Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

‘Tunula Butereevu mu Maaso’

‘Tunula Butereevu mu Maaso’

“Amaaso go gatunulenga butereevu mu maaso. Tomagamaganga.”​—NGE. 4:25.

OLUYIMBA 77 Ekitangaala mu Nsi ey’Ekizikiza

OMULAMWA *

1-2. Tuyinza tutya okukolera ku magezi agali mu Engero 4:25? Waayo ekyokulabirako.

LOWOOZA ku byokulabirako bino. Mwannyinaffe akaddiye alowooza ku biseera ebirungi eby’emabega. Wadde nga kati embeera gy’ayitamu si nnyangu, yeeyongera okukola kyonna ky’asobola okuweereza Yakuwa. (1 Kol. 15:58) Buli lunaku akuba akafaananyi ng’ali wamu n’abantu be mu nsi empya. Mwannyinaffe omulala ajjukira nti waliwo mukkiriza munne eyamuyisa obubi, naye asalawo obutasiba kiruyi. (Bak. 3:13) Ow’oluganda omu ajjukira ensobi ze yakola mu biseera eby‘emabega naye amalirira okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa okuva kati.​—Zab. 51:10.

2 Kiki Abakristaayo abo abasatu kye bafaanaganya? Bonna bajjukira ebyo bye baayitamu mu biseera eby’emabega, naye ebirowoozo byabwe tebabimalidde ku biseera eby’emabega. Mu kifo ky’eyo ‘batunula butereevu mu maaso.’​—Soma Engero 4:25.

3. Lwaki tusaanidde ‘okutunula butereevu mu maaso’?

3 Lwaki kikulu ‘okutunula butereevu mu maaso’? Ng’omuntu bw’atasobola kutambula butereevu nga buli kiseera atunula emabega, tetusobola kuweereza Yakuwa mu bujjuvu singa buli kiseera tuba tulowooza ku bintu ebyaliwo mu bulamu bwaffe.​—Luk. 9:62.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bisatu ebiyinza okutuleetera okumalira ebirowoozo byaffe ku biseera eby’emabega. * Ebintu ebyo bye bino: (1) okuwulira nga wandyagadde okuba mu bulamu bwe walimu emabega, (2) okusiba ekiruyi, ne (3) omutima okukulumiriza ekisukkiridde. Nga twetegereza buli kimu ku bintu ebyo, tugenda kulaba engeri emisingi gya Bayibuli gye gisobola okutuyamba obutamalira birowoozo byaffe ‘ku bintu eby’emabega,’ wabula tubisse ‘ku bintu eby’omu maaso.’​—Baf. 3:13.

OKUWULIRA NGA WANDYAGADDE OKUBA MU BULAMU BWE WALIMU EMABEGA

Kiki ekiyinza okutulemesa okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso? (Laba akatundu 5, 9, 13) *

5. Omubuulizi 7:10 watulabula ku ki?

5 Soma Omubuulizi 7:10. Weetegereze nti olunyiriri luno terugamba nti kikyamu okubuuza nti: “Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi?” Okujjukira ebintu ebirungi kirabo okuva eri Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, olunyiriri olwo lugamba nti: “Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?’” Obuzibu buli mu kugeraageranya ebiseera ebyayita n’ebyo bye tulimu kati ne tulowooza nti buli kimu ekiriwo kati kibi. Mu nkyusa endala eya Bayibuli, olunyiriri olwo lugamba bwe luti: “Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebintu mu biseera eby’edda byali birungi nnyo okusinga kati?’ Ekibuuzo ekyo si kya magezi.”

Nsobi ki Abayisirayiri gye baakola oluvannyuma lw’okuva e Misiri? (Laba akatundu 6)

6. Lwaki tekiba kya magezi okudda awo okulowooza nti obulamu bwe twalimu mu biseera eby’emabega bwali bulungi okusinga bwe tulimu kati? Waayo ekyokulabirako.

6 Lwaki tekiba kya magezi okudda awo okulowooza nti obulamu bwe twalimu mu biseera eby’emabega bwali bulungi okusinga bwe tulimu kati? Tekiba kya magezi kubanga kisobola okutuleetera okujjukirako ebintu ebirungi byokka ne twerabira ebibi ebyaliwo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Bayisirayiri. Bwe baamala okuva mu Misiri, beerabira mangu obulamu obuzibu ennyo bwe baalimu. Ebirowoozo byabwe baabimalira ku mmere ennungi gye baalyanga. Baagamba nti: “Kale tujjukira ebyennyanja eby’obwereere bye twalyanga e Misiri, ne ccukamba ne wootameroni n’obutungulu ne katunguluccumu!” (Kubal. 11:5) Naye ddala ebintu ebyo baalyanga bya ‘bwereere’? Nedda. Abayisirayiri baali banyigirizibwa, nga bakozesebwa emirimu egy’obuddu mu Misiri. (Kuv. 1:13, 14; 3:6-9) Naye beerabira obulamu obwo obuzibu bwe baalimu ne bajulirira okuddamu okuba mu bulamu obw’emabega. Baasalawo okumalira ebirowoozo byabwe ku biseera “ebirungi” eby’emabega ne beerabira okubissa ku bintu ebirungi Yakuwa bye yali yaakabakolera. Ekyo Yakuwa tekyamusanyusa.​—Kubal. 11:10.

7. Kiki ekyayamba mwannyinaffe omu obutagwa mu mutego gwa kumalira birowoozo ku bintu eby’emabega?

7 Tuyinza tutya okwewala okugwa mu mutego ogw’okudda awo okulowooza nti ebiseera eby’emabega byali birungi okusinga bye tulimu? Lowooza ku mwannyinaffe omu eyatandika okuweereza ku Beseri mu Brooklyn mu 1945. Nga wayise emyaka, yafumbirwa ow’oluganda omu ku Beseri era bombi ne baweerereza eyo okumala emyaka mingi. Naye mu 1976, omwami we yalwala. Mwannyinaffe agamba nti omwami we bwe yakitegeera nti yali anaatera okufa, alina amagezi amalungi ge yamuwa agandimuyambye okugumira embeera y’obwannamwandu. Yamugamba nti: “Tubadde n’obufumbo obulungi. Abantu bangi tebanyumirwa bufumbo bwabwe.” Naye era yamugamba nti: “Wadde ng’ojja kujjukiranga obulamu obulungi bwe tubaddemu, tomalira birowoozo byo ku bintu eby’emabega. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo ojja kuwona obulumi. Toddanga awo kwekubagiza. Sanyuka nti tuweererezza wamu Yakuwa era nti tufunye emikisa mingi. . . . Ebintu bye tujjukira kirabo okuva eri Omutonzi waffe.” Amagezi ago nga gaali malungi nnyo!

8. Mwannyinaffe yaganyulwa atya mu butamalira birowoozo bye ku bintu eby’emabega?

8 Mwannyinaffe yakolera ku magezi ago. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa ng’alina emyaka 92. Ng’ebula emyaka mitono afe, yagamba nti: “Bwe ndowooza ku myaka 63 gye mmaze nga mpeereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna, nsobola okugamba nti obulamu bwange bubadde bwa makulu nnyo.” Lwaki? Yagamba nti: “Ekifuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu lwe luganda lwaffe lwe tulina n’essuubi ery’okubeera awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe mu nsi empya, nga tuweereza Omutonzi waffe, Yakuwa, Katonda omu ow’amazima, emirembe gyonna.” * Mazima ddala mwannyinaffe oyo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kussa ebirowoozo bye ku bintu eby’omu maaso!

OKUSIBA EKIRUYI

9. Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 19:18, okusingira ddala ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okusonyiwa omuntu aba atunyiizizza?

9 Soma Eby’Abaleevi 19:18. Emirundi mingi tukisanga nga kizibu obutasiba kiruyi singa oyo aba atunyiizizza aba mukkiriza munnaffe, mukwano gwaffe ow’oku lusegere, oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu mukkiriza munne yamulumiriza mu bukyamu nti yali abbye ssente ze. Oluvannyuma eyamulumiriza yamwetondera, naye mwannyinaffe oyo yeeyongera okussa ebirowoozo ku ekyo ekyali kibaddewo. Wali weesanzeeko mu mbeera ng’eyo? Ne bwe tuba nga tetwolekaganangako na mbeera ng’eyo, bangi ku ffe twali tusibyeko ekirungi era nga tulowooza nti oboolyawo tetulisobola kusonyiwa oyo eyatunyiiza.

10. Kiki ekiyinza okutuyamba nga waliwo gwe tusibidde ekiruyi?

10 Kiki ekiyinza okutuyamba nga waliwo gwe tusibidde ekiruyi? Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa alaba buli kimu. Amanyi byonna bye tuyitamu nga mw’otwalidde n’engeri etali ya bwenkanya gye tuba tuyisiddwamu. (Beb. 4:13) Bwe tuyisibwa obubi, awulira bubi. (Is. 63:9) Ate era asuubiza nti ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi ebivudde mu bintu ebitali bya bwenkanya abalala bye baatukola.​—Kub. 21:3, 4.

11. Bwe twewala okusiba ekiruyi tuganyulwa tutya?

11 Ate era tusaanidde okukijjukira nti bwe twewala okusiba ekiruyi tuganyulwa. Ekyo mwannyinaffe eyawaayirizibwa nti yali abbye ssente yakiraba. Oluvannyuma lw’ekiseera yalekera awo okusiba ekiruyi. Yakiraba nti bwe tusonyiwa abalala, Yakuwa naye atusonyiwa. (Mat. 6:14) Wadde nga teyakitwala nti ekyo muganda we kye yali akoze kyali kitono, yamusonyiwa. Ekyo kyamuyamba okweyongera okuba omusanyufu n’okwemalira ku kuweereza Yakuwa.

OMUTIMA OKUTULUMIRIZA EKISUSSE

12. Kiki 1 Yokaana 3:19, 20 kye walaga?

12 Soma 1 Yokaana 3:19, 20. Kya bulijjo okulumirizibwa omutima. Ng’ekyokulabirako, abamu omutima gubalumiriza olw’ebibi bye baakola nga tebannayiga mazima. Abalala omutima gubalumiriza olw’ensobi ze baakola oluvannyuma lw’okubatizibwa. Abantu bangi bafuna enneewulira ng’ezo. (Bar. 3:23) Kya lwatu nti twagala okukola ekituufu. Naye “emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yak. 3:2; Bar. 7:21-23) Wadde nga tetunyumirwa mutima kutulumiriza, bwe gutulumiriza kiyinza okutuganyula. Lwaki? Kubanga kiyinza okutuleetera okutereeza amakubo gaffe era ne tumalirira obutaddamu kukola nsobi y’emu.​—Beb. 12:12, 13.

13. Lwaki tetulina kukkiriza mutima gwaffe kutulumiriza kisukkiridde?

13 Ku luuyi olulala, omutima guyinza okutulumiriza ekisukkiridde, kwe kugamba, gusobola okweyongera okutulumiriza ne bwe tuba nga twenenya era nga Yakuwa yakiraga nti yatusonyiwa. Omutima okutulumiriza mu ngeri eyo kya kabi. (Zab. 31:10; 38:3, 4) Lwaki? Lowooza ku mwannyinaffe omu eyali alumirizibwa omutima olw’ebibi bye yakola emabega. Yagamba nti: “Nnali mpulira nti nnali mmala biseera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu kubanga nnali ndaba nga nnyinza n’obutalokolebwa.” Bangi ku ffe twali tuwuliddeko nga mwannyinaffe oyo. Tusaanidde okwegendereza obutakkiriza mutima kutulumiriza kisukkiridde. Lowooza ku ssanyu Sitaani ly’ayinza okuwulira singa tulekera awo okuweereza Yakuwa wadde nga ye Yakuwa abadde akyatwagala!​—Geraageranya 2 Abakkolinso 2:5-7, 11.

14. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa?

14 Naye tuyinza okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okuba omukakafu nti Yakuwa mwetegefu okunsonyiwa?’ Bwe twebuuza ekibuuzo ekyo ate era tuba ng’abakizzeemu. Emyaka mingi emabega, Watchtower yagamba nti: “Tuyinza okwesanga nga tukola ensobi y’emu enfunda n’enfunda. Kiyinzika okuba nga waliwo obunafu bwe twalina nga tetunnayiga mazima bwe tukyalemereddwa okweggyamu. . . . Bwe weesanga mu mbeera eyo toggwaamu maanyi. Tokitwala nti ekibi ky’okoze tekisobola kusonyiyibwa. Sitaani ayagala olowooze bw’otyo. Okuba nti owulira bubi olw’okukola ekibi ekyo, kiraga nti toli muntu mubi era nti Yakuwa akyasobola okukusonyiwa. Tokoowanga kwegayirira Katonda akusonyiwe, akulongoose, era akuyambe. Mutuukirire ng’omwana bw’atuukirira kitaawe ng’ali mu buzibu, ka kibe nti omutuukirira mirundi emeka ku bunafu bwe bumu. Olw’okuba Yakuwa alina ekisa eky’ensusso, ajja kukuwa obuyambi bwe weetaaga.” *

15-16. Abamu bawulidde batya bwe bakitegedde nti Yakuwa akyasobola okubasonyiwa?

15 Abantu ba Yakuwa bangi babudaabudiddwa bwe bakitegedde nti Yakuwa akyasobola okubasonyiwa. Ng’ekyokulabirako, emyaka mitono emabega, ow’oluganda omu yakwatibwako nnyo bwe yasoma ebyafulumira mu kitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu.” Yasoma ku mwannyinaffe omu eyagamba nti, olw’ebyo bye yali ayiseemu emabega, kyali kizibu gy’ali okukikkiriza nti Yakuwa yali asobola okumwagala. Yasigala awulira bw’atyo ne bwe waali wayise emyaka ng’amaze okubatizibwa. Naye bwe yafumiitiriza ku kinunulo yakyusa endowooza ye. *

16 Ebyo ow’oluganda bye yasoma ku mwannyinaffe byamukwatako bitya? Yagamba: “Bwe nnali nkyali muto, nnalwanagana n’omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Gye buvuddeko awo nnaddamuko okulaba ebifaananyi ebyo. Nnatuukirira abakadde bannyambe era nnina we ntuuse mu kulwanyisa omuze ogwo. Abakadde bankakasa nti Yakuwa anjagala era nti ansaasira. Wadde kiri kityo oluusi mpulira ng’atalina mugaso, era nti Yakuwa tasobola kunjagala. Okusoma ebyo mwannyinaffe bye yayogera kyannyamba nnyo. Kati nkiraba nti bwe ndowooza nti Katonda tasobola kunsonyiwa mba ng’agamba nti ssaddaaka y’Omwana we temala kubikka ku bibi byange. Empapula okwafulumira ekitundu ekyo nnazikuulamu mu magazini nsobole okukisoma n’okukifumiitirizaako buli lwe ntandika okuwulira nti sirina mugaso.”

17. Omutume Pawulo yeewala atya okugwa mu mutego ogw’okulumirizibwa omutima ekisukkiridde?

17 Ebyokulabirako ng’ebyo bitujjukiza omutume Pawulo. Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yakola ebibi eby’amaanyi ebiwerako. Pawulo yajjukiranga bye yali yakola, naye teyabimalirangako birowoozo. (1 Tim. 1:12-15) Ssaddaaka y’ekinunulo yagitwala ng’ekirabo Katonda kye yamuwa ng’omuntu kinnoomu. (Bag. 2:20) Ekyo kyayamba Pawulo okwewala okugwa mu mutego ogw’okulumirizibwa omutima ekisukkiridde, n’amalira ebirowoozo bye ku kuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.

EBIROWOOZO BISSE KU BISEERA EBY’OMU MAASO!

Ka tube bamalirivu okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso (Laba akatundu 18-19) *

18. Biki bye tuyize mu kitundu kino?

18 Biki bye tuyize mu kitundu kino? (1) Okujjukira ebintu ebirungi kirabo okuva eri Yakuwa; naye obulamu bwaffe ka bube nga bwali bulungi butya mu biseera eby’emabega, obulamu mu nsi empya bujja kuba bubusingira wala nnyo. (2) Abalala bayinza okutukola ebintu ebitulumya, naye bwe tusalawo okubasonyiwa, kituyamba okwemalira ku kuweereza Yakuwa. (3) Omutima okutulumiriza ekisukkiridde kisobola okutulemesa okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu. N’olwekyo okufaananako Pawulo, tusaanidde okukikkiriza nti Yakuwa yatusonyiwa.

19. Tumanya tutya nti mu nsi empya ebintu eby’emabega tebijja kutumalako ssanyu?

19 Tulina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Mu nsi ya Katonda empya ebintu eby’emabega tebijja kuddamu kutumalako ssanyu. Ng’eyogera ku kiseera ekyo, Bayibuli egamba nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa.” (Is. 65:17) Kirowoozeeko: Abamu ku ffe tukaddiye nga tuweereza Yakuwa, naye mu nsi empya tujja kudda buto. (Yob. 33:25) N’olwekyo, ka tube bamalirivu obutamalira birowoozo byaffe ku bintu eby’emabega. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byaffe ka tubimalire ku nsi empya era tukole kyonna kye tusobola mu kiseera kino okusobola okubeerayo!

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

^ lup. 5 Kirungi okulowooza ku bintu ebyaliwo mu biseera eby’amabega, Naye tetwagala kumalira birowoozo byaffe ku ebyo ebyaliwo mu biseera eby’emabega, ne tulemererwa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu mu kiseera kino oba ne twerabira ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ekitundu kino kiraga ebintu bisatu ebisobola okutuleetera okumalira ebirowoozo byaffe ku biseera eby’emabega. Okusobola okwewala okugwa mu mutego ogwo, tugenda kulabayo emisingi gya Bayibuli n’ebyokulabirako by’abantu abamu ab’omu kiseera kyaffe.

^ lup. 4 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Omuntu amalira ebirowoozo bye ku bintu eby’emabega buli kiseera aba ayogera ku bintu ebyaliwo emabega oba ng’alowooza nti obulamu mu biseera eby’emabega bwali bulungi okusinga bw’alimu kati.

^ lup. 14 Laba Watchtower eya Febwali 15, 1954, lup. 123.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Okujulirira obulamu obw’emabega, okusiba ekiruyi, n’okulumirizibwa omutima ekisukkiridde biringa emigugu eminene gye tusika egitulemesa okweyongerayo mu kkubo ery’obulamu.

^ lup. 66 EBIFAANANYI: Bwe tweggyako emigugu egyo, tufuna obuweerero, tuba basanyufu, era tuddamu amaanyi. Era awo tuba tusobola okumalira ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso.