Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

Oneeyongera Okutereezebwa?

Oneeyongera Okutereezebwa?

‘Kale ab’oluganda, mweyongere okusanyuka n’okutereezebwa.’​—2 KOL. 13:11.

OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku Matayo 7:13, 14, lwaki tusobola okugamba nti ffenna tuli ku lugendo?

FFENNA tuli ku lugendo. Olugendo olwo tulutambula nga tuluubirira okutuuka mu nsi empya ejja okuba ng’efugibwa obufuzi bwa Yakuwa. Buli lunaku tufuba okutambulira mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. Naye nga Yesu bwe yagamba, ekkubo eryo lya kanyigo era ebiseera ebimu liba zzibu nnyo okutambuliramu. (Soma Matayo 7:13, 14.) Tetutuukiridde era kyangu nnyo okuwaba okuva mu kkubo eryo.​—Bag. 6:1.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Laba n’akasanduuko “ Obwetoowaze Butuyamba Okukola Enkyukakyuka.”)

2 Bwe tuba ba kusigala mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu, tulina okuba abeetegefu okukyusa endowooza yaffe n’ebikolwa byaffe. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaali babeera mu Kkolinso okweyongera “okutereezebwa.” (2 Kol. 13:11) Okubuulirira okwo naffe kutukwatako. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe, n’engeri mikwano gyaffe abakuze mu by’omwoyo gye basobola okutuyamba okusigala mu kkubo ery’obulamu. Ate era tugenda kulaba ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Era tugenda kulaba engeri obwetoowaze gye busobola okutuyamba okukola enkyukakyuka naye ne tusigala nga tuli basanyufu nga tuweereza Yakuwa.

KKIRIZA EKIGAMBO KYA KATONDA OKUKUTEREEZA

3. Ekigambo kya Katonda kiyinza kukuyamba kitya?

3 Si kyangu gye tuli okukebera ebirowoozo byaffe n’enneewulira zaffe. Olw’okuba omutima gwaffe mulimba, kiyinza okutubeerera ekizibu okumanya ekyo kye gwagala okutuleetera okukola. (Yer. 17:9) Kyangu okwerimbalimba “n’endowooza enkyamu.” (Yak. 1:22) N’olwekyo, tusaanidde okukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera. Ekigambo kya Katonda kiraga ekyo kye tuli munda, kwe kugamba, “ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima” gwaffe. (Beb. 4:12, 13) Ekigambo kya Katonda kiringa ekyuma ekitangaaza ebiri munda mu mubiri. Kituyamba okulaba ekyo kye tuli munda. Naye tulina okuba abeetoowaze bwe tuba ba kuganyulwa mu kubuulirira okuli mu Bayibuli n’okwo okutuweebwa abo Katonda b’akozesa.

4. Kiki ekiraga nti Kabaka Sawulo yafuna amalala?

4 Ekyokulabirako kya Kabaka Sawulo kiraga ekyo ekiyinza okubaawo bwe tutaba beetoowaze. Sawulo yafuna amalala mangi nnyo ne kiba nti yali tasobola kukikkiriza nti yali yeetaaga okukyusa endowooza ye n’ebikolwa bye. (Zab. 36:1, 2; Kaab. 2:4) Ekyo kyeyoleka Yakuwa bwe yamuwa ebiragiro ku ekyo kye yalina okukola oluvannyuma lw’okuwangula Abamaleki. Kyokka Sawulo teyagondera Yakuwa. Nnabbi Samwiri bwe yayogera naye ku nsonga eyo, Sawulo yagaana okukkiriza ensobi ye. Mu kifo ky’ekyo, yagezaako okulaga nti ekibi kye yali akoze tekyali kya maanyi nnyo era yeekwasa abalala nti be baali bamuleetedde okukikola. (1 Sam. 15:13-24) Emabegako, Sawulo yali akoze ekintu ekifaananako bwe kityo. (1 Sam. 13:10-14) Kya nnaku nti yakkiriza omutima gwe okuba ogw’amalala. Teyatereeza ndowooza ye. Bwe kityo Yakuwa yamukangavvula era n’amuvaako.

5. Kiki kye tuyigira ku Sawulo?

5 Okusobola okuyigira ku kyokulabirako kya Sawulo, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Bwe nsoma obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, mbaako obusongasonga bwe nneekwasa obutabukolerako? Ndowooza nti kye nkola si kibi nnyo? Ensobi zange nzissa ku balala?’ Bwe kiba nti ekimu ku bibuuzo ebyo tukizzeemu nti yee, twetaaga okukyusa endowooza yaffe. Bwe tutakikola, tuyinza okufuuka ab’amalala ennyo, Yakuwa n’atuuka n’okutuvaako.​—Yak. 4:6.

6. Njawulo ki eriwo wakati wa Kabaka Sawulo ne Kabaka Dawudi?

6 Weetegereze enjawulo eriwo wakati wa Kabaka Sawulo ne Kabaka Dawudi, omusajja eyali ayagala “amateeka ga Yakuwa.” (Zab. 1:1-3) Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa alokola abeetoowaze era nti aziyiza ab’amalala. (2 Sam. 22:28) Bwe kityo, Dawudi yakkiriza amateeka ga Katonda okukyusa endowooza ye. Yagamba nti: “Nnaatenderezanga Yakuwa ambuuliridde. Ne bwe buba kiro, ebirowoozo byange bimpabula.”​—Zab. 16:7.

EKIGAMBO KYA KATONDA

Ekigambo kya Katonda kitulabula nga tuvudde mu kkubo ery’obulamu. Bwe tuba abeetoowaze, tukkiriza Ekigambo kya Katonda okutereeza endowooza yaffe enkyamu (Laba akatundu 7)

7. Bwe tuba abeetoowaze, kiki kye tujja okukola?

7 Bwe tuba abeetoowaze, tujja kukkiriza Ekigambo kya Katonda okukyusa ebirowoozo byaffe nga tebinnaba kutuleetera kukola bintu bibi. Ekigambo kya Katonda kijja kuba ng’eddoboozi eritugamba nti: “Lino lye kkubo. Mulitambuliremu.” Bwe tunaaba tuwaba okuva mu kkubo eryo nga tudda ku kkono oba ku ddyo, kijja kutulabula. (Is. 30:21) Bwe tuwuliriza Yakuwa tuganyulwa mu ngeri nnyingi. (Is. 48:17) Ng’ekyokulabirako, twewala obuswavu obuva ku muntu omulala okutuwabula. Ate era tweyongera okusemberera Yakuwa kubanga tuba tukiraba nti atuyisa ng’abaana b’ayagala.​—Beb. 12:7.

8. Nga bwe kiragibwa mu Yakobo 1:22-25, Ekigambo kya Katonda tuyinza kukikozesa tutya ng’endabirwamu?

8 Ekigambo kya Katonda tusobola okukikozesa ng’endabirwamu. (Soma Yakobo 1:22-25.) Bangi ku ffe tweraba mu ndabirwamu buli ku makya nga tetunnava waka. Ekyo kituyamba okulaba obanga tulina we twetaaga okutereeza ng’abalala tebannatulaba. Mu ngeri y’emu, bwe tusoma Bayibuli buli lunaku, tulaba wa we twetaaga okutereeza mu ndowooza yaffe. Bangi bakirabye nti kya muganyulo okusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku buli ku makya nga tebannava waka. Bye basoma babikkiriza okukwata ku ndowooza yaabwe. Era olunaku lwonna bafuba okulaba engeri gye bayinza okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Ate era tusaanidde okuba n’enteekateeka ey’okwesomesa ezingiramu okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okukifumiitirizaako. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekintu ekitono, naye kye kimu ku bintu ebisingayo obukulu ebisobola okutuyamba okusigala mu kkubo ery’akanyigo erituuka mu bulamu obutaggwaawo.

WULIRIZA AB’EMIKWANO ABAKULU MU BY’OMWOYO

MIKWANO GYAFFE ABAKULU MU BY’OMWOYO

Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo ayinza okutulabula ku kintu ekimu. Tusiima olwa mukkiriza munnaffe oyo okufuna obuvumu n’ayogera naffe? (Laba akatundu 9)

9. Ddi mukwano gwo lw’ayinza okukutereeza?

9 Wali okutteko ekkubo eryali likuggya ku Yakuwa? (Zab. 73:2, 3) Bwe kiba nti mukwano gwo omukulu mu by’omwoyo yakuwabula, wamuwuliriza era n’okolera ku magezi ge yakuwa? Bwe kiba kityo, kye wakola kyali kituufu era oteekwa okuba ng’osiima nnyo mukwano gwo oyo okuba nti yakuwabula.​—Nge. 1:5.

10. Wandyeyisizza otya nga mukwano gwo akuwabudde?

10 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ow’omukwano omwesigwa akuwabula wadde nga kiyinza obutakusanyusa.” (Nge. 27:6) Ebigambo ebyo bituufu nnyo. Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti ogenda kusala oluguudo naye ng’essimu yo ekuwugudde. Oyingira oluguudo nga totunuddeeyo. Naye mu kiseera ekyo mukwano gwo akukwata omukono n’akusika n’amaanyi n’akuzza ebbali. Akusise nnyo ne kiba nti onuubuse n’okunuubuka, naye akutaasizza emmotoka ebadde egenda okukutomera. Ne bwe kiba nti ebinuubule by’ofunye bikuleetera obulumi okumala ennaku, onyiigira mukwano gwo oyo olw’okuba yakusise n’amaanyi? Kya lwatu nedda. Omusiima nnyo olw’okukuyamba. Mu ngeri y’emu, singa mukwano gwo akulabula nti enjogera yo oba ebikolwa byo tebituukana na mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, mu kusooka oyinza okuwulira obubi. Naye togaana kuwuliriza ky’akugambye era tomunyiigira. Okukola ekyo tekiba kya magezi. (Mub. 7:9) Mu kifo ky’ekyo, osaanidde okusiima mukwano gwo olw’okufuna obuvumu n’ayogerako naawe.

11. Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okugaana okukolera ku kuwabula mukwano gwe kw’amuwa?

11 Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okugaana okukolera ku kuwabula mukwano gwe kw’amuwa? Amalala. Abantu ab’amalala baagala abalala bababuulire ebyo “bye baagala okuwulira.” Bagaana “okuwuliriza amazima.” (2 Tim. 4:3, 4) Beetwala okuba nti ba waggulu nnyo era nti bagezi nnyo. Naye omutume Pawulo yagamba nti: “Omuntu yenna bwe yeetwala okuba nti wa waggulu, naye nga talina bw’ali, aba yeerimbalimba.” (Bag. 6:3) Ekyo Kabaka Sulemaani yakiraga bulungi bwe yagamba nti: “Omwana omwavu naye nga wa magezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyayagala kuwabulwa.”​—Mub. 4:13.

12. Nga bwe kiragibwa mu Abaggalatiya 2:11-14 kyakulabirako ki ekirungi omutume Peetero kye yassaawo?

12 Weetegereze ekyokulabirako ekirungi omutume Peetero kya yassaawo omutume Pawulo bwe yamunenya mu lujjudde. (Soma Abaggalatiya 2:11-14.) Peetero yandibadde anyiiga nga Pawulo amuwabudde, olw’engeri Pawulo gye yayogeramu naye n’olw’okuba nti yayogera naye mu maaso g’abalala. Naye Peetero yali wa magezi. Yakkiriza okuwabulwa okwo era teyasibira Pawulo kiruyi. Mu kifo ky’ekyo, oluvannyuma yagamba nti Pawulo ‘muganda we omwagalwa.’​—2 Peet. 3:15.

13. Biki bye tusaanidde okujjukira nga tugenda okuwabula abalala?

13 Bw’owulira nti weetaaga okuwabula mukwano gwo, biki by’osaanidde okujjukira? Nga tonnaba kumutuukirira, sooka weebuuze, ‘Mpitirizza okuba omutuukirivu?’ (Mub. 7:16) Omuntu ayitiriza okuba omutuukirivu, alamula abalala nga tasinziira ku mitindo gya Yakuwa, wabula ku mitindo gye era tatera kuba musaasizi. Bw’omala okwekebera naye n’osigala ng’okiraba nti weetaaga okumuwabula, mubuulire ekizibu ky’alina era okozese ebibuuzo ebimuyamba okutegeera ensonga lwaki kye yakoze kikyamu. Kakasa nti by’oyogera byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, ng’okijjukira nti mukwano gwo oyo avunaanyizibwa eri Yakuwa, so si eri ggwe. (Bar. 14:10) Weesigame ku magezi agasangibwa mu Kigambo kya Katonda, era bw’oba owabula omuntu beera musaasizi nga Yesu. (Nge. 3:5; Mat. 12:20) Lwaki? Kubanga naffe Yakuwa ajja kutuyisa nga bwe tuyisa abalala.​—Yak. 2:13.

KOLERA KU BULAGIRIZI OBUTUWEEBWA EKIBIINA KYA YAKUWA

EKIBIINA KYA YAKUWA

Ekibiina kya Yakuwa kituwa ebitabo, vidiyo, awamu n’enkuŋŋaana ebituyamba okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Oluusi Akakiiko Akafuzi kakola enkyukakyuka mu ngeri omulimu gye gukolebwamu (Laba akatundu 14)

14. Biki ekibiina kya Katonda bye kituwa?

14 Okusobola okutuyamba okusigala mu kkubo ery’obulamu, Yakuwa atuwa obulagirizi ng’akozesa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, ekituwa vidiyo, ebitabo, n’enkuŋŋaana ebituyamba ffenna okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Ebintu ebyo byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Akakiiko akafuzi bwe kaba kasalawo ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye gusaanidde okukolebwamu, kakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Wadde kiri kityo, buli luvannyuma lwa kiseera Akakiiko Akafuzi kaddamu okwekenneenya ebyo bye kaba kaasalawo ku ngeri omulimu gye gusaanidde okukolebwamu. Lwaki? Kubanga “embeera y’ensi eno ekyukakyuka,” era ekibiina kya Yakuwa kirina okutuukana n’embeera eba ezzeewo.​—1 Kol. 7:31.

15. Kusoomooza ki ababuulizi abamu kwe bafunye?

15 Tewali kubuusabuusa nti tukkiririzaawo era ne tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa obukwata ku njigiriza ez’omu Byawandiikibwa oba ku mpisa. Naye tweyisa tutya ekibiina kya Yakuwa bwe kikola enkyukakyuka ezikwata ku mbeera endala ez’obulamu bwaffe? Ng’ekyokulabirako, ennaku zino kyeyongedde okuba eky’obuseere okuzimba n’okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka. N’olwekyo Akakiiko Akafuzi kaawa obulagirizi nti Ebizimbe by’Obwakabaka birina okukozesebwa mu bujjuvu. Olw’ensonga eyo, ebibiina ebimu bigattiddwa wamu, era waliwo Ebizimbe by’Obwakabaka ebitundiddwa. Ssente zikozesebwa okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu bitundu awali obwetaavu obungi. Bw’oba ng’obeera mu bitundu ng’Ebizimbe by’Obwakabaka bitundibwa era ng’ebibiina bigattibwa wamu, kiyinza okukubeerera ekizibu okutuukana n’embeera eyo. Kati ababuulizi abamu kibeetaagisa okutambula olugendo luwanvu okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana. Abalala abaakola ennyo okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka oba okukiddaabiriza, bayinza okwebuuza ensonga lwaki ekizimbe ekyo kitundibwa. Bayinza okuwulira nti baamalira bwereere ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe. Wadde kiri kityo, bakkirizza enkyukakyuka eyo empya era beebazibwa nnyo.

16. Okukolera ku bulagirizi obuli mu Abakkolosaayi 3:23, 24 kinaatuyamba kitya okusigala nga tuli basanyufu?

16 Tujja kusigala nga tuli basanyufu singa tukijjukira nti tukolera Yakuwa era nti awa ekibiina kye obulagirizi. (Soma Abakkolosaayi 3:23, 24.) Kabaka Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe yali awaayo ebintu eby’okuzimbisa yeekaalu. Yagamba nti: “Nze n’abantu bange ffe baani okuwaayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire nga bino? Kubanga ebintu byonna biva gy’oli, era tukuwadde ebiva mu mukono gwo.” (1 Byom. 29:14) Naffe bwe tubaako bye tuwaayo, tuba tuwa Yakuwa ebyo ebiva mu mukono gwe. Wadde kiri kityo, Yakuwa asiima nnyo ebiseera, amaanyi, n’ebintu bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ayagala gukolebwe.​—2 Kol. 9:7.

SIGALA KU KKUBO ERY’AKANYIGO

17. Lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi bw’okiraba nti waliwo we weetaaga okutereezaamu?

17 Okusobola okusigala mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu, ffenna tulina okutambulira mu bigere bya Yesu. (1 Peet. 2:21) Bw’okiraba nti waliwo we weetaaga okutereezaamu, toggwaamu maanyi. Mu butuufu ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti, oyagala okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Kijjukire nti Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde era tatusuubira kukoppa Yesu mu ngeri etuukiridde.

18. Kiki kye tuteekeddwa okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe?

18 Ka ffenna tusse ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso, era tube beetegefu okukyusa mu ndowooza yaffe ne mu bikolwa byaffe. (Nge. 4:25; Luk. 9:62) Ka tusigale nga tuli beetoowaze, ‘tweyongere okusanyuka n’okutereezebwa.’ (2 Kol. 13:11) Bwe tukola tutyo, “Katonda ow’okwagala n’emirembe ajja kubeera [naffe].” Ate era ng’oggyeeko okuba nti tujja kutuuka gye tulaga, tujja kunyumirwa n’olugendo lwaffe.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

^ lup. 5 Abamu ku ffe kiyinza okutuzibuwalira okukola enkyukakyuka mu ndowooza yaffe ne mu bikolwa byaffe. Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki ffenna twetaaga okukola enkyukakyuka n’engeri gye tusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tukola enkyukakyuka ezo.

^ lup. 76 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omuvubuka bw’aba abuulira ow’oluganda omukulu ekyamutuuseeko olw’okusalawo obubi, ow’oluganda omukulu (ali ku ddyo) awuliriza bulungi alabe obanga yeetaaga okumuwabula.