka tulabeyo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli.

14. Yusufu okugaana okwegatta ne muka Potifaali kituyigiriza ki?

14 Muka Potifaali bwe yagezaako okusendasenda Yusufu yeegatte naye, ekyo Yusufu yakigaanirawo. Ekyo kiraga nti Yusufu yali afumiitirizza nga bukyali ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu eky’abafumbo okuba abeesigwa buli omu eri munne. (Soma Olubereberye 39:8, 9.) Ate era mu kugamba muka Potifaali nti, “Nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?” Yusufu yakiraga nti yalina endowooza ya Yakuwa. Ate ffe? Watya singa mukozi munno atandika okukola ebintu ebiraga nti akwegwanyiza. Oba watya singa wabaawo asindika ku ssimu yo obubaka oba ekifaananyi ekisiikuula okwegomba okw’okwegatta? * Kiba kyangu okumanya ekituufu eky’okukola mu mbeera ng’eyo singa oba walowooza dda ku ndowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ng’ebyo era nga wasalawo dda eky’okukola.

15. Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, ng’Abebbulaniya abasatu bwe baakola?

15 Ate lowooza ku Bebbulaniya abasatu Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Okuba nti baali bamalirivu obutasinza kifaananyi ekya zzaabu Nebukadduneeza kye yassaawo n’obuvumu bwe baayoleka nga baddamu kabaka, kiraga nti baali baalowooza dda ku bizingirwa mu kuba omwesigwa eri Yakuwa. (Kuv. 20:4, 5; Dan. 3:4-6, 12, 16-18) Watya singa mukama wo ku mulimu akugamba okubaako ssente z’owaayo bategeke omukolo ogulina akakwate n’eddiini ey’obulimba. Kiki kye wandikoze? Mu kifo ky’okusooka okulinda embeera ng’ezo okubaawo, lwaki tofumiitiriza kati ku ndowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ng’ebyo? Era singa ekiseera kituuka embeera ezo ne zikutuukako, ojja kuba omanyi ekituufu eky’okukola n’eky’okwogera, ng’Abebbulaniya abasatu bwe baakola.

Wanoonyereza, wajjuzaamu kaadi y’omusaayi, era wayogerako n’omusawo wo? (Laba akatundu 16)

16. Okumanya obulungi endowooza ya Yakuwa kiyinza kitya okutuyamba mu mbeera nga kitwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amangu?

16 Okulowooza nga bukyali ku bukulu bw’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa kisobola okutuyamba ne mu mbeera nga twetaaga okuweebwa obujjanjabi mu bwangu. Wadde nga tetukkiriza kuteekebwamu musaayi oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu, ezimu ku nzijanjaba ezizingiramu okukozesa omusaayi zitwetaagisa okwesalirawo kinnoomu nga tugoberera emisingi gya Bayibuli egiraga endowooza ya Yakuwa. (Bik. 15:28, 29) Kyeyoleka lwatu nti ekiseera ekituufu eky’okusalawo ku nzijanjaba ezo si kyekyo nga tuli mu bulumi mu ddwaliro era nga tupikirizibwa okusalawo mu bwangu. Kati kye kiseera ekituufu okunoonyereza, okujjuzaamu ekiwandiiko ekikwata ku bujjanjabi ekiraga ennyimirira yo ku musaayi, n’okwogerako n’omusawo wo. *

17-19. Lwaki kikulu okumanya endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu kati? Waayo ekyokulabirako eky’embeera gye twetaaga okweteekerateekera kati.

17 Ekisembayo, lowooza ku ngeri Yesu gye yaddamu mu bwangu nga Peetero amugambye nti: “Weesaasire Mukama wange.” Yesu ateekwa okuba yali yafumiitiriza dda ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole ne ku bunnabbi obwali bwogera ku bulamu bwe ku nsi ne ku kufa kwe. Ekyo kyamuyamba okuba omumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa n’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lwaffe.​—Soma Matayo 16:21-23.

18 Leero Katonda ayagala abantu be okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye n’okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gwe. (Mat. 6:33; 28:19, 20; Yak. 4:8) Okufaananako Yesu, naffe abantu abatalina bigendererwa bibi bayinza okugezaako okutuwugula. Ng’ekyokulabirako, watya singa mukama wo ku mulimu akugamba nti agenda kukukuza era n’akusuubiza okukwongeza omusaala naye ng’ekyo kijja kutaataaganya enteekateeka yo ey’eby’omwoyo? Oba watya singa okyasoma naye ne bakusuubiza okukutwala okusomera awalala, naye ng’ojja kuba tosula waka. Wandisoose kulinda mbeera eyo n’ebaawo n’olyoka onoonyereza era ne weebuuza ku b’awaka, oboolyawo ne ku bakadde, olwo n’olyoka osalawo? Lwaki tofuba kumanya ndowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo kati era n’otuukanya endowooza yo n’eyiye? Singa ekiseera kituuka embeera eyo n’ebaawo, ojja kukiraba nti si kizibu kusalawo kituufu kya kukola. Oba wamala ddala okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, ng’oli mumalirivu mu mutima gwo, era nga ky’osigazza kwe kukola ekyo kye wasalawo edda.

19 Oboolyawo oyinza n’okulowooza ku mbeera endala eziyinza okugwawo nga tozisuubira. Kyo kituufu nti tetusobola kwetegekera buli mbeera. Naye bwe tukozesa ebiseera bye tumala nga twesomesa ne tufumiitiriza ku ndowooza ya Yakuwa, kijja kutubeerera kyangu okujjukira ebyo bye tuba twasoma n’okubikolerako mu mbeera eba ezzeewo. N’olwekyo, ka tufubenga okumanya endowooza ya Yakuwa, tutuukanye endowooza yaffe n’eyiye, era tufumiitirize ku ngeri endowooza eyo gy’eyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi kati ne mu biseera eby’omu maaso.

ENDOWOOZA YA YAKUWA N’EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO

20, 21. (a) Lwaki eddembe eritali lya nkomeredde lye tunaaba nalyo mu nsi empya lijja kutuleetera essanyu? (b) Tuyinza tutya okufuna ku ssanyu eryo kati?

20 Twesunga nnyo ensi empya. Abasinga obungi ku ffe twesunga okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi abantu bajja kuba tebakyabonaabona. Naye ne mu kiseera ekyo abantu bajja kweyongera okukozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Buli muntu ajja kwesalirawo ebyo by’ayagala n’ebimunyumira.

21 Kya lwatu nti eddembe eryo terijja kuba lya nkomeredde. Abantu abawombeefu abanaaba mu nsi empya bwe banaaba baagala okusalawo ekituufu n’ekikyamu bajja kusalawo nga bagoberera amateeka ga Yakuwa n’endowooza ye. Ekyo kijja kuleetera abantu essanyu n’emirembe mingi. (Zab. 37:11) Ne mu kiseera kino, tusobola okufuna ku ssanyu eryo singa tufuba okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa.

^ lup. 12 Mu nzina eno, “omuntu kumpi ali obukunya, atuula ku bisambi by’omulala n’azina ng’amwekulukuunyako.” Okusinziira ku mbeera ebaawo, ekyo kiyinza okutwalibwa ng’ekikolwa eky’obugwenyufu era nga kyetaagisa akakiiko akalamuzi okutunula mu nsonga eyo. Omukristaayo eyeenyigidde mu nzina eyo asaanidde okutuukirira abakadde bamuyambe.​—Yak. 5:14, 15.

^ lup. 14 Omuntu okusindikira abalala obubaka, ebifaananyi, oba vidiyo ez’obuseegu ng’akozesa essimu kiyitibwa sexting. Okusinziira ku ebyo ebiba bizingirwamu kiyinza okwetaagisa akakiiko akalamuzi okutunula mu nsonga eyo. Mu mbeera ezimu, abatiini abeenyigira mu muze ogwo bagguddwako omusango ogw’okukabasanya abalala. Okumanya ebisingawo genda ku jw.org osome ekitundu “Young People Ask​What Should I Know About Sexting?” (Genda wansi wa BIBLE TEACHINGS > TEENAGERS.) Oba laba ekitundu ekiri ku lupapula 4-5 mu Awake! eya Noovemba 2013.

^ lup. 16 Emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba mu nsonga eno giragibwa mu bitabo byaffe. Ng’ekyokulabirako, laba akatabo Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 246-249.