Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!

Weesige Yakuwa Obeere Mulamu!

“Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo.”​—NGE. 3:5.

ENNYIMBA: 3, 8

1. Lwaki ffenna twetaaga okubudaabudibwa?

FFENNA twetaaga okubudaabudibwa. Oboolyawo tulina ebitweraliikiriza oba ng’ebintu tebitambula bulungi nga bwe twali tusuubira. Tuyinza okuba nga tulina obulimi obujjawo olw’okukaddiwa, olw’obulwadde, oba olw’okufiirwa omuntu waffe. Abamu ku ffe tuyigganyizibwa. Okugatta ku ekyo ebikolwa eby’obukambwe byeyongedde nnyo. Kyo kituufu nti tukimanyi nti ‘ebiseera ebizibu’ bye tulimu biraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero” era nti buli lukya tweyongera okusemberera ensi empya. (2 Tim. 3:1) Wadde kiri kityo, tuyinza okuba nga tumaze ekiseera kiwanvu nga tulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa era ng’ebizibu byaffe byeyongera bweyongezi. Kati olwo ani ayinza okutubudaabuda?

2, 3. (a) Kiki kye tumanyi ku Kaabakuuku? (b) Lwaki tugenda kwekenneenya ekitabo kya Kaabakuuku?

2 Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, tugenda kwekenneenya ekitabo kya Kaabakuuku. Wadde ng’Ebyawandiikibwa tebitubuulira bingi bikwata ku bulamu bwa Kaabakuuku n’ebyo bye yakola, ekitabo ekiyitibwa erinnya lye kirimu ebigambo ebizzaamu amaanyi. Erinnya Kaabakuuku liyinza okuba nga litegeeza “Okuwambaatira n’Amaanyi.” Ebigambo ebyo biyinza okuba nga bitegeeza nti Yakuwa awambaatira abaweereza be okusobola okubabudaabuda oba nga bitegeeza engeri abaweereza be gye bamwekwatako olw’okuba bamwesiga. Kaabakuuku yayogera ne Katonda n’amubuuza ebibuuzo ebitali bimu. Yakuwa yaddamu ebibuuzo Kaabakuuku bye yamubuuza era n’amuluŋŋamya okuwandiika emboozi eyali wakati we naye kubanga yali akimanyi nti twandigiganyuddwamu.​—Kaab. 2:2.

3 Ebyo byokka Ebyawandiikibwa bye bitutegeeza ku Kaabakuuku ye mboozi eyo eyaliwo wakati wa Katonda ne nnabbi we oyo eyali asobeddwa. Ekitabo kya Kaabakuuku kye kimu ku ‘bintu byonna ebyawandiikibwa edda’ ne biteekebwa mu Bayibuli, “tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Tuyinza tutya kinnoomu okuganyulwa mu kitabo kya Kaabakuuku? Ekitabo ekyo kituyamba okumanya kye kitegeeza okwesiga Yakuwa. Ate era ekitabo kya Kaabakuuku kituyamba okukiraba nti kisoboka okuba n’emirembe ku mutima wadde nga twolekagana n’ebizibu. Kati ka twekenneenye ebiri mu kitabo ekyo.

KOOWOOLA YAKUWA

4. Lwaki Kaabakuuku yali asobeddwa?

4 Soma Kaabakuuku 1:2, 3Kaabakuuku yaliwo mu kiseera ekizibu ennyo. Yanakuwala nnyo olw’ebikolwa ebibi n’ebikolwa eby’obukambwe ebyali bikolebwa abantu. Kaabakuuku yeebuuzanga nti: ‘Abantu bano ababi baliggibwawo ddi? Lwaki Yakuwa abaleseewo okumala ebbanga ddene?’ Kaabakuuku yawulira ng’asobeddwa. Ng’ali mu mbeera eyo, yakoowoola Yakuwa okubaako ky’akolawo. Kaabakuuku ayinza okuba nga yatandika okulowooza nti Yakuwa yali tafaayo. Yalaba nga Katonda eyali aluddewo okubaako ky’akolawo. Naawe oluusi bw’otyo b’owulira?

5. Kintu ki ekikulu kye tuyiga mu ebyo bye tusoma mu kitabo kya Kaabakuuku? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)

5 Kaabakuuku yali takyesiga Yakuwa? Yali alekedde awo okukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa? Nedda! Okuba nti ebyali bimweraliikiriza yabitegeeza Yakuwa so si bantu, kiraga nti yali akyesiga Yakuwa. Naye yali asobeddwa kubanga yali alaba nga Katonda eyali aluddewo okubaako ky’akolawo era nga yeebuuza ensonga lwaki Yakuwa yali amulese okuyita mu mbeera eyo enzibu ennyo. Yakuwa okuluŋŋamya Kaabakuuku okuwandiika ebintu ebyo ebyali bimweraliikiriza yali atuyigiriza ensonga eno enkulu: Tetusaanidde kutya kubuulira Yakuwa bitweraliikiriza oba bye twebuuza. Yakuwa atukubiriza okumubuulira ebituli ku mutima. (Zab. 50:15; 62:8) Engero 3:5 watukubiriza ‘okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna n’obuteesigama ku kutegeera kwaffe.’ Kaabakuuku yakolera ku bigambo ebyo mu bulamu bwe.

6. Lwaki kikulu okusaba Yakuwa?

6 Kaabakuuku yali yeesiga Yakuwa, Mukwano gwe era Kitaawe, era yabaako ky’akolawo okumusemberera. Kaabakuuku bwe yali yeeraliikirira teyeesigama ku kutegeera kwe. Yasaba Yakuwa n’amutegeeza engeri gye yali awuliramu n’ebyo ebyali bimweraliikiriza. Kaabakuuku yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yakuwa, Oyo awulira okusaba, atukubiriza okumwesiga tumubuulire ebyo byonna ebiba bitweraliikiriza. (Zab. 65:2) Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwambaatira okuyitira mu bulagirizi bw’atuwa. (Zab. 73:23, 24) Ajja kutuyamba okumanya endowooza ye ka tube nga twolekagana na kizibu ki. Okusaba Yakuwa ne tumutegeeza ebituli ku mutima kye kimu ku bintu ebiraga nti tumwesiga.

WULIRIZA YAKUWA

7. Kiki Yakuwa kye yakolawo nga Kaabakuuku amutegeezezza ebyali bimweraliikiriza?

7 Soma Kaabakuuku 1:5-7. Oluvannyuma lw’okutegeeza Yakuwa ebyali bimweraliikiriza, Kaabakuuku ayinza okuba nga yeebuuza ekyo Yakuwa kye yali agenda okukola. Olw’okuba Yakuwa Katonda alumirirwa abalala, teyamunenya olw’ebibuuzo bye yabuuza. Katonda yali akimanyi nti obulumi Kaabakuuku bwe yalina ku mutima bwe bwamuleetera okubuuza ebibuuzo ebyo. Bwe kityo, Yakuwa yategeeza Kaabakuuku ekyo kye yali agenda okukola Abayudaaya abajeemu mu kiseera ekitali kya wala. Kirabika Kaabakuuku ye muntu Yakuwa gwe yasooka okutegeeza nti ebikolwa ebyo eby’obukambwe byali binaatera okukoma.

8. Lwaki ekyo Yakuwa kye yaddamu Kaabakuuku, Kaabakuuku yali takisuubira?

8 Yakuwa yalaga Kaabakuuku nti yali agenda kubaako ky’akolawo. Yali agenda kukozesa Abakaludaaya oba Abababulooni okubonereza abantu ba Yuda abaali ababi. Mu kugamba nti, ekyo kyandibaddewo “mu nnaku zammwe,” Yakuwa yalaga nti omusango gwe yali asaze gwandituukiriziddwa mu kiseera kya Kaabakuuku oba mu kiseera ky’Abayisirayiri ab’omulembe gwe. Ekyo Yakuwa kye yaddamu, kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Kaabakuuku. Abababulooni baali bakambwe nnyo n’okusinga Abayisirayiri, abaali bamanyi emitindo gya Yakuwa. Kaabakuuku ayinza okuba nga yeebuuza ensonga lwaki Yakuwa yali agenda kukozesa eggwanga ly’abantu abatamusinza era abakambwe okuleeta akabi ku bantu be. Ekyo kyandiviiriddeko okubonaabona okweyongera mu Yuda. * Wandiwulidde otya oluvannyuma lw’okuwulira ekyo Yakuwa kye yagamba Kaabakuuku?

9. Bibuuzo ki ebirala nnabbi Kaabakuuku bye yabuuza?

9 Soma Kaabakuuku 1:12-14, 17. Kaabakuuku yakitegeera nti Yakuwa yali agenda kukozesa Babulooni okubonereza abantu ababi abaali bamwetoolodde, naye era yali akyalina bye yeebuuza. Wadde kyali kityo, yeeyongera okuyita Yakuwa “Olwazi” lwe. (Ma. 32:4; Is. 26:4) Kaabakuuku yali mumalirivu okweyongera okwesiga Yakuwa, Katonda ow’okwagala era ow’ekisa. Bwe kityo teyatya kweyongera kubuuza Yakuwa bibuuzo birala nga bino: Lwaki Katonda yali agenda kuleka embeera mu Yuda okweyongera okwonooneka? Lwaki yali tagenda kubaako ky’akolawo mu bwangu? Lwaki Omuyinza w’Ebintu Byonna yali agenda kugumiikiriza ebikolwa ebisingawo n’okuba ebibi? Lwaki ‘yandisirise busirisi’ ng’ebikolwa ebibi byeyongera? Yakuwa ‘Mutukuvu’; ‘amaaso ge malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi.’

10. Oluusi tuyinza tutya okuwulira nga Kaabakuuku?

10 Naffe oluusi tuyinza okuwulira nga Kaabakuuku. Tuwuliriza Yakuwa ky’agamba. Tumwesiga era ne tusoma Ekigambo kye, era ekyo kituwa essuubi. Ekibiina kye kyeyongera kutuyamba okutegeera ebintu Yakuwa by’atusuubizza. Wadde kiri kityo, tuyinza okusigala nga twebuuza, ‘Okubonaabona kulikoma ddi?’ Kiki kye tuyigira ku ekyo Kaabakuuku kye yaddako okukola?

LINDIRIRA YAKUWA

11. Kiki Kaabakuuku kye yamalirira okukola oluvannyuma lw’okuwuliriza Yakuwa?

11 Soma Kaabakuuku 2:1. Kaabakuuku okwogera ne Yakuwa kyamuyamba okufuna emirembe ku mutima. Bwe kityo yamalirira okweyongera okulindirira Yakuwa okutuusa lwe yandibaddeko ky’akolawo. Yagamba nti: “Nnindirira n’obukkakkamu olunaku olw’obuyinike.” (Kaab. 3:16) N’abaweereza ba Yakuwa abalala nabo baalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza. Ekyo kituzzaamu amaanyi naffe ne tweyongera okulindirira Yakuwa.​—Mi. 7:7; Yak. 5:7, 8.

12. Ebimu ku bintu bye tuyigira ku Kaabakuuku bye biruwa?

12 Biki bye tuyigira ku Kaabakuuku? Ekisooka, tetusaanidde kulekera awo kusaba Yakuwa, ka tube nga twolekagana na kizibu ki. Eky’okubiri, tusaanidde okuwuliriza ebyo Yakuwa by’atugamba okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina kye. Eky’okusatu, tusaanidde okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza nga tuli bakakafu nti ajja kutuwa obuweerero mu kiseera ekituufu. Bwe tweyongera okwogera ne Yakuwa, ne tumuwuliriza, era ne tumulindirira n’obugumiikiriza nga Kaabakuuku bwe yakola, naffe tujja kufuna emirembe ku mutima era ekyo kijja kutuyamba okugumira embeera. Essuubi lye tulina lijja kutuyamba okweyongera okuba abagumiikiriza, era ekyo kijja kutusobozesa okuba abasanyufu wadde nga twolekagana n’ebizibu. Essuubi lye tulina lituyamba okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu nti ajja kubaako ky’akolawo.​—Bar. 12:12.

13. Kiki Yakuwa kye yakakasa Kaabakuuku mu Kaabakuuku 2:3?

13 Soma Kaabakuuku 2:3. Okuba nti Kaabakuuku yalindirira Yakuwa kyasanyusa nnyo Yakuwa. Omuyinza w’Ebintu Byonna yali amanyi bulungi embeera enzibu Kaabakuuku gye yalimu. Bwe kityo, Katonda yamubudaabuda n’amukakasa nti ebibuuzo bye yali yeebuuza byandiddiddwamu. Mu kiseera ekitali kya wala yandibadde afuna obuweerero. Mu ngeri endala Katonda yalinga agamba Kaabakuuku nti: “Ba mugumiikiriza, nneesiga. Ŋŋenda kubaako kye nkolawo wadde ng’olaba nti nninga aluddewo!” Yakuwa yajjukiza Kaabakuuku nti yalina ekiseera kye ekigereke eky’okutuukiririzaamu ebisuubizo bye. Yakuwa yakubiriza Kaabakuuku okulindirira okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. Kya lwatu nti Kaabakuuku teyandyejjusizza kulindirira.

Lwaki tuli bamalirivu okweyongera okukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa? (Laba akatundu 14)

14. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola nga twolekagana n’ebizibu?

14 Okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza n’okussaayo omwoyo ku by’atugamba kijja kutuyamba okumwesiga era kijja kutusobozesa okuba n’emirembe ku mutima wadde nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Yesu yakiraga nti tusaanidde okwesiga Yakuwa, Katonda Omukuumi w’Ebiseera, tuleme kumalira birowoozo byaffe ku ‘biseera oba ebiro’ Katonda by’atannabikula. (Bik. 1:7) N’olwekyo ka tuleme kukoowa. Naye ka tulindirire Yakuwa nga tuli beetoowaze, nga tulina okukkiriza, era nga tuli bagumiikiriza. Ka tukozese bulungi ebiseera byaffe okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—Mak. 13:35-37; Bag. 6:9.

YAKUWA AWA OBULAMU ABO ABAMWESIGA

15, 16. (a) Bisuubizo ki ebiri mu kitabo kya Kaabakuuku? (b) Ebisuubizo ebyo bituyigiriza ki?

15 Yakuwa yasuubiza nti, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa bwesigwa bwe,” era nti “ensi erijjula okumanya okukwata ku kitiibwa kya Yakuwa.” (Kaab. 2:4, 14) Mazima ddala, abo abalindirira Yakuwa era abamwesiga bajja kufuna obulamu.

16 Lowooza ku kisuubizo ekyo ekiri mu Kaabakuuku 2:4. Ekisuubizo ekyo kikulu nnyo ne kiba nti omutume Pawulo yakijuliza emirundi esatu mu bbaluwa ze! (Bar. 1:17; Bag. 3:11; Beb. 10:38) N’olwekyo, ne bwe twolekagana na bizibu ki, tusobola okuba abakakafu nti bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tujja kulaba ebisuubizo bye nga bituukirira. Yakuwa atukubiriza okussa ebirowoozo ku bintu by’asuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso.

17. Ekitabo kya Kaabakuuku kitukakasa ki?

17 Ffenna abaliwo mu nnaku zino ez’enkomerero, tulina ekintu ekikulu kye tuyiga mu kitabo kya Kaabakuuku. Yakuwa asuubiza okuwa obulamu omuntu yenna omutuukirivu alina okukkiriza era amwesiga. Ka tweyongere okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwesiga Katonda, ka tube nga twolekagana na kizibu ki oba ka tube nga tulina ebitweraliikiriza. Okuyitira mu kitabo kya Kaabakuuku Yakuwa atukakasa nti ajja kutuyamba era nti ajja kutununula. Kyokka atukubiriza okumwesiga n’okumulindirira n’obugumiikiriza okutuusa mu kiseera kye ekigereke, lw’anaaleeta Obwakabaka bwe, era ensi yonna ejjule abantu abasanyufu era abateefu.​—Mat. 5:5; Beb. 10:36-39.

WEESIGE YAKUWA ERA BA MUSANYUFU

18. Ebigambo bya Yakuwa byakwata bitya ku Kaabakuuku?

18 Soma Kaabakuuku 3:16-19. Ebigambo bya Yakuwa byazzaamu nnyo Kaabakuuku amaanyi. Yafumiitiriza ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yali akoledde abantu be ab’edda. Ekyo kyamuyamba okwongera okwesiga Yakuwa. Yali akimanyi nti Yakuwa yandibadde abaako ky’akolawo mu bwangu! Ekyo kyabudaabuda nnyo Kaabakuuku wadde nga yali akimanyi nti yandyeyongedde okubonaabona okumala ekiseera. Okubuusabuusa Kaabakuuku kwe yalina kwaggwaawo ne yeeyongera okwesiga ennyo Yakuwa Katonda ow’obulokozi. Kaabakuuku yayogera ebimu ku bigambo ebikyasinzeeyo okwoleka obwesige mu Katonda abantu bye baali boogedde. Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti olunyiriri olwa 18 obutereevu lugamba nti “Nja kubuuka waggulu olw’essanyu lye nnina mu Mukama; nja kwetooloola olw’essanyu lye nnina mu Katonda.” Ng’ebigambo ebyo ffenna bituzzaamu nnyo amaanyi! Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa atusuubizza ebintu ebirungi era alina ky’akolawo kati okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.

19. Tuyinza tutya okubudaabudibwa nga Kaabakuuku?

19 Ekintu ekikulu kye tuyiga mu kitabo kya Kaabakuuku kwe kwesiga Yakuwa. (Kaab. 2:4) Tusobola okwesiga ennyo Yakuwa singa tunyweza enkolagana yaffe naye. Kino tusobola okukikola nga (1) tunyiikirira okumusaba, ne tumubuulira byonna ebitweraliikiriza; (2) nga tussaayo omwoyo ku Kigambo kye ne ku bulagirizi bwonna bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye; era (3) nga tumulindirira n’obugumiikiriza. Ekyo Kaabakuuku kye yakola. Wadde nga we yatandikira okwogera ne Yakuwa yali munakuwavu, ku nkomerero yali azziddwamu amaanyi era nga musanyufu nnyo. Bwe tukoppa ekyokulabirako kya Kaabakuuku naffe tujja kulaba engeri Yakuwa gy’atuwambaatiramu! Mazima ddala twetaaga nnyo okubudaabudibwa okwo mu nsi eno ejjudde ebizibu.

^ lup. 8 Ebigambo ebiri mu Kaabakuuku 1:5 bigambibwa abantu bangi, ekiraga nti akabi kaali kagenda kukwata ku bantu ba Yuda bonna.