Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Yakuwa Teyanneerabira”

“Yakuwa Teyanneerabira”

MBEERA mu Orealla, ekyalo ekisangibwa mu Guyana, mu Amerika ow’ebukiikaddyo era nga kirimu abantu nga 2,000. Ekyalo kino kyesudde era okusobola okukituukamu olina kukozesa nnyonyi ya nnamunkanga oba lyato.

Nnazaalibwa mu 1983. Mu myaka gyange egy’obuto saalina buzibu bwonna, naye bwe nnaweza emyaka kkumi, nnatandika okuwulira obulumi mu mubiri gwonna. Lumu nga wayise emyaka ng’ebiri nnazuukuka ku makya nga sisobola kwekyusa. Nnagezaako okuseetula amagulu naye nga tegaliimu maanyi. Okuva olwo siddangamu kutambula. Obulwadde obwo era bwanviirako okulekera awo okukula. Na kati ndi mumpi ng’omwana omuto.

Nnali mmaze emyezi egiwera nga siva waka abakazi babiri Abajulirwa ba Yakuwa we bajjira ewaffe. Abagenyi bwe bajjanga awaka nnateranga okwekweka, naye ku luno nnabakkiriza okwogera nange. Bwe baayogera ebikwata ku Lusuku lwa Katonda, nnajjukira ebintu bye nnawulirako nga ndi wa myaka ng’etaano. Mu kiseera ekyo omuminsani eyali ayitibwa Jethro, eyali abeera mu Suriname, yajjanga ku kyalo kyaffe omulundi gumu mu mwezi, era yayigirizanga taata Bayibuli. Jethro yampisanga bulungi nnyo. Nnali mwagala nnyo. Ate era oluusi bajjajja bange bantwalanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ezaabeeranga ku kyalo kyaffe. N’olwekyo Florence, omu ku bakazi abo bwe yambuuza obanga nnandyagadde okuyiga ebisingawo nnamuddamu nti yee.

Florence yakomawo n’omwami we eyali ayitibwa Justus, era bombi baatandika okunjigiriza Bayibuli. Bwe baakiraba nti nnali simanyi kusoma banjigiriza okusoma. Waayita ekiseera kitono ne njiga okusoma. Lumu Florence n’omwami we baŋŋamba nti baali basindikiddwa okuweereza mu Suriname. Eky’ennaku, tewaaliwo muntu n’omu mu Orealla eyali asobola okweyongera okunjigiriza Bayibuli. Naye ekirungi Yakuwa teyanneerabira.

Waayita ekiseera kitono payoniya ayitibwa Floyd n’ajja mu Orealla, era bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba yansanga. Bwe yantegeeza ku ky’okunjigiriza Bayibuli nnaseka. Yambuuza nti: “Lwaki osese?” Nnamugamba nti nnali nnamala dda okusoma akatabo Katonda Atwetaagisa Ki? era nga ntandise n’okusoma akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. * Bwe nnamubuulira ensonga lwaki nnali ndekedde awo okuyiga Bayibuli, Floyd yasoma nange essuula ezaali zisigaddeyo mu katabo Okumanya, kyokka naye oluvannyuma yasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala. Nnaddamu okusigala nga sirina anjigiriza Bayibuli.

Naye mu 2004, bapayoniya ab’enjawulo babiri, Granville ne Joshua, baasindikibwa okuweereza mu Orealla. Bwe baali babuulira nnyumba ku nnyumba bansanga. Bwe bambuuza obanga nnandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli, nnamwenya. Nnabasaba banjigirize akatabo Okumanya okuviira ddala we katandikira. Nnali njagala okulaba obanga bandinjigirizza ebintu bye bimu abasomesa bange abaasooka bye banjigiriza. Granville yaŋŋamba nti ku kyalo kyaffe kwaliko enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga nnali mmaze emyaka nga kkumi nga siva waka, nnayagala okugenda mu nkuŋŋaana ezo. Bwe kityo Granville yannona n’anteeka mu kagaali k’abalema n’ansindika okutuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Oluvannyuma lw’ekiseera, Granville yankubiriza okuyingira Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Yaŋŋamba nti: “Oli mulema, naye osobola okwogera. Lumu ojja kuwa emboozi ya bonna. Kijja kusoboka.” Ebigambo ebyo ebizzaamu amaanyi byannyamba okulekera awo okwetya.

Nnatandika okubuulirira awamu ne Granville. Naye enguudo nnyingi ku kyalo kyaffe zaalimu ebisirikko bingi, ne kiba nti akagaali k’abalema kaali tekasobola kutambuliramu bulungi. Bwe kityo nnasaba Granville ntuulenga mu wirubbaalo ansindike. Ekyo kyannyamba nnyo. Mu Apuli 2005, nnabatizibwa. Waayita ekiseera kitono ab’oluganda ne bantendeka okukola ku bitabo ne ku byuma by’amaloboozi mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Eky’ennaku, mu 2007 taata wange yafiira mu kabenje k’eryato. Ekyo ffenna awaka kyatukuba wala nnyo. Granville yasabira wamu nnaffe era n’abaako ebyawandiikibwa ebibudaabuda bye yatusomera. Nga wayise emyaka ebiri twafuna ekikangabwa ekirala; Granville naye yafiira mu kabenje k’eryato.

Ekibiina kyaffe ekitono ekyali mu nnaku kyasigala tekirina mukadde era nga kirina omuweereza omu. Okufa kwa Granville kwannuma nnyo. Yali mukwano gwange nnyo. Yali annyamba nnyo mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Mu lukuŋŋaana olwaddako nga yaakafa, nze nnalina okusoma obutundu mu kitundu ky’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Nnasobola okusoma obutundu obubiri obwasooka, naye ne ntandika okukaaba era amaziga gaali gakulukuta obutasalako. Nnalina okuva ku pulatifoomu.

Nnatandika okuguma ab’oluganda okuva mu kibiina ekirala bwe bajja okutuyamba mu Orealla. Ate era ofiisi y’ettabi yasindika payoniya ow’enjawulo ayitibwa Kojo. Nnasanyuka nnyo maama wange ne muganda wange omuto bwe baatandika okuyiga Bayibuli era ne babatizibwa. Ate mu Maaki 2015, nnalondebwa okuba omuweereza mu kibiina. Oluvannyuma lw’ekiseera nnawa emboozi ya bonna eyasooka. Ku lunaku olwo nnasanyuka ate nkaaba bwe nnajjukira ebyo Granville bye yali aŋŋambye emyaka mingi emabega nti: “Lumu ojja kuwa emboozi ya bonna. Kijja kusoboka.”

Okuyitira mu programu ezifulumira ku ttivi yaffe, ndabye Abajulirwa ba Yakuwa abali mu mbeera efaananako n’eyange. Wadde nga balina obulemu, basobola okukola ebintu bingi era basanyufu. Nange waliwo ebintu bye nsobola okukola. Olw’okuba nnali njagala okuwa Yakuwa kyonna kye nsobola, nnasalawo okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Mu Ssebutemba 2019, nnafuna amawulire ge nnali sisuubira! Mu mwezi ogwo bantegeeza nti nnali nnondeddwa okuweereza ng’omukadde mu kibiina kyaffe ekirimu ababuulizi nga 40.

Nneebaza nnyo baganda bange ne bannyinaze abansomesa Bayibuli era abannyamba okutandika okuweereza Yakuwa. Naye okusingira ddala, nneebaza Yakuwa olw’obutanneerabira.

^ lup. 8 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyakubibwa.